quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 4)

163 Aya · Emitwe · lg

As-Sajdah 32:17

فَلَا تَعۡلَمُ نَفۡسٞ مَّآ أُخۡفِيَ لَهُم مِّن قُرَّةِ أَعۡيُنٖ جَزَآءَۢ بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿١٧﴾

. Tewali muntu amanyi ebyo ebyabateerekerwa mu kyama mu bitebenkeza amaaso (ebyabaweebwa) nga mpeera olw'ebyo bye baali bakola.

Az-Zumar 39:9

أَمَّنۡ هُوَ قَٰنِتٌ ءَانَآءَ ٱلَّيۡلِ سَاجِدٗا وَقَآئِمٗا يَحۡذَرُ ٱلۡأٓخِرَةَ وَيَرۡجُواْ رَحۡمَةَ رَبِّهِۦۗ قُلۡ هَلۡ يَسۡتَوِي ٱلَّذِينَ يَعۡلَمُونَ وَٱلَّذِينَ لَا يَعۡلَمُونَۗ إِنَّمَا يَتَذَكَّرُ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿٩﴾

Abaffe oyo asinza mu biseera by'ekiro nga avunnama era ng'ayimirira (ng'asaala) nga atya olunaku lw'enkomerero ate nga asuubira okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe, (oyo yenkana n'atakola ekyo) gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abaffe abamanyi n'abatamanyi benkana? mazima (abamanyi enjawulo eyo) era nga beebuulirira be ba nannyini magezi amatuufu.

Fussilat 41:37

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِ ٱلَّيۡلُ وَٱلنَّهَارُ وَٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُۚ لَا تَسۡجُدُواْ لِلشَّمۡسِ وَلَا لِلۡقَمَرِ وَٱسۡجُدُواْۤ لِلَّهِۤ ٱلَّذِي خَلَقَهُنَّ إِن كُنتُمۡ إِيَّاهُ تَعۡبُدُونَ ﴿٣٧﴾

Ne mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kye kiro n’emisana ne njuba n’omwezi, temuvunnamiranga enjuba wadde omwezi, muvunnamirenga Katonda oyo eyabitonda bwe muba nga yye yekka gwe musinza.

Fussilat 41:38

فَإِنِ ٱسۡتَكۡبَرُواْ فَٱلَّذِينَ عِندَ رَبِّكَ يُسَبِّحُونَ لَهُۥ بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَهُمۡ لَا يَسۡـَٔمُونَ۩ ﴿٣٨﴾

(Naye bwe baneekuza (ssi kikulu) anti abo abali ewa Mukama omulabirizi wo bamutendereza ekiro n’emisana era nga bo tebakoowa.

Al-Fath 48:27

لَّقَدۡ صَدَقَ ٱللَّهُ رَسُولَهُ ٱلرُّءۡيَا بِٱلۡحَقِّۖ لَتَدۡخُلُنَّ ٱلۡمَسۡجِدَ ٱلۡحَرَامَ إِن شَآءَ ٱللَّهُ ءَامِنِينَ مُحَلِّقِينَ رُءُوسَكُمۡ وَمُقَصِّرِينَ لَا تَخَافُونَۖ فَعَلِمَ مَا لَمۡ تَعۡلَمُواْ فَجَعَلَ مِن دُونِ ذَٰلِكَ فَتۡحٗا قَرِيبًا ﴿٢٧﴾

Mazima Katonda yatuukiririza omubaka we endooto gye yamulaga eya mazima (bwe yaloota nti) ddala mujja kuyingira omuzikiti ogwemizizo Katonda bwaliba ayagadde. (muliguyingira) nga muli mirembe, nga mumwedde emitwe gya mmwe, nga (abalala) mukendezezzaako bukendeeza nga temutya. (Yamanya kye mutaamanya), nateekawo obuwanguzi obwokumpi (nga ekyo tekinnabaawo, bwe mwakola endagaano ye Hudaibiyah).

