quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 2)

265 Aya · Emitwe · lg

Al-A'raf 7:23

قَالَا رَبَّنَا ظَلَمۡنَآ أَنفُسَنَا وَإِن لَّمۡ تَغۡفِرۡ لَنَا وَتَرۡحَمۡنَا لَنَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡخَٰسِرِينَ ﴿٢٣﴾

Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tweyisizza bubi, bwonooba totusonyiwe n’otusaasira tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa.

Al-A'raf 7:24

قَالَ ٱهۡبِطُواْ بَعۡضُكُمۡ لِبَعۡضٍ عَدُوّٞۖ وَلَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُسۡتَقَرّٞ وَمَتَٰعٌ إِلَىٰ حِينٖ ﴿٢٤﴾

(Katonda) naagamba nti mugende, abamu mu mmwe nga muli balabe ba bannaabwe, mujja kutuulanga ku nsi n'okweyagala okutuusa e kiseera e kigere.

Al-A'raf 7:25

قَالَ فِيهَا تَحۡيَوۡنَ وَفِيهَا تَمُوتُونَ وَمِنۡهَا تُخۡرَجُونَ ﴿٢٥﴾

(Katonda) naagamba nti mu yo mwemujja okuwangaaliranga, mu yo mwemulifiira, era nga mu yo mwemugenda okujjibwa (muzuukire).

Al-A'raf 7:26

يَٰبَنِيٓ ءَادَمَ قَدۡ أَنزَلۡنَا عَلَيۡكُمۡ لِبَاسٗا يُوَٰرِي سَوۡءَٰتِكُمۡ وَرِيشٗاۖ وَلِبَاسُ ٱلتَّقۡوَىٰ ذَٰلِكَ خَيۡرٞۚ ذَٰلِكَ مِنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ لَعَلَّهُمۡ يَذَّكَّرُونَ ﴿٢٦﴾

Abange mmwe abaana ba Adam mazima twabawae byambalo e bibikka obwereere bwa mmwe, netubawa ne byambalo bye mwewunda nabyo, wabula e kyambalo ky’okutya Katonda kyo kye kisinga obulungi. Bino bye bimu ku bigambo bya Katonda (bya batumira babe nga beebuulirira).

Al-A'raf 7:27

يَٰبَنِيٓ ءَادَمَ لَا يَفۡتِنَنَّكُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ كَمَآ أَخۡرَجَ أَبَوَيۡكُم مِّنَ ٱلۡجَنَّةِ يَنزِعُ عَنۡهُمَا لِبَاسَهُمَا لِيُرِيَهُمَا سَوۡءَٰتِهِمَآۚ إِنَّهُۥ يَرَىٰكُمۡ هُوَ وَقَبِيلُهُۥ مِنۡ حَيۡثُ لَا تَرَوۡنَهُمۡۗ إِنَّا جَعَلۡنَا ٱلشَّيَٰطِينَ أَوۡلِيَآءَ لِلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿٢٧﴾

Abange mmwe abaana ba Adam, Sitane tababuzaabuzanga, nga bweyajja bakadde ba mmwe mu jjana n'aba nga abajjako e byambalo bya bwe olwo nno abenga abalaga nti bali bwereere, anti mazima yye (Sitane) ne banne babalaba mmwe wemutabalabira, anti twafuula zi Sitane okuba mikwano ffa nfe eri abo abatakkiriza.

Al-A'raf 7:28

وَإِذَا فَعَلُواْ فَٰحِشَةٗ قَالُواْ وَجَدۡنَا عَلَيۡهَآ ءَابَآءَنَا وَٱللَّهُ أَمَرَنَا بِهَاۗ قُلۡ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَأۡمُرُ بِٱلۡفَحۡشَآءِۖ أَتَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٢٨﴾

Bwe baba bakoze e kyobuwemu bagamba nti twasanga bakadde baffe bwe bakola, era nga Katonda ye yakitulagira, gamba ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima Katonda talagira bya buwemu, mutuuka okwogera ku Katonda e byo bye mutamanyi!

