وَحَفِظۡنَٰهَا مِن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ رَّجِيمٍ ﴿١٧﴾
Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda.
68 Aya · Emitwe · lg
وَحَفِظۡنَٰهَا مِن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ رَّجِيمٍ ﴿١٧﴾
Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda.
إِلَّا مَنِ ٱسۡتَرَقَ ٱلسَّمۡعَ فَأَتۡبَعَهُۥ شِهَابٞ مُّبِينٞ ﴿١٨﴾
Wabula oyo Sitane aba awulirizza mu bubba olwo nno ekitawuliro ekyeyolefu nekimufubutula emisinde.
تَبَارَكَ ٱلَّذِي جَعَلَ فِي ٱلسَّمَآءِ بُرُوجٗا وَجَعَلَ فِيهَا سِرَٰجٗا وَقَمَرٗا مُّنِيرٗا ﴿٦١﴾
. Musukkulumu oyo eyassa mu ggulu ebifo ebibeeramu emmunyeenye, era nassaamu ettaala (enjuba eyaka) n'omwezi oguwa ekitangaala.
وَٱلسَّمَآءِ ذَاتِ ٱلۡبُرُوجِ ﴿١﴾
Ndayira e ggulu eririmu ebifo omutambulira e munyeenye (nga mwe muli e njuba n’omwezi).
وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡمَوۡعُودِ ﴿٢﴾
Era ndayira olunaku olwalagaanyisibwa (olunaku lw’enkomerero)
أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِي حَآجَّ إِبۡرَٰهِـۧمَ فِي رَبِّهِۦٓ أَنۡ ءَاتَىٰهُ ٱللَّهُ ٱلۡمُلۡكَ إِذۡ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ رَبِّيَ ٱلَّذِي يُحۡيِۦ وَيُمِيتُ قَالَ أَنَا۠ أُحۡيِۦ وَأُمِيتُۖ قَالَ إِبۡرَٰهِـۧمُ فَإِنَّ ٱللَّهَ يَأۡتِي بِٱلشَّمۡسِ مِنَ ٱلۡمَشۡرِقِ فَأۡتِ بِهَا مِنَ ٱلۡمَغۡرِبِ فَبُهِتَ ٱلَّذِي كَفَرَۗ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٢٥٨﴾
Tolaba oyo eyawakana ne Ibrahim ku bwomu bwa Katonda we, olwokuba nno bambi Katonda yamuwa obufuzi ekyamuletera okwekuluntaza, Ibrahim bweyamugamba nti Katonda wange yooyo awa obulamu era natta, ye naddamu nti nze mpa obulamu era nenzita, Ibrahim naagamba nti mazima Katonda enjuba agiggya buvanjuba kale ggwe giggye ebugwanjuba. Awo nno omuwakanyi oyo ebigambo nebimuggwako anti bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ ٱلشَّمۡسَ ضِيَآءٗ وَٱلۡقَمَرَ نُورٗا وَقَدَّرَهُۥ مَنَازِلَ لِتَعۡلَمُواْ عَدَدَ ٱلسِّنِينَ وَٱلۡحِسَابَۚ مَا خَلَقَ ٱللَّهُ ذَٰلِكَ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۚ يُفَصِّلُ ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَعۡلَمُونَ ﴿٥﴾
(Katonda) yye yooyo eyassaawo e njuba nga eyaka, nassaawo omwezi nga kitangaala, n'agugerera e bifo (mwe gubeera mu biseera eby'enjawulo) kibasobozese okumanya omuwendo gw'emyaka n'okubala, ebyo Katonda teyabikola okugyako mu butuufu bwa byo (nga bwebiteekwa okuba), bulijjo Katonda annyonnyola obubonero (obulaga obuyinza bwe n'obusobozibwe) eri abantu abamanyi.
وَلَئِن سَأَلۡتَهُم مَّنۡ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ لَيَقُولُنَّ ٱللَّهُۖ فَأَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ ﴿٦١﴾
. Abakaafiiri bwoba nga obabuuzizza nti ani eyatonda eggulu omusanvu n'ensi n'agonza e njuba n'omwezi? bajja kukugambira ddala nti Katonda, ate olwo bakyusibwa batya okuva ku mazima!.
