Al-Jathiyah 45:16وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحُكۡمَ وَٱلنُّبُوَّةَ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَفَضَّلۡنَٰهُمۡ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿١٦﴾
Mazima twawa abaana ba Israil ekitabo n’okulamula wakati wa bantu n’obwa Nabbi netubagabirira ebirungi era netubasukkulumya ku bantu abalala (abaaliwo ku mulembe gwabwe).
Adh-Dhariyat 51:22وَفِي ٱلسَّمَآءِ رِزۡقُكُمۡ وَمَا تُوعَدُونَ ﴿٢٢﴾
Ne muggulu y'eri riziki za mmwe na byonna bye mulagaanyisibwa.
Adh-Dhariyat 51:23فَوَرَبِّ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ إِنَّهُۥ لَحَقّٞ مِّثۡلَ مَآ أَنَّكُمۡ تَنطِقُونَ ﴿٢٣﴾
Kale ndayidde Mukama omulabirizi we ggulu n'ensi, nti ekyo bwekityo bwekiri (era nga ekyo buli muntu yenna akimanyi) nga bwe mumanyi nti mwatula.
At-Talaq 65:2فَإِذَا بَلَغۡنَ أَجَلَهُنَّ فَأَمۡسِكُوهُنَّ بِمَعۡرُوفٍ أَوۡ فَارِقُوهُنَّ بِمَعۡرُوفٖ وَأَشۡهِدُواْ ذَوَيۡ عَدۡلٖ مِّنكُمۡ وَأَقِيمُواْ ٱلشَّهَٰدَةَ لِلَّهِۚ ذَٰلِكُمۡ يُوعَظُ بِهِۦ مَن كَانَ يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِۚ وَمَن يَتَّقِ ٱللَّهَ يَجۡعَل لَّهُۥ مَخۡرَجٗا ﴿٢﴾
Kale nno bwe baba nga basemberedde okumalako ebbanga lya Idda yaabwe mubaddirengamu, mu ngeri ennungi, oba mwawukane nabo mu ngeri ennungi (ebbanga lya Idda bwe riba liweddeko). Mubeerewo n'abajulizi babiri abeesimbu mu bantu ba mmwe, muwenga obujulizi mu bwe simbu kulwa Katonda, ebyo nno bibuulirirwa nabyo oyo yenna akkiriza Katonda n'olunaku lw'enkomerero. Bulijjo oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu.
At-Talaq 65:3وَيَرۡزُقۡهُ مِنۡ حَيۡثُ لَا يَحۡتَسِبُۚ وَمَن يَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِ فَهُوَ حَسۡبُهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بَٰلِغُ أَمۡرِهِۦۚ قَدۡ جَعَلَ ٱللَّهُ لِكُلِّ شَيۡءٖ قَدۡرٗا ﴿٣﴾
Era naamugabirira mu ngeri gyatasuubira, era oyo yenna eyeesiga Katonda, Katonda amumala, anti Katonda ekigambokye kye kyenkomeredde, mazima Katonda yategeka ekigero kya buli kintu.
At-Talaq 65:11رَّسُولٗا يَتۡلُواْ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ مُبَيِّنَٰتٖ لِّيُخۡرِجَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ مِنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِۚ وَمَن يُؤۡمِنۢ بِٱللَّهِ وَيَعۡمَلۡ صَٰلِحٗا يُدۡخِلۡهُ جَنَّـٰتٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۖ قَدۡ أَحۡسَنَ ٱللَّهُ لَهُۥ رِزۡقًا ﴿١١﴾
Omubaka nga abasomera ebigambo bya Katonda ebinnyonnyola, nga ekigendererwa kwe kugya mu bizikiza abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi n'abazza mu kitangaala. Oyo yenna akkiriza Katonda n'akola e mirimu e mirungi, Katonda agenda kumuyingiza mu jjana, nga e migga gikulukutira muzo, baakubeera muzo olubeerera. (Omuntu ow'engeri eyo) Katonda yamutebenkereza enfuna (mu bulamu obwo luvannyuma).
