quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 2)

112 Aya · Emitwe · lg

Al-Isra 17:45

وَإِذَا قَرَأۡتَ ٱلۡقُرۡءَانَ جَعَلۡنَا بَيۡنَكَ وَبَيۡنَ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ حِجَابٗا مَّسۡتُورٗا ﴿٤٥﴾

. Bwosoma Kur’ani, tussa wakatiwo ne wakati w'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ekibikka ekitalabika.

Al-Kahf 18:95

قَالَ مَا مَكَّنِّي فِيهِ رَبِّي خَيۡرٞ فَأَعِينُونِي بِقُوَّةٍ أَجۡعَلۡ بَيۡنَكُمۡ وَبَيۡنَهُمۡ رَدۡمًا ﴿٩٥﴾

. Naagamba nti ekyo kyonna Mukama Omulabirizi wange kyanansobozesa kinaaba kirungi, kale munyambe n'amaanyi nja kuteeka wakati wa mmwe nabo ekikomera (ekigumu).

Maryam 19:17

فَٱتَّخَذَتۡ مِن دُونِهِمۡ حِجَابٗا فَأَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡهَا رُوحَنَا فَتَمَثَّلَ لَهَا بَشَرٗا سَوِيّٗا ﴿١٧﴾

. Naateekawo olutimbe baleme kumulaba awo nno twamutumira mwoyo waffe (Jiburilu) naamweyoleka nga muntu ddala.

Maryam 19:18

قَالَتۡ إِنِّيٓ أَعُوذُ بِٱلرَّحۡمَٰنِ مِنكَ إِن كُنتَ تَقِيّٗا ﴿١٨﴾

. (Mariam) naagamba nti nsaba Mukama Katonda Omusaasizi akuntaaseeko bwoba nga otya Katonda (ndeka tonsemberera).

Maryam 19:20

قَالَتۡ أَنَّىٰ يَكُونُ لِي غُلَٰمٞ وَلَمۡ يَمۡسَسۡنِي بَشَرٞ وَلَمۡ أَكُ بَغِيّٗا ﴿٢٠﴾

. Mariam naagamba nti nyinza ntya okufuna omwana nga tewali muntu yankutteko, ate nga sibangako malaaya!.

Maryam 19:28

يَـٰٓأُخۡتَ هَٰرُونَ مَا كَانَ أَبُوكِ ٱمۡرَأَ سَوۡءٖ وَمَا كَانَتۡ أُمُّكِ بَغِيّٗا ﴿٢٨﴾

. Owange mwannyina wa Haruna, Kitaawo tabangako muntu mukozi wa kibi, era ne Maamawo tabangako Malaaya!.

Taha 20:131

وَلَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّنۡهُمۡ زَهۡرَةَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا لِنَفۡتِنَهُمۡ فِيهِۚ وَرِزۡقُ رَبِّكَ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰ ﴿١٣١﴾

. Era totunuzanga amaaso go eri ebyo bye tweyagaza nabyo abaafumbiriganwa mu bo (abakaafiiri), nga bya kwewunda bya bulamu bwansi, tubakeme nabyo. Era bulijjo okugabirira kwa Mukama omulabiriziwo kwe kusinga obulungi era kwe kw'olubeerera.

Al-Anbya 21:74

وَلُوطًا ءَاتَيۡنَٰهُ حُكۡمٗا وَعِلۡمٗا وَنَجَّيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلَّتِي كَانَت تَّعۡمَلُ ٱلۡخَبَـٰٓئِثَۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمَ سَوۡءٖ فَٰسِقِينَ ﴿٧٤﴾

. Ne Luutu twamuwa okusengejja ensonga n'okumanya era twamuwonya netumuggya mu kitundu ekyali kikola ebyonoono mazima bo baali bantu ba kibi aboonoonyi.

Al-Anbya 21:91

وَٱلَّتِيٓ أَحۡصَنَتۡ فَرۡجَهَا فَنَفَخۡنَا فِيهَا مِن رُّوحِنَا وَجَعَلۡنَٰهَا وَٱبۡنَهَآ ءَايَةٗ لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿٩١﴾

. Era (jjukira) ekyafaayo ky'omukyala (Mariyamu) oyo eyakuuma obwereerebwe olwo nno netumufuuwamu omwoyo ogwava gye tuli netumufuula yye n’omwanawe nga kya kulabirako eri ebitonde byonna.

Al-Mu'minun 23:5

وَٱلَّذِينَ هُمۡ لِفُرُوجِهِمۡ حَٰفِظُونَ ﴿٥﴾

. Era abo bbo abakuuma obwereere bwabwe.

