quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 2)

113 Aya · Emitwe · lg

As-Saffat 37:164

وَمَامِنَّآ إِلَّا لَهُۥ مَقَامٞ مَّعۡلُومٞ ﴿١٦٤﴾

(Ba Malayika ne bagamba nti) era tewali n'omu ku ffe okugyako nga alina ekifo ekimanyiddwa.

As-Saffat 37:165

وَإِنَّا لَنَحۡنُ ٱلصَّآفُّونَ ﴿١٦٥﴾

Era mazima ffe (bulijjo) ffe tubeera mu nnyiriri (nga tusinza Katonda).

As-Saffat 37:166

وَإِنَّا لَنَحۡنُ ٱلۡمُسَبِّحُونَ ﴿١٦٦﴾

Era mazima ffe ddala ffe abatendereza (Katonda).

Sad 38:71

إِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ إِنِّي خَٰلِقُۢ بَشَرٗا مِّن طِينٖ ﴿٧١﴾

Jjukira ekiseera Mukama omulabirizi wo bwe yagamba ba Malayika, nti mazima nze nja kutonda omuntu nga mugya mu kadongo.

Sad 38:72

فَإِذَا سَوَّيۡتُهُۥ وَنَفَخۡتُ فِيهِ مِن رُّوحِي فَقَعُواْ لَهُۥ سَٰجِدِينَ ﴿٧٢﴾

Bwe nnaamala okukola engeri nga bwanabeera era nemmufuuwamu omwoyo oguva gyendi, kale mubutame nga mumuvunnamira.

Sad 38:73

فَسَجَدَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ كُلُّهُمۡ أَجۡمَعُونَ ﴿٧٣﴾

Olwo nno ba Malayika bonna nga bali wamu baavunnama.

Az-Zumar 39:71

وَسِيقَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِلَىٰ جَهَنَّمَ زُمَرًاۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءُوهَا فُتِحَتۡ أَبۡوَٰبُهَا وَقَالَ لَهُمۡ خَزَنَتُهَآ أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ رُسُلٞ مِّنكُمۡ يَتۡلُونَ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِ رَبِّكُمۡ وَيُنذِرُونَكُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَاۚ قَالُواْ بَلَىٰ وَلَٰكِنۡ حَقَّتۡ كَلِمَةُ ٱلۡعَذَابِ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٧١﴾

Abo abaakaafuwala balikunguzzibwa okutwalibwa mu muliro Jahannama nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligutuukako emiryango gyagwo nga giggulwawo, era abakuumi baagwo babagambe nti, abaffe tebaabajjira ababaka nga bava mu mmwe!, nga babasomera ebigambo bya Mukama omulabirizi wa mmwe era nebabatiisa okusisinkana olunaku lwa mmwe luno? baligamba nti weewaawo (batujjira naye twabalimbisa) naye ekigambo ky’ebibonerezo kimaze okukakata ku bakaafiiri.

Az-Zumar 39:72

قِيلَ ٱدۡخُلُوٓاْ أَبۡوَٰبَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ فَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلۡمُتَكَبِّرِينَ ﴿٧٢﴾

Baligambibwa nti muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli bakutuula mu gwo bugenderevu, nagwo kifo kibi eri abeekuza.

Az-Zumar 39:73

وَسِيقَ ٱلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ رَبَّهُمۡ إِلَى ٱلۡجَنَّةِ زُمَرًاۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءُوهَا وَفُتِحَتۡ أَبۡوَٰبُهَا وَقَالَ لَهُمۡ خَزَنَتُهَا سَلَٰمٌ عَلَيۡكُمۡ طِبۡتُمۡ فَٱدۡخُلُوهَا خَٰلِدِينَ ﴿٧٣﴾

Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe balitwalibwa eri e jjana nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligituukako n’emiryango gyayo negiggulwa, n’abakuumi baayo nebabagamba nti emirembe gibe ku mmwe mwakola bulungi (nga muli ku nsi) kale muyingire, mugenda kutuulamu, bugenderevu.

