Al-Anfal 8:12إِذۡ يُوحِي رَبُّكَ إِلَى ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ أَنِّي مَعَكُمۡ فَثَبِّتُواْ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۚ سَأُلۡقِي فِي قُلُوبِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلرُّعۡبَ فَٱضۡرِبُواْ فَوۡقَ ٱلۡأَعۡنَاقِ وَٱضۡرِبُواْ مِنۡهُمۡ كُلَّ بَنَانٖ ﴿١٢﴾
Jjukira Mukama omulabiriziwo, bwe yatumira ba Malayika nti, mazima nze ndi wamu na mmwe, mugumye abo abakkiriza, njakussa okutya mu mitima gyabo abaakaafuwala, kale muteme waggulu w’ensingo, era mubatemeko n’engalo.
Al-Anfal 8:13ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ شَآقُّواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥۚ وَمَن يُشَاقِقِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَإِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿١٣﴾
Ekyo nno lwa kuba nti mazima bo beesimba mu Katonda n’o mubakawe, anti omuntu eyeesimba mu Katonda n’omubakawe, mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza.
Al-Anfal 8:14ذَٰلِكُمۡ فَذُوقُوهُ وَأَنَّ لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابَ ٱلنَّارِ ﴿١٤﴾
Ebyo nno ebibatuuseeko (bye bibasaanira), kale mukombe ku bukaawu bwabyo (nga muttibwa mu ntalo kuno ku nsi), era nga ddala abakaafiiri bagenda kussibwako e bibonerezo by’o mu muliro.
Al-Anfal 8:15يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا لَقِيتُمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ زَحۡفٗا فَلَا تُوَلُّوهُمُ ٱلۡأَدۡبَارَ ﴿١٥﴾
Abange mmwe abakkiriza, bwe mugasimbagananga n'abo abaakaafuwala, ababa bazze okubalwanyisa, temubaddukanga.
Al-Anfal 8:16وَمَن يُوَلِّهِمۡ يَوۡمَئِذٖ دُبُرَهُۥٓ إِلَّا مُتَحَرِّفٗا لِّقِتَالٍ أَوۡ مُتَحَيِّزًا إِلَىٰ فِئَةٖ فَقَدۡ بَآءَ بِغَضَبٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَمَأۡوَىٰهُ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿١٦﴾
Oyo yenna abalaga e mabegawe (nadduka), ku lunaku olwo, mpozzi ng’ali ku kakodyo ka lutalo, oba nga adda eri kibinja kya balwanyi banne, mazima aba akakaseeko obusungu bw’a Katonda, nga n’obuddobwe muliro Jahannama, ate nga buddo bubi.
Al-Anfal 8:17فَلَمۡ تَقۡتُلُوهُمۡ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ قَتَلَهُمۡۚ وَمَا رَمَيۡتَ إِذۡ رَمَيۡتَ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ رَمَىٰ وَلِيُبۡلِيَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ مِنۡهُ بَلَآءً حَسَنًاۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ ﴿١٧﴾
Simmwe mwabatta, naye mazima Katonda y’e yabatta, era bwe wakanyuga, si ggwe wakanyuga, naye mazima Katonda y’eyakanyuga, era abeere nga agezesa abakkiriza olugezesa olulungi n’ekikolwa ekyo, mazima Katonda awulira nnyo, mumanyi.
Al-Anfal 8:18ذَٰلِكُمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ مُوهِنُ كَيۡدِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿١٨﴾
E byo byebyo (mubimanye), era mumanyire ddala nti, mazima Katonda anafuya enkwe z’a bakaafiiri.