Al-A'raf 7:29

قُلۡ أَمَرَ رَبِّي بِٱلۡقِسۡطِۖ وَأَقِيمُواْ وُجُوهَكُمۡ عِندَ كُلِّ مَسۡجِدٖ وَٱدۡعُوهُ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَۚ كَمَا بَدَأَكُمۡ تَعُودُونَ ﴿٢٩﴾

Ggwe (Nabbi Muhammad) gamba nti Mukama omulabirizi wange yalagira okukola obwenkanya, era mubeerenga beesimbu mu kusinza mu buli Ibaada, (okusingira ddala) buli lwemugenda mu Mizikiti, era bwe muba nga musaba musabe ye yekka, olwo nno mube nga e ddiini mugikolera ye yekka, anti nga bwe yabatandika (mu ku batonda) mugenda kuddawo (oluvanyuma lw'okufa).

Al-A'raf 7:30

فَرِيقًا هَدَىٰ وَفَرِيقًا حَقَّ عَلَيۡهِمُ ٱلضَّلَٰلَةُۚ إِنَّهُمُ ٱتَّخَذُواْ ٱلشَّيَٰطِينَ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِ ٱللَّهِ وَيَحۡسَبُونَ أَنَّهُم مُّهۡتَدُونَ ﴿٣٠﴾

E kibinja e kimu yakilungamya ate nga e kibinja e kirala baakakatwako obubuze, anti mazima bo Sitane baazifuula mikwano gyabwe ffa nfe ne baleka Katonda, ate ne beebala nti mazima bo balungamu.

Al-A'raf 7:38

قَالَ ٱدۡخُلُواْ فِيٓ أُمَمٖ قَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلِكُم مِّنَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ فِي ٱلنَّارِۖ كُلَّمَا دَخَلَتۡ أُمَّةٞ لَّعَنَتۡ أُخۡتَهَاۖ حَتَّىٰٓ إِذَا ٱدَّارَكُواْ فِيهَا جَمِيعٗا قَالَتۡ أُخۡرَىٰهُمۡ لِأُولَىٰهُمۡ رَبَّنَا هَـٰٓؤُلَآءِ أَضَلُّونَا فَـَٔاتِهِمۡ عَذَابٗا ضِعۡفٗا مِّنَ ٱلنَّارِۖ قَالَ لِكُلّٖ ضِعۡفٞ وَلَٰكِن لَّا تَعۡلَمُونَ ﴿٣٨﴾

Katonda aligamba nti muyingire omuliro nga muyingirira mu bibinja e byabo be mufaanana, abaabakulembera mu majinni ne mu bantu, buli kibinja ekiriyingira nga kikolimira kinnaakyo okutuusa nga bonna bamaze okusisinkana mu gwo, e kibinja e kyenkomerero kiryogera ku kyolubereberye nekigamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe abo baatubuza bawe e bibonerezo by'omuliro nga obikubisizzaamu, Katonda naagamba nti buli bamu bongezeddwamu naye temumanyi.

Al-A'raf 7:175

وَٱتۡلُ عَلَيۡهِمۡ نَبَأَ ٱلَّذِيٓ ءَاتَيۡنَٰهُ ءَايَٰتِنَا فَٱنسَلَخَ مِنۡهَا فَأَتۡبَعَهُ ٱلشَّيۡطَٰنُ فَكَانَ مِنَ ٱلۡغَاوِينَ ﴿١٧٥﴾

Era basomere ebikwata ku oyo gwe twawa obubonero bwaffe n'abwesamba, ne Sitane naamunoonya (n'amufuula munne) olwo nno naabeera ow'omu babuze.

