Ash-Shuraa 42:15فَلِذَٰلِكَ فَٱدۡعُۖ وَٱسۡتَقِمۡ كَمَآ أُمِرۡتَۖ وَلَا تَتَّبِعۡ أَهۡوَآءَهُمۡۖ وَقُلۡ ءَامَنتُ بِمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ مِن كِتَٰبٖۖ وَأُمِرۡتُ لِأَعۡدِلَ بَيۡنَكُمُۖ ٱللَّهُ رَبُّنَا وَرَبُّكُمۡۖ لَنَآ أَعۡمَٰلُنَا وَلَكُمۡ أَعۡمَٰلُكُمۡۖ لَا حُجَّةَ بَيۡنَنَا وَبَيۡنَكُمُۖ ٱللَّهُ يَجۡمَعُ بَيۡنَنَاۖ وَإِلَيۡهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿١٥﴾
N’olwekyo kale kowoola (abantu okujja eri e ddiini) era obeere mwesimbu nga bwe walagirwa, era togoberera kwagala kwabwe era gamba nti nzikiriza e bitabo ebyo Katonda bye yassa, era nalagirwa okukola obwenkanya wakati wa mmwe. Katonda ye mulabirizi waffe era omulabirizi wa mmwe ffe tulina emirimu gyaffe na mmwe mulina emirimu gya mmwe. Tewali nkayana wakati waffe na mmwe (anti amazima meyolefu), Katonda agenda kutusisinkanya (ffe na mmwe) era gyali yokka yeeri obuddo.
Ash-Shuraa 42:49لِّلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ يَخۡلُقُ مَا يَشَآءُۚ يَهَبُ لِمَن يَشَآءُ إِنَٰثٗا وَيَهَبُ لِمَن يَشَآءُ ٱلذُّكُورَ ﴿٤٩﴾
Bwa Katonda obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi, atonda ekyo kyaba ayagadde, agabira oyo gwaba ayagadde abaana ab’obuwala, era nagabira oyo gwaba ayagadde (omulala) abalenzi.
Ash-Shuraa 42:50أَوۡ يُزَوِّجُهُمۡ ذُكۡرَانٗا وَإِنَٰثٗاۖ وَيَجۡعَلُ مَن يَشَآءُ عَقِيمًاۚ إِنَّهُۥ عَلِيمٞ قَدِيرٞ ﴿٥٠﴾
Oba abagattira ab’obuwala n’abobulenzi ate oluusi gwaba ayagadde amufuula mugumba (anti) mazima yye ye mumanyi ennyo omuyinza.
Al-Ahqaf 46:15وَوَصَّيۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ بِوَٰلِدَيۡهِ إِحۡسَٰنًاۖ حَمَلَتۡهُ أُمُّهُۥ كُرۡهٗا وَوَضَعَتۡهُ كُرۡهٗاۖ وَحَمۡلُهُۥ وَفِصَٰلُهُۥ ثَلَٰثُونَ شَهۡرًاۚ حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ أَشُدَّهُۥ وَبَلَغَ أَرۡبَعِينَ سَنَةٗ قَالَ رَبِّ أَوۡزِعۡنِيٓ أَنۡ أَشۡكُرَ نِعۡمَتَكَ ٱلَّتِيٓ أَنۡعَمۡتَ عَلَيَّ وَعَلَىٰ وَٰلِدَيَّ وَأَنۡ أَعۡمَلَ صَٰلِحٗا تَرۡضَىٰهُ وَأَصۡلِحۡ لِي فِي ذُرِّيَّتِيٓۖ إِنِّي تُبۡتُ إِلَيۡكَ وَإِنِّي مِنَ ٱلۡمُسۡلِمِينَ ﴿١٥﴾
Omuntu twamulagira okuyisa obulungi bakaddebe, nnyina yamwetikka (yali lubuto lwe) mu buzibu era namuzaala mu buzibu, nga olubuto lwe (n'okumuyonsa) n'okumujja ku mabeere emyezi makumi asatu, okutuusa lwatuuka okukakata kwe naaweza emyaka amakumi ana (omuntu mulamu) agamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsobozesa okwebaza ebyengera byo ebyo bye wangabira ,ne bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola emirimu emirongoofu gyosiima, era nongooseza ezzadde lyange mazima nze nenenyezza nenzira gyoli era mazima nze ndi wa mu basiraamu.