Az-Zumar 39:74

وَقَالُواْ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي صَدَقَنَا وَعۡدَهُۥ وَأَوۡرَثَنَا ٱلۡأَرۡضَ نَتَبَوَّأُ مِنَ ٱلۡجَنَّةِ حَيۡثُ نَشَآءُۖ فَنِعۡمَ أَجۡرُ ٱلۡعَٰمِلِينَ ﴿٧٤﴾

Baligamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo atutuukiririzza endagaano ye, naatusikiza ettaka (lyo mu jjana) nga tweyagalira mu jjana wonna wetwagala nga kyo kyengera kya mpeera ya bakozi.

Az-Zumar 39:75

وَتَرَى ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ حَآفِّينَ مِنۡ حَوۡلِ ٱلۡعَرۡشِ يُسَبِّحُونَ بِحَمۡدِ رَبِّهِمۡۚ وَقُضِيَ بَيۡنَهُم بِٱلۡحَقِّۚ وَقِيلَ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٧٥﴾

Oliraba ba Malayika nga babugirizza amabbali ga Arish nga batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, (ebyo byonna) abaddu baliba balamuddwa mu bwenkanya era walirangirirwa nti ebitendo byonna bya Katonda omulabirizi w'ebitonde byonna.

Ghafir 40:7

ٱلَّذِينَ يَحۡمِلُونَ ٱلۡعَرۡشَ وَمَنۡ حَوۡلَهُۥ يُسَبِّحُونَ بِحَمۡدِ رَبِّهِمۡ وَيُؤۡمِنُونَ بِهِۦ وَيَسۡتَغۡفِرُونَ لِلَّذِينَ ءَامَنُواْۖ رَبَّنَا وَسِعۡتَ كُلَّ شَيۡءٖ رَّحۡمَةٗ وَعِلۡمٗا فَٱغۡفِرۡ لِلَّذِينَ تَابُواْ وَٱتَّبَعُواْ سَبِيلَكَ وَقِهِمۡ عَذَابَ ٱلۡجَحِيمِ ﴿٧﴾

(Ba Malayika) abo abasitudde Arish, naabo abagibugiriza, batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era ba mukkiriza era basaba (Katonda) ekisonyiwo eri abo abakkiriza (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe mu kusaasira ne mukumanya wamalayo buli kintu kyonna, kale sonyiwa abo abeenenya nebagoberera ekkubo lyo era obawonye ebibonerezo by'omuliro Jahiim.

Ghafir 40:8

رَبَّنَا وَأَدۡخِلۡهُمۡ جَنَّـٰتِ عَدۡنٍ ٱلَّتِي وَعَدتَّهُمۡ وَمَن صَلَحَ مِنۡ ءَابَآئِهِمۡ وَأَزۡوَٰجِهِمۡ وَذُرِّيَّـٰتِهِمۡۚ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿٨﴾

Ayi Mukama omulabirizi waffe era bayingize e jjana ez’emirembe zewabalagaanyisa (era zewalagaanyisa) abo abaalongooka mu bakadde baabwe ne be bafumbiriganwa nabo ne zadde lyabwe. Mazima ggwe nantakubwa ku mukono, mugoba nsonga.

Ghafir 40:9

وَقِهِمُ ٱلسَّيِّـَٔاتِۚ وَمَن تَقِ ٱلسَّيِّـَٔاتِ يَوۡمَئِذٖ فَقَدۡ رَحِمۡتَهُۥۚ وَذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡعَظِيمُ ﴿٩﴾

Era obesambye ebyonoono era oyo yenna gw'olyesambya ebibi ku lunaku olwo mazima oliba omusaasidde, era ekyo kwo, kwe kwesiima okusuffu.