Al-A'raf 7:179

وَلَقَدۡ ذَرَأۡنَا لِجَهَنَّمَ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِۖ لَهُمۡ قُلُوبٞ لَّا يَفۡقَهُونَ بِهَا وَلَهُمۡ أَعۡيُنٞ لَّا يُبۡصِرُونَ بِهَا وَلَهُمۡ ءَاذَانٞ لَّا يَسۡمَعُونَ بِهَآۚ أُوْلَـٰٓئِكَ كَٱلۡأَنۡعَٰمِ بَلۡ هُمۡ أَضَلُّۚ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡغَٰفِلُونَ ﴿١٧٩﴾

Omuliro Jahannama twagutegekera bangi mu majinni ne mu Bantu, (kyova olaba) nti, balina e mitima naye tebagikozesa kutegeera, era balina amaaso gebatalabisa, era balina amatu gebatawuliza, abo nno balinga e bisolo, sinakindi bo b’e babuze okusinga e bisolo, abo nno be beesuulirayo ogwa nnagamba (ku bigambo bye ddiini).

Al-A'raf 7:200

وَإِمَّا يَنزَغَنَّكَ مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ نَزۡغٞ فَٱسۡتَعِذۡ بِٱللَّهِۚ إِنَّهُۥ سَمِيعٌ عَلِيمٌ ﴿٢٠٠﴾

Buli wonna wootuukirwangako okulabankanya kwa Sitane, saba obukuumi bwa Katonda, mazima yye Katonda awulira nnyo, mumanyi.

Al-A'raf 7:201

إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ إِذَا مَسَّهُمۡ طَـٰٓئِفٞ مِّنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ تَذَكَّرُواْ فَإِذَا هُم مُّبۡصِرُونَ ﴿٢٠١﴾

Mazima abo abatya Katonda, bwe baba baggyiddwa okubuzibwabuzibwa okuva eri Sitane, bajjukira Katonda, olwo nno nebalaba e kituufu.

Al-Anfal 8:11

إِذۡ يُغَشِّيكُمُ ٱلنُّعَاسَ أَمَنَةٗ مِّنۡهُ وَيُنَزِّلُ عَلَيۡكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ لِّيُطَهِّرَكُم بِهِۦ وَيُذۡهِبَ عَنكُمۡ رِجۡزَ ٱلشَّيۡطَٰنِ وَلِيَرۡبِطَ عَلَىٰ قُلُوبِكُمۡ وَيُثَبِّتَ بِهِ ٱلۡأَقۡدَامَ ﴿١١﴾

Mujjukire (Mukama Katonda) bwe yabatuusaako okusumagira, nga kukkakkanya okuva gyali, n’abassiza amazzi okuva waggulu (e nkuba) abe nga abatukuza nago, era abaggyirewo e mitego gya Sitane, era agumye e mitima gyammwe, era anyweze nayo e bigere bya mmwe.

Al-Anfal 8:48

وَإِذۡ زَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَعۡمَٰلَهُمۡ وَقَالَ لَا غَالِبَ لَكُمُ ٱلۡيَوۡمَ مِنَ ٱلنَّاسِ وَإِنِّي جَارٞ لَّكُمۡۖ فَلَمَّا تَرَآءَتِ ٱلۡفِئَتَانِ نَكَصَ عَلَىٰ عَقِبَيۡهِ وَقَالَ إِنِّي بَرِيٓءٞ مِّنكُمۡ إِنِّيٓ أَرَىٰ مَا لَا تَرَوۡنَ إِنِّيٓ أَخَافُ ٱللَّهَۚ وَٱللَّهُ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿٤٨﴾

Jjukira Sitane bwe yabalaga bye baali bakola nti birungi, (Sitane) n'abagamba nti tewali muntu yenna waakubawangula olwa leero, era nti mazima nze nja kubataasa, naye ate e bibinja by’ombiriri bwe byasisinkana, Sitane neyeefuula, era naagamba nti, mazima nze siri nammwe, anti mazima nze ndaba bye mutalaba, era mazima nze ntya Katonda, nga bulijjo Katonda muyitirivu wa kubonereza.

Hud 11:118

وَلَوۡ شَآءَ رَبُّكَ لَجَعَلَ ٱلنَّاسَ أُمَّةٗ وَٰحِدَةٗۖ وَلَا يَزَالُونَ مُخۡتَلِفِينَ ﴿١١٨﴾

Singa Mukama omulabiriziwo yayagala, abantu bonna yandibafudde ekibiina kimu, naye tebagenda kuva ku kwawukana.

