quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 3)

265 Aya · Emitwe · lg

Al-Isra 17:64

وَٱسۡتَفۡزِزۡ مَنِ ٱسۡتَطَعۡتَ مِنۡهُم بِصَوۡتِكَ وَأَجۡلِبۡ عَلَيۡهِم بِخَيۡلِكَ وَرَجِلِكَ وَشَارِكۡهُمۡ فِي ٱلۡأَمۡوَٰلِ وَٱلۡأَوۡلَٰدِ وَعِدۡهُمۡۚ وَمَا يَعِدُهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ إِلَّا غُرُورًا ﴿٦٤﴾

. Era sikiriza n'eddoboozilyo oyo yenna gwoba osobodde mu bo, batabaale nga okozesa eggyeryo eryembalaasi n'eritambuza ebigere okolagane nabo mu mmaali ne mu baana era obasuubize (buli kyoyagala) wabula Sitaane tabalagaanyisa okugyako ebigayaaza.

Al-Isra 17:65

إِنَّ عِبَادِي لَيۡسَ لَكَ عَلَيۡهِمۡ سُلۡطَٰنٞۚ وَكَفَىٰ بِرَبِّكَ وَكِيلٗا ﴿٦٥﴾

. Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza era kimala okuba nga Mukama omulabiriziwo ye mukuumi.

Al-Isra 17:88

قُل لَّئِنِ ٱجۡتَمَعَتِ ٱلۡإِنسُ وَٱلۡجِنُّ عَلَىٰٓ أَن يَأۡتُواْ بِمِثۡلِ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ لَا يَأۡتُونَ بِمِثۡلِهِۦ وَلَوۡ كَانَ بَعۡضُهُمۡ لِبَعۡضٖ ظَهِيرٗا ﴿٨٨﴾

. Gamba nti singa abantu n'a Majinni beegatta babe nga baleeta ekitabo ekifaanana Kur’ani eno, tebayinza kuleeta kigifaanana newaakubadde nga abamu babeera bayambi ku bannaabwe.

Maryam 19:41

وَٱذۡكُرۡ فِي ٱلۡكِتَٰبِ إِبۡرَٰهِيمَۚ إِنَّهُۥ كَانَ صِدِّيقٗا نَّبِيًّا ﴿٤١﴾

. Era yogera nga ojja mu kitabo (kino Kur’ani) ebikwata ku Ibrahim, mazima yye yali mukkiriza ow'amazima era nga Nabbi.

Maryam 19:42

إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ يَـٰٓأَبَتِ لِمَ تَعۡبُدُ مَا لَا يَسۡمَعُ وَلَا يُبۡصِرُ وَلَا يُغۡنِي عَنكَ شَيۡـٔٗا ﴿٤٢﴾

. Mujjukire (Ibrahim) bwe yagamba Kitaawe nti owange Taata lwaki osinza ebitawulira, era ebitalaba, era ebitayinza kukugasa mu kintu kyonna.

Maryam 19:43

يَـٰٓأَبَتِ إِنِّي قَدۡ جَآءَنِي مِنَ ٱلۡعِلۡمِ مَا لَمۡ يَأۡتِكَ فَٱتَّبِعۡنِيٓ أَهۡدِكَ صِرَٰطٗا سَوِيّٗا ﴿٤٣﴾

. Owange Taata mazima nze nzigyiddwa okumanya okutaakujjira, n'olwekyo ngoberera, nja kukulungamya ku kkubo eggolokofu.

Maryam 19:44

يَـٰٓأَبَتِ لَا تَعۡبُدِ ٱلشَّيۡطَٰنَۖ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ كَانَ لِلرَّحۡمَٰنِ عَصِيّٗا ﴿٤٤﴾

. Owange Taata tosinzanga Sitane, mazima Sitane yajeemera Katonda omusaasizi.

