quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 4)

211 Aya · Emitwe · lg

Al-Anbya 21:82

وَمِنَ ٱلشَّيَٰطِينِ مَن يَغُوصُونَ لَهُۥ وَيَعۡمَلُونَ عَمَلٗا دُونَ ذَٰلِكَۖ وَكُنَّا لَهُمۡ حَٰفِظِينَ ﴿٨٢﴾

. Ne mu zi Sitane mwalimu ezibbira mu nnyanja ku lulwe nga zikola n'emirimu emirala egitali ogwo era ffe twazikuumanga.

Al-Mu'minun 23:63

بَلۡ قُلُوبُهُمۡ فِي غَمۡرَةٖ مِّنۡ هَٰذَا وَلَهُمۡ أَعۡمَٰلٞ مِّن دُونِ ذَٰلِكَ هُمۡ لَهَا عَٰمِلُونَ ﴿٦٣﴾

. Wabula emitima gya bwe (abakaafiiri) giri mu kugayaalirira (Kur’ani) eno, awamu n'okugatta ku Katonda ebintu ebirala, balina e mirimu emirala emibi nga Katonda abaleka ne bagikola (olwo nno ebibonerezo bya bwe byeyongere).

An-Nur 24:39

وَٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَعۡمَٰلُهُمۡ كَسَرَابِۭ بِقِيعَةٖ يَحۡسَبُهُ ٱلظَّمۡـَٔانُ مَآءً حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَهُۥ لَمۡ يَجِدۡهُ شَيۡـٔٗا وَوَجَدَ ٱللَّهَ عِندَهُۥ فَوَفَّىٰهُ حِسَابَهُۥۗ وَٱللَّهُ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿٣٩﴾

. Bbo abo abaakaafuwala emirimu gya bwe girirabika nga ennyanja ey'okumusenyu (so nga tebaawo) omuyonta agirabanga amazzi bwatuuka w'agirabye tasangawo kintu kyonna wabula mu kifo ekyo asangawo Katonda n'amuwa mu bujjuvu okubalibwakwe. Bulijjo Katonda mwangu mu kubala (kwe).

Al-Furqan 25:23

وَقَدِمۡنَآ إِلَىٰ مَا عَمِلُواْ مِنۡ عَمَلٖ فَجَعَلۡنَٰهُ هَبَآءٗ مَّنثُورًا ﴿٢٣﴾

. Awo nno tulidda ku buli mulimu gwe baakola ne tugufuula olufufugge olufuumuddwa.

Ash-Shu'ara 26:168

قَالَ إِنِّي لِعَمَلِكُم مِّنَ ٱلۡقَالِينَ ﴿١٦٨﴾

. Naagamba nti mazima ndi omu ku batamwa ekikolwa kya mmwe (eky'ebisiyaga).

Ash-Shu'ara 26:169

رَبِّ نَجِّنِي وَأَهۡلِي مِمَّا يَعۡمَلُونَ ﴿١٦٩﴾

. Ayi Mukama omulabirizi wange mponya n'abantu bange mu ebyo bye bakola.

Ash-Shu'ara 26:170

فَنَجَّيۡنَٰهُ وَأَهۡلَهُۥٓ أَجۡمَعِينَ ﴿١٧٠﴾

. Netumuwonya n'abantu be bonna.

Ash-Shu'ara 26:216

فَإِنۡ عَصَوۡكَ فَقُلۡ إِنِّي بَرِيٓءٞ مِّمَّا تَعۡمَلُونَ ﴿٢١٦﴾

. Wabula bwe bakujeemera gamba nti mazima nze nnesambye ebyo bye mukola.

Al-'Ankabut 29:4

أَمۡ حَسِبَ ٱلَّذِينَ يَعۡمَلُونَ ٱلسَّيِّـَٔاتِ أَن يَسۡبِقُونَاۚ سَآءَ مَا يَحۡكُمُونَ ﴿٤﴾

. Oba abo abakola ebibi basuubira nti bayinza okutulemesa (ne tutababonereza), balamula bubi.

Saba 34:13

يَعۡمَلُونَ لَهُۥ مَا يَشَآءُ مِن مَّحَٰرِيبَ وَتَمَٰثِيلَ وَجِفَانٖ كَٱلۡجَوَابِ وَقُدُورٖ رَّاسِيَٰتٍۚ ٱعۡمَلُوٓاْ ءَالَ دَاوُۥدَ شُكۡرٗاۚ وَقَلِيلٞ مِّنۡ عِبَادِيَ ٱلشَّكُورُ ﴿١٣﴾

. N'olwekyo nga gamukolera byonna byayagala nga ebifo ebisinzibwamu n'ebifaananyi, ebibumbe ne nsiniya ennene eziringa ebidiba, n'amaseppiki (amanene ennyo) agatava mu kifo, (netumugamba nti) abange abantu ba Dauda mukole olw'okwebaza (Katonda), wabula batono abeebaza mu baddu bange.