Al-Mu'minun 23:6

إِلَّا عَلَىٰٓ أَزۡوَٰجِهِمۡ أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ فَإِنَّهُمۡ غَيۡرُ مَلُومِينَ ﴿٦﴾

. Okugyako ku be baafumbiriganwa nabo, oba abo emikono gya bwe egya ddyo be gyafuna (abazaana) anti mazima bbo, ku ekyo tebanenyezebwa.

An-Nur 24:2

ٱلزَّانِيَةُ وَٱلزَّانِي فَٱجۡلِدُواْ كُلَّ وَٰحِدٖ مِّنۡهُمَا مِاْئَةَ جَلۡدَةٖۖ وَلَا تَأۡخُذۡكُم بِهِمَا رَأۡفَةٞ فِي دِينِ ٱللَّهِ إِن كُنتُمۡ تُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۖ وَلۡيَشۡهَدۡ عَذَابَهُمَا طَآئِفَةٞ مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٢﴾

. Omwenzi omukazi n'omwenzi omusajja buli omu ku bo mumukube emiggo kikumi, ekisa tekibakwatanga ku lwa bwe bombi, nga muli mu kutuukiriza e ddiini ya Katonda, bwe muba nga mukkiriza Katonda n’olunaku lw'enkomerero, ekibinja mu bakkiriza kiteekwa okubaawo nga babonerezebwa.

An-Nur 24:3

ٱلزَّانِي لَا يَنكِحُ إِلَّا زَانِيَةً أَوۡ مُشۡرِكَةٗ وَٱلزَّانِيَةُ لَا يَنكِحُهَآ إِلَّا زَانٍ أَوۡ مُشۡرِكٞۚ وَحُرِّمَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٣﴾

. Omusajja omwenzi tawasa okugyako omukazi omwenzi oba agatta ebintu ebirala ku Katonda, n’omukazi omwenzi tawasibwa okugyako omusajja omwenzi oba agatta ebintu ebirala ku Katonda, era ekyo kyaziyizibwa ku bakkiriza.

An-Nur 24:19

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُحِبُّونَ أَن تَشِيعَ ٱلۡفَٰحِشَةُ فِي ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِۚ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ وَأَنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿١٩﴾

. Mazima abo abaagala ebikolwa eby'obuwemu okusaasaana mu bakkiriza, balina ebibonerezo ebiruma ennyo ku nsi ne ku nkomerero. Era Katonda amanyi ate mmwe temumanyi.

An-Nur 24:21

۞يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَّبِعُواْ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ وَمَن يَتَّبِعۡ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِ فَإِنَّهُۥ يَأۡمُرُ بِٱلۡفَحۡشَآءِ وَٱلۡمُنكَرِۚ وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ وَرَحۡمَتُهُۥ مَا زَكَىٰ مِنكُم مِّنۡ أَحَدٍ أَبَدٗا وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يُزَكِّي مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٞ ﴿٢١﴾

. Abange mmwe abakkiriza temugobereranga amakubo ga Sitaane, oyo yenna agoberera amakubo ga Sitane anti yye (Sitaane) alagira okukola eby'obuwemu n'ebitayagalwa, era singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa olubeerera, teyanditukudde muntu yenna mu mmwe, naye mazima Katonda atukuza oyo gwaba ayagadde mazima Katonda awulira mumanyi nnyo.

An-Nur 24:26

ٱلۡخَبِيثَٰتُ لِلۡخَبِيثِينَ وَٱلۡخَبِيثُونَ لِلۡخَبِيثَٰتِۖ وَٱلطَّيِّبَٰتُ لِلطَّيِّبِينَ وَٱلطَّيِّبُونَ لِلطَّيِّبَٰتِۚ أُوْلَـٰٓئِكَ مُبَرَّءُونَ مِمَّا يَقُولُونَۖ لَهُم مَّغۡفِرَةٞ وَرِزۡقٞ كَرِيمٞ ﴿٢٦﴾

. Abakazi ab'empisa embi ba basajja ab'empisa embi, n'abasajja ab'empisa embi ba bakazi ab'empisa embi, n'abakazi abeeyisa obulungi ba basajja abeeyisa obulungi, n'abasajja abeeyisa obulungi ba bakazi abeeyisa obulungi, abo (bebatemerera obwenzi) batukuvu ku ebyo (bali) bye boogera, balina ekisonyiwo n'okugabirirwa okw'ekitiibwa.

