quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 2)

163 Aya · Emitwe · lg

Ar-Rum 30:31

۞مُنِيبِينَ إِلَيۡهِ وَٱتَّقُوهُ وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَلَا تَكُونُواْ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ ﴿٣١﴾

. (N'olwekyo) mubeere abeemenyera Katonda era mumutye, era muyimirizeewo e sswala, era temubeeranga mu bagatta ku Katonda ebintu ebirala.

Luqman 31:17

يَٰبُنَيَّ أَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ وَأۡمُرۡ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَٱنۡهَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَٱصۡبِرۡ عَلَىٰ مَآ أَصَابَكَۖ إِنَّ ذَٰلِكَ مِنۡ عَزۡمِ ٱلۡأُمُورِ ﴿١٧﴾

. Owange Mutabani wange yimirizaawo e sswala olagire (abantu) okuyisa obulungi, obakomeko ku kweyisa obubi era ogumiikirize ku ebyo ebiba bikutuuseeko. Mazima ebyo (ebikugambiddwa) bye bimu ku bigambo e bikakafu.

Al-Ahzab 33:33

وَقَرۡنَ فِي بُيُوتِكُنَّ وَلَا تَبَرَّجۡنَ تَبَرُّجَ ٱلۡجَٰهِلِيَّةِ ٱلۡأُولَىٰۖ وَأَقِمۡنَ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتِينَ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَطِعۡنَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓۚ إِنَّمَا يُرِيدُ ٱللَّهُ لِيُذۡهِبَ عَنكُمُ ٱلرِّجۡسَ أَهۡلَ ٱلۡبَيۡتِ وَيُطَهِّرَكُمۡ تَطۡهِيرٗا ﴿٣٣﴾

. Era mukkalire mu mayumba gammwe era temwejaajaamyanga enneejaajaamya ey'obutamanya obwaliwo mu kusooka era muyimirizeewo e sswala ne Zakka mugitoole, era mugondere Katonda n’omubakawe mazima Katonda ayagala okubaggyako ebibi abange mmwe abantu bo mu nyumba (ya Nabbi) era abatukuze olutukuza olwa nnamaddala.

Fatir 35:18

وَلَا تَزِرُ وَازِرَةٞ وِزۡرَ أُخۡرَىٰۚ وَإِن تَدۡعُ مُثۡقَلَةٌ إِلَىٰ حِمۡلِهَا لَا يُحۡمَلۡ مِنۡهُ شَيۡءٞ وَلَوۡ كَانَ ذَا قُرۡبَىٰٓۗ إِنَّمَا تُنذِرُ ٱلَّذِينَ يَخۡشَوۡنَ رَبَّهُم بِٱلۡغَيۡبِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَۚ وَمَن تَزَكَّىٰ فَإِنَّمَا يَتَزَكَّىٰ لِنَفۡسِهِۦۚ وَإِلَى ٱللَّهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿١٨﴾

. Tewali mwoyo mwonoonyi gugenda kwetikka kibi kya mwoyo mwonoonyi mulala, era oguliba guzitoowereddwa bwe gulisaba okugwetikkirako tebaligwetikkirako kintu kyonna ,(gwe gusaba) nebwaliba wa luganda olw'okumpi, mazima olabula abo abatya Mukama omulabirizi waabwe, awamu n'obutamulabako era nebayimirizaawo e sswala. N'oyo yenna eyeetukuza mazima yeetukuza ku lulwe era eri Katonda yeeri obuddo.

Fatir 35:29

إِنَّ ٱلَّذِينَ يَتۡلُونَ كِتَٰبَ ٱللَّهِ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَأَنفَقُواْ مِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ سِرّٗا وَعَلَانِيَةٗ يَرۡجُونَ تِجَٰرَةٗ لَّن تَبُورَ ﴿٢٩﴾

. Mazima abo abasoma ekitabo kya Katonda (Kur’ani) ne bayimirizaawo e sswala era ne bawaayo mu kyama ne mu lwatu ku ebyo bye tubagabirira basuubira eby'obusuubuzi ebitadiba.

