Al-Baqarah 2:14وَإِذَا لَقُواْ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ قَالُوٓاْ ءَامَنَّا وَإِذَا خَلَوۡاْ إِلَىٰ شَيَٰطِينِهِمۡ قَالُوٓاْ إِنَّا مَعَكُمۡ إِنَّمَا نَحۡنُ مُسۡتَهۡزِءُونَ ﴿١٤﴾
Bwe basisinkana n'abakkiriza bagamba nti tukkirizza, bwe badda eri abakulembeze baabwe bagamba nti mazima ddala ffe tuli wamu nammwe. Mazima bali tubaguyaaguya buguyaaguya.
Al-Baqarah 2:34وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ أَبَىٰ وَٱسۡتَكۡبَرَ وَكَانَ مِنَ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٣٤﴾
Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti; muvunnamire Adamu. bonna ne bavunnama okugyako Ibliisu, yagaana ne yeekuluntaza n'abeera mu bawakanya Katonda.
Al-Baqarah 2:35وَقُلۡنَا يَـٰٓـَٔادَمُ ٱسۡكُنۡ أَنتَ وَزَوۡجُكَ ٱلۡجَنَّةَ وَكُلَا مِنۡهَا رَغَدًا حَيۡثُ شِئۡتُمَا وَلَا تَقۡرَبَا هَٰذِهِ ٱلشَّجَرَةَ فَتَكُونَا مِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٣٥﴾
Netugamba nti ggwe Adamu ne mukyalawo mubeere mu Jjanna, mulye mwegazaanye wonna wemwagalira. Naye temusembereranga omuti guno ne mubeera mu balyazamaanyi.
Al-Baqarah 2:36فَأَزَلَّهُمَا ٱلشَّيۡطَٰنُ عَنۡهَا فَأَخۡرَجَهُمَا مِمَّا كَانَا فِيهِۖ وَقُلۡنَا ٱهۡبِطُواْ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوّٞۖ وَلَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُسۡتَقَرّٞ وَمَتَٰعٌ إِلَىٰ حِينٖ ﴿٣٦﴾
Sitaani n'abaseereza okuva mu jjana era naabaggya mu (birungi) bye baalimu. Netubagamba nti mukke wansi nga buli omu mulabe eri munne, era ku nsi gye mujja okubeeranga n'okweyagalira e bbanga eggere.
Al-Baqarah 2:37فَتَلَقَّىٰٓ ءَادَمُ مِن رَّبِّهِۦ كَلِمَٰتٖ فَتَابَ عَلَيۡهِۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلتَّوَّابُ ٱلرَّحِيمُ ﴿٣٧﴾
Oluvanyuma Adamu yayiga ebigambo by'okusaba okuva eri Katonda omulezi we (nga yeenenya), era Katonda nakkiriza okwenenya kwe. Mazima yye (Katonda) yakkiriza okwenenya, omusaasizi owookusaasira okwenjawulo.
Al-Baqarah 2:38قُلۡنَا ٱهۡبِطُواْ مِنۡهَا جَمِيعٗاۖ فَإِمَّا يَأۡتِيَنَّكُم مِّنِّي هُدٗى فَمَن تَبِعَ هُدَايَ فَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿٣٨﴾
Netugamba nti, kale mwenna mugifulume (e jjana). Buli lwonna obulungamu lwe bun'abajjiranga okuva gyendi, abo abaligoberera okulungamya kwange tebaliba na kutya era tebagenda kunakuwala.
Al-Baqarah 2:39وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَكَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَآ أُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿٣٩﴾
Naye abo abaligaana okukkiriza ne balimbisa ebigambo byaffe be b'okuba mu muliro obugenderevu.
Al-Baqarah 2:168يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ كُلُواْ مِمَّا فِي ٱلۡأَرۡضِ حَلَٰلٗا طَيِّبٗا وَلَا تَتَّبِعُواْ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٌ ﴿١٦٨﴾
Abange mmwe abantu mulye ebiri mu nsi ebyakkirizibwa ebirungi, era temugobereranga amakubo ga sitaani anti ye mulabe wa mmwe wa lwatu.