An-Nur 24:28

فَإِن لَّمۡ تَجِدُواْ فِيهَآ أَحَدٗا فَلَا تَدۡخُلُوهَا حَتَّىٰ يُؤۡذَنَ لَكُمۡۖ وَإِن قِيلَ لَكُمُ ٱرۡجِعُواْ فَٱرۡجِعُواْۖ هُوَ أَزۡكَىٰ لَكُمۡۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ عَلِيمٞ ﴿٢٨﴾

. Bwe mutagasangamu muntu yenna temugayingiranga okutuusa nga mukkiriziddwa, bwe mugambibwanga nti muddeyo muddangayo, ekyo ky'ekisinga obutukuvu gye muli, Katonda byonna bye mukola abimanyidde ddala.

An-Nur 24:30

قُل لِّلۡمُؤۡمِنِينَ يَغُضُّواْ مِنۡ أَبۡصَٰرِهِمۡ وَيَحۡفَظُواْ فُرُوجَهُمۡۚ ذَٰلِكَ أَزۡكَىٰ لَهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ خَبِيرُۢ بِمَا يَصۡنَعُونَ ﴿٣٠﴾

. Gamba abakkiriza bakkakkanye ku maaso ga bwe, era bakuume obwereere bwa bwe, ekyo kye kisinga obutukuvu gye bali, mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.

An-Nur 24:31

وَقُل لِّلۡمُؤۡمِنَٰتِ يَغۡضُضۡنَ مِنۡ أَبۡصَٰرِهِنَّ وَيَحۡفَظۡنَ فُرُوجَهُنَّ وَلَا يُبۡدِينَ زِينَتَهُنَّ إِلَّا مَا ظَهَرَ مِنۡهَاۖ وَلۡيَضۡرِبۡنَ بِخُمُرِهِنَّ عَلَىٰ جُيُوبِهِنَّۖ وَلَا يُبۡدِينَ زِينَتَهُنَّ إِلَّا لِبُعُولَتِهِنَّ أَوۡ ءَابَآئِهِنَّ أَوۡ ءَابَآءِ بُعُولَتِهِنَّ أَوۡ أَبۡنَآئِهِنَّ أَوۡ أَبۡنَآءِ بُعُولَتِهِنَّ أَوۡ إِخۡوَٰنِهِنَّ أَوۡ بَنِيٓ إِخۡوَٰنِهِنَّ أَوۡ بَنِيٓ أَخَوَٰتِهِنَّ أَوۡ نِسَآئِهِنَّ أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُنَّ أَوِ ٱلتَّـٰبِعِينَ غَيۡرِ أُوْلِي ٱلۡإِرۡبَةِ مِنَ ٱلرِّجَالِ أَوِ ٱلطِّفۡلِ ٱلَّذِينَ لَمۡ يَظۡهَرُواْ عَلَىٰ عَوۡرَٰتِ ٱلنِّسَآءِۖ وَلَا يَضۡرِبۡنَ بِأَرۡجُلِهِنَّ لِيُعۡلَمَ مَا يُخۡفِينَ مِن زِينَتِهِنَّۚ وَتُوبُوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ جَمِيعًا أَيُّهَ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ﴿٣١﴾

. Era gamba abakyala abakkiriza bakkakkanye ku maaso gaabwe era bakuume obwereere bwa bwe, era teboolesa eby'okwewunda bya bwe okugyako ebyo ebiba biteekwa okulabika, era bateekwa beebikkirire obukaaya bwa bwe (nga butuuka) ku bifuba bya bwe, era teboolesa bya kwewunda bya bwe okugyako eri ba bbaabwe, oba ba kitaabwe, oba ba taata ba ba bbaabwe ,oba abaana baabwe, oba abaana ba ba bbaabwe, oba bannyinaabwe, oba abaana ba bannyinaabwe, oba abaana ba baganda baabwe, oba abakyala nga bbo, oba abo abaddu emikono gya bwe egyaddyo be gyafuna, oba abaweereza abalala abasajja abatakyalina bwetaavu eri bakyala, oba abaana abato abatalabanga ku bwereere bwa bakyala, era (abakyala abakkiriza bwe baba batambula) tebakuba bigere bya bwe kibe nga kituuka okumanyika ekyo kye bakusise mu by'okwewunda bya bwe. Mwenna mwenenyeze Katonda abange mmwe abakkiriza kibayambe okutuuka ku buwanguzi.

