وَمَآ أَصَٰبَكُم مِّن مُّصِيبَةٖ فَبِمَا كَسَبَتۡ أَيۡدِيكُمۡ وَيَعۡفُواْ عَن كَثِيرٖ ﴿٣٠﴾
Obuzibu bwonna obubatuukako kiba lwa nsonga yeebyo emikono gya mmwe byegiba gikoze ate nga alekera bingi.
60 Aya · Emitwe · lg
وَمَآ أَصَٰبَكُم مِّن مُّصِيبَةٖ فَبِمَا كَسَبَتۡ أَيۡدِيكُمۡ وَيَعۡفُواْ عَن كَثِيرٖ ﴿٣٠﴾
Obuzibu bwonna obubatuukako kiba lwa nsonga yeebyo emikono gya mmwe byegiba gikoze ate nga alekera bingi.
فَإِنۡ أَعۡرَضُواْ فَمَآ أَرۡسَلۡنَٰكَ عَلَيۡهِمۡ حَفِيظًاۖ إِنۡ عَلَيۡكَ إِلَّا ٱلۡبَلَٰغُۗ وَإِنَّآ إِذَآ أَذَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِنَّا رَحۡمَةٗ فَرِحَ بِهَاۖ وَإِن تُصِبۡهُمۡ سَيِّئَةُۢ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيهِمۡ فَإِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ كَفُورٞ ﴿٤٨﴾
Bwebaba bagaanye tetukutumanga kuba kalondoozi ku bo, tovunanyizibwa okugyako okutuusa (obubaka). Era mazima ffe bwetukombesa omuntu ku kusaasira okuva gyetuli ku musanyusa, naye bwe batuukwako obuzibu olwebyo emikono gyabwe byegiba gikoze (ng’olwo bakyusa enjogera) anti bulijjo mazima omuntu tasiima.
مَآ أَصَابَ مِن مُّصِيبَةٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِيٓ أَنفُسِكُمۡ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مِّن قَبۡلِ أَن نَّبۡرَأَهَآۚ إِنَّ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٞ ﴿٢٢﴾
Tewali kabi kabaawo mu nsi, wadde okutuuka ku mmwe okugyako nga kaali mu kitabo nga tetunnaba ku katuusaawo, ddala ekyo kyangu nnyo ku Katonda.
لِّكَيۡلَا تَأۡسَوۡاْ عَلَىٰ مَا فَاتَكُمۡ وَلَا تَفۡرَحُواْ بِمَآ ءَاتَىٰكُمۡۗ وَٱللَّهُ لَا يُحِبُّ كُلَّ مُخۡتَالٖ فَخُورٍ ﴿٢٣﴾
Muleme kukubandeka mwoyo kwekyo ekiba kibasubye, era muleme kusanyuukirira olwekyo kyaba abawadde, Katonda bulijjo tayagala mwerazi omwewulize.
مَآ أَصَابَ مِن مُّصِيبَةٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۗ وَمَن يُؤۡمِنۢ بِٱللَّهِ يَهۡدِ قَلۡبَهُۥۚ وَٱللَّهُ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿١١﴾
Tewali buzibu bwonna butuuka ku muntu okugyako nga Katonda akkirizza, oyo yenna akkiriza Katonda, Katonda alungamya omutimagwe. Mazima bulijjo Katonda mumanyi nnyo wa buli kintu.
يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ قَدۡ جَآءَتۡكُم مَّوۡعِظَةٞ مِّن رَّبِّكُمۡ وَشِفَآءٞ لِّمَا فِي ٱلصُّدُورِ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٥٧﴾
Abange mmwe abantu kubajjidde okubuulirira okuvudde eri Mukama omulabirizi wa mmwe era nga kya kuvumula eri ebyo byonna ebiri mu bifuba, era nga bulungamu era nga kusaasira eri abakkiriza.
ثُمَّ كُلِي مِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ فَٱسۡلُكِي سُبُلَ رَبِّكِ ذُلُلٗاۚ يَخۡرُجُ مِنۢ بُطُونِهَا شَرَابٞ مُّخۡتَلِفٌ أَلۡوَٰنُهُۥ فِيهِ شِفَآءٞ لِّلنَّاسِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ ﴿٦٩﴾
Olwo nno (wanjuki), lya ku buli kibala, nga bwogoberera enkola ya Mukama omulabiriziwo gye yasalawo ogoberere, (enjuki bwe zikola zityo) mu mbuto zaazo muvaamu ekyokunywa eky'amabala agenjawulo nga mulimu okuwonya abantu, mazima mu ekyo mulimu akabonereo eri abantu abafumiititiza.
وَنُنَزِّلُ مِنَ ٱلۡقُرۡءَانِ مَا هُوَ شِفَآءٞ وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ وَلَا يَزِيدُ ٱلظَّـٰلِمِينَ إِلَّا خَسَارٗا ﴿٨٢﴾
. Era tussa mu Kur’ani ebyo ebijja nga kya kuwonya era nga kya kusaasira eri abakkiriza. Wabula abeeyisa obubi tebongera okugyako okufaafaaganirwa.
وَإِذَا مَرِضۡتُ فَهُوَ يَشۡفِينِ ﴿٨٠﴾
. Era bwe ndwala yye y'amponya.
وَلَوۡ جَعَلۡنَٰهُ قُرۡءَانًا أَعۡجَمِيّٗا لَّقَالُواْ لَوۡلَا فُصِّلَتۡ ءَايَٰتُهُۥٓۖ ءَا۬عۡجَمِيّٞ وَعَرَبِيّٞۗ قُلۡ هُوَ لِلَّذِينَ ءَامَنُواْ هُدٗى وَشِفَآءٞۚ وَٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ فِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٞ وَهُوَ عَلَيۡهِمۡ عَمًىۚ أُوْلَـٰٓئِكَ يُنَادَوۡنَ مِن مَّكَانِۭ بَعِيدٖ ﴿٤٤﴾
Singa twafuula Kur’ani eno nga ya lulimi olutali luwarabu (abawarabu) ddala baligambye nti singa ebigambo byayo byannyonnyolwa (netuba nga tubitegeera, kati ate) eri mu lumimi olutali luwarabu ate nga ekkira ku muwarabu, bagambe nti yyo ku bakkiriza kya kulungama era kya kuwonya, ate abo abatakkiriza amatu gaabwe galimu envumbo, olwo nno yo ku bo buzibe bwa maaso, abo bakowoolwa okuva mu kifo ekyewala (n'olwekyo ssi bangu ba kuwuliza).