Muhammad 47:22فَهَلۡ عَسَيۡتُمۡ إِن تَوَلَّيۡتُمۡ أَن تُفۡسِدُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَتُقَطِّعُوٓاْ أَرۡحَامَكُمۡ ﴿٢٢﴾
Abaffe musuubira nti singa mukulembera (ne muba abafuzi) nti munayonoona mu nsi ne mukutula enganda zammwe.
Adh-Dhariyat 51:28فَأَوۡجَسَ مِنۡهُمۡ خِيفَةٗۖ قَالُواْ لَا تَخَفۡۖ وَبَشَّرُوهُ بِغُلَٰمٍ عَلِيمٖ ﴿٢٨﴾
(Bwe bataalya) yawulira nga abatiddemu, ne bagamba nti totya era nebamuwa amawulire agessanyu ag'omwana omulenzi omumanyi ennyo.
Adh-Dhariyat 51:29فَأَقۡبَلَتِ ٱمۡرَأَتُهُۥ فِي صَرَّةٖ فَصَكَّتۡ وَجۡهَهَا وَقَالَتۡ عَجُوزٌ عَقِيمٞ ﴿٢٩﴾
(Awo wennyini) mukyala we naatuuka nga ayogerera waggulu nakuba ekyenyi kye, era naagamba nti (nze nga ndi) mukadde omugumba (nzaala ntya!).
Adh-Dhariyat 51:30قَالُواْ كَذَٰلِكِ قَالَ رَبُّكِۖ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡحَكِيمُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿٣٠﴾
(Ba Malayika) ne bagamba nti bwekityo Mukama omulabirizi wo bwagambye anti mazima yye bulijjo, ye mugoba nsonga omumanyi ennyo.
At-Tur 52:21وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَٱتَّبَعَتۡهُمۡ ذُرِّيَّتُهُم بِإِيمَٰنٍ أَلۡحَقۡنَا بِهِمۡ ذُرِّيَّتَهُمۡ وَمَآ أَلَتۡنَٰهُم مِّنۡ عَمَلِهِم مِّن شَيۡءٖۚ كُلُّ ٱمۡرِيِٕۭ بِمَا كَسَبَ رَهِينٞ ﴿٢١﴾
Abo abakkiriza, era ezzadde lyabwe neribagoberera mu bukkiriza, twakkiriza ezzadde lyabwe okubagoberera (baleme kufuna kiwubaalo obutaba nabo) era tetulikendeeza ku mirimu gyabwe kintu kyonna, era nga buli muntu (yye) gwe musingo gwebyo bye yakola.
An-Najm 53:32ٱلَّذِينَ يَجۡتَنِبُونَ كَبَـٰٓئِرَ ٱلۡإِثۡمِ وَٱلۡفَوَٰحِشَ إِلَّا ٱللَّمَمَۚ إِنَّ رَبَّكَ وَٰسِعُ ٱلۡمَغۡفِرَةِۚ هُوَ أَعۡلَمُ بِكُمۡ إِذۡ أَنشَأَكُم مِّنَ ٱلۡأَرۡضِ وَإِذۡ أَنتُمۡ أَجِنَّةٞ فِي بُطُونِ أُمَّهَٰتِكُمۡۖ فَلَا تُزَكُّوٓاْ أَنفُسَكُمۡۖ هُوَ أَعۡلَمُ بِمَنِ ٱتَّقَىٰٓ ﴿٣٢﴾
Abo abeesamba ebyonoono ebinene ne byo buwemu okugyako ebitonotono, (anti) mazima Mukama omulabirizi wo mugazi wa kusonyiwa ye yaasinga okumanya ebikwata ku mmwe, okuva lwe yabatandikawo nga abagya mu ttaka ne mu kiseera we mwaberera mu mbuto za ba Maama ba mmwe, n’olwekyo temwetukuza anti yye yaasinga okumanya ani asinga okumutya.
