عُذۡرًا أَوۡ نُذۡرًا ﴿٦﴾
Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa.
113 Aya · Emitwe · lg
عُذۡرًا أَوۡ نُذۡرًا ﴿٦﴾
Mu ngeri yokuba nti bijjawo ebyokwekwaasa oba nga byakutiisa.
يَوۡمَ يَقُومُ ٱلرُّوحُ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ صَفّٗاۖ لَّا يَتَكَلَّمُونَ إِلَّا مَنۡ أَذِنَ لَهُ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَقَالَ صَوَابٗا ﴿٣٨﴾
Jiburilu ne ba malayika abalala ku lunaku lwe baliyimirira nga bali mu nnyiriri nga bonna tewali ayogera okugyako oyo yekka Katonda omusaasizi, gw’aliba akkiriza okwogera ate n'ayogera bituufu.
إِنَّهُۥ لَقَوۡلُ رَسُولٖ كَرِيمٖ ﴿١٩﴾
Mazima yyo (Kur'ani) kigambo kya mubaka (Jiburilu) ow'ekitiibwa (ky’aggya eri Katonda n’akireetera Nabbi Muhammad).
ذِي قُوَّةٍ عِندَ ذِي ٱلۡعَرۡشِ مَكِينٖ ﴿٢٠﴾
Oyo (Jiburilu) owaamaanyi era ow'ekitiibwa eri nnannyini Arishi.
مُّطَاعٖ ثَمَّ أَمِينٖ ﴿٢١﴾
Agonderwa (ba Malayika banne) eyo (mu ggulu) ng'ate mwesigwa.
كَلَّآۖ إِذَا دُكَّتِ ٱلۡأَرۡضُ دَكّٗا دَكّٗا ﴿٢١﴾
Nedda eyo si y'endaba e ntuufu ey’ebintu, e nsi bwe ribeera nga ebetenteddwa.
وَجَآءَ رَبُّكَ وَٱلۡمَلَكُ صَفّٗا صَفّٗا ﴿٢٢﴾
Omuleziwo n'ajja nga ne Ba Malayika basimbye ennyiriri.
وَجِاْيٓءَ يَوۡمَئِذِۭ بِجَهَنَّمَۚ يَوۡمَئِذٖ يَتَذَكَّرُ ٱلۡإِنسَٰنُ وَأَنَّىٰ لَهُ ٱلذِّكۡرَىٰ ﴿٢٣﴾
Era kwolwo o muliro Jahannama gulireetebwa, kwolwo nno omuntu alijjukira (bye yakola ku nsi) naye okujjukira kuno kugenda ku mugasaaki.
إِنَّآ أَنزَلۡنَٰهُ فِي لَيۡلَةِ ٱلۡقَدۡرِ ﴿١﴾
Mazima ffe twassa Kur'ani mu kiro ekiyitibwa Layila-tul-kadri (e kiro ekyokugera era ekyekitiibwa).
وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا لَيۡلَةُ ٱلۡقَدۡرِ ﴿٢﴾
Ye nno omanyi Layila-tul-kadri kye ki?
لَيۡلَةُ ٱلۡقَدۡرِ خَيۡرٞ مِّنۡ أَلۡفِ شَهۡرٖ ﴿٣﴾
Layila-tul-kadri kiro kirungi okusinga emyezi olukumi (1000).
تَنَزَّلُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَٱلرُّوحُ فِيهَا بِإِذۡنِ رَبِّهِم مِّن كُلِّ أَمۡرٖ ﴿٤﴾
Mu kiro ekyo, ba Mlayika bakka nga ne Jiburilu mwali ku lw’ekiragiro kya mukama waabwe (Katonda). Nga bajja na buli kiragiro.
سَلَٰمٌ هِيَ حَتَّىٰ مَطۡلَعِ ٱلۡفَجۡرِ ﴿٥﴾
Ekiro ekyo kya mirembe myereere, okutuusa obudde okukya.