Hud 11:119

إِلَّا مَن رَّحِمَ رَبُّكَۚ وَلِذَٰلِكَ خَلَقَهُمۡۗ وَتَمَّتۡ كَلِمَةُ رَبِّكَ لَأَمۡلَأَنَّ جَهَنَّمَ مِنَ ٱلۡجِنَّةِ وَٱلنَّاسِ أَجۡمَعِينَ ﴿١١٩﴾

Okugyako oyo Mukama omulabiriziwo gwaba asaasidde. N'olwekyo kyeyava abatonda, era kyakakata ekigambo kya Mukama omulabiriziwo nti ngenda kujjuza omuliro Jahannama nga nzija mu majinni n'abantu okutwalira awamu.

Yusuf 12:5

قَالَ يَٰبُنَيَّ لَا تَقۡصُصۡ رُءۡيَاكَ عَلَىٰٓ إِخۡوَتِكَ فَيَكِيدُواْ لَكَ كَيۡدًاۖ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ لِلۡإِنسَٰنِ عَدُوّٞ مُّبِينٞ ﴿٥﴾

(Kitaawe Yakubu) naagamba nti owange Katabani kange, ekirooto kyo tokinyumiza bagandabo nebakukolera enkwe mazima, bulijjo Sitane ku muntu mulabe ow'olwatu.

Yusuf 12:100

وَرَفَعَ أَبَوَيۡهِ عَلَى ٱلۡعَرۡشِ وَخَرُّواْ لَهُۥ سُجَّدٗاۖ وَقَالَ يَـٰٓأَبَتِ هَٰذَا تَأۡوِيلُ رُءۡيَٰيَ مِن قَبۡلُ قَدۡ جَعَلَهَا رَبِّي حَقّٗاۖ وَقَدۡ أَحۡسَنَ بِيٓ إِذۡ أَخۡرَجَنِي مِنَ ٱلسِّجۡنِ وَجَآءَ بِكُم مِّنَ ٱلۡبَدۡوِ مِنۢ بَعۡدِ أَن نَّزَغَ ٱلشَّيۡطَٰنُ بَيۡنِي وَبَيۡنَ إِخۡوَتِيٓۚ إِنَّ رَبِّي لَطِيفٞ لِّمَا يَشَآءُۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿١٠٠﴾

Era yasitula bakaddebe naabatuuza ku Ntebeye (Ey'obukulubwe) bonna ne bakutama ne bamuvunnamira era naagamba nti owange Kitange, gano ge makulu g’ekirooto kyange kye nnaloota edda, mazima Katonda wange akituukirizza, era mazima yankolera obulungi bwe yanzija mu kkomera ate na mmwe naabaleeta okubajja mu kyalo oluvanyuma lwa Sitane okuba nti yatabula wakati wange ne baganda bange. Mazima Mukama omulabirizi wange alumirwa oyo gwaba ayagadde anti mazima yye mumanyi nnyo mugoba nsonga.

Ibrahim 14:22

وَقَالَ ٱلشَّيۡطَٰنُ لَمَّا قُضِيَ ٱلۡأَمۡرُ إِنَّ ٱللَّهَ وَعَدَكُمۡ وَعۡدَ ٱلۡحَقِّ وَوَعَدتُّكُمۡ فَأَخۡلَفۡتُكُمۡۖ وَمَا كَانَ لِيَ عَلَيۡكُم مِّن سُلۡطَٰنٍ إِلَّآ أَن دَعَوۡتُكُمۡ فَٱسۡتَجَبۡتُمۡ لِيۖ فَلَا تَلُومُونِي وَلُومُوٓاْ أَنفُسَكُمۖ مَّآ أَنَا۠ بِمُصۡرِخِكُمۡ وَمَآ أَنتُم بِمُصۡرِخِيَّ إِنِّي كَفَرۡتُ بِمَآ أَشۡرَكۡتُمُونِ مِن قَبۡلُۗ إِنَّ ٱلظَّـٰلِمِينَ لَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿٢٢﴾