Ash-Shuraa 42:38

وَٱلَّذِينَ ٱسۡتَجَابُواْ لِرَبِّهِمۡ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَأَمۡرُهُمۡ شُورَىٰ بَيۡنَهُمۡ وَمِمَّا رَزَقۡنَٰهُمۡ يُنفِقُونَ ﴿٣٨﴾

Era beebo abayanukula Mukama omulabirizi waabwe ne bayimirizaawo e sswala era nga bulijjo ekigambo kyabwe (kisalwawo nga kiyita mu) kuteseganya wakati waabwe era nga bagaba kwebyo bye tubagabirira.

Al-Mujadila 58:13

ءَأَشۡفَقۡتُمۡ أَن تُقَدِّمُواْ بَيۡنَ يَدَيۡ نَجۡوَىٰكُمۡ صَدَقَٰتٖۚ فَإِذۡ لَمۡ تَفۡعَلُواْ وَتَابَ ٱللَّهُ عَلَيۡكُمۡ فَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَطِيعُواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥۚ وَٱللَّهُ خَبِيرُۢ بِمَا تَعۡمَلُونَ ﴿١٣﴾

Abaffe muzitowereddwa okuwaayo saddaka nga temunnaba kwogera ne Nabbi. Kale bwekibanga kibalemye oba nga ne Katonda abasonyiye, kale nno muyimirizeewo e sswala mutoole e zzaka mugondere Katonda n'omubakawe. Mazima Katonda amanyidde ddala nnyo ebyo byemukola.

Al-Jumu'ah 62:9

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا نُودِيَ لِلصَّلَوٰةِ مِن يَوۡمِ ٱلۡجُمُعَةِ فَٱسۡعَوۡاْ إِلَىٰ ذِكۡرِ ٱللَّهِ وَذَرُواْ ٱلۡبَيۡعَۚ ذَٰلِكُمۡ خَيۡرٞ لَّكُمۡ إِن كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿٩﴾

Abange mmwe abakkiriza, bwe baaziinanga olw'esswala (ye jjuma) ku lunaku lwe jjuma, mwanguwenga okugenda eri okwogera ku Katonda, ate muyimirize emirimu. Ekyo kye kirungi gye muli singa mubadde mumanyi.

Al-Jumu'ah 62:10

فَإِذَا قُضِيَتِ ٱلصَّلَوٰةُ فَٱنتَشِرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَٱبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِ ٱللَّهِ وَٱذۡكُرُواْ ٱللَّهَ كَثِيرٗا لَّعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ﴿١٠﴾

E sswala bweggwa, olwo nno mugende mu nsi munoonye ebigabwa bya Katonda, mwogere nnyo ku Katonda mulyoke mwesiime.

Al-Ma'arij 70:19

۞إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ خُلِقَ هَلُوعًا ﴿١٩﴾

Mazima omuntu yatondebwa nga wamulugube.

Al-Ma'arij 70:20

إِذَا مَسَّهُ ٱلشَّرُّ جَزُوعٗا ﴿٢٠﴾

Nga bwatuukibwako akabi ayitirira okutya.

Al-Ma'arij 70:21

وَإِذَا مَسَّهُ ٱلۡخَيۡرُ مَنُوعًا ﴿٢١﴾

Ate bwaba afunye akalungi ayitirira obukodo.

Al-Ma'arij 70:22

إِلَّا ٱلۡمُصَلِّينَ ﴿٢٢﴾

Okugyako abo abayimirizaawo e sswala.

Al-Ma'arij 70:23

ٱلَّذِينَ هُمۡ عَلَىٰ صَلَاتِهِمۡ دَآئِمُونَ ﴿٢٣﴾

Abo nga okusaala kwabwe kwalubeerera.