Al-Anfal 8:19إِن تَسۡتَفۡتِحُواْ فَقَدۡ جَآءَكُمُ ٱلۡفَتۡحُۖ وَإِن تَنتَهُواْ فَهُوَ خَيۡرٞ لَّكُمۡۖ وَإِن تَعُودُواْ نَعُدۡ وَلَن تُغۡنِيَ عَنكُمۡ فِئَتُكُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَوۡ كَثُرَتۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١٩﴾
(Mwe abakaafiiri) bwe muba nga musaba Katonda kusalawo, okusalawo kuzze, era bwe muneekomako, ekyo kye kirungi gye muli, naye bwe munaddamu, nga naffe tuddamu, ate ekibinja kya mmwe tekigenda kubagasa kintu kyonna, ne bwe kiba kinene kitya, anti mazima Katonda ali wamu n’abakkiriza.
Al-Anfal 8:30وَإِذۡ يَمۡكُرُ بِكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِيُثۡبِتُوكَ أَوۡ يَقۡتُلُوكَ أَوۡ يُخۡرِجُوكَۚ وَيَمۡكُرُونَ وَيَمۡكُرُ ٱللَّهُۖ وَٱللَّهُ خَيۡرُ ٱلۡمَٰكِرِينَ ﴿٣٠﴾
Era jjukira abo abaakaafuwala bwe baakukolera olukwe, bakusibe oba bakutte, oba bakugobe, nebasala olukwe, ne Katonda naayanukula olukwe olwo (n'abataasa), Katonda ali waggulu nnyo w’abasala enkwe.
Al-Anfal 8:38قُل لِّلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِن يَنتَهُواْ يُغۡفَرۡ لَهُم مَّا قَدۡ سَلَفَ وَإِن يَعُودُواْ فَقَدۡ مَضَتۡ سُنَّتُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿٣٨﴾
Gamba abo abaakaafuwala, nti bwe baneekomako, baggya kusonyiyibwa e byakulembera, naye bwe banaddamu, ekyatuuka ku baasooka kimanyiddwa.
Al-Anfal 8:39وَقَٰتِلُوهُمۡ حَتَّىٰ لَا تَكُونَ فِتۡنَةٞ وَيَكُونَ ٱلدِّينُ كُلُّهُۥ لِلَّهِۚ فَإِنِ ٱنتَهَوۡاْ فَإِنَّ ٱللَّهَ بِمَا يَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ ﴿٣٩﴾
Era mubalwanyise waleme kubeerawo bukaafiiri, e ddiini yonna ebeere y’a Katonda. Bwe baba beekomyeko, mazima ddala Katonda alaba bye bakola.
Al-Anfal 8:40وَإِن تَوَلَّوۡاْ فَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ مَوۡلَىٰكُمۡۚ نِعۡمَ ٱلۡمَوۡلَىٰ وَنِعۡمَ ٱلنَّصِيرُ ﴿٤٠﴾
Naye bwe batakola ekyo, mumanye nti mazima Katonda ye mukuumi wa mmwe, (era nga yye) ye mukuumi asinga era omutaasa asinga.
Al-Anfal 8:50وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذۡ يَتَوَفَّى ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يَضۡرِبُونَ وُجُوهَهُمۡ وَأَدۡبَٰرَهُمۡ وَذُوقُواْ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ ﴿٥٠﴾
Singa olaba (ggwe Nabbi Muhammad) engeri malayika gye ziggyamu e myooyo gy’abakaafiiri, nga babakuba mu maaso gaabwe, ne ku migongo gyabwe, nga bwe babagamba nti, mukombe ku bukaawu bwe binorezo ebyokya.
Al-Anfal 8:57فَإِمَّا تَثۡقَفَنَّهُمۡ فِي ٱلۡحَرۡبِ فَشَرِّدۡ بِهِم مَّنۡ خَلۡفَهُمۡ لَعَلَّهُمۡ يَذَّكَّرُونَ ﴿٥٧﴾
Buli lwo bagwikirizanga mu lutalo, babonereze mu bukambwe, kibe ekyokutiisa, eri abo abalibaddirira, babe nga beebuulirira.
Al-Anfal 8:58وَإِمَّا تَخَافَنَّ مِن قَوۡمٍ خِيَانَةٗ فَٱنۢبِذۡ إِلَيۡهِمۡ عَلَىٰ سَوَآءٍۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُحِبُّ ٱلۡخَآئِنِينَ ﴿٥٨﴾
Bwe weekengeranga obukumpanya mu bantu, baddize e ndagaano yaabwe mu lwatu, anti mazima ddala Katonda tayagala bakumpanya.