Al-Baqarah 2:169إِنَّمَا يَأۡمُرُكُم بِٱلسُّوٓءِ وَٱلۡفَحۡشَآءِ وَأَن تَقُولُواْ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿١٦٩﴾
Mazima sitaani abalagira kukola bibi, na by'abugwenyufu, n'okwogera ku Katonda ebyo bye mutamanyi.
Al-Baqarah 2:208يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱدۡخُلُواْ فِي ٱلسِّلۡمِ كَآفَّةٗ وَلَا تَتَّبِعُواْ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٞ ﴿٢٠٨﴾
Abange mmwe abakkiriza, muyingire mu busiraamu muggweeremu. Temugobereranga makubo ga sitaani, mazima ye mulabe wa mmwe owoolwatu.
Al-Baqarah 2:268ٱلشَّيۡطَٰنُ يَعِدُكُمُ ٱلۡفَقۡرَ وَيَأۡمُرُكُم بِٱلۡفَحۡشَآءِۖ وَٱللَّهُ يَعِدُكُم مَّغۡفِرَةٗ مِّنۡهُ وَفَضۡلٗاۗ وَٱللَّهُ وَٰسِعٌ عَلِيمٞ ﴿٢٦٨﴾
Obukodo n'okwagala okuwaayo ebitali birungi nga ye saddaaka, Sitane y'ebibassaamu, anti yyo Sitane ebatiisa obwavu neebalagira okukola ebibi so nga Katonda abalagaanyisa kisonyiwo okuva gyali nakubawa birungi, bulijjo Katonda mugazi nnyo mubyagaba mumanyi nnyo.
Al-Baqarah 2:275ٱلَّذِينَ يَأۡكُلُونَ ٱلرِّبَوٰاْ لَا يَقُومُونَ إِلَّا كَمَا يَقُومُ ٱلَّذِي يَتَخَبَّطُهُ ٱلشَّيۡطَٰنُ مِنَ ٱلۡمَسِّۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَالُوٓاْ إِنَّمَا ٱلۡبَيۡعُ مِثۡلُ ٱلرِّبَوٰاْۗ وَأَحَلَّ ٱللَّهُ ٱلۡبَيۡعَ وَحَرَّمَ ٱلرِّبَوٰاْۚ فَمَن جَآءَهُۥ مَوۡعِظَةٞ مِّن رَّبِّهِۦ فَٱنتَهَىٰ فَلَهُۥ مَا سَلَفَ وَأَمۡرُهُۥٓ إِلَى ٱللَّهِۖ وَمَنۡ عَادَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿٢٧٥﴾
Abo abalya Ribba (emaali ey'okuwola okw’okwongeramu) ku lunaku lwokuzuukira tebagenda kuyimuka wabula nga bwayimuka oyo aba akubiddwa Sitane naagwa eddalu, ekyo nno lwakuba bagamba nti okusubula ne Ribba tebirina njawulo (anti byonna kuwaanyisiganya byamaguzi na kufuna magoba) wabula ekituufu kiri nti Katonda yasalawo nti okusuubula kuli Halaali, yo Ribba eri Haramu. Kale nno oyo anaatuukwako okubuulirira okuva eri Katonda naava kunkola eya Ribba ebyo byeyakola mukusooka tebimuvunaanwa, ensonga ze zisigadde wa Katonda we, naye oyo anaddayo kunkolagana eya Ribba, abo nno, be bantu b'omu muliro ba kugubeeramu obugenderevu.
Ali 'Imran 3:36فَلَمَّا وَضَعَتۡهَا قَالَتۡ رَبِّ إِنِّي وَضَعۡتُهَآ أُنثَىٰ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا وَضَعَتۡ وَلَيۡسَ ٱلذَّكَرُ كَٱلۡأُنثَىٰۖ وَإِنِّي سَمَّيۡتُهَا مَرۡيَمَ وَإِنِّيٓ أُعِيذُهَا بِكَ وَذُرِّيَّتَهَا مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ ٱلرَّجِيمِ ﴿٣٦﴾
(Maama wa Mariam) bweyazaala omwana oyo yagamba nti ayi mukama omulabirizi wange muzadde nga muwala, wabula Katonda ye yali asinga okutegeera kyeyali azadde, omusajja talinga mukazi era mazima nze mutuumye erinnya Mariam era mazima nze mukwasa ggwe ne zzadde lye omwesambise obubi bwa Sitane eyagobwa mu kusaasira kwo.