An-Najm 53:45وَأَنَّهُۥ خَلَقَ ٱلزَّوۡجَيۡنِ ٱلذَّكَرَ وَٱلۡأُنثَىٰ ﴿٤٥﴾
Era nti mazima yatonda emitindo ebiri omusajja n'omukazi.
An-Najm 53:46مِن نُّطۡفَةٍ إِذَا تُمۡنَىٰ ﴿٤٦﴾
Abagya mu mazzi agazaala bwe gafulumizibwa (negateekebwa mu kifo ekituufu).
Al-Waqi'ah 56:58أَفَرَءَيۡتُم مَّا تُمۡنُونَ ﴿٥٨﴾
Abaffe mulaba amazzi (agazaala) ge muteeka mu nnabaana.
Al-Waqi'ah 56:59ءَأَنتُمۡ تَخۡلُقُونَهُۥٓ أَمۡ نَحۡنُ ٱلۡخَٰلِقُونَ ﴿٥٩﴾
Abaffe mmwe mugatonda oba ffe batonzi!.
Al-Mujadila 58:1قَدۡ سَمِعَ ٱللَّهُ قَوۡلَ ٱلَّتِي تُجَٰدِلُكَ فِي زَوۡجِهَا وَتَشۡتَكِيٓ إِلَى ٱللَّهِ وَٱللَّهُ يَسۡمَعُ تَحَاوُرَكُمَآۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعُۢ بَصِيرٌ ﴿١﴾
Ddala Katonda awulidde ebigambo byo mukyala ey'emulugunyizza gyoli ku bba era n'awaaba eri Katonda era Katonda abadde awulira ebigambo bye mubadde muwanyisiganya anti Katonda bulijjo awulira era alaba.
At-Talaq 65:4وَٱلَّـٰٓـِٔي يَئِسۡنَ مِنَ ٱلۡمَحِيضِ مِن نِّسَآئِكُمۡ إِنِ ٱرۡتَبۡتُمۡ فَعِدَّتُهُنَّ ثَلَٰثَةُ أَشۡهُرٖ وَٱلَّـٰٓـِٔي لَمۡ يَحِضۡنَۚ وَأُوْلَٰتُ ٱلۡأَحۡمَالِ أَجَلُهُنَّ أَن يَضَعۡنَ حَمۡلَهُنَّۚ وَمَن يَتَّقِ ٱللَّهَ يَجۡعَل لَّهُۥ مِنۡ أَمۡرِهِۦ يُسۡرٗا ﴿٤﴾
Abo bonna mu bakyala ba mmwe abatakyagenda mu nsonga za Heidh, bw emutankananga ebbanga lya Idda yaabwe, balindenga emyezi esatu. Wabula abo abatanayingira mu nsonga za Haidh Idda yaabwe emyezi esatu. Naye abo abali embuto ebbanga lyabwe kumala kuzaala. Oyo yenna atya Katonda amuteerawo obwangu mu buli kintu.
At-Tahrim 66:5عَسَىٰ رَبُّهُۥٓ إِن طَلَّقَكُنَّ أَن يُبۡدِلَهُۥٓ أَزۡوَٰجًا خَيۡرٗا مِّنكُنَّ مُسۡلِمَٰتٖ مُّؤۡمِنَٰتٖ قَٰنِتَٰتٖ تَـٰٓئِبَٰتٍ عَٰبِدَٰتٖ سَـٰٓئِحَٰتٖ ثَيِّبَٰتٖ وَأَبۡكَارٗا ﴿٥﴾
Singa anaba abatadde, Katonda omuleziwe, ajja kumuwaanyisizaamu abakyala abalala abasinga ku mmwe, nga basiramu nnyo, bakkirizza, nga bagonvu nnyo, nga beenenya era nga basinza nnyo Katonda, abatambulira mu kumutya, kababe nga baafumbirwako oba nga tebafumbirwangako.
