فَلَنُذِيقَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ عَذَابٗا شَدِيدٗا وَلَنَجۡزِيَنَّهُمۡ أَسۡوَأَ ٱلَّذِي كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿٢٧﴾
Ddala tugenda kukombya abo abaakafuwala ku bibonerezo ebikakali era tugenda kubasasulira ddala obubi bwebyo bye baalinga bakola.
103 Aya · Emitwe · lg
فَلَنُذِيقَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ عَذَابٗا شَدِيدٗا وَلَنَجۡزِيَنَّهُمۡ أَسۡوَأَ ٱلَّذِي كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿٢٧﴾
Ddala tugenda kukombya abo abaakafuwala ku bibonerezo ebikakali era tugenda kubasasulira ddala obubi bwebyo bye baalinga bakola.
وَٱلَّذِينَ يُحَآجُّونَ فِي ٱللَّهِ مِنۢ بَعۡدِ مَا ٱسۡتُجِيبَ لَهُۥ حُجَّتُهُمۡ دَاحِضَةٌ عِندَ رَبِّهِمۡ وَعَلَيۡهِمۡ غَضَبٞ وَلَهُمۡ عَذَابٞ شَدِيدٌ ﴿١٦﴾
N'abo abawakana ku bikwata ku Katonda, oluvanyuma lwo kuba nti (omubaka Muhammad) yayanukulwa (nagobererwa), ensonga yaabwe ya butaliimu mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, era baliko obusungu n'ebibonerezo ebikambwe.
قُل لِّلۡمُخَلَّفِينَ مِنَ ٱلۡأَعۡرَابِ سَتُدۡعَوۡنَ إِلَىٰ قَوۡمٍ أُوْلِي بَأۡسٖ شَدِيدٖ تُقَٰتِلُونَهُمۡ أَوۡ يُسۡلِمُونَۖ فَإِن تُطِيعُواْ يُؤۡتِكُمُ ٱللَّهُ أَجۡرًا حَسَنٗاۖ وَإِن تَتَوَلَّوۡاْ كَمَا تَوَلَّيۡتُم مِّن قَبۡلُ يُعَذِّبۡكُمۡ عَذَابًا أَلِيمٗا ﴿١٦﴾
Gamba abo abaasigala mu ba nnamalungu, nti lumu mujja kuyitibwa okugenda eri abantu abaamaanyi amayitirivu mube nga mulwanagana nabo oba basiramuke, awo nno singa muligonda (nemutuukiriza ekiragiro) Katonda ajja kubawa empeera ennungi, naye kemulimala muva kwekyo (ne mutalwana) nga bwe mwakyuka oluberyeberye (bwe mutaalwana) agenda kubabonereza ebibonerezo ebiruma ennyo.
مُّحَمَّدٞ رَّسُولُ ٱللَّهِۚ وَٱلَّذِينَ مَعَهُۥٓ أَشِدَّآءُ عَلَى ٱلۡكُفَّارِ رُحَمَآءُ بَيۡنَهُمۡۖ تَرَىٰهُمۡ رُكَّعٗا سُجَّدٗا يَبۡتَغُونَ فَضۡلٗا مِّنَ ٱللَّهِ وَرِضۡوَٰنٗاۖ سِيمَاهُمۡ فِي وُجُوهِهِم مِّنۡ أَثَرِ ٱلسُّجُودِۚ ذَٰلِكَ مَثَلُهُمۡ فِي ٱلتَّوۡرَىٰةِۚ وَمَثَلُهُمۡ فِي ٱلۡإِنجِيلِ كَزَرۡعٍ أَخۡرَجَ شَطۡـَٔهُۥ فَـَٔازَرَهُۥ فَٱسۡتَغۡلَظَ فَٱسۡتَوَىٰ عَلَىٰ سُوقِهِۦ يُعۡجِبُ ٱلزُّرَّاعَ لِيَغِيظَ بِهِمُ ٱلۡكُفَّارَۗ وَعَدَ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ مِنۡهُم مَّغۡفِرَةٗ وَأَجۡرًا عَظِيمَۢا ﴿٢٩﴾
Muhammad Mubaka wa Katonda era abo abali naye bakambwe ku bakafiiri, basaasiragana, obalaba nga bakutamye ku maviivi, ne bwebaba bavunnamye ku ttaka, nga banoonya ebigabwa bya Katonda n’okusiima (kwe) obulambe bwabwe bulabika mu byenyi byabwe olwo mukululo gwo kuvunnama, ekyo kye kifaananyi kyabwe mu Tauraati era ekifaananyi kyabwe mu njiri, balinga ekimera ekifulumya omutunsi gwakyo negukiwanirira okutuusa lwe kikakata, olwo nno ne kyetengerera ku nduli yaakyo nekiba nga kisanyusa abalimi. (Abantu abakubiddwako ekifaananyi ekyo) balyoke babe nga abakafiiri banakuwala ku lwabwe, abo abakkiriza mu bo ne bakola emirimu emirongoofu Katonda yabalagaanyisa ekisonyiwo n'empeera ensuffu.
