وَإِذَا رَءَا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ ٱلۡعَذَابَ فَلَا يُخَفَّفُ عَنۡهُمۡ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ ﴿٨٥﴾
Abo abeeyisa obubi kebaliraba ku bibonerezo tebigenda kukendezebwa ku bo era tebagenda kulindirizibwa.
92 Aya · Emitwe · lg
وَإِذَا رَءَا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ ٱلۡعَذَابَ فَلَا يُخَفَّفُ عَنۡهُمۡ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ ﴿٨٥﴾
Abo abeeyisa obubi kebaliraba ku bibonerezo tebigenda kukendezebwa ku bo era tebagenda kulindirizibwa.
وَنُنَزِّلُ مِنَ ٱلۡقُرۡءَانِ مَا هُوَ شِفَآءٞ وَرَحۡمَةٞ لِّلۡمُؤۡمِنِينَ وَلَا يَزِيدُ ٱلظَّـٰلِمِينَ إِلَّا خَسَارٗا ﴿٨٢﴾
. Era tussa mu Kur’ani ebyo ebijja nga kya kuwonya era nga kya kusaasira eri abakkiriza. Wabula abeeyisa obubi tebongera okugyako okufaafaaganirwa.
وَقُلِ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكُمۡۖ فَمَن شَآءَ فَلۡيُؤۡمِن وَمَن شَآءَ فَلۡيَكۡفُرۡۚ إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا لِلظَّـٰلِمِينَ نَارًا أَحَاطَ بِهِمۡ سُرَادِقُهَاۚ وَإِن يَسۡتَغِيثُواْ يُغَاثُواْ بِمَآءٖ كَٱلۡمُهۡلِ يَشۡوِي ٱلۡوُجُوهَۚ بِئۡسَ ٱلشَّرَابُ وَسَآءَتۡ مُرۡتَفَقًا ﴿٢٩﴾
. Gamba nti gano ge mazima agavudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe kale ayagala akkirize n'anayagala akaafuwale, mazima ffe abeeyisa obubi twabateekerateekera omuliro, lugenda kubeetoolola olugo lwa gwo, buli lwe banaasabanga okuweebwa amazzi balinywesebwa amazzi agalinga olutabu lw'ekyuma olulyoka ebyenyi. Kiriba kya kunywa kibi era nga n'obutuulo buliba bubi.
وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦ فَأَعۡرَضَ عَنۡهَا وَنَسِيَ مَا قَدَّمَتۡ يَدَاهُۚ إِنَّا جَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۖ وَإِن تَدۡعُهُمۡ إِلَى ٱلۡهُدَىٰ فَلَن يَهۡتَدُوٓاْ إِذًا أَبَدٗا ﴿٥٧﴾
. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajjukizibwa ebigambo bya Mukama omulabiriziwe naabivaako, neyeerabira ebyo emikono gye bye gyakulembeza (okukola), mazima ffe twassa ku mitima gya bwe ekibikka, babe nga tebabitegeera ne mu matu gaabwe mulimu envumbo era nebwobayita okujja eri obulungamu tebagenda kulungama olubeerera bwe baba bwe batyo.
قَالَ أَمَّا مَن ظَلَمَ فَسَوۡفَ نُعَذِّبُهُۥ ثُمَّ يُرَدُّ إِلَىٰ رَبِّهِۦ فَيُعَذِّبُهُۥ عَذَابٗا نُّكۡرٗا ﴿٨٧﴾
. (Dhul Karinaini) naagamba nti oyo aneeyisa obubi tujja kumubonereza, ate oluvanyuma alizzibwa ewa Mukama Omulabirizewe, naamubonereza ebibonerezo ebisuffu.
أَسۡمِعۡ بِهِمۡ وَأَبۡصِرۡ يَوۡمَ يَأۡتُونَنَا لَٰكِنِ ٱلظَّـٰلِمُونَ ٱلۡيَوۡمَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿٣٨﴾
. Bagenda kuba nga bawulira nnyo era nga balaba nnyo, olunaku lwe balitujjira naye abeeyisa obubi olwa leero (kuno ku nsi) bali mu bubuze obw'olwatu .
وَإِن مِّنكُمۡ إِلَّا وَارِدُهَاۚ كَانَ عَلَىٰ رَبِّكَ حَتۡمٗا مَّقۡضِيّٗا ﴿٧١﴾
. Tewali n'omu yenna ku mmwe okugyako w'a kuguyitako, ekyo ku Mukama omulabiriziwo kikakafu ekyaggwa edda.