Maryam 19:45

يَـٰٓأَبَتِ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يَمَسَّكَ عَذَابٞ مِّنَ ٱلرَّحۡمَٰنِ فَتَكُونَ لِلشَّيۡطَٰنِ وَلِيّٗا ﴿٤٥﴾

. Owange Taata mazima nze ntya ebibonerezo okuva ewa Katonda omusaasizi okukutuukako, olwo n'oba mukwano gwa Sitane.

Maryam 19:68

فَوَرَبِّكَ لَنَحۡشُرَنَّهُمۡ وَٱلشَّيَٰطِينَ ثُمَّ لَنُحۡضِرَنَّهُمۡ حَوۡلَ جَهَنَّمَ جِثِيّٗا ﴿٦٨﴾

. N'olwekyo ndayidde Mukama omulabiriziwo, ddala tugenda kubazuukiza ne (Sitane) nazo tuzizuukize, oluvanyuma tugenda kubaleetera ddala awali omuliro Jahannama nga bakutaamiridde.

Maryam 19:69

ثُمَّ لَنَنزِعَنَّ مِن كُلِّ شِيعَةٍ أَيُّهُمۡ أَشَدُّ عَلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ عِتِيّٗا ﴿٦٩﴾

. Oluvanyuma ddala tugenda kuggya mu buli kibiina buli yenna eyali asinga okwewaggula ku Katonda ow'ekisa ekingi.

Maryam 19:70

ثُمَّ لَنَحۡنُ أَعۡلَمُ بِٱلَّذِينَ هُمۡ أَوۡلَىٰ بِهَا صِلِيّٗا ﴿٧٠﴾

. Oluvanyuma ffe tuliba tumanyi nnyo abo abasinga okusaanira okugwesogga.

Maryam 19:71

وَإِن مِّنكُمۡ إِلَّا وَارِدُهَاۚ كَانَ عَلَىٰ رَبِّكَ حَتۡمٗا مَّقۡضِيّٗا ﴿٧١﴾

. Tewali n'omu yenna ku mmwe okugyako w'a kuguyitako, ekyo ku Mukama omulabiriziwo kikakafu ekyaggwa edda.

Maryam 19:72

ثُمَّ نُنَجِّي ٱلَّذِينَ ٱتَّقَواْ وَّنَذَرُ ٱلظَّـٰلِمِينَ فِيهَا جِثِيّٗا ﴿٧٢﴾

. Oluvanyuma tuliwonya abo abatya Katonda, olwo nno tuleke mu gwo abeeyisa obubi nga bagangalamye.

Maryam 19:83

أَلَمۡ تَرَ أَنَّآ أَرۡسَلۡنَا ٱلشَّيَٰطِينَ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ تَؤُزُّهُمۡ أَزّٗا ﴿٨٣﴾

. Tolaba nti mazima ffe tusindika Sitane eri abakaafiiri nga zibawagira oluwagira.

Maryam 19:84

فَلَا تَعۡجَلۡ عَلَيۡهِمۡۖ إِنَّمَا نَعُدُّ لَهُمۡ عَدّٗا ﴿٨٤﴾

. Toyanguya kubasabira kuzikirira, mazima ennaku zaabwe tuzibabalira bubalizi.

Maryam 19:85

يَوۡمَ نَحۡشُرُ ٱلۡمُتَّقِينَ إِلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ وَفۡدٗا ﴿٨٥﴾

. (Bategeeze) olunaku lwe tulikunganya abatya Katonda, netubatwala ewa Katonda omusaasizi nga bagenyi.

Maryam 19:86

وَنَسُوقُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ إِلَىٰ جَهَنَّمَ وِرۡدٗا ﴿٨٦﴾

. Ate tusindiikirize aboonoonyi, nga tubatwala ku muliro Jahannama nga balinga ensolo ezigenda okunywa amazzi.

Taha 20:116

وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ أَبَىٰ ﴿١١٦﴾

. Era jjukira ekiseera bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam nebavunnama okugyako Ibuliisu (Sitane) yagaana.

