quranm◉

Emitwe · lg

30 Aya · Emitwe · lg

Al-Baqarah 2:260

وَإِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّ أَرِنِي كَيۡفَ تُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰۖ قَالَ أَوَلَمۡ تُؤۡمِنۖ قَالَ بَلَىٰ وَلَٰكِن لِّيَطۡمَئِنَّ قَلۡبِيۖ قَالَ فَخُذۡ أَرۡبَعَةٗ مِّنَ ٱلطَّيۡرِ فَصُرۡهُنَّ إِلَيۡكَ ثُمَّ ٱجۡعَلۡ عَلَىٰ كُلِّ جَبَلٖ مِّنۡهُنَّ جُزۡءٗا ثُمَّ ٱدۡعُهُنَّ يَأۡتِينَكَ سَعۡيٗاۚ وَٱعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ حَكِيمٞ ﴿٢٦٠﴾

Jjukira ekiseera Ibrahim weyagambira nti, Ayi Katonda wange ndaga engeri gyolizuukizaamu abafu, Katonda naagamba nti tokkirizanga! Ibrahim naagamba nti nakkiriza naye ekyo nkisaba lwakwongera mutima gwange kumatira, Katonda naamugamba nti kwata ebinyonyi bina obitwale obisale, obitemeteme bwomala ku buli lusozi oteekeko ekifi kimu, oluvanyuma obikoowoole bijja kuggya gyoli mubwangu, bulijjo kiteekwa okumanyibwa nti mazima Katonda nantakubwa ku mukono ate mugoba nsonga.

Al-An'am 6:38

وَمَا مِن دَآبَّةٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا طَـٰٓئِرٖ يَطِيرُ بِجَنَاحَيۡهِ إِلَّآ أُمَمٌ أَمۡثَالُكُمۚ مَّا فَرَّطۡنَا فِي ٱلۡكِتَٰبِ مِن شَيۡءٖۚ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ يُحۡشَرُونَ ﴿٣٨﴾

Tewali kintu kyonna kitambula ku nsi nga kiramu ka kibe kinyonyi e kibuuka n'ebiwawaatiro bya kyo okugyako bulijjo bikolera mu bibinja nga mmwe, tewali kintu kyonna kye twaleka okugyako nga twakiwandiika mu Lauhul Mahfuudhu (Eggwandisizo lya Katonda) oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa bwe gye bagenda okunganyizibwa.

Yusuf 12:36

وَدَخَلَ مَعَهُ ٱلسِّجۡنَ فَتَيَانِۖ قَالَ أَحَدُهُمَآ إِنِّيٓ أَرَىٰنِيٓ أَعۡصِرُ خَمۡرٗاۖ وَقَالَ ٱلۡأٓخَرُ إِنِّيٓ أَرَىٰنِيٓ أَحۡمِلُ فَوۡقَ رَأۡسِي خُبۡزٗا تَأۡكُلُ ٱلطَّيۡرُ مِنۡهُۖ نَبِّئۡنَا بِتَأۡوِيلِهِۦٓۖ إِنَّا نَرَىٰكَ مِنَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿٣٦﴾

Abavubuka babiri, baayingira naye ekkomera, (nga bali mu kkomera buli omu yalaba endooto) omu ku bo naagamba nti mazima nze naloose nga nsogola omubisi, omulala naagamba nti naloose nga neetisse ku mutwe gwange omugaati ng'ebinyonyi bigulyako, tubuulire bivvuunulwa bitya? Mazima ffe tukulaba nga oli mu balongoosa.

Yusuf 12:41

يَٰصَٰحِبَيِ ٱلسِّجۡنِ أَمَّآ أَحَدُكُمَا فَيَسۡقِي رَبَّهُۥ خَمۡرٗاۖ وَأَمَّا ٱلۡأٓخَرُ فَيُصۡلَبُ فَتَأۡكُلُ ٱلطَّيۡرُ مِن رَّأۡسِهِۦۚ قُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ ٱلَّذِي فِيهِ تَسۡتَفۡتِيَانِ ﴿٤١﴾

Abange mmwe abasibe ababiri, yye, omu ku mmwe ajja kubeera mu senero ewa Mukama we, ate yye, omulala ajja kukomererwa ku musaalaba, ebinyonyi bimulye ku mutwe, ekigambo kiwedde ekyo kye mubadde mubuuza.