ثُمَّ نُنَجِّي ٱلَّذِينَ ٱتَّقَواْ وَّنَذَرُ ٱلظَّـٰلِمِينَ فِيهَا جِثِيّٗا ﴿٧٢﴾
. Oluvanyuma tuliwonya abo abatya Katonda, olwo nno tuleke mu gwo abeeyisa obubi nga bagangalamye.
۞وَعَنَتِ ٱلۡوُجُوهُ لِلۡحَيِّ ٱلۡقَيُّومِۖ وَقَدۡ خَابَ مَنۡ حَمَلَ ظُلۡمٗا ﴿١١١﴾
. Ebyenyi bigenda kugondera oyo (Katonda) omulamu, eyeeyimirizaawo yekka, mazima aliba aweebuuse oyo alyetikka okweyisa obubi.
قُلۡ مَن يَكۡلَؤُكُم بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ مِنَ ٱلرَّحۡمَٰنِۚ بَلۡ هُمۡ عَن ذِكۡرِ رَبِّهِم مُّعۡرِضُونَ ﴿٤٢﴾
. Bagambe nti ani abakuuma ekiro n'emisana okubawonya ekyandibatuseeko okuva ewa Katonda ow'ekisa ekingi wabula bbo abatakkiriza beesamba okwogera ku Mukama omulabirizi waabwe.
أَمۡ لَهُمۡ ءَالِهَةٞ تَمۡنَعُهُم مِّن دُونِنَاۚ لَا يَسۡتَطِيعُونَ نَصۡرَ أَنفُسِهِمۡ وَلَا هُم مِّنَّا يُصۡحَبُونَ ﴿٤٣﴾
. Abaffe balina ba katonda abalibawonya ku ffe abatali ffe (ba katonda baabwe bennyini) tebagenda kusobola kwetaasa era tebagenda kufuna gwe baliba naye abawonya ku ffe.
بَلۡ مَتَّعۡنَا هَـٰٓؤُلَآءِ وَءَابَآءَهُمۡ حَتَّىٰ طَالَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡعُمُرُۗ أَفَلَا يَرَوۡنَ أَنَّا نَأۡتِي ٱلۡأَرۡضَ نَنقُصُهَا مِنۡ أَطۡرَافِهَآۚ أَفَهُمُ ٱلۡغَٰلِبُونَ ﴿٤٤﴾
. Wabula twabawa bo ne bakitaabwe okweyagala, okutuusa obuwangaazi lwe bwabawanvuwako, abaffe tebalaba nti mazima ffe, tuddira ensi netugikendeeza okuva ku nsalo zaayo abaffe bo be b'okulema!.
قُلۡ إِنَّمَآ أُنذِرُكُم بِٱلۡوَحۡيِۚ وَلَا يَسۡمَعُ ٱلصُّمُّ ٱلدُّعَآءَ إِذَا مَا يُنذَرُونَ ﴿٤٥﴾
. Bagambe nti mazima mbatiisa nga nkozesa obubaka, wabula ba kiggala tebawulira kukoowoola bwe baba balabuddwa.
وَلَئِن مَّسَّتۡهُمۡ نَفۡحَةٞ مِّنۡ عَذَابِ رَبِّكَ لَيَقُولُنَّ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ ﴿٤٦﴾
. So nga bwe balituukwako akatundu ku bibonerezo bya Mukama omulabiriziwo bagenda kugambira ddala nti zitusanze mazima ffe tubadde tweyisa bubi.
وَٱقۡتَرَبَ ٱلۡوَعۡدُ ٱلۡحَقُّ فَإِذَا هِيَ شَٰخِصَةٌ أَبۡصَٰرُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَٰوَيۡلَنَا قَدۡ كُنَّا فِي غَفۡلَةٖ مِّنۡ هَٰذَا بَلۡ كُنَّا ظَٰلِمِينَ ﴿٩٧﴾
. Endagaano eya mazima neba nga esembedde olwo nno oligenda okulaba nga amaaso gaabo abaakaafuwala galalambadde (olw'entiisa nebagamba nti) zitusanze ekintu kino tubadde tukigayaaliridde si kyokka wabula tubadde tweyisa bubi.