حمٓ ﴿١﴾
Ha Miim.
تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ مِنَ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡعَلِيمِ ﴿٢﴾
Okussa ekitabo (kino Kur’ani) kuva wa Katonda nantakubwa ku mukono, omumanyi ennyo.
غَافِرِ ٱلذَّنۢبِ وَقَابِلِ ٱلتَّوۡبِ شَدِيدِ ٱلۡعِقَابِ ذِي ٱلطَّوۡلِۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ إِلَيۡهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿٣﴾
Omusonyiyi we byonoono, era akkiriza okwenenya, nannyini bibonerezo ebikakali, nannyini kugaba, tewali kisinzibwa okugyako yye, obuddo buli gyali.
وَقَالَ قَرِينُهُۥ هَٰذَا مَا لَدَيَّ عَتِيدٌ ﴿٢٣﴾
Munne (Malayika eyamuberangako) aligamba nti, bino bye nnina ebimuwaako obujulizi binywevu nnyo.
أَلۡقِيَا فِي جَهَنَّمَ كُلَّ كَفَّارٍ عَنِيدٖ ﴿٢٤﴾
(Katonda aliragira Malayika alijja amugoba n'alimuwaako obujulizi nti) mukasuke mu muliro Jahannama buli mukafiiri omuwalaza we mpaka.
مَّنَّاعٖ لِّلۡخَيۡرِ مُعۡتَدٖ مُّرِيبٍ ﴿٢٥﴾
Eyekiikanga mu kkubo lyo bulungi, eyabukanga ebikomo (bya mateeka ga Katonda) omubusabuusa.
ٱلَّذِي جَعَلَ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَأَلۡقِيَاهُ فِي ٱلۡعَذَابِ ٱلشَّدِيدِ ﴿٢٦﴾
Oyo eyassa ku Katonda ekisinzibwa ekirala, kale nno mumukasuke mu bibonerezo ebikambwe.
لَأَنتُمۡ أَشَدُّ رَهۡبَةٗ فِي صُدُورِهِم مِّنَ ٱللَّهِۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ قَوۡمٞ لَّا يَفۡقَهُونَ ﴿١٣﴾
(Abakkiriza), mwe mutiibwa mu mitima gyabwe okusinga bwe batya Katonda. Ekyo nno lwakuba nti bbo kibiina ky'abantu abatategeera.
وَكَأَيِّن مِّن قَرۡيَةٍ عَتَتۡ عَنۡ أَمۡرِ رَبِّهَا وَرُسُلِهِۦ فَحَاسَبۡنَٰهَا حِسَابٗا شَدِيدٗا وَعَذَّبۡنَٰهَا عَذَابٗا نُّكۡرٗا ﴿٨﴾
Ebitundu bimeka nga abantu baayo bajeemera Katonda omulezi waabwe n'ababaka beyabatumiranga, ne tubibala olubala oluyitirivu era ne tubibonereza olubonereza olukambwe.
فَذَاقَتۡ وَبَالَ أَمۡرِهَا وَكَانَ عَٰقِبَةُ أَمۡرِهَا خُسۡرًا ﴿٩﴾
(Ebitundu ebyo) ne bikomba ku bukaawu bw'obujeemu bw'abyo, n'eba nga enkomerero y'obujeemu bwabwe kufaafaganirwa.
أَعَدَّ ٱللَّهُ لَهُمۡ عَذَابٗا شَدِيدٗاۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ يَـٰٓأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۚ قَدۡ أَنزَلَ ٱللَّهُ إِلَيۡكُمۡ ذِكۡرٗا ﴿١٠﴾
Katonda yabategekera ebibonerezo ebikambwe, kale nno mutye Katonda abange mmwe abalina amagezi agategeera, abange mmwe abakkiriza. Anti Katonda yassa gye muli obubaka obujjukiza (Kur'ani).
يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ قُوٓاْ أَنفُسَكُمۡ وَأَهۡلِيكُمۡ نَارٗا وَقُودُهَا ٱلنَّاسُ وَٱلۡحِجَارَةُ عَلَيۡهَا مَلَـٰٓئِكَةٌ غِلَاظٞ شِدَادٞ لَّا يَعۡصُونَ ٱللَّهَ مَآ أَمَرَهُمۡ وَيَفۡعَلُونَ مَا يُؤۡمَرُونَ ﴿٦﴾
Abange mmwe abakkiriza mwewonye muwonye n'abantu ba mmwe omuliro, nga gukumirwa ku bantu na mayinja, gukuumibwa ba Malayika abakambwe abaamanyi ennyo, tebajeemera Katonda mu kyonna kyaba abalagidde, ate nga bakola ekyo kyonna kye baba balagiddwa.
وَأَنَّا لَمَسۡنَا ٱلسَّمَآءَ فَوَجَدۡنَٰهَا مُلِئَتۡ حَرَسٗا شَدِيدٗا وَشُهُبٗا ﴿٨﴾
Era mazima ffe tubadde tugezaako okugenda ku ggulu netulisanga nga lijjudde abakuumi abakambwe nebitawuliro.
نَّحۡنُ خَلَقۡنَٰهُمۡ وَشَدَدۡنَآ أَسۡرَهُمۡۖ وَإِذَا شِئۡنَا بَدَّلۡنَآ أَمۡثَٰلَهُمۡ تَبۡدِيلًا ﴿٢٨﴾
Ffe twabatonda ne tugumya e biyungo byabwe, naye nga bwe tuba twagadde (tuyinza okubazikiriza) ne tuleeta abantu abalala.
ءَأَنتُمۡ أَشَدُّ خَلۡقًا أَمِ ٱلسَّمَآءُۚ بَنَىٰهَا ﴿٢٧﴾
Abaffe, mmwe be mweraba mwe musinga obuzibu okutonda okusinga e ggulu? Yalitonda nno!
وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ إِفۡكٌ ٱفۡتَرَىٰهُ وَأَعَانَهُۥ عَلَيۡهِ قَوۡمٌ ءَاخَرُونَۖ فَقَدۡ جَآءُو ظُلۡمٗا وَزُورٗا ﴿٤﴾
. Abaakaafuwala bagamba nti ebigambo (bya Muhammad) tebirina kye biri okugyako okuba nti bulimba bwe yagunjaawo, era abantu abalala ne bamuyamba ku bwo, olwo nno ne baba nga baleese okweyisa obubi n'okutemerera.
تَنَزَّلُ عَلَىٰ كُلِّ أَفَّاكٍ أَثِيمٖ ﴿٢٢٢﴾
. Zikka ku buli musazi w'abigambo omwonoonyi.
وَيۡلٞ لِّكُلِّ أَفَّاكٍ أَثِيمٖ ﴿٧﴾
Okubonabona kuli ku buli omuyitirivu w’okulimba omwonoonyi.
وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَوۡ كَانَ خَيۡرٗا مَّا سَبَقُونَآ إِلَيۡهِۚ وَإِذۡ لَمۡ يَهۡتَدُواْ بِهِۦ فَسَيَقُولُونَ هَٰذَآ إِفۡكٞ قَدِيمٞ ﴿١١﴾
Abo abaakafuwala nebagamba abo abakkiriza nti (Muhammad byagamba) singa bibadde birungi (abo) tebanditusoose kugenda gyebiri, naye olwokuba tebalungama nayo, bajja kugamba nti Kur’ani kugunja okwedda.
قَالُواْ يَٰشُعَيۡبُ مَا نَفۡقَهُ كَثِيرٗا مِّمَّا تَقُولُ وَإِنَّا لَنَرَىٰكَ فِينَا ضَعِيفٗاۖ وَلَوۡلَا رَهۡطُكَ لَرَجَمۡنَٰكَۖ وَمَآ أَنتَ عَلَيۡنَا بِعَزِيزٖ ﴿٩١﴾
Nebagamba nti owange Swaibu bingi mu by'ogamba tetubitegeera ate era tukulaba ng'oli munafu muffe singa si kika kyo twandikukubye amayinja era ggwe tolina kitiibwa kyonna gye tuli.