Al-Anbya 21:52

إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَا هَٰذِهِ ٱلتَّمَاثِيلُ ٱلَّتِيٓ أَنتُمۡ لَهَا عَٰكِفُونَ ﴿٥٢﴾

. Jjukira bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti: bifaananyi ki bino, ebyo mmwe bye mulemeddeko!.

Muhammad 47:1

ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ أَضَلَّ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿١﴾

Abo abaakafuwala nebaggya abantu ku kkubo lya Katonda (Katonda) yayonoona emirimu gyabwe.

Al-Kahf 18:98

قَالَ هَٰذَا رَحۡمَةٞ مِّن رَّبِّيۖ فَإِذَا جَآءَ وَعۡدُ رَبِّي جَعَلَهُۥ دَكَّآءَۖ وَكَانَ وَعۡدُ رَبِّي حَقّٗا ﴿٩٨﴾

. (Dhul Karinaini) naagamba nti kuno kusaasira okuva eri Mukama Omulabirizi wange, n'olwekyo endagaano ya Mukama Omulabirizi wange bwelituuka, agenda kukifuula ekimerengufu, anti bulijjo endagaano ya Mukama omulabirizi wange ya mazima.

Al-Anbya 21:70

وَأَرَادُواْ بِهِۦ كَيۡدٗا فَجَعَلۡنَٰهُمُ ٱلۡأَخۡسَرِينَ ﴿٧٠﴾

. Baayagala okumukolera olukwe naye twabafuula abataalufunamu.

As-Saffat 37:98

فَأَرَادُواْ بِهِۦ كَيۡدٗا فَجَعَلۡنَٰهُمُ ٱلۡأَسۡفَلِينَ ﴿٩٨﴾

Mu kukola ekyo, baagenderera okumukolera olukwe (bamutte) wabula bbo netubafuula ab'awansi (bwe twalemesa olukwe lwabwe).

As-Saffat 37:54

قَالَ هَلۡ أَنتُم مُّطَّلِعُونَ ﴿٥٤﴾

Omukozi w’obulungi aligamba nti abaffe mulaba ekiri mu muliro.

Al-An'am 6:124

وَإِذَا جَآءَتۡهُمۡ ءَايَةٞ قَالُواْ لَن نُّؤۡمِنَ حَتَّىٰ نُؤۡتَىٰ مِثۡلَ مَآ أُوتِيَ رُسُلُ ٱللَّهِۘ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ حَيۡثُ يَجۡعَلُ رِسَالَتَهُۥۗ سَيُصِيبُ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْ صَغَارٌ عِندَ ٱللَّهِ وَعَذَابٞ شَدِيدُۢ بِمَا كَانُواْ يَمۡكُرُونَ ﴿١٢٤﴾

Obujulizi obwe nkukunala bwe bubaggyira bagamba nti tetujja kukkiriza okutuusa nga tuweereddwa nga e byaweebwa ababaka ba Katonda, (e kituufu kiri nti) Katonda amanyidde ddala wassa obubaka bwe, abo abayonoona bajja kutuukwako okunyomebwa mu maaso ga Katonda n’ebibonerezo e bikakali, ku lwo kusaasanya kwabwe e bikyamu.

Al-Anfal 8:30

وَإِذۡ يَمۡكُرُ بِكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِيُثۡبِتُوكَ أَوۡ يَقۡتُلُوكَ أَوۡ يُخۡرِجُوكَۚ وَيَمۡكُرُونَ وَيَمۡكُرُ ٱللَّهُۖ وَٱللَّهُ خَيۡرُ ٱلۡمَٰكِرِينَ ﴿٣٠﴾

Era jjukira abo abaakaafuwala bwe baakukolera olukwe, bakusibe oba bakutte, oba bakugobe, nebasala olukwe, ne Katonda naayanukula olukwe olwo (n'abataasa), Katonda ali waggulu nnyo w’abasala enkwe.