Ali 'Imran 3:155إِنَّ ٱلَّذِينَ تَوَلَّوۡاْ مِنكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡتَقَى ٱلۡجَمۡعَانِ إِنَّمَا ٱسۡتَزَلَّهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ بِبَعۡضِ مَا كَسَبُواْۖ وَلَقَدۡ عَفَا ٱللَّهُ عَنۡهُمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٌ حَلِيمٞ ﴿١٥٥﴾
Mazima abo abeekyusa mu mmwe olunaku enjuyi ebbiri lwezaasisinkana, mazima Sitane yeeyabaseereza olwebimu kw’ebyo byebaakola era mazima Katonda yabasonyiwa anti mazima ddala Katonda musonyiyi w’akisa.
Ali 'Imran 3:175إِنَّمَا ذَٰلِكُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ يُخَوِّفُ أَوۡلِيَآءَهُۥ فَلَا تَخَافُوهُمۡ وَخَافُونِ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿١٧٥﴾
Eyali ababuzaabuza obutagenda kulwana) mazima ddala oyo ye Sitane bulijjo abatiisa mikwano gye, kale nno temubatya wabula mutye nze bwe muba muli bakkiriza abannamaddala.
An-Nisa 4:38وَٱلَّذِينَ يُنفِقُونَ أَمۡوَٰلَهُمۡ رِئَآءَ ٱلنَّاسِ وَلَا يُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَلَا بِٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۗ وَمَن يَكُنِ ٱلشَّيۡطَٰنُ لَهُۥ قَرِينٗا فَسَآءَ قَرِينٗا ﴿٣٨﴾
(Era ebyo byebibonerezo) byabo abawaayo emmaali yaabwe ku lwa bantu okubalaba, nga tebakkiriza Katonda wadde olunaku lw’enkomerero. Omuntu yenna Sitane gwabera nga ye munne, aba afunye owomukwano omubi.
An-Nisa 4:60أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ يَزۡعُمُونَ أَنَّهُمۡ ءَامَنُواْ بِمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكَ وَمَآ أُنزِلَ مِن قَبۡلِكَ يُرِيدُونَ أَن يَتَحَاكَمُوٓاْ إِلَى ٱلطَّـٰغُوتِ وَقَدۡ أُمِرُوٓاْ أَن يَكۡفُرُواْ بِهِۦۖ وَيُرِيدُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَن يُضِلَّهُمۡ ضَلَٰلَۢا بَعِيدٗا ﴿٦٠﴾
Tolaba abo abagamba nti bakkiriza ebyassibwa gyoli, n’ebyassibwa oluberyeberyelwo, baagala okuba nga beramuza ebintu ebikyamu ebitali mu mateeka g’a Katonda, so nga baalagirwa okubiwakanya, era bulijjo Sitane ayagala ababuze olubula olusuffu.
An-Nisa 4:76ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ يُقَٰتِلُونَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يُقَٰتِلُونَ فِي سَبِيلِ ٱلطَّـٰغُوتِ فَقَٰتِلُوٓاْ أَوۡلِيَآءَ ٱلشَّيۡطَٰنِۖ إِنَّ كَيۡدَ ٱلشَّيۡطَٰنِ كَانَ ضَعِيفًا ﴿٧٦﴾
Abo abakkiriza, balwana nga bali mu kuweereza mu kkubo lya Katonda, bo abakafiiri balwana mu kuweereza mu kubo lyobubuze n'obwonoonefu, kale mulwanyise banne ba Sitane, anti bulijjo enkwe za Sitane nafu ddala.
An-Nisa 4:83وَإِذَا جَآءَهُمۡ أَمۡرٞ مِّنَ ٱلۡأَمۡنِ أَوِ ٱلۡخَوۡفِ أَذَاعُواْ بِهِۦۖ وَلَوۡ رَدُّوهُ إِلَى ٱلرَّسُولِ وَإِلَىٰٓ أُوْلِي ٱلۡأَمۡرِ مِنۡهُمۡ لَعَلِمَهُ ٱلَّذِينَ يَسۡتَنۢبِطُونَهُۥ مِنۡهُمۡۗ وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ وَرَحۡمَتُهُۥ لَٱتَّبَعۡتُمُ ٱلشَّيۡطَٰنَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿٨٣﴾
Bwebajjirwa e kigambo e kyemirembe oba e kyentiisa bakiraalaasa, so singa bakizza eri omubaka oba abo abakwatibwako ensonga mu bo, bandikitegedde abo abalina obusobozi bwokusengejja amakulu gaayo, singa tebyali birungi Katonda byabawa n’okusaasira kwe mwandigoberedde Sitane mpozzi abatono mu mmwe.