Ghafir 40:15

رَفِيعُ ٱلدَّرَجَٰتِ ذُو ٱلۡعَرۡشِ يُلۡقِي ٱلرُّوحَ مِنۡ أَمۡرِهِۦ عَلَىٰ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ لِيُنذِرَ يَوۡمَ ٱلتَّلَاقِ ﴿١٥﴾

(Katonda oyo) ow'ebitiibwa ebya waggulu nannyini Arish, assa obubaka okusinziira ku kiragiro kye kwoyo gwaba ayagadde mu baddu be, abe nga atiisa (abantu ebiribaawo ku) lunaku lw'okusisinkana.

Ghafir 40:49

وَقَالَ ٱلَّذِينَ فِي ٱلنَّارِ لِخَزَنَةِ جَهَنَّمَ ٱدۡعُواْ رَبَّكُمۡ يُخَفِّفۡ عَنَّا يَوۡمٗا مِّنَ ٱلۡعَذَابِ ﴿٤٩﴾

Abaliba mu muliro baligamba abakuumi ba Jahannama nti musabe Mukama omulabirizi wa mmwe atukendeereze ku bibonerezo (waakiri) olunaku lumu.

Ghafir 40:50

قَالُوٓاْ أَوَلَمۡ تَكُ تَأۡتِيكُمۡ رُسُلُكُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِۖ قَالُواْ بَلَىٰۚ قَالُواْ فَٱدۡعُواْۗ وَمَا دُعَـٰٓؤُاْ ٱلۡكَٰفِرِينَ إِلَّا فِي ضَلَٰلٍ ﴿٥٠﴾

(Abakuumi bo muliro) baligamba nti abaffe ababaka ba mmwe tebabajjira n’obujulizi obwenkukunala, baligamba nti kituufu (baatujjira), bali bagambe nti kale musabe, wabula okusaba kwa bakafiiri tekuba okugyako mu bubuze.

Fussilat 41:30

إِنَّ ٱلَّذِينَ قَالُواْ رَبُّنَا ٱللَّهُ ثُمَّ ٱسۡتَقَٰمُواْ تَتَنَزَّلُ عَلَيۡهِمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ أَلَّا تَخَافُواْ وَلَا تَحۡزَنُواْ وَأَبۡشِرُواْ بِٱلۡجَنَّةِ ٱلَّتِي كُنتُمۡ تُوعَدُونَ ﴿٣٠﴾

Mazima abo abagamba nti Katonda ye Mukama omulabirizi waffe oluvanyuma ne babeera beesimbu, ba Malayika bakka (nga bajja) gyebali (nga babagamba nti) temutya era temweraliikirira era musanyuke olw’ejjana eyo gye mwalinga mulagaanyisibwa.

Ash-Shuraa 42:5

تَكَادُ ٱلسَّمَٰوَٰتُ يَتَفَطَّرۡنَ مِن فَوۡقِهِنَّۚ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يُسَبِّحُونَ بِحَمۡدِ رَبِّهِمۡ وَيَسۡتَغۡفِرُونَ لِمَن فِي ٱلۡأَرۡضِۗ أَلَآ إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ ﴿٥﴾

Eggulu omusanvu kumpi kweyuzaamu okutandikira waggulu waago (ku lwo kugulumiza Katonda) ne ba Malayika batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era basabira abali mu nsi ekisonyiwo, abange mazima Katonda yye ye musonyiyi ennyo omusaasizi.

Az-Zukhruf 43:19

وَجَعَلُواْ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ ٱلَّذِينَ هُمۡ عِبَٰدُ ٱلرَّحۡمَٰنِ إِنَٰثًاۚ أَشَهِدُواْ خَلۡقَهُمۡۚ سَتُكۡتَبُ شَهَٰدَتُهُمۡ وَيُسۡـَٔلُونَ ﴿١٩﴾

Ba Malayika abo, abaddu ba Katonda omusaasizi ne babafuula abakazi! abaffe baaliwo nga batondwa? Obujulizi bwabwe (bwe bepampalika okuwa) bujja kuwandiikibwa era bagenda kubuuzibwa.