Taha 20:117

فَقُلۡنَا يَـٰٓـَٔادَمُ إِنَّ هَٰذَا عَدُوّٞ لَّكَ وَلِزَوۡجِكَ فَلَا يُخۡرِجَنَّكُمَا مِنَ ٱلۡجَنَّةِ فَتَشۡقَىٰٓ ﴿١١٧﴾

. Netugamba nti owange Adam mazima ono (Sitane) mulabewo, era mulabe wa Mukyalawo, temukkirizanga naabafulumya mu jjana nemwonooneka.

Taha 20:118

إِنَّ لَكَ أَلَّا تَجُوعَ فِيهَا وَلَا تَعۡرَىٰ ﴿١١٨﴾

. Mazima olina ggwe, obutawulira njala mu yo, (e jjana) wadde okuyita obwereere.

Taha 20:119

وَأَنَّكَ لَا تَظۡمَؤُاْ فِيهَا وَلَا تَضۡحَىٰ ﴿١١٩﴾

. Era nti mazima ggwe, togenda kuwulira nyonta, nga oli mu yo wadde okwokebwa omusana.

Taha 20:120

فَوَسۡوَسَ إِلَيۡهِ ٱلشَّيۡطَٰنُ قَالَ يَـٰٓـَٔادَمُ هَلۡ أَدُلُّكَ عَلَىٰ شَجَرَةِ ٱلۡخُلۡدِ وَمُلۡكٖ لَّا يَبۡلَىٰ ﴿١٢٠﴾

. Sitane yamulabankanya, naamugamba nti owange Adam, abaffe nkulagirire omuti oguwa obulamu obw'olubeerera, n'obufuzi obutaggwaawo.

Taha 20:121

فَأَكَلَا مِنۡهَا فَبَدَتۡ لَهُمَا سَوۡءَٰتُهُمَا وَطَفِقَا يَخۡصِفَانِ عَلَيۡهِمَا مِن وَرَقِ ٱلۡجَنَّةِۚ وَعَصَىٰٓ ءَادَمُ رَبَّهُۥ فَغَوَىٰ ﴿١٢١﴾

. Olwo nno (Adam ne Haawa) nebalya ku muti, obwereere bwabwe nebubalabikira, nebatandika okwebikka ebikoola byo mu jjana, era nekiba nti Adam yajeemera Mukama omulabiriziwe naabula.

Taha 20:122

ثُمَّ ٱجۡتَبَٰهُ رَبُّهُۥ فَتَابَ عَلَيۡهِ وَهَدَىٰ ﴿١٢٢﴾

. Oluvanyuma Mukama omulabiriziwe, yamusembeza nakkiriza okwenenyakwe era naamulungamya.

Al-Anbya 21:81

وَلِسُلَيۡمَٰنَ ٱلرِّيحَ عَاصِفَةٗ تَجۡرِي بِأَمۡرِهِۦٓ إِلَى ٱلۡأَرۡضِ ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَاۚ وَكُنَّا بِكُلِّ شَيۡءٍ عَٰلِمِينَ ﴿٨١﴾

. Era Sulaiman twamugondeza empewo ekungunta nga etambulira ku kiragirokye neEgenda eri ensi eyo gye twawa omukisa. Era twali tumanyi buli kintu.

Al-Anbya 21:82

وَمِنَ ٱلشَّيَٰطِينِ مَن يَغُوصُونَ لَهُۥ وَيَعۡمَلُونَ عَمَلٗا دُونَ ذَٰلِكَۖ وَكُنَّا لَهُمۡ حَٰفِظِينَ ﴿٨٢﴾

. Ne mu zi Sitane mwalimu ezibbira mu nnyanja ku lulwe nga zikola n'emirimu emirala egitali ogwo era ffe twazikuumanga.

