quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 3)

128 Aya · Emitwe · lg

Ash-Shu'ara 26:14

وَلَهُمۡ عَلَيَّ ذَنۢبٞ فَأَخَافُ أَن يَقۡتُلُونِ ﴿١٤﴾

. Ate banninako omusango, ntya nti bayinza okunzita.

Al-Qasas 28:15

وَدَخَلَ ٱلۡمَدِينَةَ عَلَىٰ حِينِ غَفۡلَةٖ مِّنۡ أَهۡلِهَا فَوَجَدَ فِيهَا رَجُلَيۡنِ يَقۡتَتِلَانِ هَٰذَا مِن شِيعَتِهِۦ وَهَٰذَا مِنۡ عَدُوِّهِۦۖ فَٱسۡتَغَٰثَهُ ٱلَّذِي مِن شِيعَتِهِۦ عَلَى ٱلَّذِي مِنۡ عَدُوِّهِۦ فَوَكَزَهُۥ مُوسَىٰ فَقَضَىٰ عَلَيۡهِۖ قَالَ هَٰذَا مِنۡ عَمَلِ ٱلشَّيۡطَٰنِۖ إِنَّهُۥ عَدُوّٞ مُّضِلّٞ مُّبِينٞ ﴿١٥﴾

. (Olunaku lumu Musa) yayingira e kibuga ng'abantu baamu tebategedde naasangamu abasajja babiri nga balwanagana, nga omu wa mu bantube ate omulala wa mu balabebe (wa mu bantu ba Firaawo) ow'omu bantube naamusaba amutaase ku mulabewe, awo nno Musa naamukuba ekikonde naamutta mbagirawo, (Musa) naagamba nti kino kikolwa kya Sitane, mazima yye mulabe era mubuza ow'olwatu.

Al-Qasas 28:19

فَلَمَّآ أَنۡ أَرَادَ أَن يَبۡطِشَ بِٱلَّذِي هُوَ عَدُوّٞ لَّهُمَا قَالَ يَٰمُوسَىٰٓ أَتُرِيدُ أَن تَقۡتُلَنِي كَمَا قَتَلۡتَ نَفۡسَۢا بِٱلۡأَمۡسِۖ إِن تُرِيدُ إِلَّآ أَن تَكُونَ جَبَّارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا تُرِيدُ أَن تَكُونَ مِنَ ٱلۡمُصۡلِحِينَ ﴿١٩﴾

. Olwo nno (Musa) bwe yayagala okuvumbagira oyo omulabe waabwe bombi, naagamba nti owange Musa oyagala kunzita nga bwe wasse omuntu jjo, tolina kyoyagala okugyako okubeera nantagambwaako mu nsi era (olabika) toyagala kubeera wa mu bakozi ba bulungi.

Al-Qasas 28:20

وَجَآءَ رَجُلٞ مِّنۡ أَقۡصَا ٱلۡمَدِينَةِ يَسۡعَىٰ قَالَ يَٰمُوسَىٰٓ إِنَّ ٱلۡمَلَأَ يَأۡتَمِرُونَ بِكَ لِيَقۡتُلُوكَ فَٱخۡرُجۡ إِنِّي لَكَ مِنَ ٱلنَّـٰصِحِينَ ﴿٢٠﴾

. Awo nno omusajja kwe kujja nga adduka ng'ava e kibuga gye kikoma, naagamba nti owange Musa mazima abakungu bakuteesaako okukutta, kale fuluma (mu nsi eno) mazima nze ndi mu bakubuulirira.

Al-Qasas 28:21

فَخَرَجَ مِنۡهَا خَآئِفٗا يَتَرَقَّبُۖ قَالَ رَبِّ نَجِّنِي مِنَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٢١﴾

. Awo nno naakifuluma (ekibuga) nga atidde yeekengera, naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mponya abantu abeeyisa obubi.

Al-Qasas 28:33

قَالَ رَبِّ إِنِّي قَتَلۡتُ مِنۡهُمۡ نَفۡسٗا فَأَخَافُ أَن يَقۡتُلُونِ ﴿٣٣﴾

. (Musa) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange mazima nze nabattamu omuntu, n'olwekyo ntya si kulwa nga banzita.

Al-'Ankabut 29:24

فَمَا كَانَ جَوَابَ قَوۡمِهِۦٓ إِلَّآ أَن قَالُواْ ٱقۡتُلُوهُ أَوۡ حَرِّقُوهُ فَأَنجَىٰهُ ٱللَّهُ مِنَ ٱلنَّارِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يُؤۡمِنُونَ ﴿٢٤﴾

. Okwanukula kwa bantube tekwali okugyako okugamba nti: mumutte oba mumwokye awo nno Katonda naamuwonya omuliro, mazima mu ekyo mulimu obubonero obulaga obuyinza bwa Katonda eri abantu abakkiriza.