An-Nur 24:33

وَلۡيَسۡتَعۡفِفِ ٱلَّذِينَ لَا يَجِدُونَ نِكَاحًا حَتَّىٰ يُغۡنِيَهُمُ ٱللَّهُ مِن فَضۡلِهِۦۗ وَٱلَّذِينَ يَبۡتَغُونَ ٱلۡكِتَٰبَ مِمَّا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُكُمۡ فَكَاتِبُوهُمۡ إِنۡ عَلِمۡتُمۡ فِيهِمۡ خَيۡرٗاۖ وَءَاتُوهُم مِّن مَّالِ ٱللَّهِ ٱلَّذِيٓ ءَاتَىٰكُمۡۚ وَلَا تُكۡرِهُواْ فَتَيَٰتِكُمۡ عَلَى ٱلۡبِغَآءِ إِنۡ أَرَدۡنَ تَحَصُّنٗا لِّتَبۡتَغُواْ عَرَضَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۚ وَمَن يُكۡرِههُّنَّ فَإِنَّ ٱللَّهَ مِنۢ بَعۡدِ إِكۡرَٰهِهِنَّ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿٣٣﴾

. Abo abatasobola kuwasa bateekwa okwessaamu ensa okutuusa Katonda lwabawa ekimala ekyetaago kya bwe nga aggya mu bigabwabye, ate abo abasaba okuweebwa ekiwandiiko (ekibakkiriza okunoonya sente beenunule) mu baddu ba mmwe abo emikono gya mmwe egya ddyo be gyafuna mukibawandiikire singa mubalabamu akalungi, (mmwe abakulembeze) mubawe nga ku mmaali ya Katonda eyo gye yabawa, era temuwalirizanga abazaana ba mmwe okukola obwa malaaya (mu kikola mutya) ng'ate bbo baagala kuba na nsa! (ekibatuusa okukola ekyo) lwa kwagala kufuna bya bulamu byansi, oyo yenna abawaliriza mazima Katonda oluvanyuma lw'okubawaliriza musonyiyi musaasizi.

Al-Furqan 25:53

۞وَهُوَ ٱلَّذِي مَرَجَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ هَٰذَا عَذۡبٞ فُرَاتٞ وَهَٰذَا مِلۡحٌ أُجَاجٞ وَجَعَلَ بَيۡنَهُمَا بَرۡزَخٗا وَحِجۡرٗا مَّحۡجُورٗا ﴿٥٣﴾

. Era (Katonda) yooyo eyagatta amazzi ag'ennyanja ebbiri (ez'enjawulo), gano malungi nnyo era nga ganywebwa ate nga gali g'amunnyu teganywebwa, era yassa wakati wa gombi ekyawula era ekiziyiza ekigagaana okwetabula.

Al-Furqan 25:68

وَٱلَّذِينَ لَا يَدۡعُونَ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ وَلَا يَقۡتُلُونَ ٱلنَّفۡسَ ٱلَّتِي حَرَّمَ ٱللَّهُ إِلَّا بِٱلۡحَقِّ وَلَا يَزۡنُونَۚ وَمَن يَفۡعَلۡ ذَٰلِكَ يَلۡقَ أَثَامٗا ﴿٦٨﴾

. Era beebo abatasinza kintu kirala awamu ne Katonda, era abatatta muntu oyo Katonda gwe yaziza okugyako nga waliwo ensonga, era abatayenda, omuntu akola ekimu ku ebyo agenda kusisinkana (e bibonerezo) bye bibi (bye).

Ash-Shu'ara 26:166

وَتَذَرُونَ مَا خَلَقَ لَكُمۡ رَبُّكُم مِّنۡ أَزۡوَٰجِكُمۚ بَلۡ أَنتُمۡ قَوۡمٌ عَادُونَ ﴿١٦٦﴾

. Ne muleka ekyo Mukama omulabirizi wa mmwe kye yabatondera mu abo be mwafumbiriganwa nabo, wabula mmwe muli bantu abasukka ebikomo.

Ash-Shu'ara 26:205

أَفَرَءَيۡتَ إِن مَّتَّعۡنَٰهُمۡ سِنِينَ ﴿٢٠٥﴾

. Okiraba nti singa tubawangaazizza emyaka (egiwera).

Ash-Shu'ara 26:206

ثُمَّ جَآءَهُم مَّا كَانُواْ يُوعَدُونَ ﴿٢٠٦﴾

. Oluvanyuma ne bibajjira ebyo bye balagaanyisibwa.

Ash-Shu'ara 26:207

مَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يُمَتَّعُونَ ﴿٢٠٧﴾

. Tebiyinza kubayamba ebyo bye baaweebwa okweyagaliramu.