Al-Fath 48:29

مُّحَمَّدٞ رَّسُولُ ٱللَّهِۚ وَٱلَّذِينَ مَعَهُۥٓ أَشِدَّآءُ عَلَى ٱلۡكُفَّارِ رُحَمَآءُ بَيۡنَهُمۡۖ تَرَىٰهُمۡ رُكَّعٗا سُجَّدٗا يَبۡتَغُونَ فَضۡلٗا مِّنَ ٱللَّهِ وَرِضۡوَٰنٗاۖ سِيمَاهُمۡ فِي وُجُوهِهِم مِّنۡ أَثَرِ ٱلسُّجُودِۚ ذَٰلِكَ مَثَلُهُمۡ فِي ٱلتَّوۡرَىٰةِۚ وَمَثَلُهُمۡ فِي ٱلۡإِنجِيلِ كَزَرۡعٍ أَخۡرَجَ شَطۡـَٔهُۥ فَـَٔازَرَهُۥ فَٱسۡتَغۡلَظَ فَٱسۡتَوَىٰ عَلَىٰ سُوقِهِۦ يُعۡجِبُ ٱلزُّرَّاعَ لِيَغِيظَ بِهِمُ ٱلۡكُفَّارَۗ وَعَدَ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ مِنۡهُم مَّغۡفِرَةٗ وَأَجۡرًا عَظِيمَۢا ﴿٢٩﴾

Muhammad Mubaka wa Katonda era abo abali naye bakambwe ku bakafiiri, basaasiragana, obalaba nga bakutamye ku maviivi, ne bwebaba bavunnamye ku ttaka, nga banoonya ebigabwa bya Katonda n’okusiima (kwe) obulambe bwabwe bulabika mu byenyi byabwe olwo mukululo gwo kuvunnama, ekyo kye kifaananyi kyabwe mu Tauraati era ekifaananyi kyabwe mu njiri, balinga ekimera ekifulumya omutunsi gwakyo negukiwanirira okutuusa lwe kikakata, olwo nno ne kyetengerera ku nduli yaakyo nekiba nga kisanyusa abalimi. (Abantu abakubiddwako ekifaananyi ekyo) balyoke babe nga abakafiiri banakuwala ku lwabwe, abo abakkiriza mu bo ne bakola emirimu emirongoofu Katonda yabalagaanyisa ekisonyiwo n'empeera ensuffu.

Qaf 50:40

وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَسَبِّحۡهُ وَأَدۡبَٰرَ ٱلسُّجُودِ ﴿٤٠﴾

Era omutendereze ekiro nabuli luvannyuma lwa kuvunnama (okusaala e sswala ezalaalikibwa).

An-Najm 53:62

فَٱسۡجُدُواْۤ لِلَّهِۤ وَٱعۡبُدُواْ۩ ﴿٦٢﴾

Kale muvunname ku lwa Katonda era mumusinze (ekyo kye kisinga ebya mmwe bye mulimu).

Al-Insan 76:25

وَٱذۡكُرِ ٱسۡمَ رَبِّكَ بُكۡرَةٗ وَأَصِيلٗا ﴿٢٥﴾

Era yogeranga kulinnya lya Mukama Katondawo enkya neggulo.

Al-Insan 76:26

وَمِنَ ٱلَّيۡلِ فَٱسۡجُدۡ لَهُۥ وَسَبِّحۡهُ لَيۡلٗا طَوِيلًا ﴿٢٦﴾

Ne mukiro muvunnamire ng'osaala era omutendereze mu ttumbi ebbanga ggwanvu.

Al-'Alaq 96:19

كَلَّا لَا تُطِعۡهُ وَٱسۡجُدۡۤ وَٱقۡتَرِب۩ ﴿١٩﴾

Nedda (Owange Nabbi Muhammad) togonderanga omuntu ng’oyo. Vunnama (ng'osinza) Katonda era weeyongere okusembera gy'ali.

Ali 'Imran 3:17

ٱلصَّـٰبِرِينَ وَٱلصَّـٰدِقِينَ وَٱلۡقَٰنِتِينَ وَٱلۡمُنفِقِينَ وَٱلۡمُسۡتَغۡفِرِينَ بِٱلۡأَسۡحَارِ ﴿١٧﴾

(Era beebo) abagumiikiriza ne babeera abakkiriza abaamazima era abagonvu era abasaddaaka era nga beegayirira Katonda amatumbi budde.

Al-Baqarah 2:139

قُلۡ أَتُحَآجُّونَنَا فِي ٱللَّهِ وَهُوَ رَبُّنَا وَرَبُّكُمۡ وَلَنَآ أَعۡمَٰلُنَا وَلَكُمۡ أَعۡمَٰلُكُمۡ وَنَحۡنُ لَهُۥ مُخۡلِصُونَ ﴿١٣٩﴾

Bagambe (gwe Nabbi Muhammad) nti; mutuwakanya ku bikwata ku Katonda. Ng'ate Katonda ye mulezi waffe era omulezi wa mmwe. Tukola emirimu gyaffe nga nammwe mukola egyammwe so ng'ate ffe tumusinza mu bumu bwe yekka.

Emitwe