An-Nisa 4:116إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَغۡفِرُ أَن يُشۡرَكَ بِهِۦ وَيَغۡفِرُ مَا دُونَ ذَٰلِكَ لِمَن يَشَآءُۚ وَمَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَقَدۡ ضَلَّ ضَلَٰلَۢا بَعِيدًا ﴿١١٦﴾
Mazima Katonda tasonyiwa ku mugattako kintu, so nga asonyiwa ekitali ekyo eri oyo gwaba ayagadde, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu aba abuze olubula oluyitirivu.
An-Nisa 4:117إِن يَدۡعُونَ مِن دُونِهِۦٓ إِلَّآ إِنَٰثٗا وَإِن يَدۡعُونَ إِلَّا شَيۡطَٰنٗا مَّرِيدٗا ﴿١١٧﴾
Buli byebasaba ebitali ye baabituuma amannya ag’ekikazi, era ddala tebasaba (mu nkola yaabwe eyo) okugyako Sitane eyeewaggula.
An-Nisa 4:118لَّعَنَهُ ٱللَّهُۘ وَقَالَ لَأَتَّخِذَنَّ مِنۡ عِبَادِكَ نَصِيبٗا مَّفۡرُوضٗا ﴿١١٨﴾
Katonda yagikolimira era neegamba nti nja kutwala ekitundu ekiwera mu baddubo.
An-Nisa 4:119وَلَأُضِلَّنَّهُمۡ وَلَأُمَنِّيَنَّهُمۡ وَلَأٓمُرَنَّهُمۡ فَلَيُبَتِّكُنَّ ءَاذَانَ ٱلۡأَنۡعَٰمِ وَلَأٓمُرَنَّهُمۡ فَلَيُغَيِّرُنَّ خَلۡقَ ٱللَّهِۚ وَمَن يَتَّخِذِ ٱلشَّيۡطَٰنَ وَلِيّٗا مِّن دُونِ ٱللَّهِ فَقَدۡ خَسِرَ خُسۡرَانٗا مُّبِينٗا ﴿١١٩﴾
Njakubabuliza ddala, era nja kubawanga ebisuubizo ebyobulimba, era nja kubalagirira ddala bawummule amatu g’ebisolo ebirundibwa era nja kubalagirira nga ddala bakyuse entonda ya Katonda. N’omuntu afuula Sitane mukwanogwe naaleka Katonda mazima aba afaafaganiddwa olufaafaganirwa olwolwatu.
An-Nisa 4:120يَعِدُهُمۡ وَيُمَنِّيهِمۡۖ وَمَا يَعِدُهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ إِلَّا غُرُورًا ﴿١٢٠﴾
(Sitane) abalagaanyisa naabawa n’ebisuubizo ebyo bulimba, Sitane byonna byabalagaanyisa tebiri okugyako byabutaliimu.
An-Nisa 4:121أُوْلَـٰٓئِكَ مَأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُ وَلَا يَجِدُونَ عَنۡهَا مَحِيصٗا ﴿١٢١﴾
(Abagoberera Sitane) abo obuddo bwa bwe muliro Jahannama, era nga tebagenda kufuna buddukiro kuguwona.
Al-Ma'idah 5:90يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِنَّمَا ٱلۡخَمۡرُ وَٱلۡمَيۡسِرُ وَٱلۡأَنصَابُ وَٱلۡأَزۡلَٰمُ رِجۡسٞ مِّنۡ عَمَلِ ٱلشَّيۡطَٰنِ فَٱجۡتَنِبُوهُ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ﴿٩٠﴾
Abange mmwe abakkiriza mazima ddala omwenge ne zzaala, namasanamu n’okweraguza, n’obusaale bibi bya mu bikolwa bya Sitane, muteekwa okubyewala kibayambe okuba mu balituuka ku buwanguzi (ku lunaku lw’enkomerero).