إِنَّكُمۡ وَمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ حَصَبُ جَهَنَّمَ أَنتُمۡ لَهَا وَٰرِدُونَ ﴿٩٨﴾
. Mazima mwe n'ebyo bye musinza nemuva ku Katonda mugenda kubeera nku za Jahannama (omuliro) mwe muli ba kuguyingira.
لَوۡ كَانَ هَـٰٓؤُلَآءِ ءَالِهَةٗ مَّا وَرَدُوهَاۖ وَكُلّٞ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿٩٩﴾
. Singa ebyo (bye musinza) nga baali ba Katonda ddala tebyandiguyingidde naye bonna ba kugubeeramu bugenderevu.
لَهُمۡ فِيهَا زَفِيرٞ وَهُمۡ فِيهَا لَا يَسۡمَعُونَ ﴿١٠٠﴾
. Balituukibwako nga bali mu gwo okuyiriitira era tebagenda kuwulira nga bali mu gwo.
فَقَدۡ كَذَّبُوكُم بِمَا تَقُولُونَ فَمَا تَسۡتَطِيعُونَ صَرۡفٗا وَلَا نَصۡرٗاۚ وَمَن يَظۡلِم مِّنكُمۡ نُذِقۡهُ عَذَابٗا كَبِيرٗا ﴿١٩﴾
. (Katonda alibagamba nti) mazima babalimbisizza ku ebyo bye mwogera temusobola kweggyako bibonerezo wadde okutaasibwa, oyo yenna eyeeyisa obubi mu mmwe tumukombesa ku bibonerezo ebikambwe.
وَيَوۡمَ يَعَضُّ ٱلظَّالِمُ عَلَىٰ يَدَيۡهِ يَقُولُ يَٰلَيۡتَنِي ٱتَّخَذۡتُ مَعَ ٱلرَّسُولِ سَبِيلٗا ﴿٢٧﴾
. Era olunaku eyeeyisa obubi lwaliruma engaloze aligamba nti zinsanze, singa nateekawo ekkubo erinnyunga ku Mubaka.
فَتِلۡكَ بُيُوتُهُمۡ خَاوِيَةَۢ بِمَا ظَلَمُوٓاْۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ ﴿٥٢﴾
. Olwo nno amayumba gaabwe gaalekebwa ttayo olw'enneeyisa yaabwe embi, mazima mu ekyo mulimu e kyokuyiga eri abantu abamanyi.
بَلِ ٱتَّبَعَ ٱلَّذِينَ ظَلَمُوٓاْ أَهۡوَآءَهُم بِغَيۡرِ عِلۡمٖۖ فَمَن يَهۡدِي مَنۡ أَضَلَّ ٱللَّهُۖ وَمَا لَهُم مِّن نَّـٰصِرِينَ ﴿٢٩﴾
. Wabula abo abeeyisa obubi bagoberera kwagala kwabwe awatali kusinziira ku kumanya kwonna y'ate ani ayinza okulungamya oyo Katonda gwe yabuza era abo tebagenda kufuna babataasa.
وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦ ثُمَّ أَعۡرَضَ عَنۡهَآۚ إِنَّا مِنَ ٱلۡمُجۡرِمِينَ مُنتَقِمُونَ ﴿٢٢﴾
. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo abuulirirwa ne bigambo bya Mukama omulabiriziwe ate naabivaako! Mazima ffe tugenda kubonereza aboonoonyi.
وَهُمۡ يَصۡطَرِخُونَ فِيهَا رَبَّنَآ أَخۡرِجۡنَا نَعۡمَلۡ صَٰلِحًا غَيۡرَ ٱلَّذِي كُنَّا نَعۡمَلُۚ أَوَلَمۡ نُعَمِّرۡكُم مَّا يَتَذَكَّرُ فِيهِ مَن تَذَكَّرَ وَجَآءَكُمُ ٱلنَّذِيرُۖ فَذُوقُواْ فَمَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِن نَّصِيرٍ ﴿٣٧﴾
. Nabo bagenda kuba nga baleekaanira mu gwo (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tufulumye (otuzze ku nsi) tukole emirimu emirungi egitali egyo gye twali tukola luli, (baligambibwa nti) abaffe tetwabawangaaza ebbanga lyasobola okujjukiriramu oyo ajjukira era naabajjira omutiisa (kye musaba temujja kukifuna) kale mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo, abeeyisa obubi tebayinza kuba na mutaasa yenna.