Ash-Shu'ara 26:211

وَمَا يَنۢبَغِي لَهُمۡ وَمَا يَسۡتَطِيعُونَ ﴿٢١١﴾

. Era tekizisaanira era nga tezikisobola.

An-Naml 27:48

وَكَانَ فِي ٱلۡمَدِينَةِ تِسۡعَةُ رَهۡطٖ يُفۡسِدُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا يُصۡلِحُونَ ﴿٤٨﴾

. Mu kibuga kya bwe mwalimu abasajja mwenda nga boonoonyi mu nsi nga tebalongoosa.

An-Naml 27:54

وَلُوطًا إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِۦٓ أَتَأۡتُونَ ٱلۡفَٰحِشَةَ وَأَنتُمۡ تُبۡصِرُونَ ﴿٥٤﴾

. Era (jjukira omubaka waffe) Luutu bwe yagamba abantube nti: mukola ekikolwa eky'obuwemu nga mulabira ddala!.

Al-'Ankabut 29:28

وَلُوطًا إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِۦٓ إِنَّكُمۡ لَتَأۡتُونَ ٱلۡفَٰحِشَةَ مَا سَبَقَكُم بِهَا مِنۡ أَحَدٖ مِّنَ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٢٨﴾

. Era (bajjukize) Luutu bwe yagamba abantube nti mazima mmwe mukola ekivve awatabanga muntu n'omu yakibasookako.

Al-'Ankabut 29:45

ٱتۡلُ مَآ أُوحِيَ إِلَيۡكَ مِنَ ٱلۡكِتَٰبِ وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَۖ إِنَّ ٱلصَّلَوٰةَ تَنۡهَىٰ عَنِ ٱلۡفَحۡشَآءِ وَٱلۡمُنكَرِۗ وَلَذِكۡرُ ٱللَّهِ أَكۡبَرُۗ وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تَصۡنَعُونَ ﴿٤٥﴾

. Soma ebyo ebitumiddwa gyoli ebiri mu kitabo (Kur’ani) era yimirizaawo e sswala, mazima e sswala erobera okukola eby'obuwemu n'empisa embi, era okutendereza Katonda kye kisinga obukulu, era Katonda amanyi bye mukola.

Luqman 31:24

نُمَتِّعُهُمۡ قَلِيلٗا ثُمَّ نَضۡطَرُّهُمۡ إِلَىٰ عَذَابٍ غَلِيظٖ ﴿٢٤﴾

. Tubeeyagaza kitono, oluvanyuma tulibawalabanya okubatwala eri ebibonerezo ebizito.

As-Sajdah 32:20

وَأَمَّا ٱلَّذِينَ فَسَقُواْ فَمَأۡوَىٰهُمُ ٱلنَّارُۖ كُلَّمَآ أَرَادُوٓاْ أَن يَخۡرُجُواْ مِنۡهَآ أُعِيدُواْ فِيهَا وَقِيلَ لَهُمۡ ذُوقُواْ عَذَابَ ٱلنَّارِ ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ ﴿٢٠﴾

. Bo abo abaayonoona obuddo bwabwe muliro, lwonna lwe baliyagalanga okugufuluma nga bazzibwamu era ne bagambibwa nti mukombe ku bibonerezo by'omuliro ogwo gwe mwali mulimbisa.

Al-Ahzab 33:30

يَٰنِسَآءَ ٱلنَّبِيِّ مَن يَأۡتِ مِنكُنَّ بِفَٰحِشَةٖ مُّبَيِّنَةٖ يُضَٰعَفۡ لَهَا ٱلۡعَذَابُ ضِعۡفَيۡنِۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٗا ﴿٣٠﴾

. Abange mmwe abakyala ba Nabbi oyo yenna mu mmwe akola e kikolwa eky'obuwemu, wekikakasibwa nti yakikoze, e kibonerezo ekimuweebwa kibazibwamu emirundi ebiri (olw'okuba Mukyala wa Nabbi) era ekyo kyangu ku Katonda.