Al-Anfal 8:59وَلَا يَحۡسَبَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ سَبَقُوٓاْۚ إِنَّهُمۡ لَا يُعۡجِزُونَ ﴿٥٩﴾
Abo abaakaafuwala tebeeyibaalanga ne balowooza nti basimattuse ku Katonda, anti mazima bbo tebayinza kulemesa (Katonda).
Al-Anfal 8:60وَأَعِدُّواْ لَهُم مَّا ٱسۡتَطَعۡتُم مِّن قُوَّةٖ وَمِن رِّبَاطِ ٱلۡخَيۡلِ تُرۡهِبُونَ بِهِۦ عَدُوَّ ٱللَّهِ وَعَدُوَّكُمۡ وَءَاخَرِينَ مِن دُونِهِمۡ لَا تَعۡلَمُونَهُمُ ٱللَّهُ يَعۡلَمُهُمۡۚ وَمَا تُنفِقُواْ مِن شَيۡءٖ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ يُوَفَّ إِلَيۡكُمۡ وَأَنتُمۡ لَا تُظۡلَمُونَ ﴿٦٠﴾
Era mubeetegekere, nga mukozesa ekyo kyonna kye musobola mu by’okulwanyisa, nga e nfalaasi e ntendeke, era mutiise nakyo omulabe w’a Katonda era omulabe wa mmwe, n’abalala abatali abo be mutamanyi naye nga Katonda abamanyi, (mukutuukiriza ekyo), e kintu kyonna kye muwaayo mu kkubo lya Katonda, kigenda kubasasulwa mu bujjuvu, era temugenda kuyisibwa bubi.
Al-Anfal 8:64يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ حَسۡبُكَ ٱللَّهُ وَمَنِ ٱتَّبَعَكَ مِنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٦٤﴾
Owange ggwe Nabbi, Katonda akumalira era naamalira n’abali naawe nga bakkiriza.
Al-Anfal 8:65يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ حَرِّضِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ عَلَى ٱلۡقِتَالِۚ إِن يَكُن مِّنكُمۡ عِشۡرُونَ صَٰبِرُونَ يَغۡلِبُواْ مِاْئَتَيۡنِۚ وَإِن يَكُن مِّنكُم مِّاْئَةٞ يَغۡلِبُوٓاْ أَلۡفٗا مِّنَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِأَنَّهُمۡ قَوۡمٞ لَّا يَفۡقَهُونَ ﴿٦٥﴾
Owange gwe Nabbi, kubiriza abakkiriza okugenda okulwana, kale nno mu mmwe bwe mubaamu amakumi abiri abagumiikiriza bawangula e bikumi bibiri, ate e kikumi mu mmwe bawangula lukumi, mu abo abaakaafuwala olw'okuba nti bo bantu abatategeera.
Al-Anfal 8:66ٱلۡـَٰٔنَ خَفَّفَ ٱللَّهُ عَنكُمۡ وَعَلِمَ أَنَّ فِيكُمۡ ضَعۡفٗاۚ فَإِن يَكُن مِّنكُم مِّاْئَةٞ صَابِرَةٞ يَغۡلِبُواْ مِاْئَتَيۡنِۚ وَإِن يَكُن مِّنكُمۡ أَلۡفٞ يَغۡلِبُوٓاْ أَلۡفَيۡنِ بِإِذۡنِ ٱللَّهِۗ وَٱللَّهُ مَعَ ٱلصَّـٰبِرِينَ ﴿٦٦﴾
Kaakati Katonda abawewulidde, era amanyi nti mazima mu mmwe mulimu obunafu, kale mu mmwe bwe mubangamu e kikumi ekigumiikiriza, bawangula e bibiri, ate olukumi mu mmwe bawangula e nkumi bbiri ku lwo kukkiriza kwa Katonda, nga bulijjo Katonda aliwamu n'abagumiikiriza.