An-Nahl 16:26

قَدۡ مَكَرَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ فَأَتَى ٱللَّهُ بُنۡيَٰنَهُم مِّنَ ٱلۡقَوَاعِدِ فَخَرَّ عَلَيۡهِمُ ٱلسَّقۡفُ مِن فَوۡقِهِمۡ وَأَتَىٰهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِنۡ حَيۡثُ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿٢٦﴾

Ab’abakulembera baakola enkwe, Katonda naasitula ebizimbe byabwe nga asinziira ku musingi akasolya nekabagwira waggulu waabwe ebibonerezo nebibajjira okuva webatasuubira.

An-Nahl 16:127

وَٱصۡبِرۡ وَمَا صَبۡرُكَ إِلَّا بِٱللَّهِۚ وَلَا تَحۡزَنۡ عَلَيۡهِمۡ وَلَا تَكُ فِي ضَيۡقٖ مِّمَّا يَمۡكُرُونَ ﴿١٢٧﴾

Era gumiikiriza, okugumiikirizakwo tekuyinza kubaawo okugyako ku lwa Katonda, tobanakuwalira, era tobeera mu bulumi olw'enkwe ze bakola.

An-Naml 27:50

وَمَكَرُواْ مَكۡرٗا وَمَكَرۡنَا مَكۡرٗا وَهُمۡ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿٥٠﴾

. Ne bakola e nkwe ez'okutta (Swaleh n'abantube) naffe ne tuzaanukula e nkwe ez'okumuwonya nabo nga tebamanyi.

An-Naml 27:51

فَٱنظُرۡ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ مَكۡرِهِمۡ أَنَّا دَمَّرۡنَٰهُمۡ وَقَوۡمَهُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿٥١﴾

. Kale laba enkomerero eyava mu nkwe zaabwe, mazima ffe twabazikiriza n'abantu baabwe bonna.

Fatir 35:43

ٱسۡتِكۡبَارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَكۡرَ ٱلسَّيِّيِٕۚ وَلَا يَحِيقُ ٱلۡمَكۡرُ ٱلسَّيِّئُ إِلَّا بِأَهۡلِهِۦۚ فَهَلۡ يَنظُرُونَ إِلَّا سُنَّتَ ٱلۡأَوَّلِينَۚ فَلَن تَجِدَ لِسُنَّتِ ٱللَّهِ تَبۡدِيلٗاۖ وَلَن تَجِدَ لِسُنَّتِ ٱللَّهِ تَحۡوِيلًا ﴿٤٣﴾

. (Nga ekyo kiva) ku kwekuluntaza (kwa bwe) mu nsi, n'okukolala enkwe embi, enkwe embi tezituusa kabi okugyako ku ba nannyini zo olwo abaffe balina kyebalindirira okugyako enkola eyatuuka ku baabakulembera ate nga enkola ya Katonda (mu kubonereza abajeemu) tebaamu kukyusibwa era nga enkola ya Katonda toyinza kugisangamu kujjululwa.

Ghafir 40:45

فَوَقَىٰهُ ٱللَّهُ سَيِّـَٔاتِ مَا مَكَرُواْۖ وَحَاقَ بِـَٔالِ فِرۡعَوۡنَ سُوٓءُ ٱلۡعَذَابِ ﴿٤٥﴾

Katonda naamuwonya obubi bwe nkwe zebasala, obubi bwe bibonorezo ne byetoloola abantu ba Falaawo.

Nuh 71:22

وَمَكَرُواْ مَكۡرٗا كُبَّارٗا ﴿٢٢﴾

Nebakola olukwe sinziggu (bwebagezaako okutta Nuhu).

Al-Baqarah 2:137

فَإِنۡ ءَامَنُواْ بِمِثۡلِ مَآ ءَامَنتُم بِهِۦ فَقَدِ ٱهۡتَدَواْۖ وَّإِن تَوَلَّوۡاْ فَإِنَّمَا هُمۡ فِي شِقَاقٖۖ فَسَيَكۡفِيكَهُمُ ٱللَّهُۚ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿١٣٧﴾

Bwe banakkiririza mu ebyo bye mukkiriza, olwo ban'aba baluηηamye. Naye bwe banaava ku nzikiriza eyo, mazima ddala bo bajja kubeera mu kuwalaaza mpaka. Era nga Katonda ajja kubakukolerako. Era ye (Katonda) awulira, era mumanyi.

An-Nisa 4:45

وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِأَعۡدَآئِكُمۡۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَلِيّٗا وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ نَصِيرٗا ﴿٤٥﴾

Bulijjo Katonda amanyi nnyo ebikwata ku balabe ba mmwe, Katonda amala okuba nga ye mukuumi, era Katonda amala okuba nga ye mutaasa.