Al-Hajj 22:3

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُجَٰدِلُ فِي ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَيَتَّبِعُ كُلَّ شَيۡطَٰنٖ مَّرِيدٖ ﴿٣﴾

. Mu ba ntu mulimu awakana ku bikwata ku Katonda nga talina kumanya kwonna, n'aba nga agoberera kyewaggula Sitane.

Al-Hajj 22:4

كُتِبَ عَلَيۡهِ أَنَّهُۥ مَن تَوَلَّاهُ فَأَنَّهُۥ يُضِلُّهُۥ وَيَهۡدِيهِ إِلَىٰ عَذَابِ ٱلسَّعِيرِ ﴿٤﴾

. (Sitane) kyamuwandiikwako nti ddala buli amwewa mazima yye amubuza era n'aba nga amuzza eri ebibonerezo by'omuliro.

Al-Hajj 22:52

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا مِن قَبۡلِكَ مِن رَّسُولٖ وَلَا نَبِيٍّ إِلَّآ إِذَا تَمَنَّىٰٓ أَلۡقَى ٱلشَّيۡطَٰنُ فِيٓ أُمۡنِيَّتِهِۦ فَيَنسَخُ ٱللَّهُ مَا يُلۡقِي ٱلشَّيۡطَٰنُ ثُمَّ يُحۡكِمُ ٱللَّهُ ءَايَٰتِهِۦۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٞ ﴿٥٢﴾

. Tetwatuma oluberyeberyelwo mubaka yenna oba Nabbi okugyako nga bwayagala okusoma (obubaka obumuweereddwa) Sitaane agezaako okusonseka ebigambo mu kusomwakwe, olwo nno Katonda najjawo ebyo Sitane byagezaako okusonsekamu awo Katonda nakakasaawo ebigambobye, bulijjo Katonda mumanyi nnyo, mugoba nsonga.

Al-Hajj 22:53

لِّيَجۡعَلَ مَا يُلۡقِي ٱلشَّيۡطَٰنُ فِتۡنَةٗ لِّلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡقَاسِيَةِ قُلُوبُهُمۡۗ وَإِنَّ ٱلظَّـٰلِمِينَ لَفِي شِقَاقِۭ بَعِيدٖ ﴿٥٣﴾

. (Ekikozesa ekyo kwe kuba nti) Katonda afuule Sitane byagezaako okusonseka (mu bubaka) ekikemo ku abo abalina obulwadde mu mitima gya bwe, n’abalina emitima emikakanyavu era mazima abeeyisa obubi beesambye nnyo Katonda.

Al-Mu'minun 23:25

إِنۡ هُوَ إِلَّا رَجُلُۢ بِهِۦ جِنَّةٞ فَتَرَبَّصُواْ بِهِۦ حَتَّىٰ حِينٖ ﴿٢٥﴾

. Talina kyali okugyako okuba nti alina ekimulinnya ku mutwe kale mumuliindirize okumala ekiseera ekigere (ajja kuvaawo oba ajja kufa).

Al-Mu'minun 23:97

وَقُل رَّبِّ أَعُوذُ بِكَ مِنۡ هَمَزَٰتِ ٱلشَّيَٰطِينِ ﴿٩٧﴾

. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi ku kubuzaabuza kwa Sitane.

Al-Mu'minun 23:98

وَأَعُوذُ بِكَ رَبِّ أَن يَحۡضُرُونِ ﴿٩٨﴾

. Era Mukama omulabirizi wange nkusaba ompe obukuumi (Sitane) zireme kunsemberera.

An-Nur 24:21

۞يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَا تَتَّبِعُواْ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِۚ وَمَن يَتَّبِعۡ خُطُوَٰتِ ٱلشَّيۡطَٰنِ فَإِنَّهُۥ يَأۡمُرُ بِٱلۡفَحۡشَآءِ وَٱلۡمُنكَرِۚ وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ وَرَحۡمَتُهُۥ مَا زَكَىٰ مِنكُم مِّنۡ أَحَدٍ أَبَدٗا وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يُزَكِّي مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٞ ﴿٢١﴾

. Abange mmwe abakkiriza temugobereranga amakubo ga Sitaane, oyo yenna agoberera amakubo ga Sitane anti yye (Sitaane) alagira okukola eby'obuwemu n'ebitayagalwa, era singa si bulungi bwa Katonda na kusaasirakwe byabawa olubeerera, teyanditukudde muntu yenna mu mmwe, naye mazima Katonda atukuza oyo gwaba ayagadde mazima Katonda awulira mumanyi nnyo.