Al-Anfal 8:70يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّبِيُّ قُل لِّمَن فِيٓ أَيۡدِيكُم مِّنَ ٱلۡأَسۡرَىٰٓ إِن يَعۡلَمِ ٱللَّهُ فِي قُلُوبِكُمۡ خَيۡرٗا يُؤۡتِكُمۡ خَيۡرٗا مِّمَّآ أُخِذَ مِنكُمۡ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿٧٠﴾
Owange ggwe Nabbi gamba abawambe abali mu mikono gya mmwe nti, Katonda bwa naamanya nti mu mitima gya mmwe mulimu akalungi agenda kubawa e birungi e bisinga kw'ebyo ebyabaggyibwako era abasonyiwe, anti bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi.
Al-Anfal 8:71وَإِن يُرِيدُواْ خِيَانَتَكَ فَقَدۡ خَانُواْ ٱللَّهَ مِن قَبۡلُ فَأَمۡكَنَ مِنۡهُمۡۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ ﴿٧١﴾
Naye bwe baba baagadde ku kukumpanya, mazima ba kumpanyadda Katonda, wabula yakuyamba n’obawangula, nga bulijjo Katonda amanyi nnyo, agoba nsonga.
At-Tawbah 9:5فَإِذَا ٱنسَلَخَ ٱلۡأَشۡهُرُ ٱلۡحُرُمُ فَٱقۡتُلُواْ ٱلۡمُشۡرِكِينَ حَيۡثُ وَجَدتُّمُوهُمۡ وَخُذُوهُمۡ وَٱحۡصُرُوهُمۡ وَٱقۡعُدُواْ لَهُمۡ كُلَّ مَرۡصَدٖۚ فَإِن تَابُواْ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ فَخَلُّواْ سَبِيلَهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿٥﴾
Emyezi egy'emizizo bwegiggwako, mutte abo abagatta e birala ku Katonda, wonna wemubagwikiriza, era mubawambe, era mubataayize, era mubateege mu buli kkubo, kyokka bwe beenenya, nebayimirizaawo e sswala, nebatoola zzaka, olwo nno mubaleke, anti mazima Katonda musonyiyi, musaasizi.
At-Tawbah 9:12وَإِن نَّكَثُوٓاْ أَيۡمَٰنَهُم مِّنۢ بَعۡدِ عَهۡدِهِمۡ وَطَعَنُواْ فِي دِينِكُمۡ فَقَٰتِلُوٓاْ أَئِمَّةَ ٱلۡكُفۡرِ إِنَّهُمۡ لَآ أَيۡمَٰنَ لَهُمۡ لَعَلَّهُمۡ يَنتَهُونَ ﴿١٢﴾
(Wabula ate) bwe bamenya e birayiro bya bwe, oluvanyuma lw'endagaano gye baakola, nebajerega e ddiini ya mmwe, olwo nno mulwanyise abakungu mu bukaafiiri, anti mazima bbo, tebakuuma birayiro, balyoke beekomeko.
At-Tawbah 9:13أَلَا تُقَٰتِلُونَ قَوۡمٗا نَّكَثُوٓاْ أَيۡمَٰنَهُمۡ وَهَمُّواْ بِإِخۡرَاجِ ٱلرَّسُولِ وَهُم بَدَءُوكُمۡ أَوَّلَ مَرَّةٍۚ أَتَخۡشَوۡنَهُمۡۚ فَٱللَّهُ أَحَقُّ أَن تَخۡشَوۡهُ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿١٣﴾
Kiki ekibagaana okulwanyisa abantu abamenya e ndagaano zaabwe, nebaagala n’okugoba omubaka (mu Makkah), ate nga bo bennyini b’e baabasosonkereza omulundi ogwasooka, abaffe mutya batye, Katonda yaasaanira okuba nga mumutya bwe muba nga ddala muli bakkiriza.