Al-Mulk 67:21أَمَّنۡ هَٰذَا ٱلَّذِي يَرۡزُقُكُمۡ إِنۡ أَمۡسَكَ رِزۡقَهُۥۚ بَل لَّجُّواْ فِي عُتُوّٖ وَنُفُورٍ ﴿٢١﴾
Ye abaffe ani oyo ayinza okubagabirira singa Katonda abajjako okugabirirakwe. Wabula baagwa mu kateebe k'okuwalaaza empaka n'okwewaggula.
Al-Mulk 67:15هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ ذَلُولٗا فَٱمۡشُواْ فِي مَنَاكِبِهَا وَكُلُواْ مِن رِّزۡقِهِۦۖ وَإِلَيۡهِ ٱلنُّشُورُ ﴿١٥﴾
Yye yoyo eyabafuulira ensi enyangu, kale mutambule mu bitundu byayo mulye mu bigabwabye era gyali gye mugenda okudda.
Al-Anfal 8:53ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ لَمۡ يَكُ مُغَيِّرٗا نِّعۡمَةً أَنۡعَمَهَا عَلَىٰ قَوۡمٍ حَتَّىٰ يُغَيِّرُواْ مَا بِأَنفُسِهِمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ ﴿٥٣﴾
Ebyo ebituuse ku bakaafiiri (bibasaanira), anti mazima Katonda takyusa kyengera kyaba awadde bantu, okutuusa nga bo bennyini bakyusizza embeera zaabwe, era nga bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, mumanyi nnyo.
An-Nahl 16:53وَمَا بِكُم مِّن نِّعۡمَةٖ فَمِنَ ٱللَّهِۖ ثُمَّ إِذَا مَسَّكُمُ ٱلضُّرُّ فَإِلَيۡهِ تَجۡـَٔرُونَ ﴿٥٣﴾
Buli kyengera kyonna kye mulina kiva eri Katonda, oluvanyuma akabi bwe kabatuukako gyali gye musaba okuyambibwa.
An-Nahl 16:18وَإِن تَعُدُّواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ لَا تُحۡصُوهَآۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿١٨﴾
Ne bwe mubala ebyengera bya Katonda temusobola kubikomekkereza, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.
An-Nahl 16:112وَضَرَبَ ٱللَّهُ مَثَلٗا قَرۡيَةٗ كَانَتۡ ءَامِنَةٗ مُّطۡمَئِنَّةٗ يَأۡتِيهَا رِزۡقُهَا رَغَدٗا مِّن كُلِّ مَكَانٖ فَكَفَرَتۡ بِأَنۡعُمِ ٱللَّهِ فَأَذَٰقَهَا ٱللَّهُ لِبَاسَ ٱلۡجُوعِ وَٱلۡخَوۡفِ بِمَا كَانُواْ يَصۡنَعُونَ ﴿١١٢﴾
Era Katonda yakuba ekifaananyi ky'ekitundu ekyali emirembe nga kitebenkedde, nga eby'okulya by'akyo bikijjira mu bungi, nga biva mu buli kifo, (ekitundu ekyo) nekiwakanya ebyengera bya Katonda, Katonda naakikombya ku kyambalo (kya nnawokeera) w'eenjala n'okutya, (ebyo byonna byabatuukako) olw'ebyo bye baakola.
An-Nahl 16:121شَاكِرٗا لِّأَنۡعُمِهِۚ ٱجۡتَبَىٰهُ وَهَدَىٰهُ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿١٢١﴾
Nga yeebaza ebyengera bye, yamwawula, era naamulungamya ku kkubo eggolokofu.
Ibrahim 14:34وَءَاتَىٰكُم مِّن كُلِّ مَا سَأَلۡتُمُوهُۚ وَإِن تَعُدُّواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ لَا تُحۡصُوهَآۗ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَظَلُومٞ كَفَّارٞ ﴿٣٤﴾
Era naabawa ekyo kyonna kye mumusaba, singa mugezaako okubala ebyengera bya Katonda temuyinza kubimalayo, anti mazima bulijjo omuntu yeeyisa bubi, yeewakana ebyengera.