Al-'Ankabut 29:57

كُلُّ نَفۡسٖ ذَآئِقَةُ ٱلۡمَوۡتِۖ ثُمَّ إِلَيۡنَا تُرۡجَعُونَ ﴿٥٧﴾

. Buli mwoyo gwonna gwa gukomba ku kufa, oluvanyuma gye tuli gye mujja okuzzibwa.

Ar-Rum 30:2

غُلِبَتِ ٱلرُّومُ ﴿٢﴾

. Abaroma bawanguddwa.

Luqman 31:34

إِنَّ ٱللَّهَ عِندَهُۥ عِلۡمُ ٱلسَّاعَةِ وَيُنَزِّلُ ٱلۡغَيۡثَ وَيَعۡلَمُ مَا فِي ٱلۡأَرۡحَامِۖ وَمَا تَدۡرِي نَفۡسٞ مَّاذَا تَكۡسِبُ غَدٗاۖ وَمَا تَدۡرِي نَفۡسُۢ بِأَيِّ أَرۡضٖ تَمُوتُۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمٌ خَبِيرُۢ ﴿٣٤﴾

. Mazima Katonda ewuwe yokka y'eri okumanya ebifa ku lunaku lw'enkomerero, era y'atonnyesa e nkuba, era yamanyi ekyo ekiri mu nnabaana, omuntu tayinza kumanya kiki kyaanaafuna enkya, era omuntu tayinza kumanya alifiira mu nsi ki, mazima Katonda amanyi nnyo ategeerera ddala buli kintu okuva ku ntobo yaakyo.

As-Sajdah 32:11

۞قُلۡ يَتَوَفَّىٰكُم مَّلَكُ ٱلۡمَوۡتِ ٱلَّذِي وُكِّلَ بِكُمۡ ثُمَّ إِلَىٰ رَبِّكُمۡ تُرۡجَعُونَ ﴿١١﴾

. Bagambe nti Malayika walumbe oyo eyaweebwa obuyinza ku mmwe agenda kubatta, oluvanyuma eri Mukama omulabirizi wa mmwe gye mulizzibwa.

Al-Ahzab 33:25

وَرَدَّ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِغَيۡظِهِمۡ لَمۡ يَنَالُواْ خَيۡرٗاۚ وَكَفَى ٱللَّهُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ٱلۡقِتَالَۚ وَكَانَ ٱللَّهُ قَوِيًّا عَزِيزٗا ﴿٢٥﴾

. Era Katonda yazzaayo abo abaakaafuwala n'obusungu bwa bwe, tebalina kalungi kebaafuna, era Katonda yamalira abakkiriza olutalo, era bulijjo Katonda wa maanyi nantakubwa ku mukono.

Al-Ahzab 33:26

وَأَنزَلَ ٱلَّذِينَ ظَٰهَرُوهُم مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ مِن صَيَاصِيهِمۡ وَقَذَفَ فِي قُلُوبِهِمُ ٱلرُّعۡبَ فَرِيقٗا تَقۡتُلُونَ وَتَأۡسِرُونَ فَرِيقٗا ﴿٢٦﴾

. Era yawanula abo abaabayamba mu ba nannyini kitabo ng'abajja mu bikomera byabwe, nassa mu mitima gya bwe okutya ne muba nga mutta e kitundu ate ne muwamba e kitundu e kirala (mu bo).

Al-Ahzab 33:27

وَأَوۡرَثَكُمۡ أَرۡضَهُمۡ وَدِيَٰرَهُمۡ وَأَمۡوَٰلَهُمۡ وَأَرۡضٗا لَّمۡ تَطَـُٔوهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٗا ﴿٢٧﴾

. Era naasikiza mmwe e bibanja byaabwe n'amaka gaabwe ne mmaali yaabwe n'ebitundu by'ensi ebirala bye mutatuukangamu, bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu.

Al-Ahzab 33:60

۞لَّئِن لَّمۡ يَنتَهِ ٱلۡمُنَٰفِقُونَ وَٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡمُرۡجِفُونَ فِي ٱلۡمَدِينَةِ لَنُغۡرِيَنَّكَ بِهِمۡ ثُمَّ لَا يُجَاوِرُونَكَ فِيهَآ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿٦٠﴾

. Abannanfusi n'abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abasaasaanya kalebule mu Madinah bwe banaaba tebeekomyeko tujja kukusobozesa okubakolako, n'ekinaddako tebagenda kuddayo kubeera naawe mu kyo okugyako ekiseera kitono.