Al-Ma'arij 70:24

وَٱلَّذِينَ فِيٓ أَمۡوَٰلِهِمۡ حَقّٞ مَّعۡلُومٞ ﴿٢٤﴾

Era abo mu by'obugagga byabwe mulimu omugabo ogumanyiddwa.

Al-Ma'arij 70:25

لِّلسَّآئِلِ وَٱلۡمَحۡرُومِ ﴿٢٥﴾

Guweebwa abasabi n'abafuna mpola.

Al-A'la 87:14

قَدۡ أَفۡلَحَ مَن تَزَكَّىٰ ﴿١٤﴾

Mazima yeesiimye omuntu e yeetukuza.

Al-A'la 87:15

وَذَكَرَ ٱسۡمَ رَبِّهِۦ فَصَلَّىٰ ﴿١٥﴾

N’ayogera ku linnya ly’omuleziwe olwo nno n’asaala.

Al-Bayyinah 98:5

وَمَآ أُمِرُوٓاْ إِلَّا لِيَعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ حُنَفَآءَ وَيُقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُواْ ٱلزَّكَوٰةَۚ وَذَٰلِكَ دِينُ ٱلۡقَيِّمَةِ ﴿٥﴾

So nga ate tebaalagirwa okugyako okusinza Katonda yekka nga buli kyebakola bakikola ku lulwe yekka, awatali ku mugattirizaako kantu konna. Era nga bateekwa okuyimirizaawo e sswala n’okutoola Zzaka. Era nga eyo nno y'eddiini ennambulukufu.

Ali 'Imran 3:43

يَٰمَرۡيَمُ ٱقۡنُتِي لِرَبِّكِ وَٱسۡجُدِي وَٱرۡكَعِي مَعَ ٱلرَّـٰكِعِينَ ﴿٤٣﴾

Owange Mariam weeweyo eri Mukama omulabirizi wo ovunname era okutame ku maviivi nga abalala bwebakutama.

At-Tawbah 9:112

ٱلتَّـٰٓئِبُونَ ٱلۡعَٰبِدُونَ ٱلۡحَٰمِدُونَ ٱلسَّـٰٓئِحُونَ ٱلرَّـٰكِعُونَ ٱلسَّـٰجِدُونَ ٱلۡأٓمِرُونَ بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَٱلنَّاهُونَ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَٱلۡحَٰفِظُونَ لِحُدُودِ ٱللَّهِۗ وَبَشِّرِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١١٢﴾

(Abagwa mu kiti ekyo) beebo abeenenyeza Katonda abasinza Katonda abatendereza Katonda, abatambula mu nsi ku lw'okuweereza Katonda abakutama ku maviivi ne bavunnama ku ttaka (nga basaala) abalagira e mpisa e nnungi era abaziyiza amayisa amabi, era abeekuumira ku mateeka ga Katonda, era sanyusa abakkiriza.

Al-Hajj 22:26

وَإِذۡ بَوَّأۡنَا لِإِبۡرَٰهِيمَ مَكَانَ ٱلۡبَيۡتِ أَن لَّا تُشۡرِكۡ بِي شَيۡـٔٗا وَطَهِّرۡ بَيۡتِيَ لِلطَّآئِفِينَ وَٱلۡقَآئِمِينَ وَٱلرُّكَّعِ ٱلسُّجُودِ ﴿٢٦﴾

. Era jjukira ekiseera bwe twalaga Ibrahimu ekifo ky'enyumba (Kaaba), era ne mugamba nti tongattangako ekintu kyonna era tukuza e nyumba yange eri abagyetooloola n'abayimiriramu n'abakutama abavunnama (nga basaala).