An-Naml 27:19فَتَبَسَّمَ ضَاحِكٗا مِّن قَوۡلِهَا وَقَالَ رَبِّ أَوۡزِعۡنِيٓ أَنۡ أَشۡكُرَ نِعۡمَتَكَ ٱلَّتِيٓ أَنۡعَمۡتَ عَلَيَّ وَعَلَىٰ وَٰلِدَيَّ وَأَنۡ أَعۡمَلَ صَٰلِحٗا تَرۡضَىٰهُ وَأَدۡخِلۡنِي بِرَحۡمَتِكَ فِي عِبَادِكَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿١٩﴾
. Mu kiseera ekyo (Sulaiman) naamwenya ng'ate aseka olw'ekigambo kyayo era naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, nyamba mbe nga nsobola okwebaza ebyengerabyo ebyo bye wangabira era n'ebyo bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola ebirungi byosiima era ku lw'okusaasirakwo onnyingize mu baddubo abalongoofu.
Luqman 31:20أَلَمۡ تَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ سَخَّرَ لَكُم مَّا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَأَسۡبَغَ عَلَيۡكُمۡ نِعَمَهُۥ ظَٰهِرَةٗ وَبَاطِنَةٗۗ وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُجَٰدِلُ فِي ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَلَا هُدٗى وَلَا كِتَٰبٖ مُّنِيرٖ ﴿٢٠﴾
. Abaffe temulaba nti mazima Katonda yabagondeza ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, era n'abawa mu bungi ebyengerabye eby'okungulu n'ebyomunda, naye mu bantu mulimu abawalaaza empaka ku bikwata ku Katonda awatali kusinziira ku kumanya kwonna wadde obulungamu wadde e kitabo ekibamulisiza e kkubo.
Az-Zukhruf 43:59إِنۡ هُوَ إِلَّا عَبۡدٌ أَنۡعَمۡنَا عَلَيۡهِ وَجَعَلۡنَٰهُ مَثَلٗا لِّبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ﴿٥٩﴾
(Isa) tali yye okugyako okuba nti muddu waffe nga abalala, twamugabira ekyengera (kyo bwa Nabbi) era netumufuula ekyokulabirako eri abaaana ba Israil.
Ad-Dukhan 44:25كَمۡ تَرَكُواْ مِن جَنَّـٰتٖ وَعُيُونٖ ﴿٢٥﴾
Amalimiro ne nsulo z’amazzi bimeka bye baaleka?.
Ad-Dukhan 44:26وَزُرُوعٖ وَمَقَامٖ كَرِيمٖ ﴿٢٦﴾
N’ebimera, n’ebifo ebye bitiibwa.
Ad-Dukhan 44:27وَنَعۡمَةٖ كَانُواْ فِيهَا فَٰكِهِينَ ﴿٢٧﴾
Nebyengera ebirala bingi bye baali beyagaliramu.
Al-Qamar 54:35نِّعۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَاۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي مَن شَكَرَ ﴿٣٥﴾
Ekyo kyengera okuva gye tuli bwe tutyo nno, bwe tusasula oyo eyeebaza.
Al-Fajr 89:15فَأَمَّا ٱلۡإِنسَٰنُ إِذَا مَا ٱبۡتَلَىٰهُ رَبُّهُۥ فَأَكۡرَمَهُۥ وَنَعَّمَهُۥ فَيَقُولُ رَبِّيٓ أَكۡرَمَنِ ﴿١٥﴾
Wabula omuntu, Omuleziwe (Katonda) bw'amugezesa n'amugabira e birungi, omuntu oyo agamba nti Katonda wange ampadde.
Ad-Duhaa 93:1وَٱلضُّحَىٰ ﴿١﴾
Ndayira ekiseera ky’a kalasa mayanzi.
Ad-Duhaa 93:2وَٱلَّيۡلِ إِذَا سَجَىٰ ﴿٢﴾
Era ndayira e kiro bwekiba nga kikutte.
Ad-Duhaa 93:3مَا وَدَّعَكَ رَبُّكَ وَمَا قَلَىٰ ﴿٣﴾
Omuleziwo Katonda takwabuliranga (gwe Nabbi Muhammad) era takukyawanga.
Ad-Duhaa 93:4وَلَلۡأٓخِرَةُ خَيۡرٞ لَّكَ مِنَ ٱلۡأُولَىٰ ﴿٤﴾
Era ddala e nkomerero y’ennungi gy’oli okusinga entandikwa.
Ad-Duhaa 93:5وَلَسَوۡفَ يُعۡطِيكَ رَبُّكَ فَتَرۡضَىٰٓ ﴿٥﴾
Era ddala Omuleziwo ajja kukuwa naawe osiime.