إِنَّهُمۡ إِن يَظۡهَرُواْ عَلَيۡكُمۡ يَرۡجُمُوكُمۡ أَوۡ يُعِيدُوكُمۡ فِي مِلَّتِهِمۡ وَلَن تُفۡلِحُوٓاْ إِذًا أَبَدٗا ﴿٢٠﴾
. Anti mazima bo bwe banaabazuula bajja kubakuba amayinja oba ssi ekyo babazzeeyo mu ddiini yaabwe olwo nno temugenda kwesiima olubeerera.
قَالَ أَرَاغِبٌ أَنتَ عَنۡ ءَالِهَتِي يَـٰٓإِبۡرَٰهِيمُۖ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ لَأَرۡجُمَنَّكَۖ وَٱهۡجُرۡنِي مَلِيّٗا ﴿٤٦﴾
. (Kitaawe) naagamba nti owange Ibrahim oyagala kuva ku ba Katonda bange, bwotookikomye nja kukukuba amayinja, nviira mangu ssaagala kukulaba.
قَالُواْ لَئِن لَّمۡ تَنتَهِ يَٰنُوحُ لَتَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمَرۡجُومِينَ ﴿١١٦﴾
. Nebagamba nti: owange Nuhu bwo teekomeko ojja kubeerera ddala mu b'okukubwa amayinja.
قَالُوٓاْ إِنَّا تَطَيَّرۡنَا بِكُمۡۖ لَئِن لَّمۡ تَنتَهُواْ لَنَرۡجُمَنَّكُمۡ وَلَيَمَسَّنَّكُم مِّنَّا عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿١٨﴾
. (Abo mu kitundu) nebagamba nti mazima ffe tutya okutuukibwako obuzibu ku lwa mmwe, bwe muteekomeko tujja kubakasukira amayinja era ebibonerezo ebiruma ennyo bijja kubatuukako nga biva gye tuli.
وَلَقَدۡ زَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِمَصَٰبِيحَ وَجَعَلۡنَٰهَا رُجُومٗا لِّلشَّيَٰطِينِۖ وَأَعۡتَدۡنَا لَهُمۡ عَذَابَ ٱلسَّعِيرِ ﴿٥﴾
Mazima eggulu eriri okumpi n'ensi twalinyiriza nemunyeeye ezaaka, era nga bitawuliro ebigoba Sitani era Sitani ezo twazitegekera ebibonerezo byomuliro Ssair.
وَكَذَٰلِكَ جَعَلۡنَا فِي كُلِّ قَرۡيَةٍ أَكَٰبِرَ مُجۡرِمِيهَا لِيَمۡكُرُواْ فِيهَاۖ وَمَا يَمۡكُرُونَ إِلَّا بِأَنفُسِهِمۡ وَمَا يَشۡعُرُونَ ﴿١٢٣﴾
Na bwekityo twassa mu buli kitundu abakulira abagyemu baamu, babe nga bakolerera okusaasaanya obukyamu mu kyo, bye bakola tebituusa kabi okugyako ku bo bennyini naye tebamanyi.
وَإِذَا جَآءَتۡهُمۡ ءَايَةٞ قَالُواْ لَن نُّؤۡمِنَ حَتَّىٰ نُؤۡتَىٰ مِثۡلَ مَآ أُوتِيَ رُسُلُ ٱللَّهِۘ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ حَيۡثُ يَجۡعَلُ رِسَالَتَهُۥۗ سَيُصِيبُ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْ صَغَارٌ عِندَ ٱللَّهِ وَعَذَابٞ شَدِيدُۢ بِمَا كَانُواْ يَمۡكُرُونَ ﴿١٢٤﴾
Obujulizi obwe nkukunala bwe bubaggyira bagamba nti tetujja kukkiriza okutuusa nga tuweereddwa nga e byaweebwa ababaka ba Katonda, (e kituufu kiri nti) Katonda amanyidde ddala wassa obubaka bwe, abo abayonoona bajja kutuukwako okunyomebwa mu maaso ga Katonda n’ebibonerezo e bikakali, ku lwo kusaasanya kwabwe e bikyamu.