Ekigambo nga kimaze okuggwa (mu ngeri eyo) Sitane aligamba nti mazima Katonda yabalagaanyisa endagaano ey'amazima nange nembalagaanyisa, naye nembaawukanako, era sibangako na buyinza bwonna ku mmwe okugyako okuba nti nnabayita nemunnyanukula. Kale nno temunnenya, mwenenye mwekka, nze siri wa kubataasa nga na mmwe bwe mutali ba kuntaasa, mazima nze neegaanye ebyo bye mwangattamu ne Katonda oluberyeberye. Mazima abeeyisa obubi balina ebibonerezo ebiruma.

Al-Hijr 15:16

وَلَقَدۡ جَعَلۡنَا فِي ٱلسَّمَآءِ بُرُوجٗا وَزَيَّنَّـٰهَا لِلنَّـٰظِرِينَ ﴿١٦﴾

Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi.

Al-Hijr 15:17

وَحَفِظۡنَٰهَا مِن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ رَّجِيمٍ ﴿١٧﴾

Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda.

Al-Hijr 15:18

إِلَّا مَنِ ٱسۡتَرَقَ ٱلسَّمۡعَ فَأَتۡبَعَهُۥ شِهَابٞ مُّبِينٞ ﴿١٨﴾

Wabula oyo Sitane aba awulirizza mu bubba olwo nno ekitawuliro ekyeyolefu nekimufubutula emisinde.

Al-Hijr 15:26

وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِن صَلۡصَٰلٖ مِّنۡ حَمَإٖ مَّسۡنُونٖ ﴿٢٦﴾

Mazima twakola omuntu (Adam) mu bbumba ettabule nga liddugavu.

Al-Hijr 15:27

وَٱلۡجَآنَّ خَلَقۡنَٰهُ مِن قَبۡلُ مِن نَّارِ ٱلسَّمُومِ ﴿٢٧﴾

N'amajjini twagatonda oluberyeberye mu muliro omuyitirivu ogwokya ennyo.

Al-Hijr 15:28

وَإِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ إِنِّي خَٰلِقُۢ بَشَرٗا مِّن صَلۡصَٰلٖ مِّنۡ حَمَإٖ مَّسۡنُونٖ ﴿٢٨﴾

Jjukira ggwe (Nabbi Muhammad) Mukama omulabiriziwo bwe yagamba ba Malayika nti: mazima nja kutonda omuntu nga muggya mu bbumba ekkaze.

Al-Hijr 15:29

فَإِذَا سَوَّيۡتُهُۥ وَنَفَخۡتُ فِيهِ مِن رُّوحِي فَقَعُواْ لَهُۥ سَٰجِدِينَ ﴿٢٩﴾

Olwo nno bwe nnamala okumwenkanyankanya, nenfuuwa mu ye omwoyo oguva gyendi kale nno mugwe wansi nga mumuvunnamira.

Al-Hijr 15:30

فَسَجَدَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ كُلُّهُمۡ أَجۡمَعُونَ ﴿٣٠﴾

Olwo ba Malayika bonna nebavunnama.

Al-Hijr 15:31

إِلَّآ إِبۡلِيسَ أَبَىٰٓ أَن يَكُونَ مَعَ ٱلسَّـٰجِدِينَ ﴿٣١﴾

Okugyako Ibuliisu yagaana okubeera mu bavunnama.

Al-Hijr 15:32

قَالَ يَـٰٓإِبۡلِيسُ مَا لَكَ أَلَّا تَكُونَ مَعَ ٱلسَّـٰجِدِينَ ﴿٣٢﴾

(Katonda) kwe kugamba nti: owange ggwe Ibuliisu ki ekikugaanye okuvunnama n'abavunnami.