Sad 38:24

قَالَ لَقَدۡ ظَلَمَكَ بِسُؤَالِ نَعۡجَتِكَ إِلَىٰ نِعَاجِهِۦۖ وَإِنَّ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلۡخُلَطَآءِ لَيَبۡغِي بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٍ إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَقَلِيلٞ مَّا هُمۡۗ وَظَنَّ دَاوُۥدُ أَنَّمَا فَتَنَّـٰهُ فَٱسۡتَغۡفَرَ رَبَّهُۥ وَخَرَّۤ رَاكِعٗاۤ وَأَنَابَ۩ ﴿٢٤﴾

(Dauda) naagamba nti: mazima akuyisizza bubi bwakusabye endiga yo agigatte ku ndigaze, ate nga bangi mu bagatta emirimu basobya bannaabwe, okugyako abo abakkiriza nebakola emirimu emirongoofu wabula ate abo batono, Dauda naamanya nti mazima tumugezesezza neyeegayirira Mukama omulabiriziwe naakutama ku maviivi neyeemenya era nadda eri Katonda.

Ali 'Imran 3:113

۞لَيۡسُواْ سَوَآءٗۗ مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ أُمَّةٞ قَآئِمَةٞ يَتۡلُونَ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ ءَانَآءَ ٱلَّيۡلِ وَهُمۡ يَسۡجُدُونَ ﴿١١٣﴾

Bonna tebali kimu, Mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu ekibinja ekirambulukufu, abasoma ebigambo bya Katonda, mu biseera by'ekiro era nga bavunnama.

Ali 'Imran 3:191

ٱلَّذِينَ يَذۡكُرُونَ ٱللَّهَ قِيَٰمٗا وَقُعُودٗا وَعَلَىٰ جُنُوبِهِمۡ وَيَتَفَكَّرُونَ فِي خَلۡقِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ رَبَّنَا مَا خَلَقۡتَ هَٰذَا بَٰطِلٗا سُبۡحَٰنَكَ فَقِنَا عَذَابَ ٱلنَّارِ ﴿١٩١﴾

Abo abatendereza Katonda nga bayimiridde oba nga batudde, oba nga bagalamidde, nebafumiitiriza mu ngeri eggulu omusanvu ne nsi gyebyatondebwamu, ne bagamba nti Ayi Mukama Katonda waffe ebintu bino tewabitonda mu bukyamu, wasukkuluma ku bintu byonna, n’olwekyo tukusaba otukingirize ebibonerezo byomuliro.

At-Tawbah 9:108

لَا تَقُمۡ فِيهِ أَبَدٗاۚ لَّمَسۡجِدٌ أُسِّسَ عَلَى ٱلتَّقۡوَىٰ مِنۡ أَوَّلِ يَوۡمٍ أَحَقُّ أَن تَقُومَ فِيهِۚ فِيهِ رِجَالٞ يُحِبُّونَ أَن يَتَطَهَّرُواْۚ وَٱللَّهُ يُحِبُّ ٱلۡمُطَّهِّرِينَ ﴿١٠٨﴾

Bulijjo toyimiriranga (Ggwe Nabbi) okusaalira mu gwo, mazima omuzikiti ogwazimbibwa ku musingi ogw'okutya Katonda kuntandikwa gw'oteekwa okusaalirangamu, mu muzikiti ogwo mulimu abasajja abaagala okwetukuza, anti bulijjo Katonda ayagala abeetukuza.

Yunus 10:12

وَإِذَا مَسَّ ٱلۡإِنسَٰنَ ٱلضُّرُّ دَعَانَا لِجَنۢبِهِۦٓ أَوۡ قَاعِدًا أَوۡ قَآئِمٗا فَلَمَّا كَشَفۡنَا عَنۡهُ ضُرَّهُۥ مَرَّ كَأَن لَّمۡ يَدۡعُنَآ إِلَىٰ ضُرّٖ مَّسَّهُۥۚ كَذَٰلِكَ زُيِّنَ لِلۡمُسۡرِفِينَ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿١٢﴾

Omuntu bwatuukwakwo obuzibu atukoowoola tumuyambe kaabe nga agalamidde, atudde, oba nga ayimiridde, wonna wetumuggyirako obuzibubwe aniigiina nga atatuyitangako kujja kumutaasa mu buzibu obuba bumutuuseeko, mu ngeri nga eyo aboonoonyi ab'olutentezi bwe balaba ekibi nekiba nga e kirungi mu ebyo bye bakola.