An-Nahl 16:79

أَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَى ٱلطَّيۡرِ مُسَخَّرَٰتٖ فِي جَوِّ ٱلسَّمَآءِ مَا يُمۡسِكُهُنَّ إِلَّا ٱللَّهُۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿٧٩﴾

Abaffe tebatunuulira ebinyonyi nga byagondezebwa (okubuuka) waggulu mubbanga tewali abiwanirira okugyako Katonda. Mazima mwekyo mulimu obubonero eri abantu abakkiriza.

Al-Isra 17:13

وَكُلَّ إِنسَٰنٍ أَلۡزَمۡنَٰهُ طَـٰٓئِرَهُۥ فِي عُنُقِهِۦۖ وَنُخۡرِجُ لَهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ كِتَٰبٗا يَلۡقَىٰهُ مَنشُورًا ﴿١٣﴾

. Era buli muntu twamukakasaako emirimugye mu nsingoye, era ku lunaku lw'enkomerero tugenda kumuggyirayo ekitabo kyalisanga nga kibikkule.

Al-Anbya 21:79

فَفَهَّمۡنَٰهَا سُلَيۡمَٰنَۚ وَكُلًّا ءَاتَيۡنَا حُكۡمٗا وَعِلۡمٗاۚ وَسَخَّرۡنَا مَعَ دَاوُۥدَ ٱلۡجِبَالَ يُسَبِّحۡنَ وَٱلطَّيۡرَۚ وَكُنَّا فَٰعِلِينَ ﴿٧٩﴾

. (Omusango ogwo) twawa Sulaiman okutegeera obulungi, naye buli omu twamuwa okugoba ensonga n’okumanya, era twagondeza Dauda ensozi nga zitendereza, n’ebinyonyi bwe bityo, (buli lwe yatenderezanga nga nabyo bitendereza). Era ebyo twali tusobolera ddala okubikola.

Al-Hajj 22:31

حُنَفَآءَ لِلَّهِ غَيۡرَ مُشۡرِكِينَ بِهِۦۚ وَمَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَكَأَنَّمَا خَرَّ مِنَ ٱلسَّمَآءِ فَتَخۡطَفُهُ ٱلطَّيۡرُ أَوۡ تَهۡوِي بِهِ ٱلرِّيحُ فِي مَكَانٖ سَحِيقٖ ﴿٣١﴾

. Mulina kubeera abeewa Katonda yekka nga temumugattako kintu kirala kyonna, oyo yenna agatta ku Katonda ekintu ekirala aba nga awanuse waggulu ebinyonyi nebimusikula oba empewo neemusuula mu kifo eky'ewala ennyo.

An-Nur 24:41

أَلَمۡ تَرَ أَنَّ ٱللَّهَ يُسَبِّحُ لَهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَٱلطَّيۡرُ صَـٰٓفَّـٰتٖۖ كُلّٞ قَدۡ عَلِمَ صَلَاتَهُۥ وَتَسۡبِيحَهُۥۗ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِمَا يَفۡعَلُونَ ﴿٤١﴾

. Abaffe tolaba nti mazima Katonda bimutendereza byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi n'ebinyonyi nga byanjuluzza ebiwawaatiro (mu kumutendereza) buli kimu (Katonda) amanyi okusinza kwa kyo n'okutendereza kwa kyo.Anti Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.

An-Naml 27:16

وَوَرِثَ سُلَيۡمَٰنُ دَاوُۥدَۖ وَقَالَ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ عُلِّمۡنَا مَنطِقَ ٱلطَّيۡرِ وَأُوتِينَا مِن كُلِّ شَيۡءٍۖ إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ ٱلۡفَضۡلُ ٱلۡمُبِينُ ﴿١٦﴾

. Era Sulaiman yasikira Dauda naagamba nti abange mmwe abantu tuyigiriziddwa olulimi lw'ebinyonyi era tuweereddwa ku buli kintu mazima kino bwe bulungi obweyolefu.

An-Naml 27:17

وَحُشِرَ لِسُلَيۡمَٰنَ جُنُودُهُۥ مِنَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ وَٱلطَّيۡرِ فَهُمۡ يُوزَعُونَ ﴿١٧﴾

. Sulaiman naakungirwa eggyerye nga liva mu Majinni n'abantu n'ebinyonyi nga nabo batambulira ku nteekateeka eyabaweebwa.