Al-Qiyamah 75:37أَلَمۡ يَكُ نُطۡفَةٗ مِّن مَّنِيّٖ يُمۡنَىٰ ﴿٣٧﴾
Tajjukira nti yasooka kuba tondo lyamazzi agazaala agateekebwa mu nabaana.
Al-Qiyamah 75:38ثُمَّ كَانَ عَلَقَةٗ فَخَلَقَ فَسَوَّىٰ ﴿٣٨﴾
Oluvanyuma naafuuka ekisayisayi, olwo Katonda naamutonda namussaako byonna ebimufuula omuntu.
Al-Qiyamah 75:39فَجَعَلَ مِنۡهُ ٱلزَّوۡجَيۡنِ ٱلذَّكَرَ وَٱلۡأُنثَىٰٓ ﴿٣٩﴾
Nga bwatyo bwakola emitendera ebiri, omusajja n'omukazi.
Al-Qiyamah 75:40أَلَيۡسَ ذَٰلِكَ بِقَٰدِرٍ عَلَىٰٓ أَن يُحۡـِۧيَ ٱلۡمَوۡتَىٰ ﴿٤٠﴾
Abaffe oyo eyakola omuntu mu ngeri eyo tasobola kulamusa bafu!.
Al-Mursalat 77:20أَلَمۡ نَخۡلُقكُّم مِّن مَّآءٖ مَّهِينٖ ﴿٢٠﴾
Abaffe tetwabakola nga tubajja mu mazzi aganyomebwa.
Al-Mursalat 77:21فَجَعَلۡنَٰهُ فِي قَرَارٖ مَّكِينٍ ﴿٢١﴾
Netugateeka mukifo ekigakuuma.
An-Naba 78:8وَخَلَقۡنَٰكُمۡ أَزۡوَٰجٗا ﴿٨﴾
Ne tubatonda mu ngeri bbiri (omukazi n’omusajja).
An-Naba 78:10وَجَعَلۡنَا ٱلَّيۡلَ لِبَاسٗا ﴿١٠﴾
Ne tufuula ekiro ekyambalo ekibabikka (olw’enzikiza yaakyo)
At-Takwir 81:7وَإِذَا ٱلنُّفُوسُ زُوِّجَتۡ ﴿٧﴾
Nga n’emyoyo gigatiddwa buli egifaanagana nga giri wamu (Emirungi nga giri n’emirungi, e mibi nga giri n’emibi).
At-Takwir 81:8وَإِذَا ٱلۡمَوۡءُۥدَةُ سُئِلَتۡ ﴿٨﴾
Era omwana omuwala eyaziikibwa nga mulamu bw'aliba abuuziddwa.
At-Takwir 81:9بِأَيِّ ذَنۢبٖ قُتِلَتۡ ﴿٩﴾
Kibi ki ekyamussa?.
At-Tariq 86:5فَلۡيَنظُرِ ٱلۡإِنسَٰنُ مِمَّ خُلِقَ ﴿٥﴾
Kale nno omuntu yalibadde atunuulira kye yatondebwamu.
At-Tariq 86:6خُلِقَ مِن مَّآءٖ دَافِقٖ ﴿٦﴾
Yatondebwa ng’aggyibwa mu mazzi agasambattuka.
At-Tariq 86:7يَخۡرُجُ مِنۢ بَيۡنِ ٱلصُّلۡبِ وَٱلتَّرَآئِبِ ﴿٧﴾
Nga gava wakati w’omugongo gw'omusajja n’amasaabiro g'omukazi.
Al-Layl 92:1وَٱلَّيۡلِ إِذَا يَغۡشَىٰ ﴿١﴾
Ndayira ekiro bwe kiba kibisse (e nsi).
Al-Layl 92:2وَٱلنَّهَارِ إِذَا تَجَلَّىٰ ﴿٢﴾
Ndayira n'obudde bwemisana bwe buba nga bwetadde.
Al-Layl 92:3وَمَا خَلَقَ ٱلذَّكَرَ وَٱلۡأُنثَىٰٓ ﴿٣﴾
Ndayira oyo eyatonda ekisajja n’ekikazi.