Hud 11:71

وَٱمۡرَأَتُهُۥ قَآئِمَةٞ فَضَحِكَتۡ فَبَشَّرۡنَٰهَا بِإِسۡحَٰقَ وَمِن وَرَآءِ إِسۡحَٰقَ يَعۡقُوبَ ﴿٧١﴾

Nga mukyala wa Ibrahim (Sarah) ayimiridde (abawulira) naaseka (nga yeewuunya olw'ebyo bye yawulira) olwo nno ne tumuwa amawulire ag'essanyu ag'okuba nti ajja kuzaala Ishaka ate nga n’oluvanyuma lwa Ishaka wajja kuzaalibwayo Yakub (omuzzukulu).

Ash-Shu'ara 26:217

وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱلۡعَزِيزِ ٱلرَّحِيمِ ﴿٢١٧﴾

. Era weekwate ku nantakubwa ku mukono omusaasizi.

Ash-Shu'ara 26:218

ٱلَّذِي يَرَىٰكَ حِينَ تَقُومُ ﴿٢١٨﴾

. Oyo akulaba woobeerera nga oyimiridde (mu kusaala).

Ash-Shu'ara 26:219

وَتَقَلُّبَكَ فِي ٱلسَّـٰجِدِينَ ﴿٢١٩﴾

. Era n'alaba okwekyusakyusakwo mu bavunnama.

Saba 34:46

۞قُلۡ إِنَّمَآ أَعِظُكُم بِوَٰحِدَةٍۖ أَن تَقُومُواْ لِلَّهِ مَثۡنَىٰ وَفُرَٰدَىٰ ثُمَّ تَتَفَكَّرُواْۚ مَا بِصَاحِبِكُم مِّن جِنَّةٍۚ إِنۡ هُوَ إِلَّا نَذِيرٞ لَّكُم بَيۡنَ يَدَيۡ عَذَابٖ شَدِيدٖ ﴿٤٦﴾

. Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mbabuulirira n’ekintu kimu kyokka nakyo kwe kuba nga muyimirira ku lwa Katonda babiri babiri oba kinnoomu oluvanyuma mulowoorereze (mujja kutegeera) nti munnammwe (Muhammad) ssi mulalu tali yye okugyako okuba nti mutiisa gye muli (nga abatiisa) ebibonerezo eby'amaanyi bye mwolekedde.

Al-Jinn 72:19

وَأَنَّهُۥ لَمَّا قَامَ عَبۡدُ ٱللَّهِ يَدۡعُوهُ كَادُواْ يَكُونُونَ عَلَيۡهِ لِبَدٗا ﴿١٩﴾

Era mazima ddala omuddu w'a Katonda (Nabbi Muhammad) bweyayimirira nga asaala amajinni gaasembera negamwetoloola kumpi kumwetuumako nga gali mu bibinja.

Al-Muzzammil 73:1

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡمُزَّمِّلُ ﴿١﴾

Owange ggwe eyeebikkirira (olwokutya okwakutuukako bwewafuna obubaka okuva ku Malayika Jiburilu omulundi ogwasoka).

Al-Muzzammil 73:2

قُمِ ٱلَّيۡلَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿٢﴾

Golokoka osaale ekiro mpozzi lekayo akaseera katono.

Al-Muzzammil 73:3

نِّصۡفَهُۥٓ أَوِ ٱنقُصۡ مِنۡهُ قَلِيلًا ﴿٣﴾

Oyinza okusaala ekitundu kye kiro oba okukendezaako katono.

Al-Muzzammil 73:4

أَوۡ زِدۡ عَلَيۡهِ وَرَتِّلِ ٱلۡقُرۡءَانَ تَرۡتِيلًا ﴿٤﴾

Oba oyinza okwongerako era bwoba osoma Kur'ani giwoomese.