وَمِنۡ ءَايَٰتِهِ ٱلَّيۡلُ وَٱلنَّهَارُ وَٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُۚ لَا تَسۡجُدُواْ لِلشَّمۡسِ وَلَا لِلۡقَمَرِ وَٱسۡجُدُواْۤ لِلَّهِۤ ٱلَّذِي خَلَقَهُنَّ إِن كُنتُمۡ إِيَّاهُ تَعۡبُدُونَ ﴿٣٧﴾
Ne mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kye kiro n’emisana ne njuba n’omwezi, temuvunnamiranga enjuba wadde omwezi, muvunnamirenga Katonda oyo eyabitonda bwe muba nga yye yekka gwe musinza.
إِنِّي وَجَدتُّ ٱمۡرَأَةٗ تَمۡلِكُهُمۡ وَأُوتِيَتۡ مِن كُلِّ شَيۡءٖ وَلَهَا عَرۡشٌ عَظِيمٞ ﴿٢٣﴾
. Mazima nze nnasanze nga omukyala y'abafuga ate nga yaweebwa buli kintu, era alina namulondo empitirivu.
وَجَدتُّهَا وَقَوۡمَهَا يَسۡجُدُونَ لِلشَّمۡسِ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَعۡمَٰلَهُمۡ فَصَدَّهُمۡ عَنِ ٱلسَّبِيلِ فَهُمۡ لَا يَهۡتَدُونَ ﴿٢٤﴾
. Namusanze (yye) n'abantube nga bavunnamira enjuba nebava ku Katonda, era Sitane yabanyiririza emirimu gya bwe, olwo nno n'ebagya ku kkubo n'olwekyo bo tebagenda kulungama.
وَءَايَةٞ لَّهُمُ ٱلَّيۡلُ نَسۡلَخُ مِنۡهُ ٱلنَّهَارَ فَإِذَا هُم مُّظۡلِمُونَ ﴿٣٧﴾
. Era ekiro kabonero gye bali anti tukijjako obudde obw'emisana ogenda okulaba nga bali mu nzikiza.
وَٱلشَّمۡسُ تَجۡرِي لِمُسۡتَقَرّٖ لَّهَاۚ ذَٰلِكَ تَقۡدِيرُ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡعَلِيمِ ﴿٣٨﴾
. Ne njuba etambulira ku biragiro ebyagiweebwa, okwo kwe kugera kwa (Katonda) nantakubwa ku mukono amanyi ennyo.
وَٱلۡقَمَرَ قَدَّرۡنَٰهُ مَنَازِلَ حَتَّىٰ عَادَ كَٱلۡعُرۡجُونِ ٱلۡقَدِيمِ ﴿٣٩﴾
. Nga n'omwezi (kabonero gye bali), twagugerera ebifo (mwe gutambulira) okutuusa lwe guddayo neguba nga ekikolokomba ekikadde.
لَا ٱلشَّمۡسُ يَنۢبَغِي لَهَآ أَن تُدۡرِكَ ٱلۡقَمَرَ وَلَا ٱلَّيۡلُ سَابِقُ ٱلنَّهَارِۚ وَكُلّٞ فِي فَلَكٖ يَسۡبَحُونَ ﴿٤٠﴾
. Tekisoboka enjuba kusisinkana mwezi era n'ekiro tekigenda kukulembera misana na buli kimu ku byombi kiri mu bbanga kiwuga.
ٱقۡتَرَبَتِ ٱلسَّاعَةُ وَٱنشَقَّ ٱلۡقَمَرُ ﴿١﴾
Enkomerero esembedde n'omwezi ne gubejjukamu.
وَإِن يَرَوۡاْ ءَايَةٗ يُعۡرِضُواْ وَيَقُولُواْ سِحۡرٞ مُّسۡتَمِرّٞ ﴿٢﴾
Bwe balaba ekya magero bakyawukanamu ne bagamba nti lino ddogo eritakoma.
وَٱلۡقَمَرِ إِذَا ٱتَّسَقَ ﴿١٨﴾
Era ndayira omwezi bwe guba gujjudde.