أَفَمَن يَتَّقِي بِوَجۡهِهِۦ سُوٓءَ ٱلۡعَذَابِ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ وَقِيلَ لِلظَّـٰلِمِينَ ذُوقُواْ مَا كُنتُمۡ تَكۡسِبُونَ ﴿٢٤﴾
Abaffe oyo aligezaako okuwonya ekyenyikye ku bibonerezo by'olunaku lw'enkomerero (ayinza okufaanana n'oyo aliwona yenna olw'emirimu gye emirungi), era abeeyisa obubi baligambibwa nti: mukombe (ku bukaawu) bwebyo bye mwakolanga.
وَلَوۡ أَنَّ لِلَّذِينَ ظَلَمُواْ مَا فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا وَمِثۡلَهُۥ مَعَهُۥ لَٱفۡتَدَوۡاْ بِهِۦ مِن سُوٓءِ ٱلۡعَذَابِ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ وَبَدَا لَهُم مِّنَ ٱللَّهِ مَا لَمۡ يَكُونُواْ يَحۡتَسِبُونَ ﴿٤٧﴾
Singa ddala ebyo ebiri mu nsi byonna n'ebirala ebiringa byo nga byabo abeeyisa obubi bandiyagadde okwenunula nabyo okuwona obuzibu bwe bibonerezo byo lunaku lw'enkomerero n'olwokuba nti baliba bamaze okulaba okuva ewa Katonda ebyo bye baali batasuubira.
وَأَنذِرۡهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡأٓزِفَةِ إِذِ ٱلۡقُلُوبُ لَدَى ٱلۡحَنَاجِرِ كَٰظِمِينَۚ مَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِنۡ حَمِيمٖ وَلَا شَفِيعٖ يُطَاعُ ﴿١٨﴾
Batiise (gwe nabbi Muhammad) olunaku olusembedde, ekiseera emitima lwegiribeera mu malokooli (olw'entiisa) nga banyikaavu, abeeyisa obubi tebagenda kuba na ffa nfe, wadde muwolereza ayinza okuwulirizibwa.
إِنَّا لَنَنصُرُ رُسُلَنَا وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَيَوۡمَ يَقُومُ ٱلۡأَشۡهَٰدُ ﴿٥١﴾
Mazima ffe ddala tutaasa ababaka baffe naabo abakkiriza mu bulamu obw'ensi ne ku lunaku abajulizi lwe baliyimirira (okuwa obujulizi nti ddala obubaka bwatusibwa ku bantu).
يَوۡمَ لَا يَنفَعُ ٱلظَّـٰلِمِينَ مَعۡذِرَتُهُمۡۖ وَلَهُمُ ٱللَّعۡنَةُ وَلَهُمۡ سُوٓءُ ٱلدَّارِ ﴿٥٢﴾
Olunaku abeeyisa obubi okwetonda kwabwe lwe kutalibagasa, era balina ekikolimo nga bwebalina obutuulo obubi (omuliro).
أَمۡ لَهُمۡ شُرَكَـٰٓؤُاْ شَرَعُواْ لَهُم مِّنَ ٱلدِّينِ مَا لَمۡ يَأۡذَنۢ بِهِ ٱللَّهُۚ وَلَوۡلَا كَلِمَةُ ٱلۡفَصۡلِ لَقُضِيَ بَيۡنَهُمۡۗ وَإِنَّ ٱلظَّـٰلِمِينَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿٢١﴾
(Ekibabuza) oba balinayo be bagatta ku Katonda nga ba bateerawo amateeka g’eddiini ago Katonda ga takkiriza, era singa si kigambo ekyokusalawo (okulibaawo ku lunaku lw’enkomerero mangu ddala) wandiramuddwa wakati waabwe. Era mazima abeeyisa obubi balina ebibonerezo ebiruma ennyo.
تَرَى ٱلظَّـٰلِمِينَ مُشۡفِقِينَ مِمَّا كَسَبُواْ وَهُوَ وَاقِعُۢ بِهِمۡۗ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فِي رَوۡضَاتِ ٱلۡجَنَّاتِۖ لَهُم مَّا يَشَآءُونَ عِندَ رَبِّهِمۡۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَضۡلُ ٱلۡكَبِيرُ ﴿٢٢﴾
(Ku lunaku olwo) oliraba abeeyisa obubi nga beraliikirira olwebyo bye bakola, era nga ddala ekyo kigenda kubatuukako ate abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu balibeera mu bifo byo mu jjana, balifuna ebyo bye baliyagala ewa Mukama omulabirizi waabwe, ekyo kyo, bwe bulungi obusuffu.