Al-Ma'idah 5:91إِنَّمَا يُرِيدُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَن يُوقِعَ بَيۡنَكُمُ ٱلۡعَدَٰوَةَ وَٱلۡبَغۡضَآءَ فِي ٱلۡخَمۡرِ وَٱلۡمَيۡسِرِ وَيَصُدَّكُمۡ عَن ذِكۡرِ ٱللَّهِ وَعَنِ ٱلصَّلَوٰةِۖ فَهَلۡ أَنتُم مُّنتَهُونَ ﴿٩١﴾
Mazima ddala Sitane ayagala okussa wakati wa mmwe obulabe n’obukyayi olw’omwenge ne zzaala, era ebawugule ku kutendereza Katonda n’okusaala, abaffe e bikolwa e byo munaabireka.
Al-An'am 6:43فَلَوۡلَآ إِذۡ جَآءَهُم بَأۡسُنَا تَضَرَّعُواْ وَلَٰكِن قَسَتۡ قُلُوبُهُمۡ وَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿٤٣﴾
Kale nno singa e bizibu bwe byabajjira beetoowaliza (Katonda, kyandibayambye) naye e myoyo gyabwe gyeyongera kuwaganyala. Sitane naabawundira e byo bye baali bakola.
Al-An'am 6:68وَإِذَا رَأَيۡتَ ٱلَّذِينَ يَخُوضُونَ فِيٓ ءَايَٰتِنَا فَأَعۡرِضۡ عَنۡهُمۡ حَتَّىٰ يَخُوضُواْ فِي حَدِيثٍ غَيۡرِهِۦۚ وَإِمَّا يُنسِيَنَّكَ ٱلشَّيۡطَٰنُ فَلَا تَقۡعُدۡ بَعۡدَ ٱلذِّكۡرَىٰ مَعَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٦٨﴾
Era bwolabanga abo abakinaggukira mu bigambo byaffe, baviire, okutuusa lwe banaayingira mu mboozi e ndala, singa Sitane akwerabiza (n'obeerawo) wonna wojjukirira togenda mu maaso ng’otuula n’abantu abeeyisa obubi.
Al-An'am 6:71قُلۡ أَنَدۡعُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَنفَعُنَا وَلَا يَضُرُّنَا وَنُرَدُّ عَلَىٰٓ أَعۡقَابِنَا بَعۡدَ إِذۡ هَدَىٰنَا ٱللَّهُ كَٱلَّذِي ٱسۡتَهۡوَتۡهُ ٱلشَّيَٰطِينُ فِي ٱلۡأَرۡضِ حَيۡرَانَ لَهُۥٓ أَصۡحَٰبٞ يَدۡعُونَهُۥٓ إِلَى ٱلۡهُدَى ٱئۡتِنَاۗ قُلۡ إِنَّ هُدَى ٱللَّهِ هُوَ ٱلۡهُدَىٰۖ وَأُمِرۡنَا لِنُسۡلِمَ لِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٧١﴾
Gamba nti, tuleke Katonda tusinze e byo e bitatugasa! era e bitayinza kukutusaako kabi! tutambuzibwe e kyenyumanyuma oluvanyuma lwa Katonda okutulungamya! tufaanane nga oyo Sitane gwezibuza mu nsi, n’asoberwa naaba mu masangazira so nga alina mikwano gye abamuyita okujja eri obulungamu, (nga bagamba nti) jangu eno (ekyo bwekiba nga tekisobola kwemalirira) gamba nti mazima okulungamya kwa Katonda, bwe bulungamu bwokka, era twalagirwa okwewa ewa Mukama omulabirizi w’ebitonde.
Al-An'am 6:100وَجَعَلُواْ لِلَّهِ شُرَكَآءَ ٱلۡجِنَّ وَخَلَقَهُمۡۖ وَخَرَقُواْ لَهُۥ بَنِينَ وَبَنَٰتِۭ بِغَيۡرِ عِلۡمٖۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يَصِفُونَ ﴿١٠٠﴾
Bateeka ku Katonda ababeezi abava mu Majinni so nga ye yabatonda, wabula ate nebamupaatiikako abaana ab’obulenzi n’abobuwala ekitalina wekiva, Katonda asukkulumye era yeesambye ku ebyo bye bamutemerera.