Az-Zukhruf 43:53

فَلَوۡلَآ أُلۡقِيَ عَلَيۡهِ أَسۡوِرَةٞ مِّن ذَهَبٍ أَوۡ جَآءَ مَعَهُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ مُقۡتَرِنِينَ ﴿٥٣﴾

Singa yanaanikibwa ebikomo ebya zaabu oba ba Malayika nebajja naye nga ba muwerekera (olwo nno) twanditegedde nti mubaka wa Katonda.

Az-Zukhruf 43:74

إِنَّ ٱلۡمُجۡرِمِينَ فِي عَذَابِ جَهَنَّمَ خَٰلِدُونَ ﴿٧٤﴾

Mazima abonoonyi ba kutuula bugenderevu mu bibonerezo byo muliro Jahannama.

Az-Zukhruf 43:75

لَا يُفَتَّرُ عَنۡهُمۡ وَهُمۡ فِيهِ مُبۡلِسُونَ ﴿٧٥﴾

Tegugenda kukendezebwa ku bo, era nga bo tebalina na ssuubi lyonna lya kuguvaamu.

Az-Zukhruf 43:76

وَمَا ظَلَمۡنَٰهُمۡ وَلَٰكِن كَانُواْ هُمُ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٧٦﴾

Tetwabayisa bubi naye bo be baali beeyisa obubi.

Az-Zukhruf 43:77

وَنَادَوۡاْ يَٰمَٰلِكُ لِيَقۡضِ عَلَيۡنَا رَبُّكَۖ قَالَ إِنَّكُم مَّـٰكِثُونَ ﴿٧٧﴾

(Abaliba mu muliro) balikowoola nti owange Maliki (Malayika akuuma omuliro tusaba nti) Mukama omulabirizi wo atumalirewo ddala (tufe), alibagamba nti mazima mmwe muli ba kugubeeramu (awatali kufa oba okuguvaamu).

Az-Zukhruf 43:78

لَقَدۡ جِئۡنَٰكُم بِٱلۡحَقِّ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَكُمۡ لِلۡحَقِّ كَٰرِهُونَ ﴿٧٨﴾

Mazima twabaleetera amazima naye abasinga obungi mu mmwe batamwanga amazima.

Muhammad 47:27

فَكَيۡفَ إِذَا تَوَفَّتۡهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يَضۡرِبُونَ وُجُوهَهُمۡ وَأَدۡبَٰرَهُمۡ ﴿٢٧﴾

Olwo nno baba ngeri ki Malayika bwezibatusaako entuuko zaabwe, nga zikuba ebyenyi byabwe n’obutuuliro bwabwe.

Muhammad 47:28

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمُ ٱتَّبَعُواْ مَآ أَسۡخَطَ ٱللَّهَ وَكَرِهُواْ رِضۡوَٰنَهُۥ فَأَحۡبَطَ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿٢٨﴾

Ekyo (bwekityo bwekiriba) olwokuba nti mazima bo baagoberera ebyo ebinyiiza Katonda nebakyawa okusiima kwe, olwo nno naayonoona emirimu gyabwe.

Adh-Dhariyat 51:31

۞قَالَ فَمَا خَطۡبُكُمۡ أَيُّهَا ٱلۡمُرۡسَلُونَ ﴿٣١﴾

Ibrahim naagamba nti, ate mmwe ababaka nsonga ki ebaleese?.

Adh-Dhariyat 51:32

قَالُوٓاْ إِنَّآ أُرۡسِلۡنَآ إِلَىٰ قَوۡمٖ مُّجۡرِمِينَ ﴿٣٢﴾

Nebagamba nti mazima ffe tutumiddwa eri abantu abonoonyi.

Adh-Dhariyat 51:33

لِنُرۡسِلَ عَلَيۡهِمۡ حِجَارَةٗ مِّن طِينٖ ﴿٣٣﴾

Tube nga tubayiwako amayinja agomu bbumba ejjokye.

