quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 3)

139 Aya · Emitwe · lg

Az-Zumar 39:10

قُلۡ يَٰعِبَادِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ رَبَّكُمۡۚ لِلَّذِينَ أَحۡسَنُواْ فِي هَٰذِهِ ٱلدُّنۡيَا حَسَنَةٞۗ وَأَرۡضُ ٱللَّهِ وَٰسِعَةٌۗ إِنَّمَا يُوَفَّى ٱلصَّـٰبِرُونَ أَجۡرَهُم بِغَيۡرِ حِسَابٖ ﴿١٠﴾

Gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaddu bange abakkiriza, mutye Mukama omulabirizi wa mmwe, balina abo abakola obulungi mu bulamu buno obwo ku nsi obulungi (nga bakyali ku nsi, ne mu bulamu obw'oluvanyuma) era ensi ya Katonda ngazi (muyinza okusenguka ku lw'okusinza Katonda wa mmwe mu mirembe) so nga bo ababa bagumiikirizza (ne batasenguka) baliweebwa empeera yaabwe awatali kubalirira.

Ghafir 40:55

فَٱصۡبِرۡ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞ وَٱسۡتَغۡفِرۡ لِذَنۢبِكَ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ بِٱلۡعَشِيِّ وَٱلۡإِبۡكَٰرِ ﴿٥٥﴾

Kale gumikiriza (ggwe Nabbi Muhammad) mazima endagaano ya Katonda ya mazima era saba ekisonyiwo olw'ekibi kyo, era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo olweggulo ne kumakya.

Ghafir 40:77

فَٱصۡبِرۡ إِنَّ وَعۡدَ ٱللَّهِ حَقّٞۚ فَإِمَّا نُرِيَنَّكَ بَعۡضَ ٱلَّذِي نَعِدُهُمۡ أَوۡ نَتَوَفَّيَنَّكَ فَإِلَيۡنَا يُرۡجَعُونَ ﴿٧٧﴾

Kale gumikiriza (ggwe Nabbi Muhammad) mazima endagaano ya Katonda ya mazima, kakibe nga ddala tukulaze ebimu kwebyo bye tubalaganyisa oba netukussaako okufa (nga tetubikulaze mu buli ngeri) bagenda kuzzibwa gyetuli.

Fussilat 41:34

وَلَا تَسۡتَوِي ٱلۡحَسَنَةُ وَلَا ٱلسَّيِّئَةُۚ ٱدۡفَعۡ بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ فَإِذَا ٱلَّذِي بَيۡنَكَ وَبَيۡنَهُۥ عَدَٰوَةٞ كَأَنَّهُۥ وَلِيٌّ حَمِيمٞ ﴿٣٤﴾

Era ekirungi n'ekibi tebyenkana, ggyawo (ekibi) ng’okozesa ekyo ekisinga obulungi, onogenda okulaba nga oyo awabadde wakatiiwo naye obulabe nga ddala yye ye womukwano ffa nfe.

Fussilat 41:35

وَمَا يُلَقَّىٰهَآ إِلَّا ٱلَّذِينَ صَبَرُواْ وَمَا يُلَقَّىٰهَآ إِلَّا ذُو حَظٍّ عَظِيمٖ ﴿٣٥﴾

Era (ekyo) tebayinza ku kiweebwa okugyako abo abagumikiriza era tayinza kukiweebwa okugyako ow'omukisa ogwamaanyi.

Ash-Shuraa 42:32

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِ ٱلۡجَوَارِ فِي ٱلۡبَحۡرِ كَٱلۡأَعۡلَٰمِ ﴿٣٢﴾

Era mu bubonero bwe g’emaato agaseyeeya ku nyanja nga galinga ensozi.