Al-An'am 6:112وَكَذَٰلِكَ جَعَلۡنَا لِكُلِّ نَبِيٍّ عَدُوّٗا شَيَٰطِينَ ٱلۡإِنسِ وَٱلۡجِنِّ يُوحِي بَعۡضُهُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٖ زُخۡرُفَ ٱلۡقَوۡلِ غُرُورٗاۚ وَلَوۡ شَآءَ رَبُّكَ مَا فَعَلُوهُۖ فَذَرۡهُمۡ وَمَا يَفۡتَرُونَ ﴿١١٢﴾
(Nga bwetukugezesa ggwe Nabbi Muhammad n’oba n’abalabe mu bakaafiiri) ,bwe kityo buli Nabbi twamuteekako omulabe nga ali mu bantu ne mu majinni, abamu batumira bannaabwe e bigambo e biwoomu, naye nga bibi olwe kigendererwa kyo kugayaaza, naye singa Mukama omulabiriziwo aba ayagadde tebandikikoze kale nno baleke n'ebyo bye bagunjawo.
Al-An'am 6:113وَلِتَصۡغَىٰٓ إِلَيۡهِ أَفۡـِٔدَةُ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ وَلِيَرۡضَوۡهُ وَلِيَقۡتَرِفُواْ مَا هُم مُّقۡتَرِفُونَ ﴿١١٣﴾
Era e mitima gy'abo abatakkiriza lunaku lw'enkomerero gibe nga gibiwuliriza, era babisiime era bagende mu maaso n’okukola e byo bye bakola.
Al-An'am 6:121وَلَا تَأۡكُلُواْ مِمَّا لَمۡ يُذۡكَرِ ٱسۡمُ ٱللَّهِ عَلَيۡهِ وَإِنَّهُۥ لَفِسۡقٞۗ وَإِنَّ ٱلشَّيَٰطِينَ لَيُوحُونَ إِلَىٰٓ أَوۡلِيَآئِهِمۡ لِيُجَٰدِلُوكُمۡۖ وَإِنۡ أَطَعۡتُمُوهُمۡ إِنَّكُمۡ لَمُشۡرِكُونَ ﴿١٢١﴾
Temulyanga e byo e bitayogereddwaako linnya lya Katonda mazima ddala okukola e kyo bwonoonyi bwennyini, era ddala Sitane ziwa mikwano gyaazo e bigambo babawakanye nabyo, singa mubagondera, nammwe olwo muba mu bagatta ku Katonda e bintu e birala.
Al-An'am 6:128وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعٗا يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ قَدِ ٱسۡتَكۡثَرۡتُم مِّنَ ٱلۡإِنسِۖ وَقَالَ أَوۡلِيَآؤُهُم مِّنَ ٱلۡإِنسِ رَبَّنَا ٱسۡتَمۡتَعَ بَعۡضُنَا بِبَعۡضٖ وَبَلَغۡنَآ أَجَلَنَا ٱلَّذِيٓ أَجَّلۡتَ لَنَاۚ قَالَ ٱلنَّارُ مَثۡوَىٰكُمۡ خَٰلِدِينَ فِيهَآ إِلَّا مَا شَآءَ ٱللَّهُۚ إِنَّ رَبَّكَ حَكِيمٌ عَلِيمٞ ﴿١٢٨﴾
(Ggwe Nabbi Muhammad) lowooza olunaku Katonda lwalikungwanya (abakaafiiri) bonna, (abagambe nti) abange mmwe amajinni mwabuza abantu bangi nnyo, mikwano gya majinni mu bantu ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe fenna twesanyusizanga wamu netutuuka ku kiseera kyaffe kye watugerera okuba ku nsi, Katonda n'abagamba nti omuliro bwe buddo bwa mmwe, muli baakugubeeramu bugenderevu okugyako oyo Katonda gwaliba yagadde, anti mazima Mukama omulabiriziwo mugoba nsonga muyitirivu wa kumanya.