Al-Ahzab 33:35

إِنَّ ٱلۡمُسۡلِمِينَ وَٱلۡمُسۡلِمَٰتِ وَٱلۡمُؤۡمِنِينَ وَٱلۡمُؤۡمِنَٰتِ وَٱلۡقَٰنِتِينَ وَٱلۡقَٰنِتَٰتِ وَٱلصَّـٰدِقِينَ وَٱلصَّـٰدِقَٰتِ وَٱلصَّـٰبِرِينَ وَٱلصَّـٰبِرَٰتِ وَٱلۡخَٰشِعِينَ وَٱلۡخَٰشِعَٰتِ وَٱلۡمُتَصَدِّقِينَ وَٱلۡمُتَصَدِّقَٰتِ وَٱلصَّـٰٓئِمِينَ وَٱلصَّـٰٓئِمَٰتِ وَٱلۡحَٰفِظِينَ فُرُوجَهُمۡ وَٱلۡحَٰفِظَٰتِ وَٱلذَّـٰكِرِينَ ٱللَّهَ كَثِيرٗا وَٱلذَّـٰكِرَٰتِ أَعَدَّ ٱللَّهُ لَهُم مَّغۡفِرَةٗ وَأَجۡرًا عَظِيمٗا ﴿٣٥﴾

. Mazima abasajja abasiraamu n’abakazi abasiraamu, n’abasajja abakkiriza n’abakazi abakkiriza, n’abasajja abasinza Katonda n’abakazi abasinza Katonda, n’abasajja aboogera amazima n’abakazi aboogera amazima, n’abasajja abagumiikiriza n’abakazi abagumiikiriza, n’abasajja abagondera Katonda n’abakazi abagondera Katonda, n’abasajja abasaddaaka n’abakazi abasaddaaka, n’abasajja abasiiba n’abakazi abasiiba, n’abasajja abakuuma obwereere bwa bwe n’abakazi bwe batyo, n’abasajja aboogera ennyo ku Katonda n’abakazi bwe batyo, (abo bonna) Katonda yabategekera ekisonyiwo n'empeera ensuffu.

Al-Ahzab 33:52

لَّا يَحِلُّ لَكَ ٱلنِّسَآءُ مِنۢ بَعۡدُ وَلَآ أَن تَبَدَّلَ بِهِنَّ مِنۡ أَزۡوَٰجٖ وَلَوۡ أَعۡجَبَكَ حُسۡنُهُنَّ إِلَّا مَا مَلَكَتۡ يَمِينُكَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ رَّقِيبٗا ﴿٥٢﴾

. Tokkirizibwa bakyala balala oluvanyuma lw'abo (boolina) wadde okubawaanyisaamu abakyala abalala, obulungi bwabwe ne bwe bukusanyusa butya okugyako abo omukono gwo ogwa ddyo begufuga, era bulijjo Katonda mulondoozi wa buli kintu.

Al-Ahzab 33:53

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَدۡخُلُواْ بُيُوتَ ٱلنَّبِيِّ إِلَّآ أَن يُؤۡذَنَ لَكُمۡ إِلَىٰ طَعَامٍ غَيۡرَ نَٰظِرِينَ إِنَىٰهُ وَلَٰكِنۡ إِذَا دُعِيتُمۡ فَٱدۡخُلُواْ فَإِذَا طَعِمۡتُمۡ فَٱنتَشِرُواْ وَلَا مُسۡتَـٔۡنِسِينَ لِحَدِيثٍۚ إِنَّ ذَٰلِكُمۡ كَانَ يُؤۡذِي ٱلنَّبِيَّ فَيَسۡتَحۡيِۦ مِنكُمۡۖ وَٱللَّهُ لَا يَسۡتَحۡيِۦ مِنَ ٱلۡحَقِّۚ وَإِذَا سَأَلۡتُمُوهُنَّ مَتَٰعٗا فَسۡـَٔلُوهُنَّ مِن وَرَآءِ حِجَابٖۚ ذَٰلِكُمۡ أَطۡهَرُ لِقُلُوبِكُمۡ وَقُلُوبِهِنَّۚ وَمَا كَانَ لَكُمۡ أَن تُؤۡذُواْ رَسُولَ ٱللَّهِ وَلَآ أَن تَنكِحُوٓاْ أَزۡوَٰجَهُۥ مِنۢ بَعۡدِهِۦٓ أَبَدًاۚ إِنَّ ذَٰلِكُمۡ كَانَ عِندَ ٱللَّهِ عَظِيمًا ﴿٥٣﴾

. Abange mmwe abakkiriza temuyingiranga e nyumba za Nabbi okugyako nga mukkiriziddwa okugenda okulya (ate) nga temulinda kuyiisibwa kwa mmere, bwe mumala okulya olwo nno musaasaane era temutwalirizibwanga emboozi, mazima ekyo kibadde kinyiiza Nabbi ate nga abakwatirwa ensonyi so nga Katonda takwatibwa nsonyi kwogera mazima, era (bakyala ba Nabbi) bwe mubaako ekintu kye mubasaba mukibasabire mabega wa lutimbe, ekyo nno kyekisinga obutukuvu eri emitima gya mmwe n'emitima gyabwe. Tekibagwanira mmwe okunyiiza omubaka wa Katonda era tekibagwanira kuwasa bakyalabe oluvanyumalwe (nga ekiragiro kino) kya lubeerera. Mazima ekikolwa ekyo kinene ewa Katonda.