At-Tawbah 9:14قَٰتِلُوهُمۡ يُعَذِّبۡهُمُ ٱللَّهُ بِأَيۡدِيكُمۡ وَيُخۡزِهِمۡ وَيَنصُرۡكُمۡ عَلَيۡهِمۡ وَيَشۡفِ صُدُورَ قَوۡمٖ مُّؤۡمِنِينَ ﴿١٤﴾
Mubalwanyise, Katonda ababonereze n’emikono gya mmwe, era abakkakkanye era mmwe abataase ku bo, aweweeze ekyo ekiri mu mitima gya bakkiriza.
At-Tawbah 9:15وَيُذۡهِبۡ غَيۡظَ قُلُوبِهِمۡۗ وَيَتُوبُ ٱللَّهُ عَلَىٰ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ ﴿١٥﴾
Era amalewo obukyayi bw’emitima gya bwe, era Katonda akkirize okwenenya kw’oyo gwaba ayagadde, bulijjo Katonda muyitirivu w’a kumanya, mugoba nsonga.
At-Tawbah 9:29قَٰتِلُواْ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱللَّهِ وَلَا بِٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَلَا يُحَرِّمُونَ مَا حَرَّمَ ٱللَّهُ وَرَسُولُهُۥ وَلَا يَدِينُونَ دِينَ ٱلۡحَقِّ مِنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ حَتَّىٰ يُعۡطُواْ ٱلۡجِزۡيَةَ عَن يَدٖ وَهُمۡ صَٰغِرُونَ ﴿٢٩﴾
Mulwanyise abo abatakkiriza Katonda, wadde olunaku lw'enkomerero. Era nga tebaziza ebyo Katonda n’omubakawe bye baafuula Haramu. Era nebatagoberera ddiini entuufu, nga bava mu abo abaaweebwa e kitabo, okutuusa nga bawadde omusolo nga buli omu yaagweweera, balabike nga bakkakkanyiziddwa.
At-Tawbah 9:36إِنَّ عِدَّةَ ٱلشُّهُورِ عِندَ ٱللَّهِ ٱثۡنَا عَشَرَ شَهۡرٗا فِي كِتَٰبِ ٱللَّهِ يَوۡمَ خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ مِنۡهَآ أَرۡبَعَةٌ حُرُمٞۚ ذَٰلِكَ ٱلدِّينُ ٱلۡقَيِّمُۚ فَلَا تَظۡلِمُواْ فِيهِنَّ أَنفُسَكُمۡۚ وَقَٰتِلُواْ ٱلۡمُشۡرِكِينَ كَآفَّةٗ كَمَا يُقَٰتِلُونَكُمۡ كَآفَّةٗۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلۡمُتَّقِينَ ﴿٣٦﴾
Mazima omuwendo gw'emyezi ew’a Katonda giri emyezi kkumi n'ebiri, bwe kityo bwe kiri mu biwandiiko bya Katonda, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda e ggulu omusanvu ne nsi. Ena ku gyo gy’amizizo, eyo nno y’e ddiini e nnambulukufu, temweyisanga bubi mu gyo, era mulwanyise abagatta ku Katonda e bintu e birala bonna, nga nabo bwe babalwanyisa mwenna, mumanye nti mazima Katonda bulijjo abeera n’a bamutya.
At-Tawbah 9:85وَلَا تُعۡجِبۡكَ أَمۡوَٰلُهُمۡ وَأَوۡلَٰدُهُمۡۚ إِنَّمَا يُرِيدُ ٱللَّهُ أَن يُعَذِّبَهُم بِهَا فِي ٱلدُّنۡيَا وَتَزۡهَقَ أَنفُسُهُمۡ وَهُمۡ كَٰفِرُونَ ﴿٨٥﴾
Obungi bwe mmaali yaabwe n’abaana baabwe tebukwewuunyisa. Katonda kyagenderera mu byo kubabonereza kuno ku nsi, era batuuke okufa nga bali ku bukaafiiri.