Al-An'am 6:129وَكَذَٰلِكَ نُوَلِّي بَعۡضَ ٱلظَّـٰلِمِينَ بَعۡضَۢا بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿١٢٩﴾
Bwe tutyo bulijjo abeeyisa obubi tubafuula mikwano gy’a ba nnaabwe bwe bafaanana olw'ebyo bye bakola.
Al-An'am 6:130يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ رُسُلٞ مِّنكُمۡ يَقُصُّونَ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِي وَيُنذِرُونَكُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَاۚ قَالُواْ شَهِدۡنَا عَلَىٰٓ أَنفُسِنَاۖ وَغَرَّتۡهُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا وَشَهِدُواْ عَلَىٰٓ أَنفُسِهِمۡ أَنَّهُمۡ كَانُواْ كَٰفِرِينَ ﴿١٣٠﴾
Abange mmwe amajinni n'abantu ababaka tebaabajjira nga bava mu mmwe nga babategeeza e bigambo byange era ne babatiisa, okutuuka ku lunaku lwa mmwe luno, baligamba nti twewaako obujulizi (nti byonna baabitugamba, naye e kyabaleetera okubula) obulamu bwe nsi bwabagayaaza, olwo nno nebaba nga beekakasizzaako ddala nti baali bakaafiiri.
Al-An'am 6:142وَمِنَ ٱلۡأَنۡعَٰمِ حَمُولَةٗ وَفَرۡشٗاۚ كُلُواْ مِمَّا رَزَقَكُمُ ٱللَّهُ وَلَا تَتَّبِعُواْ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٞ ﴿١٤٢﴾
Era Katonda yateekawo e bisolo e byetikka n’ebirala nga biggyibwako eby'okwaliira, mulye mu ebyo Katonda bye yabagabira temugobereranga obuwufu bwa Sitane, anti mazima yye gye muli mulabe wa lulango.
Al-A'raf 7:11وَلَقَدۡ خَلَقۡنَٰكُمۡ ثُمَّ صَوَّرۡنَٰكُمۡ ثُمَّ قُلۡنَا لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ لَمۡ يَكُن مِّنَ ٱلسَّـٰجِدِينَ ﴿١١﴾
Era mazima twabatonda mmwe, oluvanyuma twabawa e bifaananyi bya mmwe oluvanyuma ne tugamba ba malayika muvunnamire Adam ne bavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) ataali mu baavunnama.
Al-A'raf 7:12قَالَ مَا مَنَعَكَ أَلَّا تَسۡجُدَ إِذۡ أَمَرۡتُكَۖ قَالَ أَنَا۠ خَيۡرٞ مِّنۡهُ خَلَقۡتَنِي مِن نَّارٖ وَخَلَقۡتَهُۥ مِن طِينٖ ﴿١٢﴾
Katonda naagamba nti: kiki ekikugaanye okuvunnama bwe nkulagidde, (Sitane) naagamba nti nze mulungi okusinga yye, wantonda mu muliro, ate yye n'omutonda mu ttaka.
Al-A'raf 7:13قَالَ فَٱهۡبِطۡ مِنۡهَا فَمَا يَكُونُ لَكَ أَن تَتَكَبَّرَ فِيهَا فَٱخۡرُجۡ إِنَّكَ مِنَ ٱلصَّـٰغِرِينَ ﴿١٣﴾
Katonda naagamba nti gifulume (e jjana), tolina lukusa kuwaganyaliramu, kale fuluma mazima ggwe oli mu bakkakkanyiziddwa.
Al-A'raf 7:14قَالَ أَنظِرۡنِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ ﴿١٤﴾
(Sitane) naagamba nti nindiriza okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.
Al-A'raf 7:15قَالَ إِنَّكَ مِنَ ٱلۡمُنظَرِينَ ﴿١٥﴾
(Katonda), naagamba nti, mazima ggwe okkiriziddwa okubeera mu balindirizibwa.
Al-A'raf 7:16قَالَ فَبِمَآ أَغۡوَيۡتَنِي لَأَقۡعُدَنَّ لَهُمۡ صِرَٰطَكَ ٱلۡمُسۡتَقِيمَ ﴿١٦﴾
(Sitane) naagamba nti, nga bwombuzizza nja kubateeganga ku kkubo lyo e ggolokofu.