Al-Muzzammil 73:5

إِنَّا سَنُلۡقِي عَلَيۡكَ قَوۡلٗا ثَقِيلًا ﴿٥﴾

Mazima ffe tujja kukutikka e kigambo ekizito.

Al-Muzzammil 73:6

إِنَّ نَاشِئَةَ ٱلَّيۡلِ هِيَ أَشَدُّ وَطۡـٔٗا وَأَقۡوَمُ قِيلًا ﴿٦﴾

Anti e sswala enzuukukire y'esinga okubuulirira omuntu (olw'okwerekereza otulo) era nga nebisomerwamu byebisinga okusomwa munsoma ennambulukufu.

Al-Muzzammil 73:7

إِنَّ لَكَ فِي ٱلنَّهَارِ سَبۡحٗا طَوِيلٗا ﴿٧﴾

Anti obudde obwemisana oleebukana nnyo (mu bintu ebirala).

Al-Muzzammil 73:8

وَٱذۡكُرِ ٱسۡمَ رَبِّكَ وَتَبَتَّلۡ إِلَيۡهِ تَبۡتِيلٗا ﴿٨﴾

Kale nno tendereza erinnya lya Mukama Katondawo, e kiseera kyonna okimuwe.

Al-Muzzammil 73:9

رَّبُّ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ فَٱتَّخِذۡهُ وَكِيلٗا ﴿٩﴾

Mukama Katonda omufuziwo buvanjuba n'obugwanjuba tewali kirala kyonna kisaanye kusinzibwa okugyako yye, kale nno gwoba wesigamako.

Al-Muzzammil 73:20

۞إِنَّ رَبَّكَ يَعۡلَمُ أَنَّكَ تَقُومُ أَدۡنَىٰ مِن ثُلُثَيِ ٱلَّيۡلِ وَنِصۡفَهُۥ وَثُلُثَهُۥ وَطَآئِفَةٞ مِّنَ ٱلَّذِينَ مَعَكَۚ وَٱللَّهُ يُقَدِّرُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَۚ عَلِمَ أَن لَّن تُحۡصُوهُ فَتَابَ عَلَيۡكُمۡۖ فَٱقۡرَءُواْ مَا تَيَسَّرَ مِنَ ٱلۡقُرۡءَانِۚ عَلِمَ أَن سَيَكُونُ مِنكُم مَّرۡضَىٰ وَءَاخَرُونَ يَضۡرِبُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ يَبۡتَغُونَ مِن فَضۡلِ ٱللَّهِ وَءَاخَرُونَ يُقَٰتِلُونَ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِۖ فَٱقۡرَءُواْ مَا تَيَسَّرَ مِنۡهُۚ وَأَقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتُواْ ٱلزَّكَوٰةَ وَأَقۡرِضُواْ ٱللَّهَ قَرۡضًا حَسَنٗاۚ وَمَا تُقَدِّمُواْ لِأَنفُسِكُم مِّنۡ خَيۡرٖ تَجِدُوهُ عِندَ ٱللَّهِ هُوَ خَيۡرٗا وَأَعۡظَمَ أَجۡرٗاۚ وَٱسۡتَغۡفِرُواْ ٱللَّهَۖ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمُۢ ﴿٢٠﴾