فَإِن كَذَّبُوكَ فَقُل رَّبُّكُمۡ ذُو رَحۡمَةٖ وَٰسِعَةٖ وَلَا يُرَدُّ بَأۡسُهُۥ عَنِ ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿١٤٧﴾
Bwebakulimbisa gamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe okusaasira kwe kugazi, kyokka ate e bibonerezo bye tebiyinza kuwonebwa bantu boonoonyi.
وَأَمۡطَرۡنَا عَلَيۡهِم مَّطَرٗاۖ فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿٨٤﴾
Netubasindikira e nkuba (nga y’amayinja) kale fumiitiriza e nkomerero ya bajeemu bwe yali.
لَا تَعۡتَذِرُواْ قَدۡ كَفَرۡتُم بَعۡدَ إِيمَٰنِكُمۡۚ إِن نَّعۡفُ عَن طَآئِفَةٖ مِّنكُمۡ نُعَذِّبۡ طَآئِفَةَۢ بِأَنَّهُمۡ كَانُواْ مُجۡرِمِينَ ﴿٦٦﴾
Temwetonda mazima mukaafuwadde oluvanyuma lw’obukkiriza bwa mmwe, bwe tusonyiwa e kitundu ku mmwe (olw'okwetonda), tuba tulina okubonereza e kitundu e kirala ekiteetonze, olw'okuba nti mazima bo baali boonoonyi.
وَلَقَدۡ أَهۡلَكۡنَا ٱلۡقُرُونَ مِن قَبۡلِكُمۡ لَمَّا ظَلَمُواْ وَجَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ وَمَا كَانُواْ لِيُؤۡمِنُواْۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿١٣﴾
Twazikiriza e mirembe mingi oluberyeberye lwa mmwe bwe gyamala okweyisa obubi (ewa Katonda wa bwe), so nga ababaka baabwe baabajjira n'obunnyonnyofu naye nga tebaali baakukkiriza, bulijjo bwe tutyo bwe tusasula abantu aboonoonyi.
فَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَوۡ كَذَّبَ بِـَٔايَٰتِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿١٧﴾
Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo atemerera ku Katonda ebigambo eby'obulimba oba naalimbisa ebigambo bye mazima ddala aboonoonyi tebagenda kuwona.
أَمۡ يَقُولُونَ ٱفۡتَرَىٰهُۖ قُلۡ إِنِ ٱفۡتَرَيۡتُهُۥ فَعَلَيَّ إِجۡرَامِي وَأَنَا۠ بَرِيٓءٞ مِّمَّا تُجۡرِمُونَ ﴿٣٥﴾
Oba bagamba nti (Muhammad, Kur’ani) yagunja ngunje, bagambe bwe mba nagyegunjirawo ekyonoono ekyo kiri kunze, naye nange sirina kakwate ku ebyo bye mwonoona.
وَيَٰقَوۡمِ ٱسۡتَغۡفِرُواْ رَبَّكُمۡ ثُمَّ تُوبُوٓاْ إِلَيۡهِ يُرۡسِلِ ٱلسَّمَآءَ عَلَيۡكُم مِّدۡرَارٗا وَيَزِدۡكُمۡ قُوَّةً إِلَىٰ قُوَّتِكُمۡ وَلَا تَتَوَلَّوۡاْ مُجۡرِمِينَ ﴿٥٢﴾
Era abange bantu bange, mwegayirire Mukama omulabirizi wa mmwe, oluvanyuma mwenenye mudde gyali, ajja kubasindikira okuva mu bire waggulu enkuba etonnya ngeddingana, era abongere amaanyi ku maanyi ga mmwe, era temukyukanga nemuva ku ekyo ne muba aboonoonyi.
فَلَوۡلَا كَانَ مِنَ ٱلۡقُرُونِ مِن قَبۡلِكُمۡ أُوْلُواْ بَقِيَّةٖ يَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلۡفَسَادِ فِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا قَلِيلٗا مِّمَّنۡ أَنجَيۡنَا مِنۡهُمۡۗ وَٱتَّبَعَ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ مَآ أُتۡرِفُواْ فِيهِ وَكَانُواْ مُجۡرِمِينَ ﴿١١٦﴾
Singa waaliyo mu mirembe egyabakulembera abantu abalina kye baasigazaawo (mu ddiini) nga bagaana obwonoonefu mu nsi, (tebaaliyo) okugyako batono nnyo mu abo be twawonya mu bo. Wabula bo abeeyisa obubi ne batwalibwa ebirungi bye baaweebwa mu nsi nebaba aboonoonyi.