Adh-Dhariyat 51:34

مُّسَوَّمَةً عِندَ رَبِّكَ لِلۡمُسۡرِفِينَ ﴿٣٤﴾

Nga malambe okuva ewa Mukama omulabirizi wo, nga ga (kuzikiriza) abonoonyi abasukkiridde.

At-Tahrim 66:4

إِن تَتُوبَآ إِلَى ٱللَّهِ فَقَدۡ صَغَتۡ قُلُوبُكُمَاۖ وَإِن تَظَٰهَرَا عَلَيۡهِ فَإِنَّ ٱللَّهَ هُوَ مَوۡلَىٰهُ وَجِبۡرِيلُ وَصَٰلِحُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۖ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ بَعۡدَ ذَٰلِكَ ظَهِيرٌ ﴿٤﴾

Singa munaaba mwenenyezza mwembiriri (Hafuswa ne Aisha) ewa Katonda (kye kirungi gye muli), anti emitima gya mmwe gyawaganyadde. Naye bwe munamwekalakaasizaako, (mumanye nti) mazima Katonda ali ku luddalwe, ne Jiburilu, n'abakkiriza abalongoofu, ne ba Malayika bonna oluvanyuma lw'ekyo ba kumuyambako.

At-Tahrim 66:6

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ قُوٓاْ أَنفُسَكُمۡ وَأَهۡلِيكُمۡ نَارٗا وَقُودُهَا ٱلنَّاسُ وَٱلۡحِجَارَةُ عَلَيۡهَا مَلَـٰٓئِكَةٌ غِلَاظٞ شِدَادٞ لَّا يَعۡصُونَ ٱللَّهَ مَآ أَمَرَهُمۡ وَيَفۡعَلُونَ مَا يُؤۡمَرُونَ ﴿٦﴾

Abange mmwe abakkiriza mwewonye muwonye n'abantu ba mmwe omuliro, nga gukumirwa ku bantu na mayinja, gukuumibwa ba Malayika abakambwe abaamanyi ennyo, tebajeemera Katonda mu kyonna kyaba abalagidde, ate nga bakola ekyo kyonna kye baba balagiddwa.

Al-Ma'arij 70:4

تَعۡرُجُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَٱلرُّوحُ إِلَيۡهِ فِي يَوۡمٖ كَانَ مِقۡدَارُهُۥ خَمۡسِينَ أَلۡفَ سَنَةٖ ﴿٤﴾

Ba Malayika nga ne Jiburilu mwomutwalidde mwebayita nga bolekera eri Katonda, ekibatwalira olunaku lumu lwokka naye nga ate lwenkanankana e myaka e mitwalo etaano (egy'okunsi).

Al-Haqqah 69:17

وَٱلۡمَلَكُ عَلَىٰٓ أَرۡجَآئِهَاۚ وَيَحۡمِلُ عَرۡشَ رَبِّكَ فَوۡقَهُمۡ يَوۡمَئِذٖ ثَمَٰنِيَةٞ ﴿١٧﴾

Nga ba Malayika bali kumabbali galyo, nga waggulu waabwe kulunaku olwo ba Malayika munaana beebalisitula Arishi y'amukama Katonda wo.

Al-Haqqah 69:30

خُذُوهُ فَغُلُّوهُ ﴿٣٠﴾

Mu kiseera ekyo Katonda agenda kulagira nti mumukwate mumulijje.

Al-Haqqah 69:31

ثُمَّ ٱلۡجَحِيمَ صَلُّوهُ ﴿٣١﴾

Bwemumala mumukasuke mu muliro.

Al-Haqqah 69:32

ثُمَّ فِي سِلۡسِلَةٖ ذَرۡعُهَا سَبۡعُونَ ذِرَاعٗا فَٱسۡلُكُوهُ ﴿٣٢﴾

Bwemumala mumuyiseemu olujegere oluwanvu bwalwo obwenkana emikono nsanvu.