An-Nisa 4:81

وَيَقُولُونَ طَاعَةٞ فَإِذَا بَرَزُواْ مِنۡ عِندِكَ بَيَّتَ طَآئِفَةٞ مِّنۡهُمۡ غَيۡرَ ٱلَّذِي تَقُولُۖ وَٱللَّهُ يَكۡتُبُ مَا يُبَيِّتُونَۖ فَأَعۡرِضۡ عَنۡهُمۡ وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلًا ﴿٨١﴾

(Bwebabeera wooli) bagamba nti bawulize gyoli, naye bwebava wooli ekitundu ku bo nebasula nga basala entotto okwawukana ku byebayogedde, era Katonda awandiika entotto zonna zebasula bakola, baveeko wekwate ku Katonda, bulijjo kimala okuba nga Katonda ye mukuumi.

Al-Isra 17:65

إِنَّ عِبَادِي لَيۡسَ لَكَ عَلَيۡهِمۡ سُلۡطَٰنٞۚ وَكَفَىٰ بِرَبِّكَ وَكِيلٗا ﴿٦٥﴾

. Mazima abaddu bange tobalinaako buyinza era kimala okuba nga Mukama omulabiriziwo ye mukuumi.

Al-Ahzab 33:3

وَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِۚ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ وَكِيلٗا ﴿٣﴾

. Era weekwate ku Katonda, Katonda amala okuba nga gweweekwatako.

Al-Ahzab 33:39

ٱلَّذِينَ يُبَلِّغُونَ رِسَٰلَٰتِ ٱللَّهِ وَيَخۡشَوۡنَهُۥ وَلَا يَخۡشَوۡنَ أَحَدًا إِلَّا ٱللَّهَۗ وَكَفَىٰ بِٱللَّهِ حَسِيبٗا ﴿٣٩﴾

. (Obutaba na nkenyera nga Katonda amaze okusalawo y'enkola ya) abo abasaasaanya obubaka bwa Katonda era nebamutya nebaba nga tebatya kintu kyonna okugyako Katonda, bulijjo kimala okuba nga Katonda y'agenda okubala.

Az-Zumar 39:36

أَلَيۡسَ ٱللَّهُ بِكَافٍ عَبۡدَهُۥۖ وَيُخَوِّفُونَكَ بِٱلَّذِينَ مِن دُونِهِۦۚ وَمَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِنۡ هَادٖ ﴿٣٦﴾

Abaffe Katonda tamala muddu we, balyoke batuuke okukutiisatiisa n'abo abatali yye, oyo yenna Katonda gwabuza tagenda kufuna mulungamya.

Al-Ma'idah 5:11

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ إِذۡ هَمَّ قَوۡمٌ أَن يَبۡسُطُوٓاْ إِلَيۡكُمۡ أَيۡدِيَهُمۡ فَكَفَّ أَيۡدِيَهُمۡ عَنكُمۡۖ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿١١﴾

Abange mmwe abakkiriza mujjukire ekyengera kya Katonda kye yabawa, abantu abamu bwe baayagala okugolola e mikono gyaabwe (babalwanyise), n'aziyiza e mikono gyaabwe ku mmwe, era bulijjo mutye Katonda, Katonda yekka abakkiriza gwebateekeddwa okwesiga.

Al-Ma'idah 5:23

قَالَ رَجُلَانِ مِنَ ٱلَّذِينَ يَخَافُونَ أَنۡعَمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمَا ٱدۡخُلُواْ عَلَيۡهِمُ ٱلۡبَابَ فَإِذَا دَخَلۡتُمُوهُ فَإِنَّكُمۡ غَٰلِبُونَۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَتَوَكَّلُوٓاْ إِن كُنتُم مُّؤۡمِنِينَ ﴿٢٣﴾

Abasajja babiri mwabo abatya Katonda, nga era Katonda yabawa ekyengera kyobukkiriza nebagamba nti, mubalumbe nga muyita ku mulyango omunene, kemuyingira mazima ddala mujja kuwangula, naye Katonda yekka gwemuba mwekwatako, bwe muba nga muli bakkiriza.

At-Tawbah 9:51

قُل لَّن يُصِيبَنَآ إِلَّا مَا كَتَبَ ٱللَّهُ لَنَا هُوَ مَوۡلَىٰنَاۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿٥١﴾

(Ggwe Muhammad) gamba nti tewali kitutuukako okugyako Katonda kye yatuwandiikako, yye, ye mutaasa waffe, abakkiriza Katonda yekka gwe bateekwa okwesiga,

At-Tawbah 9:129

فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَقُلۡ حَسۡبِيَ ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ عَلَيۡهِ تَوَكَّلۡتُۖ وَهُوَ رَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿١٢٩﴾

Wabula kebava ku ebyo, gwe (Nabbi Muhammad) gamba nti Katonda ammala, tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, yye gwenneesiga era yye ye mufuzi wa Arish ey'ekitiibwa.