An-Naml 27:20

وَتَفَقَّدَ ٱلطَّيۡرَ فَقَالَ مَالِيَ لَآ أَرَى ٱلۡهُدۡهُدَ أَمۡ كَانَ مِنَ ٱلۡغَآئِبِينَ ﴿٢٠﴾

. Era Sulaiman yatunula mu binyonyi naagamba nti lwaki e fulungu siriraba oba liri mu bataliiwo.

An-Naml 27:21

لَأُعَذِّبَنَّهُۥ عَذَابٗا شَدِيدًا أَوۡ لَأَاْذۡبَحَنَّهُۥٓ أَوۡ لَيَأۡتِيَنِّي بِسُلۡطَٰنٖ مُّبِينٖ ﴿٢١﴾

. Nja ku libonereza e bibonerezo ebikakali si nakindi nja ku lisala oba ssi ekyo lindeetere ensonga ennambulukufu.

Saba 34:10

۞وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ مِنَّا فَضۡلٗاۖ يَٰجِبَالُ أَوِّبِي مَعَهُۥ وَٱلطَّيۡرَۖ وَأَلَنَّا لَهُ ٱلۡحَدِيدَ ﴿١٠﴾

. Mazima twawa Dauda ebirungi okuva gye tuli, (nga bwe twagamba nti) abange mmwe nsozi mutendereze wamu naye nammwe ebinyonyi mukole bwe mutyo, era twamugondeza ekyuma.

Sad 38:16

وَقَالُواْ رَبَّنَا عَجِّل لَّنَا قِطَّنَا قَبۡلَ يَوۡمِ ٱلۡحِسَابِ ﴿١٦﴾

Era (abatakkiriza) bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe twanguyirize omugabo gwaffe (ogw'ebibonerezo) ng'olunaku lw'okubalibwa terunnatuuka.

Sad 38:17

ٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَٱذۡكُرۡ عَبۡدَنَا دَاوُۥدَ ذَا ٱلۡأَيۡدِۖ إِنَّهُۥٓ أَوَّابٌ ﴿١٧﴾

(Katonda agamba Nabbi Muhammad nti:) gumikiiriza ku bye boogera ojjukire omuddu waffe Dauda eyalina amaanyi amasuffu (awamu n'ekyo) yali adda nnyo eri Katonda.

Sad 38:18

إِنَّا سَخَّرۡنَا ٱلۡجِبَالَ مَعَهُۥ يُسَبِّحۡنَ بِٱلۡعَشِيِّ وَٱلۡإِشۡرَاقِ ﴿١٨﴾

Mazima ffe twagonza ensozi neziba nga zitendereza awamu naye olweggulo n’obudde nga busaasaana.

Sad 38:19

وَٱلطَّيۡرَ مَحۡشُورَةٗۖ كُلّٞ لَّهُۥٓ أَوَّابٞ ﴿١٩﴾

Era twagonza n’ebinyonyi nga biri mu bibinja (byabyo) buli kimu ku byo nga kigondera Dauda (nebitendereza nga bwatendereza).

Sad 38:20

وَشَدَدۡنَا مُلۡكَهُۥ وَءَاتَيۡنَٰهُ ٱلۡحِكۡمَةَ وَفَصۡلَ ٱلۡخِطَابِ ﴿٢٠﴾

Era twanyweza obufuzibwe era netumuwa okumanya ensonga n’okusalawo ekituufu ku bigambo ebiba byogeddwa.

Al-Mulk 67:19

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَى ٱلطَّيۡرِ فَوۡقَهُمۡ صَـٰٓفَّـٰتٖ وَيَقۡبِضۡنَۚ مَا يُمۡسِكُهُنَّ إِلَّا ٱلرَّحۡمَٰنُۚ إِنَّهُۥ بِكُلِّ شَيۡءِۭ بَصِيرٌ ﴿١٩﴾

Abaffe tebalaba ebinyonyi ebibuukira waggulu wabwe nga byanjuluza ebiwawaatiro ate nga n'oluusi biwumbako, tewali kibikuumira mu bbanga okugyako Katonda omusaasizi, mazima ye alaba buli kintu.

Al-Fil 105:1

أَلَمۡ تَرَ كَيۡفَ فَعَلَ رَبُّكَ بِأَصۡحَٰبِ ٱلۡفِيلِ ﴿١﴾

Tewamanya Katonda kyeyakola eggye ly’enjovu?