Ad-Duhaa 93:6أَلَمۡ يَجِدۡكَ يَتِيمٗا فَـَٔاوَىٰ ﴿٦﴾
Teyakusanga ng’oli mulekwa n'akulabirira?
Ad-Duhaa 93:7وَوَجَدَكَ ضَآلّٗا فَهَدَىٰ ﴿٧﴾
Era teyakusanga nga tomanyi n’akulungamya?
Ad-Duhaa 93:8وَوَجَدَكَ عَآئِلٗا فَأَغۡنَىٰ ﴿٨﴾
Era teyakusanga nga oli mwavu n’akugaggawaza?
Ad-Duhaa 93:9فَأَمَّا ٱلۡيَتِيمَ فَلَا تَقۡهَرۡ ﴿٩﴾
Kale nno mulekwa tomukaayuukiranga.
Ad-Duhaa 93:10وَأَمَّا ٱلسَّآئِلَ فَلَا تَنۡهَرۡ ﴿١٠﴾
N’omuntu asaba tomuboggoleranga.
Ad-Duhaa 93:11وَأَمَّا بِنِعۡمَةِ رَبِّكَ فَحَدِّثۡ ﴿١١﴾
Ate era e kyengera kyonna Omuleziwo Katonda ky’abanga akuwadde kinyumyengako.
Ar-Rahman 55:19مَرَجَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ يَلۡتَقِيَانِ ﴿١٩﴾
Yagatta enyanja ebbiri (ez’amazzi agenjawulo aganyweka na gatanyweka) zesisinkana.
Ar-Rahman 55:20بَيۡنَهُمَا بَرۡزَخٞ لَّا يَبۡغِيَانِ ﴿٢٠﴾
Wakati wa zombi waliwo ekyawula, tezigenda kwetabula.
Ar-Rahman 55:21فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿٢١﴾
Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).
Ar-Rahman 55:22يَخۡرُجُ مِنۡهُمَا ٱللُّؤۡلُؤُ وَٱلۡمَرۡجَانُ ﴿٢٢﴾
Ate nga mu zombi mwe muva Luulu ne Marijaani (amayinja ag’omuwendo).
Al-Muddaththir 74:12وَجَعَلۡتُ لَهُۥ مَالٗا مَّمۡدُودٗا ﴿١٢﴾
Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu.
Al-Qalam 68:14أَن كَانَ ذَا مَالٖ وَبَنِينَ ﴿١٤﴾
Tomugondera olwokuba alina emmali n'abaana.
Al-Masad 111:2مَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُ مَالُهُۥ وَمَا كَسَبَ ﴿٢﴾
Eby'obugaggabwe tebimugasizza, wadde n’ebirala bye yafuna, (nga e kitiibwa).
Yusuf 12:56وَكَذَٰلِكَ مَكَّنَّا لِيُوسُفَ فِي ٱلۡأَرۡضِ يَتَبَوَّأُ مِنۡهَا حَيۡثُ يَشَآءُۚ نُصِيبُ بِرَحۡمَتِنَا مَن نَّشَآءُۖ وَلَا نُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿٥٦﴾
Bwe tutyo nno twawa Yusuf obuvunaanyizibwa mu nsi (Misiri) nga adda eno n'eri mu yo nga bwayagala. Tussa okusaasira kwa ffe ku oyo gwe tuba twagadde era tetuyinza butasasula bakozi ba bulungi.
Al-Kahf 18:32۞وَٱضۡرِبۡ لَهُم مَّثَلٗا رَّجُلَيۡنِ جَعَلۡنَا لِأَحَدِهِمَا جَنَّتَيۡنِ مِنۡ أَعۡنَٰبٖ وَحَفَفۡنَٰهُمَا بِنَخۡلٖ وَجَعَلۡنَا بَيۡنَهُمَا زَرۡعٗا ﴿٣٢﴾
. Era bakubire ekifaananyi ky'abasajja babiri nga omu ku bo twamuwa ennimiro bbiri eze Nzabibu zetwassaako olukomera olw'emitende, ate wakati waazo netussaamu ebirime ebirala.