إِنَّمَا ٱلسَّبِيلُ عَلَى ٱلَّذِينَ يَظۡلِمُونَ ٱلنَّاسَ وَيَبۡغُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿٤٢﴾
Mazima ekkubo (ly’okuvunaana) liri kwabo abayisa obubi abantu ne bonoona mu nsi awatali nsonga, abo balina ebibonerezo ebiruma ennyo.
وَلَن يَنفَعَكُمُ ٱلۡيَوۡمَ إِذ ظَّلَمۡتُمۡ أَنَّكُمۡ فِي ٱلۡعَذَابِ مُشۡتَرِكُونَ ﴿٣٩﴾
Mazima mmwe ekyokuba nti mwegattidde mu bibonerezo tekijja kubagasa olwaleero okuva lwe mweyisa obubi mwekka.
فَإِنَّ لِلَّذِينَ ظَلَمُواْ ذَنُوبٗا مِّثۡلَ ذَنُوبِ أَصۡحَٰبِهِمۡ فَلَا يَسۡتَعۡجِلُونِ ﴿٥٩﴾
Mazima abo abeeyisa obubi balina ebyonoono nga ebyonoono bya bannaabwe n’olwekyo tebampapya (kubatuusaako bibonerezo mu bwangu).
فَوَيۡلٞ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن يَوۡمِهِمُ ٱلَّذِي يُوعَدُونَ ﴿٦٠﴾
Okubonabona kuli eri abo abawakanya olunaku lwabwe olwo lwe baalaganyisibwa (olunaku lw’enkomerero).
فَذَرۡهُمۡ حَتَّىٰ يُلَٰقُواْ يَوۡمَهُمُ ٱلَّذِي فِيهِ يُصۡعَقُونَ ﴿٤٥﴾
Kale baleke okutuusa lwe balisisinkana olunaku lwabwe, olwo, ku lwo, lwe balizikirizibwa.
يَوۡمَ لَا يُغۡنِي عَنۡهُمۡ كَيۡدُهُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَا هُمۡ يُنصَرُونَ ﴿٤٦﴾
Olunaku enkwe zaabwe lwe zitalibagasa kintu kyonna, era nga bo tebalidduukirirwa.
وَإِنَّ لِلَّذِينَ ظَلَمُواْ عَذَابٗا دُونَ ذَٰلِكَ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٤٧﴾
Awamu n'ekyo mazima abo abeeyisa obubi batuusibwako ebibonerezo (ebirala kuno ku nsi) nga tebannatuuka ku biri, naye abasinga obungi ku bo tebamanyi.
وَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ فَإِنَّكَ بِأَعۡيُنِنَاۖ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ حِينَ تَقُومُ ﴿٤٨﴾
Kale gumikiriza ku kusalawo kwa Mukama omulabirizi wo, anti mazima ggwe oli wansi wa kulabirira kwaffe. Era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo, buli lwoliyimirira (okusaala).
وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡهُ وَإِدۡبَٰرَ ٱلنُّجُومِ ﴿٤٩﴾
Era n'ekiro mutendereze era omutendeze ekiseera we emmunyeenye wezibulira.
كَمَثَلِ ٱلشَّيۡطَٰنِ إِذۡ قَالَ لِلۡإِنسَٰنِ ٱكۡفُرۡ فَلَمَّا كَفَرَ قَالَ إِنِّي بَرِيٓءٞ مِّنكَ إِنِّيٓ أَخَافُ ٱللَّهَ رَبَّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿١٦﴾
(Abananfunsi mu kusendasenda abayudaaya) balinga Sitaane bwe gamba omuntu nti kaafuwala. Wabula bwakaafuwala Sitaane emugamba nti nze siri naawe, mazima nze ntya Katonda omulezi w'ebitonde.
فَكَانَ عَٰقِبَتَهُمَآ أَنَّهُمَا فِي ٱلنَّارِ خَٰلِدَيۡنِ فِيهَاۚ وَذَٰلِكَ جَزَـٰٓؤُاْ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿١٧﴾
Enkomerero y'a bombi neeba nga ddala baakubeera mu muliro olubeerera, eyo nno y'empeera y'a beeyisa obubi.