حَتَّىٰٓ إِذَا ٱسۡتَيۡـَٔسَ ٱلرُّسُلُ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُمۡ قَدۡ كُذِبُواْ جَآءَهُمۡ نَصۡرُنَا فَنُجِّيَ مَن نَّشَآءُۖ وَلَا يُرَدُّ بَأۡسُنَا عَنِ ٱلۡقَوۡمِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿١١٠﴾
(Okutaasibwa kwa bantu tekwajjanga) okutuusa ababaka lwe baasemberanga okukutuka n'okusuubira era ne balowooza nti mazima bo baalimbisibwa (awo nno) okutaasa kwa ffe ne kubajjira, naawonyezebwa oyo gwe twayagala awonyezebwe, obukambwe bwaffe ku bantu aboonoonyi tebuwonyezebwa.
وَتَرَى ٱلۡمُجۡرِمِينَ يَوۡمَئِذٖ مُّقَرَّنِينَ فِي ٱلۡأَصۡفَادِ ﴿٤٩﴾
Oliraba aboonoonyi ku lunaku olwo nga bagattiddwa ku mpingu.
قَالُوٓاْ إِنَّآ أُرۡسِلۡنَآ إِلَىٰ قَوۡمٖ مُّجۡرِمِينَ ﴿٥٨﴾
Nebagamba nti: mazima ffe tusindikiddwa eri abantu aboonoonyi.
إِنَّهُۥ مَن يَأۡتِ رَبَّهُۥ مُجۡرِمٗا فَإِنَّ لَهُۥ جَهَنَّمَ لَا يَمُوتُ فِيهَا وَلَا يَحۡيَىٰ ﴿٧٤﴾
. Mazima oyo yenna alijja nga mwonoonyi ewa Mukama omulabiriziwe, mazima agenda kuyingira omuliro Jahannama tagenda kufa nga ali mu gwo wadde okubeera omulamu.
يَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِۚ وَنَحۡشُرُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ يَوۡمَئِذٖ زُرۡقٗا ﴿١٠٢﴾
. Olunaku engombe lwe rifuuyibwa, era ku lunaku olwo tugenda kukungaanya aboonoonyi nga amaaso gabatwaakadde.
وَمَآ أَضَلَّنَآ إِلَّا ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿٩٩﴾
. Era tewali yatubuza okugyako aboonoonyi.
وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذِ ٱلۡمُجۡرِمُونَ نَاكِسُواْ رُءُوسِهِمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ رَبَّنَآ أَبۡصَرۡنَا وَسَمِعۡنَا فَٱرۡجِعۡنَا نَعۡمَلۡ صَٰلِحًا إِنَّا مُوقِنُونَ ﴿١٢﴾
. Singa olisobola okulaba aboonoonyi webalikutamiza emitwe gyabwe, mu maaso ga Mukama omulabirizi waabwe, nga bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tulabye era tuwulidde, n'olwekyo tuzzeeyo tukole e mirimu e mirungi mazima ffe tumaze okukakasa.
وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦ ثُمَّ أَعۡرَضَ عَنۡهَآۚ إِنَّا مِنَ ٱلۡمُجۡرِمِينَ مُنتَقِمُونَ ﴿٢٢﴾
. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo abuulirirwa ne bigambo bya Mukama omulabiriziwe ate naabivaako! Mazima ffe tugenda kubonereza aboonoonyi.
وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ رُسُلًا إِلَىٰ قَوۡمِهِمۡ فَجَآءُوهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَٱنتَقَمۡنَا مِنَ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْۖ وَكَانَ حَقًّا عَلَيۡنَا نَصۡرُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٤٧﴾
. Era mazima twatuma oluberyeberye lwo ababaka eri abantu baabwe ne babaleetera obunnyonnyofu (ne bakaafuwala) olwo ne tuzikiriza abo abaajeema, era kyali kitukakatako okutaasa abakkiriza.
إِنَّا كَذَٰلِكَ نَفۡعَلُ بِٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿٣٤﴾
Mazima ffe bwe tutyo bwe tukola aboonoonyi.
إِنَّ ٱلۡمُجۡرِمِينَ فِي عَذَابِ جَهَنَّمَ خَٰلِدُونَ ﴿٧٤﴾
Mazima abonoonyi ba kutuula bugenderevu mu bibonerezo byo muliro Jahannama.