Al-A'raf 7:17ثُمَّ لَأٓتِيَنَّهُم مِّنۢ بَيۡنِ أَيۡدِيهِمۡ وَمِنۡ خَلۡفِهِمۡ وَعَنۡ أَيۡمَٰنِهِمۡ وَعَن شَمَآئِلِهِمۡۖ وَلَا تَجِدُ أَكۡثَرَهُمۡ شَٰكِرِينَ ﴿١٧﴾
Olwo nno ndyoke mbalumbire ddala nga mbava mu maaso ne mabega waabwe ne ku ddyo waabwe ne kkono, era togenda kusanga abasinga obungi mu bo nga beebaza.
Al-A'raf 7:18قَالَ ٱخۡرُجۡ مِنۡهَا مَذۡءُومٗا مَّدۡحُورٗاۖ لَّمَن تَبِعَكَ مِنۡهُمۡ لَأَمۡلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿١٨﴾
(Katonda) naagamba nti gifulume ng’ovumirirwa ng’ogobeddwa, oyo yenna alikugoberera mu bo ggwe nabo mwenna ngenda kubajjuza mu muliro.
Al-A'raf 7:19وَيَـٰٓـَٔادَمُ ٱسۡكُنۡ أَنتَ وَزَوۡجُكَ ٱلۡجَنَّةَ فَكُلَا مِنۡ حَيۡثُ شِئۡتُمَا وَلَا تَقۡرَبَا هَٰذِهِ ٱلشَّجَرَةَ فَتَكُونَا مِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿١٩﴾
Era netugamba Adam nti ggwe ne Mukyalawo mubeere mu jjana mwembi mulye wonna wemwagala, naye temusemberera omuti guno ne kibatuusa mwembiriri okubalibwa mu beeyisa obubi.
Al-A'raf 7:20فَوَسۡوَسَ لَهُمَا ٱلشَّيۡطَٰنُ لِيُبۡدِيَ لَهُمَا مَا وُۥرِيَ عَنۡهُمَا مِن سَوۡءَٰتِهِمَا وَقَالَ مَا نَهَىٰكُمَا رَبُّكُمَا عَنۡ هَٰذِهِ ٱلشَّجَرَةِ إِلَّآ أَن تَكُونَا مَلَكَيۡنِ أَوۡ تَكُونَا مِنَ ٱلۡخَٰلِدِينَ ﴿٢٠﴾
Sitane naababuzaabuza neeba e nsonga gye yayitamu okubalaga obwereere bwabwe obwo obwali butabamanyisiddwa. (Sitane) naagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe mwembiriri teyabagaana muti guno okugyako lwakuba nti mwembiriri mwandibadde ba Malayika oba mwembiriri okubeera abalamu olubeerera.
Al-A'raf 7:21وَقَاسَمَهُمَآ إِنِّي لَكُمَا لَمِنَ ٱلنَّـٰصِحِينَ ﴿٢١﴾
(Sitane) naabalayirira nti mazima ddala nze era ku mmwe mwembiriri ndi omu kubawi ba magezi.
Al-A'raf 7:22فَدَلَّىٰهُمَا بِغُرُورٖۚ فَلَمَّا ذَاقَا ٱلشَّجَرَةَ بَدَتۡ لَهُمَا سَوۡءَٰتُهُمَا وَطَفِقَا يَخۡصِفَانِ عَلَيۡهِمَا مِن وَرَقِ ٱلۡجَنَّةِۖ وَنَادَىٰهُمَا رَبُّهُمَآ أَلَمۡ أَنۡهَكُمَا عَن تِلۡكُمَا ٱلشَّجَرَةِ وَأَقُل لَّكُمَآ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ لَكُمَا عَدُوّٞ مُّبِينٞ ﴿٢٢﴾
Naababuza bombi ng’ayita mu kubakwenyakwenya, bwe baamala okukomba ku buwoomu bw’omuti, obwereere bwabwe bwa beeyoleka, olwo nno ne batandika okunoga nga bwe beebikkako e bikoola byo mu jjana Mukama omulabirizi waabwe naabakoowoola (mu ddoboozi eryomwanguka) nti, ssaabagaana mwembiriri omuti ogwo era mwembiriri nembagamba nti mazima ddala Sitane mulabe ow'olwatu ku mmwe mwembiriri.