At-Tawbah 9:118وَعَلَى ٱلثَّلَٰثَةِ ٱلَّذِينَ خُلِّفُواْ حَتَّىٰٓ إِذَا ضَاقَتۡ عَلَيۡهِمُ ٱلۡأَرۡضُ بِمَا رَحُبَتۡ وَضَاقَتۡ عَلَيۡهِمۡ أَنفُسُهُمۡ وَظَنُّوٓاْ أَن لَّا مَلۡجَأَ مِنَ ٱللَّهِ إِلَّآ إِلَيۡهِ ثُمَّ تَابَ عَلَيۡهِمۡ لِيَتُوبُوٓاْۚ إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلتَّوَّابُ ٱلرَّحِيمُ ﴿١١٨﴾
Era yakkiriza okwenenya kw'abasatu abo abataagenda ku lutabaalo okutuusa ensi lwe yabafundirira awamu n'obugazi bwayo, nabo bennyini nebafunda olw'okweraliikirira, nebatuuka okulowooza nti tewali kuwona Katonda okugyako nga omuntu azze gyali, oluvanyuma Katonda yabaddiramu basobole okwenenya. Anti mazima Katonda yye akkiriza okwenenya musaasizi.
At-Tawbah 9:123يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ قَٰتِلُواْ ٱلَّذِينَ يَلُونَكُم مِّنَ ٱلۡكُفَّارِ وَلۡيَجِدُواْ فِيكُمۡ غِلۡظَةٗۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ مَعَ ٱلۡمُتَّقِينَ ﴿١٢٣﴾
Abange mmwe abakkiriza mulwanyise abakaafiiri abo ababaliraanye bateekwa bawulire obuzito obuva mu mmwe, era mukimanye nti mazima ddala Katonda bulijjo abeera wamu n'abamutya.
Ar-Ra'd 13:31وَلَوۡ أَنَّ قُرۡءَانٗا سُيِّرَتۡ بِهِ ٱلۡجِبَالُ أَوۡ قُطِّعَتۡ بِهِ ٱلۡأَرۡضُ أَوۡ كُلِّمَ بِهِ ٱلۡمَوۡتَىٰۗ بَل لِّلَّهِ ٱلۡأَمۡرُ جَمِيعًاۗ أَفَلَمۡ يَاْيۡـَٔسِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَن لَّوۡ يَشَآءُ ٱللَّهُ لَهَدَى ٱلنَّاسَ جَمِيعٗاۗ وَلَا يَزَالُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ تُصِيبُهُم بِمَا صَنَعُواْ قَارِعَةٌ أَوۡ تَحُلُّ قَرِيبٗا مِّن دَارِهِمۡ حَتَّىٰ يَأۡتِيَ وَعۡدُ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُخۡلِفُ ٱلۡمِيعَادَ ﴿٣١﴾
Singa mazima waliyo ekitabo ekisomwa nga ensozi zisobola okutambuzibwa nakyo, n'ensi neyeeyasaamu emiwaatwa (ne gitambuliramu amazzi), oba abafu ne boogezebwa nakyo (ekitabo ekyo kyandibadde Kur’ani eno, eby'amagero si bye birungamya) wabula obuyinza bwonna bwa Katonda, abaffe abo abakkiriza tebakutukanga na kusuubira nti singa Katonda yayagala yandirungamizza, abantu bonna, era abo abaakaafuwala tebagenda kuvaawo nga batuukwako obuzibu olw'ebyo bye baakola oba ekizibu okugwa okumpi n'amayumba ga bwe, okutuusa endagaano ya Katonda lwe lijja. Mazima Katonda tayawukana ku ndagaano.
Ibrahim 14:15وَٱسۡتَفۡتَحُواْ وَخَابَ كُلُّ جَبَّارٍ عَنِيدٖ ﴿١٥﴾
(Ababaka) nebasaba (Katonda) okubataasa, naawemuka buli mwekuza ow'amawaggali.
Ibrahim 14:16مِّن وَرَآئِهِۦ جَهَنَّمُ وَيُسۡقَىٰ مِن مَّآءٖ صَدِيدٖ ﴿١٦﴾
Oluvanyuma lw'ekyo (omwekuza oyo alindiriddwa) omuliro jahannama era agenda kunywesebwa amazzi ag'amasira ag'olusaayi saayi.