Al-Ahzab 33:59

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ قُل لِّأَزۡوَٰجِكَ وَبَنَاتِكَ وَنِسَآءِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ يُدۡنِينَ عَلَيۡهِنَّ مِن جَلَٰبِيبِهِنَّۚ ذَٰلِكَ أَدۡنَىٰٓ أَن يُعۡرَفۡنَ فَلَا يُؤۡذَيۡنَۗ وَكَانَ ٱللَّهُ غَفُورٗا رَّحِيمٗا ﴿٥٩﴾

. Owange ggwe Nabbi gamba bakyalabo ne bawalabo ne bakyala ba bakkiriza babe nga beebikkirira obukaaya bwabwe, ekyo kye kyanguya okuba nga bamanyika (nti ba kitiibwa) olwo nno baleme kunyiizibwa. Bulijjo Katonda muyitirivu wa kusonyiwa era muyitirivu wa kusaasira.

Saba 34:54

وَحِيلَ بَيۡنَهُمۡ وَبَيۡنَ مَا يَشۡتَهُونَ كَمَا فُعِلَ بِأَشۡيَاعِهِم مِّن قَبۡلُۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ فِي شَكّٖ مُّرِيبِۭ ﴿٥٤﴾

. Newasiikirizibwa wakati waabwe ne wakati w'ekyo kye baagala nga bwe kyakolebwa oluberyeberye (ku abo) abalinga bo mazima bo bali mu kubuusabuusa okuleeta okutankana (ne batakkiriza).

Fatir 35:8

أَفَمَن زُيِّنَ لَهُۥ سُوٓءُ عَمَلِهِۦ فَرَءَاهُ حَسَنٗاۖ فَإِنَّ ٱللَّهَ يُضِلُّ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۖ فَلَا تَذۡهَبۡ نَفۡسُكَ عَلَيۡهِمۡ حَسَرَٰتٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِمَا يَصۡنَعُونَ ﴿٨﴾

. Abaffe oyo ogwawundibwa omulimu gwe omubi naagulaba nga mulungi (ayinza okufaanana oyo omulungamu) mazima Katonda abuza gwaba ayagadde naalungamya gwaba ayagadde, kale toggwamu mwoyo ku lw'okubasalirwa, mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.

Sad 38:28

أَمۡ نَجۡعَلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ كَٱلۡمُفۡسِدِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِ أَمۡ نَجۡعَلُ ٱلۡمُتَّقِينَ كَٱلۡفُجَّارِ ﴿٢٨﴾

Oba (basuubira nti) abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu, tulibayisa nga aboonoona mu nsi, oba abatya Katonda betuliyisa nga aboonoonyi!.

Az-Zumar 39:8

۞وَإِذَا مَسَّ ٱلۡإِنسَٰنَ ضُرّٞ دَعَا رَبَّهُۥ مُنِيبًا إِلَيۡهِ ثُمَّ إِذَا خَوَّلَهُۥ نِعۡمَةٗ مِّنۡهُ نَسِيَ مَا كَانَ يَدۡعُوٓاْ إِلَيۡهِ مِن قَبۡلُ وَجَعَلَ لِلَّهِ أَندَادٗا لِّيُضِلَّ عَن سَبِيلِهِۦۚ قُلۡ تَمَتَّعۡ بِكُفۡرِكَ قَلِيلًا إِنَّكَ مِنۡ أَصۡحَٰبِ ٱلنَّارِ ﴿٨﴾

Akabi bwe katuuka ku muntu asaba Mukama omulabiriziwe ng'amwenenyeza, oluvanyuma bwamuwa ekyengera kyonna okuva gyali, nga yeerabira oyo gwe yali asaba mu kusooka olwo nno nassa ku Katonda abasinzibwa abalala, abe nga abuza (abantu) okubaggya ku kkubo lye (Katonda). Gamba nti weeyagale katono n'obukaafiiri bwo, (anti) mazima ggwe oli wa mu bantu bo mu muliro.