Ash-Shuraa 42:33

إِن يَشَأۡ يُسۡكِنِ ٱلرِّيحَ فَيَظۡلَلۡنَ رَوَاكِدَ عَلَىٰ ظَهۡرِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٍ ﴿٣٣﴾

Bwaba ayagadde asobola okuyimiriza empewo (amaato) negabeera nga gayimiridde ku ngulu kwayo (ennyanja, nga tegabbira), mazima mwekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri buli mugumikiriza ennyo omwebaza.

Ash-Shuraa 42:42

إِنَّمَا ٱلسَّبِيلُ عَلَى ٱلَّذِينَ يَظۡلِمُونَ ٱلنَّاسَ وَيَبۡغُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿٤٢﴾

Mazima ekkubo (ly’okuvunaana) liri kwabo abayisa obubi abantu ne bonoona mu nsi awatali nsonga, abo balina ebibonerezo ebiruma ennyo.

Ash-Shuraa 42:43

وَلَمَن صَبَرَ وَغَفَرَ إِنَّ ذَٰلِكَ لَمِنۡ عَزۡمِ ٱلۡأُمُورِ ﴿٤٣﴾

Naye omuntu agumikiriza nasonyiwa, mazima ddala ekyo kya mu bintu ebikkaatirizibwa (omukkiriza byateekwa okukola)

Al-Ahqaf 46:35

فَٱصۡبِرۡ كَمَا صَبَرَ أُوْلُواْ ٱلۡعَزۡمِ مِنَ ٱلرُّسُلِ وَلَا تَسۡتَعۡجِل لَّهُمۡۚ كَأَنَّهُمۡ يَوۡمَ يَرَوۡنَ مَا يُوعَدُونَ لَمۡ يَلۡبَثُوٓاْ إِلَّا سَاعَةٗ مِّن نَّهَارِۭۚ بَلَٰغٞۚ فَهَلۡ يُهۡلَكُ إِلَّا ٱلۡقَوۡمُ ٱلۡفَٰسِقُونَ ﴿٣٥﴾

N’olwekyo (gwe omubaka) gumikiriza nga ababaka abavumu bwe bagumukiriza era tobasabira bibonerezo ku batuukako mangu, naye olunaku lwe baliraba bye balaganyisibwa baliba nga abatawangaala okugyako akaseera katono mu budde obwemisana, (ebyo byonna ebibabuuliddwa) bubaka obutuusiddwa gye muli ate olwo balizikirizibwa okugyako abantu abonoonyi?.

Muhammad 47:31

وَلَنَبۡلُوَنَّكُمۡ حَتَّىٰ نَعۡلَمَ ٱلۡمُجَٰهِدِينَ مِنكُمۡ وَٱلصَّـٰبِرِينَ وَنَبۡلُوَاْ أَخۡبَارَكُمۡ ﴿٣١﴾

Era tujja kubagezesa okutuusa lwetunategeera abalafubana mu mmwe mu kuweereza mu kkubo lya Katonda nabagumikiriza, era tujja kugezesa ebigambo bya mmwe.

Al-Hujurat 49:4

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُنَادُونَكَ مِن وَرَآءِ ٱلۡحُجُرَٰتِ أَكۡثَرُهُمۡ لَا يَعۡقِلُونَ ﴿٤﴾

Mazima abo abakukowoolera emabega w’ebisenge abasinga obungi mu bo tebategeera.

Al-Hujurat 49:5

وَلَوۡ أَنَّهُمۡ صَبَرُواْ حَتَّىٰ تَخۡرُجَ إِلَيۡهِمۡ لَكَانَ خَيۡرٗا لَّهُمۡۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿٥﴾

Singa mazima bo bagumikiriza okutuusa lwofuluma n'ogenda gye bali, kyandibadde kirungi gye bali, era Katonda musonyiyi waakisa nnyo.

Qaf 50:39

فَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ قَبۡلَ طُلُوعِ ٱلشَّمۡسِ وَقَبۡلَ ٱلۡغُرُوبِ ﴿٣٩﴾

Kale gumikiriza ebyo bye bagamba, otendereze ebitendo bya Mukama omulabirizi wo nga enjuba tennavaayo, ne nga tennagwa.