Ibrahim 14:17يَتَجَرَّعُهُۥ وَلَا يَكَادُ يُسِيغُهُۥ وَيَأۡتِيهِ ٱلۡمَوۡتُ مِن كُلِّ مَكَانٖ وَمَا هُوَ بِمَيِّتٖۖ وَمِن وَرَآئِهِۦ عَذَابٌ غَلِيظٞ ﴿١٧﴾
Agenda kugezaako okuganywa naye nga tagasobola, ate okufa nekumujjira nga kuva mu buli luuyi so nga ate tagenda kufa, nga ate oluvanyuma lw'ekyo alindiriddwa ebibonerezo ebizito.
Ibrahim 14:18مَّثَلُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡۖ أَعۡمَٰلُهُمۡ كَرَمَادٍ ٱشۡتَدَّتۡ بِهِ ٱلرِّيحُ فِي يَوۡمٍ عَاصِفٖۖ لَّا يَقۡدِرُونَ مِمَّا كَسَبُواْ عَلَىٰ شَيۡءٖۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلضَّلَٰلُ ٱلۡبَعِيدُ ﴿١٨﴾
Ekifaananyi ky'abo abawakanya Mukama omulabirizi waabwe, (kiri nti) emirimu gya bwe giringa vvu erikungusiddwa empewo ku lunaku olulimu kibuyaga nga mu bye baakola byonna tebalina kye balinako buyinza okwo nno kwe kubula okwewala.
Al-Isra 17:4وَقَضَيۡنَآ إِلَىٰ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ فِي ٱلۡكِتَٰبِ لَتُفۡسِدُنَّ فِي ٱلۡأَرۡضِ مَرَّتَيۡنِ وَلَتَعۡلُنَّ عُلُوّٗا كَبِيرٗا ﴿٤﴾
. Era twasalawo ku baana ba Israil mu kitabo nti mugenda kwonoonera ddala mu nsi emirundi ebiri, era mugenda kwe kuluntaza olwekuluntaza oluyiritivu.
Al-Isra 17:5فَإِذَا جَآءَ وَعۡدُ أُولَىٰهُمَا بَعَثۡنَا عَلَيۡكُمۡ عِبَادٗا لَّنَآ أُوْلِي بَأۡسٖ شَدِيدٖ فَجَاسُواْ خِلَٰلَ ٱلدِّيَارِۚ وَكَانَ وَعۡدٗا مَّفۡعُولٗا ﴿٥﴾
. Bwerituuka endagaano y'omulundi ogusooka ku gyombi, tugenda kubatumira abaddu baffe ab'amaanyi amasuffu, bagenda kutuuka ku buli kanyomero ka mayumba, (nga batuusa obuzibu ku buli omu), era (eyo) neeba nga ndagaano eteekwa okutuukirizibwa.
Al-Isra 17:33وَلَا تَقۡتُلُواْ ٱلنَّفۡسَ ٱلَّتِي حَرَّمَ ٱللَّهُ إِلَّا بِٱلۡحَقِّۗ وَمَن قُتِلَ مَظۡلُومٗا فَقَدۡ جَعَلۡنَا لِوَلِيِّهِۦ سُلۡطَٰنٗا فَلَا يُسۡرِف فِّي ٱلۡقَتۡلِۖ إِنَّهُۥ كَانَ مَنصُورٗا ﴿٣٣﴾
. Era temuttanga omuntu oyo Katonda gwe yaziza okutta okugyako nga waliwo ensonga, oyo yenna attibwa nga alangibwa bwereere mazima twawa nannyiniye obuyinza (okutta eyatta omuntuwe) wabula mu kutta tosaanye kusukka kikomo anti mazima yye (attiddwa) ataasibwa (n'etteeka).