Al-Furqan 25:27

وَيَوۡمَ يَعَضُّ ٱلظَّالِمُ عَلَىٰ يَدَيۡهِ يَقُولُ يَٰلَيۡتَنِي ٱتَّخَذۡتُ مَعَ ٱلرَّسُولِ سَبِيلٗا ﴿٢٧﴾

. Era olunaku eyeeyisa obubi lwaliruma engaloze aligamba nti zinsanze, singa nateekawo ekkubo erinnyunga ku Mubaka.

Al-Furqan 25:28

يَٰوَيۡلَتَىٰ لَيۡتَنِي لَمۡ أَتَّخِذۡ فُلَانًا خَلِيلٗا ﴿٢٨﴾

. Nga ndabye nze singa ssaafuula gundi w'amukwano.

Al-Furqan 25:29

لَّقَدۡ أَضَلَّنِي عَنِ ٱلذِّكۡرِ بَعۡدَ إِذۡ جَآءَنِيۗ وَكَانَ ٱلشَّيۡطَٰنُ لِلۡإِنسَٰنِ خَذُولٗا ﴿٢٩﴾

. Mazima yambuza nanzigya ku kubuulirira oluvanyuma lw'okuba nti kwanzijira, anti bulijjo Sitane ayabulira omuntu.

Ash-Shu'ara 26:210

وَمَا تَنَزَّلَتۡ بِهِ ٱلشَّيَٰطِينُ ﴿٢١٠﴾

. Era Sitane ssi ze zaajissa (Kur’ani).

Ash-Shu'ara 26:211

وَمَا يَنۢبَغِي لَهُمۡ وَمَا يَسۡتَطِيعُونَ ﴿٢١١﴾

. Era tekizisaanira era nga tezikisobola.

Ash-Shu'ara 26:212

إِنَّهُمۡ عَنِ ٱلسَّمۡعِ لَمَعۡزُولُونَ ﴿٢١٢﴾

. (Ku lw'ensonga nti) mazima zaaziyizibwa okuwulira ebifa mu ggulu.

Ash-Shu'ara 26:213

فَلَا تَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَتَكُونَ مِنَ ٱلۡمُعَذَّبِينَ ﴿٢١٣﴾

. (N'olwekyo) bwoba osinza Katonda tomugattako kintu kirala (anti bwokikola) obeera wa mu balibonerezebwa.

Ash-Shu'ara 26:221

هَلۡ أُنَبِّئُكُمۡ عَلَىٰ مَن تَنَزَّلُ ٱلشَّيَٰطِينُ ﴿٢٢١﴾

. Abaffe mbategeeze Sitane zikka ku ani.

Ash-Shu'ara 26:222

تَنَزَّلُ عَلَىٰ كُلِّ أَفَّاكٍ أَثِيمٖ ﴿٢٢٢﴾

. Zikka ku buli musazi w'abigambo omwonoonyi.

Ash-Shu'ara 26:223

يُلۡقُونَ ٱلسَّمۡعَ وَأَكۡثَرُهُمۡ كَٰذِبُونَ ﴿٢٢٣﴾

. Abo abasaasaanya bye bawulira naye nga abasinga obungi mu bo balimba.