Az-Zumar 39:49

فَإِذَا مَسَّ ٱلۡإِنسَٰنَ ضُرّٞ دَعَانَا ثُمَّ إِذَا خَوَّلۡنَٰهُ نِعۡمَةٗ مِّنَّا قَالَ إِنَّمَآ أُوتِيتُهُۥ عَلَىٰ عِلۡمِۭۚ بَلۡ هِيَ فِتۡنَةٞ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٤٩﴾

Omuntu bwatuukibwako akabi olwo nno nga atusaba oluvanyuma bwe tumugabira ekyengera kyonna okuva gye tuli, agamba nti mazima kyampebwa lwa kumanya (kwange) wabula (si bwe kiri) kyo kikemo naye ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi.

Fussilat 41:5

وَقَالُواْ قُلُوبُنَا فِيٓ أَكِنَّةٖ مِّمَّا تَدۡعُونَآ إِلَيۡهِ وَفِيٓ ءَاذَانِنَا وَقۡرٞ وَمِنۢ بَيۡنِنَا وَبَيۡنِكَ حِجَابٞ فَٱعۡمَلۡ إِنَّنَا عَٰمِلُونَ ﴿٥﴾

Nebagamba nti emitima gyaffe giri mu kibikka, tegiyinza kuwulira ekyo kyotuyitira, ate mu matu gaffe mulimu envumbo ate nga wakati waffe nawe waliwo ekyawula (n'olwekyo tetuyinza kukola bifaanagana) kale kola naffe katukule

Ash-Shuraa 42:37

وَٱلَّذِينَ يَجۡتَنِبُونَ كَبَـٰٓئِرَ ٱلۡإِثۡمِ وَٱلۡفَوَٰحِشَ وَإِذَا مَا غَضِبُواْ هُمۡ يَغۡفِرُونَ ﴿٣٧﴾

Era beebo abewala ebibi ebinene ne byo buwemu era bo bweba banyiize basonyiwa.

Al-Ahqaf 46:20

وَيَوۡمَ يُعۡرَضُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ عَلَى ٱلنَّارِ أَذۡهَبۡتُمۡ طَيِّبَٰتِكُمۡ فِي حَيَاتِكُمُ ٱلدُّنۡيَا وَٱسۡتَمۡتَعۡتُم بِهَا فَٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَوۡنَ عَذَابَ ٱلۡهُونِ بِمَا كُنتُمۡ تَسۡتَكۡبِرُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَبِمَا كُنتُمۡ تَفۡسُقُونَ ﴿٢٠﴾

Era (mulowooze) ku lunaku abo abaakafuwala lwe balyanjulwa eri omuliro (baligambwa nti) ebirungi bya mmwe mwabimalira mu bulamu bwa mmwe obwensi, ne mweyagala nabyo, kale nno olwaleero mugenda kusasulwa ebibonerezo ebinyoomesa olwengeri gye mwali mwekuluntazaamu mu nsi awatali nsonga ne ku lwebyo bye mwali mwonoona.

Muhammad 47:12

إِنَّ ٱللَّهَ يُدۡخِلُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَتَمَتَّعُونَ وَيَأۡكُلُونَ كَمَا تَأۡكُلُ ٱلۡأَنۡعَٰمُ وَٱلنَّارُ مَثۡوٗى لَّهُمۡ ﴿١٢﴾

Mazima Katonda ajja kuyingiza abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu e jjana. Ezikulukutira wansi waazo emigga, ate abo abaakafuwala beeyagala era ne balya ng'ensolo bwezirya, era omuliro bwe buddo bwabwe.

Al-Fath 48:21

وَأُخۡرَىٰ لَمۡ تَقۡدِرُواْ عَلَيۡهَا قَدۡ أَحَاطَ ٱللَّهُ بِهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٗا ﴿٢١﴾

(Waliyo n'eminyago) emirala gye mutannasobola (kufuna) naye nga mazima Katonda agyetoolodde (gyonna agimanyi) era bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu.

Al-Qamar 54:37

وَلَقَدۡ رَٰوَدُوهُ عَن ضَيۡفِهِۦ فَطَمَسۡنَآ أَعۡيُنَهُمۡ فَذُوقُواْ عَذَابِي وَنُذُرِ ﴿٣٧﴾

Mazima baagezaako okumusendasenda abawe abagenyi be (babasiyage) olwo nno netuziba amaaso gaabwe, ne bakomba ku bibonerezo byange n'okulabula kwange.

Ar-Rahman 55:20

بَيۡنَهُمَا بَرۡزَخٞ لَّا يَبۡغِيَانِ ﴿٢٠﴾

Wakati wa zombi waliwo ekyawula, tezigenda kwetabula.

Emitwe