Al-Isra 17:74وَلَوۡلَآ أَن ثَبَّتۡنَٰكَ لَقَدۡ كِدتَّ تَرۡكَنُ إِلَيۡهِمۡ شَيۡـٔٗا قَلِيلًا ﴿٧٤﴾
. Era singa tetwakunyweza, mazima kumpi okyamemu katono nga odda gye bali.
Al-Isra 17:75إِذٗا لَّأَذَقۡنَٰكَ ضِعۡفَ ٱلۡحَيَوٰةِ وَضِعۡفَ ٱلۡمَمَاتِ ثُمَّ لَا تَجِدُ لَكَ عَلَيۡنَا نَصِيرٗا ﴿٧٥﴾
. Olwo nno (singa obagondera) twandi kukombesezza ku bibonerezo byo ku nsi, nga bibaziddwamu era netukukombesa ne ku bibonerezo byokufa, nga nabyo bibaziddwamu era tewandifunye akututasaako.
Al-Anbya 21:34وَمَا جَعَلۡنَا لِبَشَرٖ مِّن قَبۡلِكَ ٱلۡخُلۡدَۖ أَفَإِيْن مِّتَّ فَهُمُ ٱلۡخَٰلِدُونَ ﴿٣٤﴾
. Era tetuwanga muntu yenna oluberyeberyelwo buwangaazi obw'olubeerera, bwoba ofudde bo be b'okubeerawo olubeerera.
Al-Anbya 21:35كُلُّ نَفۡسٖ ذَآئِقَةُ ٱلۡمَوۡتِۗ وَنَبۡلُوكُم بِٱلشَّرِّ وَٱلۡخَيۡرِ فِتۡنَةٗۖ وَإِلَيۡنَا تُرۡجَعُونَ ﴿٣٥﴾
. Buli muntu wa kukomba ku kufa era tubagezesa n'obubi n'obulungi nga kikemo era gye tuli gye mulizzibwa.
Al-Mu'minun 23:15ثُمَّ إِنَّكُم بَعۡدَ ذَٰلِكَ لَمَيِّتُونَ ﴿١٥﴾
. Mazima mmwe oluvanyuma lw'ekyo ddala mugenda kufa.
Al-Mu'minun 23:16ثُمَّ إِنَّكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ تُبۡعَثُونَ ﴿١٦﴾
. Oluvanyuma mazima mmwe olunaku lw'enkomerero muli ba kuzuukizibwa.
Al-Mu'minun 23:99حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَ أَحَدَهُمُ ٱلۡمَوۡتُ قَالَ رَبِّ ٱرۡجِعُونِ ﴿٩٩﴾
. (Baakubeera mu bubuze) okutuusa okufa lwe kujjira omu ku bo, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange munzizeeyo (ku nsi).
Al-Mu'minun 23:100لَعَلِّيٓ أَعۡمَلُ صَٰلِحٗا فِيمَا تَرَكۡتُۚ كَلَّآۚ إِنَّهَا كَلِمَةٌ هُوَ قَآئِلُهَاۖ وَمِن وَرَآئِهِم بَرۡزَخٌ إِلَىٰ يَوۡمِ يُبۡعَثُونَ ﴿١٠٠﴾
. Mbe nga nkola emirimu emirungi mu ebyo byessaakola, si bwe kiri mazima kyo kigambo bugambo yye kyayogera (naye nga tagenda kusobola kudda) ate era mu maaso gaabwe waliwo e kiseera (ekyawula wakati w'obulamu bw'ensi n'obw'oluvanyuma mwe balibeera) okutuusa ku lunaku lwe balizuukizibwa.
Ash-Shu'ara 26:12قَالَ رَبِّ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يُكَذِّبُونِ ﴿١٢﴾
. (Musa) naagamba nti: mazima nze ntya okuba nga bannimbisa.
Ash-Shu'ara 26:13وَيَضِيقُ صَدۡرِي وَلَا يَنطَلِقُ لِسَانِي فَأَرۡسِلۡ إِلَىٰ هَٰرُونَ ﴿١٣﴾
. Ekifuba kyange ne kifunda olulimi lwange ne rutayatula, n'olwekyo lagira Haruna (annyambeko).