Al-Hijr 15:33

قَالَ لَمۡ أَكُن لِّأَسۡجُدَ لِبَشَرٍ خَلَقۡتَهُۥ مِن صَلۡصَٰلٖ مِّنۡ حَمَإٖ مَّسۡنُونٖ ﴿٣٣﴾

(Ibuliisu) nti: sandibadde avunnamira omuntu, gwotonze nga omuggya mu bbumba ekkaze eriddugavu.

Al-Hijr 15:34

قَالَ فَٱخۡرُجۡ مِنۡهَا فَإِنَّكَ رَجِيمٞ ﴿٣٤﴾

(Katonda) kwe kumugamba nti gifulume (e jjana) anti ggwe ogobeddwa okuva mu kusaasira kwa Katonda.

Al-Hijr 15:35

وَإِنَّ عَلَيۡكَ ٱللَّعۡنَةَ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلدِّينِ ﴿٣٥﴾

Era mazima ekikolimo kibeere ku ggwe okutuusiza ddala olunaku lw'okubalibwa.

Al-Hijr 15:36

قَالَ رَبِّ فَأَنظِرۡنِيٓ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ ﴿٣٦﴾

(Ibuliisu) naagamba nti: Ayi Mukama Omulabirizi wange, nnindiriza okutuusa ku lunaku lw'okusasulwa.

Al-Hijr 15:37

قَالَ فَإِنَّكَ مِنَ ٱلۡمُنظَرِينَ ﴿٣٧﴾

(Katonda) naagamba nti kale oli mubalindiriziddwa.

Al-Hijr 15:38

إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡوَقۡتِ ٱلۡمَعۡلُومِ ﴿٣٨﴾

Okutuusa ku lunaku lw'ekiseera ekimanyiddwa (ebitonde byonna lwe birizikirira).

Al-Hijr 15:39

قَالَ رَبِّ بِمَآ أَغۡوَيۡتَنِي لَأُزَيِّنَنَّ لَهُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَأُغۡوِيَنَّهُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿٣٩﴾

(Ibuliisu) naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange nga bwombuzizza, mazima nja kubawundira kuno ku nsi (obujeemu n'ebibi bibe nga by'ebirungi mu maaso gaabwe) era nja kubabuliza ddala bonna.

Al-Hijr 15:40

إِلَّا عِبَادَكَ مِنۡهُمُ ٱلۡمُخۡلَصِينَ ﴿٤٠﴾

Okugyako abaddubo mu bo abalondobemu.

Al-Hijr 15:41

قَالَ هَٰذَا صِرَٰطٌ عَلَيَّ مُسۡتَقِيمٌ ﴿٤١﴾

(Katonda) naagamba nti lino kkubo ggolokofu.

Al-Hijr 15:42

إِنَّ عِبَادِي لَيۡسَ لَكَ عَلَيۡهِمۡ سُلۡطَٰنٌ إِلَّا مَنِ ٱتَّبَعَكَ مِنَ ٱلۡغَاوِينَ ﴿٤٢﴾

Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza, mpozzi abo abakugoberera mu babuze.

An-Nahl 16:63

تَٱللَّهِ لَقَدۡ أَرۡسَلۡنَآ إِلَىٰٓ أُمَمٖ مِّن قَبۡلِكَ فَزَيَّنَ لَهُمُ ٱلشَّيۡطَٰنُ أَعۡمَٰلَهُمۡ فَهُوَ وَلِيُّهُمُ ٱلۡيَوۡمَ وَلَهُمۡ عَذَابٌ أَلِيمٞ ﴿٦٣﴾

Ndayira Katonda, mazima twatumira abantu abaaliwo oluberyeberyelwo (Ggwe Muhammad), ate Sitane naabawundira ebibi bye bakola, kale nno olwa leero abeere munnaabwe, era baakussibwako ebibonerezo ebiruma.