Al-Fil 105:2

أَلَمۡ يَجۡعَلۡ كَيۡدَهُمۡ فِي تَضۡلِيلٖ ﴿٢﴾

Enkwe zaabwe tezaagwa butaka?

Al-Fil 105:3

وَأَرۡسَلَ عَلَيۡهِمۡ طَيۡرًا أَبَابِيلَ ﴿٣﴾

N'abasindikira e binnyonyi nga bijjira mu bibinja.

Al-Fil 105:4

تَرۡمِيهِم بِحِجَارَةٖ مِّن سِجِّيلٖ ﴿٤﴾

Nga bibakanyugira amayinja amookye.

Al-Fil 105:5

فَجَعَلَهُمۡ كَعَصۡفٖ مَّأۡكُولِۭ ﴿٥﴾

Nebafuuka nga omuddo ogagayiddwa ensolo ne gufuluma nga gufuuse obusa.

Al-Anfal 8:32

وَإِذۡ قَالُواْ ٱللَّهُمَّ إِن كَانَ هَٰذَا هُوَ ٱلۡحَقَّ مِنۡ عِندِكَ فَأَمۡطِرۡ عَلَيۡنَا حِجَارَةٗ مِّنَ ٱلسَّمَآءِ أَوِ ٱئۡتِنَا بِعَذَابٍ أَلِيمٖ ﴿٣٢﴾

Era jjukira (ggwe Nabbi Muhammad abatakkiriza) bwe baagamba nti, ayi Mukama Katonda, gano (ebigambo by’a Muhammad )bwe biba nga g’emazima agavudde gyoli, tubonereze nenkuba nga y’amayinja okuva waggulu, oba tuleetere ebibonerezo e biruma ennyo.

Ar-Ra'd 13:15

وَلِلَّهِۤ يَسۡجُدُۤ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ طَوۡعٗا وَكَرۡهٗا وَظِلَٰلُهُم بِٱلۡغُدُوِّ وَٱلۡأٓصَالِ۩ ﴿١٥﴾

Ebiri mu ggulu omusanvu ne mu nsi bivunnamira Katonda mu kwagala oba mu kukakibwa nga n'ebisikirize bya byo ku makya n'olweggulo (bikola bityo).

Al-Isra 17:44

تُسَبِّحُ لَهُ ٱلسَّمَٰوَٰتُ ٱلسَّبۡعُ وَٱلۡأَرۡضُ وَمَن فِيهِنَّۚ وَإِن مِّن شَيۡءٍ إِلَّا يُسَبِّحُ بِحَمۡدِهِۦ وَلَٰكِن لَّا تَفۡقَهُونَ تَسۡبِيحَهُمۡۚ إِنَّهُۥ كَانَ حَلِيمًا غَفُورٗا ﴿٤٤﴾

. Ku lulwe eggulu omusanvu n'ensi n'ebirimu byonna bimutendereza era tewali kintu kyonna wabula nga kitendereza ebitendobye naye temutegeera ngeri ya kutendereza kwabyo, mazima yye bulijjo alumirwa musonyiyi.

An-Naml 27:87

وَيَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِ فَفَزِعَ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا مَن شَآءَ ٱللَّهُۚ وَكُلٌّ أَتَوۡهُ دَٰخِرِينَ ﴿٨٧﴾

. Era (babuulire) olunaku engombe lwe lifuuyibwa, alitya oyo yenna ali mu ggulu omusanvu n'oyo ali mu nsi okugyako oyo Katonda gwaliba ayagadde, na bonna bagenda kujja nga banyoomwa.

Ash-Shuraa 42:5

تَكَادُ ٱلسَّمَٰوَٰتُ يَتَفَطَّرۡنَ مِن فَوۡقِهِنَّۚ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يُسَبِّحُونَ بِحَمۡدِ رَبِّهِمۡ وَيَسۡتَغۡفِرُونَ لِمَن فِي ٱلۡأَرۡضِۗ أَلَآ إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ ﴿٥﴾

Eggulu omusanvu kumpi kweyuzaamu okutandikira waggulu waago (ku lwo kugulumiza Katonda) ne ba Malayika batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era basabira abali mu nsi ekisonyiwo, abange mazima Katonda yye ye musonyiyi ennyo omusaasizi.

Emitwe