Al-Ahzab 33:61

مَّلۡعُونِينَۖ أَيۡنَمَا ثُقِفُوٓاْ أُخِذُواْ وَقُتِّلُواْ تَقۡتِيلٗا ﴿٦١﴾

. Bakolimirwa, wonna webasangibwa bakwatibwa nebattibwa olutta.

Fatir 35:36

وَٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَهُمۡ نَارُ جَهَنَّمَ لَا يُقۡضَىٰ عَلَيۡهِمۡ فَيَمُوتُواْ وَلَا يُخَفَّفُ عَنۡهُم مِّنۡ عَذَابِهَاۚ كَذَٰلِكَ نَجۡزِي كُلَّ كَفُورٖ ﴿٣٦﴾

. Ate abo abaakaafuwala balifuna omuliro Jahannama, tebagenda kusalirwawo nti (bafe) olwo nno ne baba nga bafa era tebagenda kukendezebwa ku bibonerezo byagwo bwe tutyo bwe tusasula buli ntasiima.

Fatir 35:37

وَهُمۡ يَصۡطَرِخُونَ فِيهَا رَبَّنَآ أَخۡرِجۡنَا نَعۡمَلۡ صَٰلِحًا غَيۡرَ ٱلَّذِي كُنَّا نَعۡمَلُۚ أَوَلَمۡ نُعَمِّرۡكُم مَّا يَتَذَكَّرُ فِيهِ مَن تَذَكَّرَ وَجَآءَكُمُ ٱلنَّذِيرُۖ فَذُوقُواْ فَمَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِن نَّصِيرٍ ﴿٣٧﴾

. Nabo bagenda kuba nga baleekaanira mu gwo (nga bagamba nti) ayi Mukama omulabirizi waffe tufulumye (otuzze ku nsi) tukole emirimu emirungi egitali egyo gye twali tukola luli, (baligambibwa nti) abaffe tetwabawangaaza ebbanga lyasobola okujjukiriramu oyo ajjukira era naabajjira omutiisa (kye musaba temujja kukifuna) kale mukombe ku bukaawu bw'ebibonerezo, abeeyisa obubi tebayinza kuba na mutaasa yenna.

Az-Zumar 39:30

إِنَّكَ مَيِّتٞ وَإِنَّهُم مَّيِّتُونَ ﴿٣٠﴾

Mazima ggwe (Nabbi Muhammad) ojja kufa era mazima ddala nabo baakufa.

Az-Zumar 39:31

ثُمَّ إِنَّكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عِندَ رَبِّكُمۡ تَخۡتَصِمُونَ ﴿٣١﴾

Oluvanyuma mazima mmwe (mwenna wamu) mugenda kuwozanganya ewa Mukama omulabirizi wa mmwe ku lunaku lw'enkomerero.

Ghafir 40:11

قَالُواْ رَبَّنَآ أَمَتَّنَا ٱثۡنَتَيۡنِ وَأَحۡيَيۡتَنَا ٱثۡنَتَيۡنِ فَٱعۡتَرَفۡنَا بِذُنُوبِنَا فَهَلۡ إِلَىٰ خُرُوجٖ مِّن سَبِيلٖ ﴿١١﴾

Baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe watutta emirundi ebiri notuwa obulamu emirundi ebiri, kaakano tukkirizza ebyonoono byaffe (bitusaanidde), abaffe waliwo ekkubo lyonna eritufulumya mu muliro?.

Ghafir 40:26

وَقَالَ فِرۡعَوۡنُ ذَرُونِيٓ أَقۡتُلۡ مُوسَىٰ وَلۡيَدۡعُ رَبَّهُۥٓۖ إِنِّيٓ أَخَافُ أَن يُبَدِّلَ دِينَكُمۡ أَوۡ أَن يُظۡهِرَ فِي ٱلۡأَرۡضِ ٱلۡفَسَادَ ﴿٢٦﴾

Filaawo naagamba nti mundeke nzite Musa kale ayite Mukama omulabirizi we (anti) mazima nze ntidde nti ayinza okukyusa eddiini yammwe, oba ssi ekyo, ayinza okussa mu nsi obwononefu.

Ghafir 40:27

وَقَالَ مُوسَىٰٓ إِنِّي عُذۡتُ بِرَبِّي وَرَبِّكُم مِّن كُلِّ مُتَكَبِّرٖ لَّا يُؤۡمِنُ بِيَوۡمِ ٱلۡحِسَابِ ﴿٢٧﴾

Musa naagamba nti mazima nze nsaba Mukama omulabirizi wange era omulabirizi wa mmwe amponye (obubi) bwa buli mwekuza atakkiriza lunaku lwa kubalibwa.