An-Nahl 16:98

فَإِذَا قَرَأۡتَ ٱلۡقُرۡءَانَ فَٱسۡتَعِذۡ بِٱللَّهِ مِنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ ٱلرَّجِيمِ ﴿٩٨﴾

Buli lwoyagala okusoma Kur’ani saba Katonda akukuume ku Sitane eyafulumizibwa (mu kusaasira kwa Katonda)

An-Nahl 16:99

إِنَّهُۥ لَيۡسَ لَهُۥ سُلۡطَٰنٌ عَلَى ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَلَىٰ رَبِّهِمۡ يَتَوَكَّلُونَ ﴿٩٩﴾

Mazima ye (Sitane) talina buyinza ku abo abakkiriza era nga Mukama omulabirizi waabwe gwe beekwasa.

An-Nahl 16:100

إِنَّمَا سُلۡطَٰنُهُۥ عَلَى ٱلَّذِينَ يَتَوَلَّوۡنَهُۥ وَٱلَّذِينَ هُم بِهِۦ مُشۡرِكُونَ ﴿١٠٠﴾

Mazima obuyinzabwe buli ku abo abamwewa, era n'abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala.

Al-Isra 17:26

وَءَاتِ ذَا ٱلۡقُرۡبَىٰ حَقَّهُۥ وَٱلۡمِسۡكِينَ وَٱبۡنَ ٱلسَّبِيلِ وَلَا تُبَذِّرۡ تَبۡذِيرًا ﴿٢٦﴾

. Ow'olugandalwo ow'okumpi muwenga ekyo kyoteekwa okumuwa, era owe omunaku n'omutambuze, todiibuuda obudiibuuzi.

Al-Isra 17:27

إِنَّ ٱلۡمُبَذِّرِينَ كَانُوٓاْ إِخۡوَٰنَ ٱلشَّيَٰطِينِۖ وَكَانَ ٱلشَّيۡطَٰنُ لِرَبِّهِۦ كَفُورٗا ﴿٢٧﴾

. Mazima abadiibuuzi be bayambi ba Sitane (mu bwonoonefu n'obujeemu). Ate bulijjo Sitane mujeemu eri Mukama omulabiriziwe.

Al-Isra 17:53

وَقُل لِّعِبَادِي يَقُولُواْ ٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُۚ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ يَنزَغُ بَيۡنَهُمۡۚ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ كَانَ لِلۡإِنسَٰنِ عَدُوّٗا مُّبِينٗا ﴿٥٣﴾

. Era gamba abaddu bange, babe nga boogera ebyo ebisinga okuba ebirungi. Mazima Sitane atabula wakati wa bwe anti mazima Sitane mulabe wa muntu ow'olwatu.

Al-Isra 17:61

وَإِذۡ قُلۡنَا لِلۡمَلَـٰٓئِكَةِ ٱسۡجُدُواْ لِأٓدَمَ فَسَجَدُوٓاْ إِلَّآ إِبۡلِيسَ قَالَ ءَأَسۡجُدُ لِمَنۡ خَلَقۡتَ طِينٗا ﴿٦١﴾

. Era jjukira bwe twagamba ba Malayika nti muvunnamire Adam, nebavunnama okugyako Ibuliisu eyagamba nti nvunnamire oyo gwe watonda mu ttaka!.

Al-Isra 17:62

قَالَ أَرَءَيۡتَكَ هَٰذَا ٱلَّذِي كَرَّمۡتَ عَلَيَّ لَئِنۡ أَخَّرۡتَنِ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَأَحۡتَنِكَنَّ ذُرِّيَّتَهُۥٓ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿٦٢﴾

. Era (Sitaane) naagamba nti ggwe bwotyo bwolabye nti oyo omusukkulumizza ku nze. Singa onnindiriza (nemba mulamu) okutuuka ku lunaku lw'enkomerero nja kubuliza ddala ezzadderye okugyako abatono ennyo.

Al-Isra 17:63

قَالَ ٱذۡهَبۡ فَمَن تَبِعَكَ مِنۡهُمۡ فَإِنَّ جَهَنَّمَ جَزَآؤُكُمۡ جَزَآءٗ مَّوۡفُورٗا ﴿٦٣﴾

. Katonda naAgamba nti kale genda (ekyo nkikuwadde) naye buli alikugoberera mu bo mazima Jahannama yempeera yammwe eribasasulwa mu bujjuvu.

Emitwe