Mazima Katonda wo akimanyi nti oyimirira ekiro ng'osaala emirundi egimu kumpi bibiri byakusatu byekiro, oluusi kimu kyakubiri nga n'olundi kimu kyakusatu era nga naabamu ku bakkiriza abali naawe bwebatyo bwe bakola nga ate Katonda yaawa ebiragiro ebikola ekiro n'emisana, era nga amanyi nti temuyinza kumalayo kiro kyonna nga mukola Ibaada kye yava abawa ekisonyiwo, kale nno musome kyemuba musobodde mu Kur'ani nga musaala ekiro anti amanyi nti mu mmwe mulimu abalwadde nga n'abalala bagenda kubeera mu safari nga batambudde mu nsi olwokunoonya ebigabwa bya Katonda nga nabandi bagenda kubeera mu ntabaalo z'okuweereza mu kkubo lya Katonda n'olwekyo musome ekyo kye muba musobodde mu Kur'ani nga musaala e sswala ya tahajjudi era muyimirizeewo e sswala eza faradha mutoole ne zzaka mu ngeri y'emu muwole Katonda oluwola olulungi nga muwaayo saddaaka. Akalungi konna kemweterekera mugenda ku kasanga mu maaso ga Katonda. Okukola ekyo kirungi era kyekirimu empeera ennene era musabe Katonda ekisonyiwo mazima Katonda musonyiyi oweekisa.

Al-Baqarah 2:114

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن مَّنَعَ مَسَٰجِدَ ٱللَّهِ أَن يُذۡكَرَ فِيهَا ٱسۡمُهُۥ وَسَعَىٰ فِي خَرَابِهَآۚ أُوْلَـٰٓئِكَ مَا كَانَ لَهُمۡ أَن يَدۡخُلُوهَآ إِلَّا خَآئِفِينَۚ لَهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَا خِزۡيٞ وَلَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابٌ عَظِيمٞ ﴿١١٤﴾

Ani mulyazaamaanyi okusinga oyo aziyiza okutendereza erinnya lya Katonda mu mizikiti gye, ng'afuba okugyonoona. Tebasaana kugiyingira wabula nga bali mu kutya. Balina obuswavu mu nsi, nga ne ku lunaku lw'enkomerero bagenda kufuna ebibonerezo ebikakali.

Adh-Dhariyat 51:15

إِنَّ ٱلۡمُتَّقِينَ فِي جَنَّـٰتٖ وَعُيُونٍ ﴿١٥﴾

Mazima abatya Katonda balibeera mu masamba nga mulimu n'ensulo za mazzi.

Adh-Dhariyat 51:16

ءَاخِذِينَ مَآ ءَاتَىٰهُمۡ رَبُّهُمۡۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَبۡلَ ذَٰلِكَ مُحۡسِنِينَ ﴿١٦﴾

Nga beeyanza ebyo Mukama omulabirizi waabwe byalibawa (anti) mazima bo oluberyeberye lwekyo bali balongoosa.

Adh-Dhariyat 51:17

كَانُواْ قَلِيلٗا مِّنَ ٱلَّيۡلِ مَا يَهۡجَعُونَ ﴿١٧﴾

Bebakanga e kiseera kitono mu kiro.

Adh-Dhariyat 51:18

وَبِٱلۡأَسۡحَارِ هُمۡ يَسۡتَغۡفِرُونَ ﴿١٨﴾

Ate nga mu ttumbi babanga mu kwe gayirira.

Ali 'Imran 3:199

وَإِنَّ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ لَمَن يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡكُمۡ وَمَآ أُنزِلَ إِلَيۡهِمۡ خَٰشِعِينَ لِلَّهِ لَا يَشۡتَرُونَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ ثَمَنٗا قَلِيلًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ أَجۡرُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡۗ إِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿١٩٩﴾

Mazima ddala mu Bantu ab'aweebwa ekitabo mulimu abantu abakkiriza Katonda nebakkiriza ebyassibwa gyemuli, n’ebyassibwa gyebali, bagondera Katonda ebigambo bya Katonda tebabitundamu muwendo mutono, abo balina okufuna empeera yaabwe ewa Mukama omulabirizi waabwe, mazima Katonda tagenda kukaluubirirwa kubala.

Al-Isra 17:109

وَيَخِرُّونَ لِلۡأَذۡقَانِ يَبۡكُونَ وَيَزِيدُهُمۡ خُشُوعٗا۩ ﴿١٠٩﴾

. Era bagwira ku bulevu (bwa bwe) nga bakaaba, ekibongera okugonda.

Emitwe