Al-Kahf 18:33كِلۡتَا ٱلۡجَنَّتَيۡنِ ءَاتَتۡ أُكُلَهَا وَلَمۡ تَظۡلِم مِّنۡهُ شَيۡـٔٗاۚ وَفَجَّرۡنَا خِلَٰلَهُمَا نَهَرٗا ﴿٣٣﴾
. Ennimiro zombi zaabala bulungi, tewali katundu kataabala, era nga twassa wakati waazo emigga.
Al-Kahf 18:34وَكَانَ لَهُۥ ثَمَرٞ فَقَالَ لِصَٰحِبِهِۦ وَهُوَ يُحَاوِرُهُۥٓ أَنَا۠ أَكۡثَرُ مِنكَ مَالٗا وَأَعَزُّ نَفَرٗا ﴿٣٤﴾
. (Omu ku basajja ababiri) naaba nga afunye amakungula (amalungi) naagamba munne nga anyumya naye nti nze nkusinza emmaali era nga bwe nkusinza abantu.
Al-Kahf 18:35وَدَخَلَ جَنَّتَهُۥ وَهُوَ ظَالِمٞ لِّنَفۡسِهِۦ قَالَ مَآ أَظُنُّ أَن تَبِيدَ هَٰذِهِۦٓ أَبَدٗا ﴿٣٥﴾
. Olwo nno naayingira ennimiro yye nga yeeyisizza bubi yennyini, naagamba nti sirowooza nti bino biyinza okuggwawo.
Al-Kahf 18:36وَمَآ أَظُنُّ ٱلسَّاعَةَ قَآئِمَةٗ وَلَئِن رُّدِدتُّ إِلَىٰ رَبِّي لَأَجِدَنَّ خَيۡرٗا مِّنۡهَا مُنقَلَبٗا ﴿٣٦﴾
. Era nga bwe ssirowooza nti essaawa ey'enkomerero egenda kubaawo (katugambe nti kibaddewo) bwe ndizzibwa ewa Mukama omulabirizi wange ngenda kufuna ebisinga obulungi ku bino.
Al-Kahf 18:37قَالَ لَهُۥ صَاحِبُهُۥ وَهُوَ يُحَاوِرُهُۥٓ أَكَفَرۡتَ بِٱلَّذِي خَلَقَكَ مِن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ سَوَّىٰكَ رَجُلٗا ﴿٣٧﴾
. Munne naamuddamu nga amugamba nti owakanyizza oyo eyakutonda nga akuggya mu ttaka oluvanyuma naakuggya mu mazzi agazaala oluvanyuma naakukola nga oli Muntu omujjuvu.
Al-Kahf 18:38لَّـٰكِنَّا۠ هُوَ ٱللَّهُ رَبِّي وَلَآ أُشۡرِكُ بِرَبِّيٓ أَحَدٗا ﴿٣٨﴾
. Naye nze ngamba nti mazima yye Katonda ye Mukama omulabirizi wange era siyinza kugatta ku Mukama Mulabirizi wange mulala yenna.
Al-Kahf 18:39وَلَوۡلَآ إِذۡ دَخَلۡتَ جَنَّتَكَ قُلۡتَ مَا شَآءَ ٱللَّهُ لَا قُوَّةَ إِلَّا بِٱللَّهِۚ إِن تَرَنِ أَنَا۠ أَقَلَّ مِنكَ مَالٗا وَوَلَدٗا ﴿٣٩﴾
. Kale singa ggwe bwe wabadde oyingira ennimiroyo wagambye nti: ekyo kyonna Katonda kyaba ayagadde kyekiba, tewali maanyi okugyako nga Katonda y'agagabye, newaakubadde nga ondaba nga nze nnina emmaali ntono n'abaana batono obutenkana ggwe.
Al-Kahf 18:40فَعَسَىٰ رَبِّيٓ أَن يُؤۡتِيَنِ خَيۡرٗا مِّن جَنَّتِكَ وَيُرۡسِلَ عَلَيۡهَا حُسۡبَانٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ فَتُصۡبِحَ صَعِيدٗا زَلَقًا ﴿٤٠﴾
. Nina essuubi nti Mukama omulabirizi wange lumu alimpa ebirungi okusinga ennimiroyo ate naasindikira eyiyo kibuyaga okuva waggulu neekeesa enkya ttaka jjereere.