Qaf 50:40

وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡهُ وَأَدۡبَٰرَ ٱلسُّجُودِ ﴿٤٠﴾

Era omutendereze ekiro nabuli luvannyuma lwa kuvunnama (okusaala e sswala ezalaalikibwa).

At-Tur 52:48

وَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ فَإِنَّكَ بِأَعۡيُنِنَاۖ وَسَبِّحۡ بِحَمۡدِ رَبِّكَ حِينَ تَقُومُ ﴿٤٨﴾

Kale gumikiriza ku kusalawo kwa Mukama omulabirizi wo, anti mazima ggwe oli wansi wa kulabirira kwaffe. Era tendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi wo, buli lwoliyimirira (okusaala).

At-Tur 52:49

وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡهُ وَإِدۡبَٰرَ ٱلنُّجُومِ ﴿٤٩﴾

Era n'ekiro mutendereze era omutendeze ekiseera we emmunyeenye wezibulira.

Al-Qamar 54:26

سَيَعۡلَمُونَ غَدٗا مَّنِ ٱلۡكَذَّابُ ٱلۡأَشِرُ ﴿٢٦﴾

Enkya bajja kumanya ani mulimba omwerazi.

Al-Qamar 54:27

إِنَّا مُرۡسِلُواْ ٱلنَّاقَةِ فِتۡنَةٗ لَّهُمۡ فَٱرۡتَقِبۡهُمۡ وَٱصۡطَبِرۡ ﴿٢٧﴾

(Anti) mazima ffe tujja kuweereza engamiya nga kikemo gye bali, olwo nno batunuulire nkaliriza era ogumikirize (ku nneeyisa yaabwe embi).

Al-Qalam 68:48

فَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ وَلَا تَكُن كَصَاحِبِ ٱلۡحُوتِ إِذۡ نَادَىٰ وَهُوَ مَكۡظُومٞ ﴿٤٨﴾

Kale nno beera mugumikiriza ku kusalawo kwa Katondawo, tobeera nga ow'ekyennyanja (Nabbi Yunus) eyatuuka okukowoola (Katondawe okumutaasa) nga ajjudde obunyiikaavu.

Al-Qalam 68:49

لَّوۡلَآ أَن تَدَٰرَكَهُۥ نِعۡمَةٞ مِّن رَّبِّهِۦ لَنُبِذَ بِٱلۡعَرَآءِ وَهُوَ مَذۡمُومٞ ﴿٤٩﴾

Singa teyafuna kyengera ekyava ewa Katondawe (ekyokukiriza okwenenyakwe) yandikasukiddwa mu nsi e nkalu (etariiko bulamu) nga naye anenyezebwa.

Al-Qalam 68:50

فَٱجۡتَبَٰهُ رَبُّهُۥ فَجَعَلَهُۥ مِنَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿٥٠﴾

Wabula Katonda yamulekera obwa Nabbi era namuteeka mu bantu abalongofu.

Al-Ma'arij 70:5

فَٱصۡبِرۡ صَبۡرٗا جَمِيلًا ﴿٥﴾

Kale nno gumikiriza olugumikiriza olulungi.

Al-Ma'arij 70:6

إِنَّهُمۡ يَرَوۡنَهُۥ بَعِيدٗا ﴿٦﴾

Mazima bbo balaba ebibonerezo nga biri wala.

Al-Ma'arij 70:7

وَنَرَىٰهُ قَرِيبٗا ﴿٧﴾

Ate nga ffe tulaba nga biri kumpi.

Al-Muzzammil 73:8

وَٱذۡكُرِ ٱسۡمَ رَبِّكَ وَتَبَتَّلۡ إِلَيۡهِ تَبۡتِيلٗا ﴿٨﴾

Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katondawo, e kiseera kyonna okimuwe.