An-Naml 27:7

إِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِأَهۡلِهِۦٓ إِنِّيٓ ءَانَسۡتُ نَارٗا سَـَٔاتِيكُم مِّنۡهَا بِخَبَرٍ أَوۡ ءَاتِيكُم بِشِهَابٖ قَبَسٖ لَّعَلَّكُمۡ تَصۡطَلُونَ ﴿٧﴾

. Era jjukira (Musa) bwe yagamba ab'omu makage nti mazima nze nengedde omuliro (kanngendeyo) nja kubaleetera okuva we guli e kigambo oba mbaleetere ekitawuliro kibayambe okwota.

An-Naml 27:16

وَوَرِثَ سُلَيۡمَٰنُ دَاوُۥدَۖ وَقَالَ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ عُلِّمۡنَا مَنطِقَ ٱلطَّيۡرِ وَأُوتِينَا مِن كُلِّ شَيۡءٍۖ إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ ٱلۡفَضۡلُ ٱلۡمُبِينُ ﴿١٦﴾

. Era Sulaiman yasikira Dauda naagamba nti abange mmwe abantu tuyigiriziddwa olulimi lw'ebinyonyi era tuweereddwa ku buli kintu mazima kino bwe bulungi obweyolefu.

An-Naml 27:17

وَحُشِرَ لِسُلَيۡمَٰنَ جُنُودُهُۥ مِنَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ وَٱلطَّيۡرِ فَهُمۡ يُوزَعُونَ ﴿١٧﴾

. Sulaiman naakungirwa eggyerye nga liva mu Majinni n'abantu n'ebinyonyi nga nabo batambulira ku nteekateeka eyabaweebwa.

An-Naml 27:38

قَالَ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلۡمَلَؤُاْ أَيُّكُمۡ يَأۡتِينِي بِعَرۡشِهَا قَبۡلَ أَن يَأۡتُونِي مُسۡلِمِينَ ﴿٣٨﴾

. (Sulaiman) naagamba nti abange mmwe abakungu ani mu mmwe andeetera namulondo ye nga tebannaba kunzijira nga bakkirizza Katonda.

An-Naml 27:39

قَالَ عِفۡرِيتٞ مِّنَ ٱلۡجِنِّ أَنَا۠ ءَاتِيكَ بِهِۦ قَبۡلَ أَن تَقُومَ مِن مَّقَامِكَۖ وَإِنِّي عَلَيۡهِ لَقَوِيٌّ أَمِينٞ ﴿٣٩﴾

. Ejinni ery'amaanyi nerigamba nti, nze nja kugikuleetera nga tonnava mu kifokyo, era mazima nze ku ekyo ndi wa maanyi omwesigwa.

Al-Qasas 28:15

وَدَخَلَ ٱلۡمَدِينَةَ عَلَىٰ حِينِ غَفۡلَةٖ مِّنۡ أَهۡلِهَا فَوَجَدَ فِيهَا رَجُلَيۡنِ يَقۡتَتِلَانِ هَٰذَا مِن شِيعَتِهِۦ وَهَٰذَا مِنۡ عَدُوِّهِۦۖ فَٱسۡتَغَٰثَهُ ٱلَّذِي مِن شِيعَتِهِۦ عَلَى ٱلَّذِي مِنۡ عَدُوِّهِۦ فَوَكَزَهُۥ مُوسَىٰ فَقَضَىٰ عَلَيۡهِۖ قَالَ هَٰذَا مِنۡ عَمَلِ ٱلشَّيۡطَٰنِۖ إِنَّهُۥ عَدُوّٞ مُّضِلّٞ مُّبِينٞ ﴿١٥﴾

. (Olunaku lumu Musa) yayingira e kibuga ng'abantu baamu tebategedde naasangamu abasajja babiri nga balwanagana, nga omu wa mu bantube ate omulala wa mu balabebe (wa mu bantu ba Firaawo) ow'omu bantube naamusaba amutaase ku mulabewe, awo nno Musa naamukuba ekikonde naamutta mbagirawo, (Musa) naagamba nti kino kikolwa kya Sitane, mazima yye mulabe era mubuza ow'olwatu.

Emitwe