Al-Muddaththir 74:26

سَأُصۡلِيهِ سَقَرَ ﴿٢٦﴾

(Katonda naagamba nti:) nja kumuyingiza omuliro Sakara.

Al-Muddaththir 74:27

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا سَقَرُ ﴿٢٧﴾

Naye omanyi Sakara kyeki.

Al-Muddaththir 74:28

لَا تُبۡقِي وَلَا تَذَرُ ﴿٢٨﴾

Gwo muliro ogutagenda kulekawo kintu wadde okukitaliza.

Al-Muddaththir 74:29

لَوَّاحَةٞ لِّلۡبَشَرِ ﴿٢٩﴾

Gwokera ddala negusiriiza eddiba lyomuntu.

Al-Muddaththir 74:30

عَلَيۡهَا تِسۡعَةَ عَشَرَ ﴿٣٠﴾

Gukuumibwa ba Malayika kkumi na mwenda.

Al-Muddaththir 74:31

وَمَا جَعَلۡنَآ أَصۡحَٰبَ ٱلنَّارِ إِلَّا مَلَـٰٓئِكَةٗۖ وَمَا جَعَلۡنَا عِدَّتَهُمۡ إِلَّا فِتۡنَةٗ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ لِيَسۡتَيۡقِنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَيَزۡدَادَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِيمَٰنٗا وَلَا يَرۡتَابَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَلِيَقُولَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡكَٰفِرُونَ مَاذَآ أَرَادَ ٱللَّهُ بِهَٰذَا مَثَلٗاۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ ٱللَّهُ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَمَا يَعۡلَمُ جُنُودَ رَبِّكَ إِلَّا هُوَۚ وَمَا هِيَ إِلَّا ذِكۡرَىٰ لِلۡبَشَرِ ﴿٣١﴾

Ate omulimu gwokukuuma omuliro tetwaguwa okugyako ba Malayika, era omuwendo gwabwe tetwaguteekawo okugyako nga kikemo eri abatakkiriza Katonda, so nga abo abaweebwa ekitabo ekyo kibongera kukakasa (ebyo bye baalina), ate bo abakkiriza (abagoberezi ba Nabbi Muhammad) kyongera kunyweza bukkiriza bwabwe, era abaweebwa ekitabo n'abakkiriza babe nga tebasigalamu kakunkuna, wabula nga (abanafunsi) abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abatakkiriza bagamba nti Katonda kiki kyagenderera mu kifananyi kino, bwatyo nno Katonda abuza nalungamya oyo gwaba ayagadde, ate tewali amanyi ggye lya Mukama Katondawo okugyako yye, ebyo byonna ebyogeddwa tewali kibigendererwamu okugyako okubuulirira omuntu.

Al-Mursalat 77:1

وَٱلۡمُرۡسَلَٰتِ عُرۡفٗا ﴿١﴾

Ndayidde empewo ekunta mu ngeri y'okugoberegana.

Al-Mursalat 77:2

فَٱلۡعَٰصِفَٰتِ عَصۡفٗا ﴿٢﴾

Era ndayidde kibuyaga akunta mu ngeri ey'amaanyi eyakabi.

Al-Mursalat 77:3

وَٱلنَّـٰشِرَٰتِ نَشۡرٗا ﴿٣﴾

Era ndayidde Malayika ezitambuza ebire olutambuza (olwokutonyesa enkuba).

Al-Mursalat 77:4

فَٱلۡفَٰرِقَٰتِ فَرۡقٗا ﴿٤﴾

Era ndayidde Malayika ezikka okuva ewa Katonda nga zireeta ebyawula wakati w'amazima n'obulimba.

Al-Mursalat 77:5

فَٱلۡمُلۡقِيَٰتِ ذِكۡرًا ﴿٥﴾

Era ndayidde Malayika ezireeta ebitabo n'obubaka eri ba Nabbi ba Katonda nga byakujjukiza.

Emitwe