Ghafir 40:28

وَقَالَ رَجُلٞ مُّؤۡمِنٞ مِّنۡ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ يَكۡتُمُ إِيمَٰنَهُۥٓ أَتَقۡتُلُونَ رَجُلًا أَن يَقُولَ رَبِّيَ ٱللَّهُ وَقَدۡ جَآءَكُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ مِن رَّبِّكُمۡۖ وَإِن يَكُ كَٰذِبٗا فَعَلَيۡهِ كَذِبُهُۥۖ وَإِن يَكُ صَادِقٗا يُصِبۡكُم بَعۡضُ ٱلَّذِي يَعِدُكُمۡۖ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي مَنۡ هُوَ مُسۡرِفٞ كَذَّابٞ ﴿٢٨﴾

Omusajja omukkiriza mu bantu ba Filaawo (naye nga) yali akweka obukkiriza bwe, yagamba nti mutta omusajja olwokuba agamba nti Katonda ye Mukama omulabirizi wange, ate nga abaleetedde obujulizi obuva ewa Mukama omulabirizi wa mmwe, bwaba nga alimba okulimba kwe kuli gyali, naye bwaba nga ayogera mazima ebimu ku byabalaganyisa bijja kubatuukako mazima Katonda talungamya oyo ye eyegalabanja, omulimba.

Ghafir 40:29

يَٰقَوۡمِ لَكُمُ ٱلۡمُلۡكُ ٱلۡيَوۡمَ ظَٰهِرِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَمَن يَنصُرُنَا مِنۢ بَأۡسِ ٱللَّهِ إِن جَآءَنَاۚ قَالَ فِرۡعَوۡنُ مَآ أُرِيكُمۡ إِلَّا مَآ أَرَىٰ وَمَآ أَهۡدِيكُمۡ إِلَّا سَبِيلَ ٱلرَّشَادِ ﴿٢٩﴾

Abange mmwe bantu bange olwaleero mmwe mulina obufuzi era nga mumanyiddwa mu nsi, olwo ani anatutaasa ku bibonerezo bya Katonda singa bituggira (olw'obutakkiriza Musa byagamba) Falawo nagamba nti siraba nti mwandisazeewo okugyako kye ndaba (ekyo kutta Musa), ate si balagirira okugyako ekkubo ettuufu.

Muhammad 47:4

فَإِذَا لَقِيتُمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَضَرۡبَ ٱلرِّقَابِ حَتَّىٰٓ إِذَآ أَثۡخَنتُمُوهُمۡ فَشُدُّواْ ٱلۡوَثَاقَ فَإِمَّا مَنَّۢا بَعۡدُ وَإِمَّا فِدَآءً حَتَّىٰ تَضَعَ ٱلۡحَرۡبُ أَوۡزَارَهَاۚ ذَٰلِكَۖ وَلَوۡ يَشَآءُ ٱللَّهُ لَٱنتَصَرَ مِنۡهُمۡ وَلَٰكِن لِّيَبۡلُوَاْ بَعۡضَكُم بِبَعۡضٖۗ وَٱلَّذِينَ قُتِلُواْ فِي سَبِيلِ ٱللَّهِ فَلَن يُضِلَّ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿٤﴾

Olwo bwe muba nga musisinkanye abo abaakafuwala (mu lutalo) muteme ensingo, okutuusiza ddala nga mubanafuyizza, munyweze empingu (zemusiba nazo abawambe) olwo nno kiri gyemuli okubata oluvanyuma (lwo kubawamba) oba okubakkiriza okwenunula, (ekyo mukikole bwemutyo) okutuusa olutalo lweruggwa. Ekyo bwekityo bwekiri, naye singa Katonda yayagala yandibewangulidde, wabula (ekimugaana okukola ekyo) lwakwagala kugezesa bamu mu mmwe ng'akozesa abalala. Era abo abattibwa nga bali mu kulwana mu kkubo lya Katonda, (Katonda) tagenda kwonoona mirimu gyabwe.

Muhammad 47:20

وَيَقُولُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَوۡلَا نُزِّلَتۡ سُورَةٞۖ فَإِذَآ أُنزِلَتۡ سُورَةٞ مُّحۡكَمَةٞ وَذُكِرَ فِيهَا ٱلۡقِتَالُ رَأَيۡتَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ يَنظُرُونَ إِلَيۡكَ نَظَرَ ٱلۡمَغۡشِيِّ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡمَوۡتِۖ فَأَوۡلَىٰ لَهُمۡ ﴿٢٠﴾

Abo abakkiriza bagamba nti singa essura (eragira olutalo) essibwa, naye essura neemala essibwa nga eyogera mu bulambulukufu nga n'okulwana kwogerwako mu yo, olaba abo abalina obulwadde mu mitima gyabwe nga bakutunuulira entunula ey’omuntu azirise ku lwokutya okufa. Ekyalisinze obulungi gyebali.

Emitwe