Al-Muzzammil 73:9

رَّبُّ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ فَٱتَّخِذۡهُ وَكِيلٗا ﴿٩﴾

Mukama Katonda omufuziwo buvanjuba n'obugwanjuba tewali kirala kyonna kisaanye kusinzibwa okugyako yye, kale nno gwoba wesigamako.

Al-Muzzammil 73:10

وَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَا يَقُولُونَ وَٱهۡجُرۡهُمۡ هَجۡرٗا جَمِيلٗا ﴿١٠﴾

Era ogumikirize kw'ebyo bye boogera era obaveeko mu ngeri e nnungi.

Al-Muddaththir 74:6

وَلَا تَمۡنُن تَسۡتَكۡثِرُ ﴿٦﴾

Tokoleranga abantu obulungi ng'ogenderera kufunamu bulungi kuno ku nsi.

Al-Muddaththir 74:7

وَلِرَبِّكَ فَٱصۡبِرۡ ﴿٧﴾

Beeranga mugumikiriza osobole okufuna okusiima kwa Mukama Katondawo.

Al-Insan 76:11

فَوَقَىٰهُمُ ٱللَّهُ شَرَّ ذَٰلِكَ ٱلۡيَوۡمِ وَلَقَّىٰهُمۡ نَضۡرَةٗ وَسُرُورٗا ﴿١١﴾

N'olwekyo nno Katonda wakubawonya obuzibu bw'olunaku olwo era abawe okutangalijja kwe byenyi awamu n'essanyu.

Al-Insan 76:12

وَجَزَىٰهُم بِمَا صَبَرُواْ جَنَّةٗ وَحَرِيرٗا ﴿١٢﴾

Era wakubasasula olwobugumikiriza, nga abayingiza e jjana omuli ebyambalo bya Siliki (awamu nokuba nti kunsi abasajja baaziyizibwa okumwambala).

Al-Insan 76:23

إِنَّا نَحۡنُ نَزَّلۡنَا عَلَيۡكَ ٱلۡقُرۡءَانَ تَنزِيلٗا ﴿٢٣﴾

Mazima ffe twakussaako Kur'ani (gwe Nabbi Muhammad) olussa.

Al-Insan 76:24

فَٱصۡبِرۡ لِحُكۡمِ رَبِّكَ وَلَا تُطِعۡ مِنۡهُمۡ ءَاثِمًا أَوۡ كَفُورٗا ﴿٢٤﴾

Kale nno beera mugumikiriza ku kugera kwa Katondawo, togezaako okugondera omwonoonyi oba omuwakanyi yenna.

Al-Insan 76:25

وَٱذۡكُرِ ٱسۡمَ رَبِّكَ بُكۡرَةٗ وَأَصِيلٗا ﴿٢٥﴾

Era yogeranga kulinnya lya Mukama Katondawo enkya neggulo.

Al-Insan 76:26

وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَٱسۡجُدۡ لَهُۥ وَسَبِّحۡهُ لَيۡلٗا طَوِيلًا ﴿٢٦﴾

Ne mukiro muvunnamire ng'osaala era omutendereze mu ttumbi ebbanga ggwanvu.

Al-'Asr 103:1

وَٱلۡعَصۡرِ ﴿١﴾

Ndayira omulembe (buli mulembe)

Al-'Asr 103:2

إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَفِي خُسۡرٍ ﴿٢﴾

Mazima ddala omuntu yenna gy’afa yenkana ali mu kufaafaaganirwa.

Al-'Asr 103:3

إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَتَوَاصَوۡاْ بِٱلۡحَقِّ وَتَوَاصَوۡاْ بِٱلصَّبۡرِ ﴿٣﴾

Okugyako abo abakkiriza Katonda (mu nzikiriza entuufu) ate ne bakola e mirimu emirungi, era ne balaamirigana okukoleranga ku mazima (mu bulamu bwabwe bwonna) era ne balaamiragana okubeera abagumikiriza (mu bulamu bwabwe bwonna).

Emitwe