Yunus 10:85

فَقَالُواْ عَلَى ٱللَّهِ تَوَكَّلۡنَا رَبَّنَا لَا تَجۡعَلۡنَا فِتۡنَةٗ لِّلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٨٥﴾

(Abantu ba Musa) ne bamugamba nti Katonda waffe gwe twekutteko, ayi Mukama omulabirizi waffe, totufuula e kikemo eri abo abeeyisa obubi.

Hud 11:56

إِنِّي تَوَكَّلۡتُ عَلَى ٱللَّهِ رَبِّي وَرَبِّكُمۚ مَّا مِن دَآبَّةٍ إِلَّا هُوَ ءَاخِذُۢ بِنَاصِيَتِهَآۚ إِنَّ رَبِّي عَلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿٥٦﴾

Mazima nze neekwasizza Mukama Katonda omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, tewali kitambula ku nsi okugyako yye y'akutte akawompo kakyo, mazima Mukama omulabirizi wange ali ku kkubo ggolokofu.

Hud 11:88

قَالَ يَٰقَوۡمِ أَرَءَيۡتُمۡ إِن كُنتُ عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّي وَرَزَقَنِي مِنۡهُ رِزۡقًا حَسَنٗاۚ وَمَآ أُرِيدُ أَنۡ أُخَالِفَكُمۡ إِلَىٰ مَآ أَنۡهَىٰكُمۡ عَنۡهُۚ إِنۡ أُرِيدُ إِلَّا ٱلۡإِصۡلَٰحَ مَا ٱسۡتَطَعۡتُۚ وَمَا تَوۡفِيقِيٓ إِلَّا بِٱللَّهِۚ عَلَيۡهِ تَوَكَّلۡتُ وَإِلَيۡهِ أُنِيبُ ﴿٨٨﴾

Naagamba nti abange bantu bange mulaba nti singa mbadde ku bulungamu obwava ewa Mukama omulabirizi wange, nampa ne Riziki ennungi ate nnyinza okubaleka (nessibagambako) ate era saagala kubaawukanako nenzira ku ebyo bye mbagaana sirina kyengenderera kyonna okugyako okulongoosa nga bwemba nsobodde, era okulungama kwange tekuli okugyako ewa Katonda yye gwenneekwasiza era gyali gyengenda okudda.

Yusuf 12:67

وَقَالَ يَٰبَنِيَّ لَا تَدۡخُلُواْ مِنۢ بَابٖ وَٰحِدٖ وَٱدۡخُلُواْ مِنۡ أَبۡوَٰبٖ مُّتَفَرِّقَةٖۖ وَمَآ أُغۡنِي عَنكُم مِّنَ ٱللَّهِ مِن شَيۡءٍۖ إِنِ ٱلۡحُكۡمُ إِلَّا لِلَّهِۖ عَلَيۡهِ تَوَكَّلۡتُۖ وَعَلَيۡهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُتَوَكِّلُونَ ﴿٦٧﴾

Era naagamba nti abange baana bange (bwe mutuukayo) temuyingirira mu mulyango gumu, wabula muyingirire mu milyango gya njawulo, (ngambye ntyo) wabula sisobola kubamalira kintu kyonna ewa Katonda anti okulamula kwonna tekulina gye kuli okugyako ewa Katonda, ye yekka gwe nneesize, anti abeesiga bonna ye yekka gwe bateekwa okwesiga.

Ibrahim 14:12

وَمَا لَنَآ أَلَّا نَتَوَكَّلَ عَلَى ٱللَّهِ وَقَدۡ هَدَىٰنَا سُبُلَنَاۚ وَلَنَصۡبِرَنَّ عَلَىٰ مَآ ءَاذَيۡتُمُونَاۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُتَوَكِّلُونَ ﴿١٢﴾

Tuyinza kwesigulaki netuteekwasa Katonda, nga ate yatulungamya mu makubo gaffe, era ddala tujja kugumiikiriza ku ngeri gye mutuyisaamu obubi, Katonda yekka abeesiga gwe bateekwa okwesiga.

Az-Zumar 39:62

ٱللَّهُ خَٰلِقُ كُلِّ شَيۡءٖۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ وَكِيلٞ ﴿٦٢﴾

Katonda, ye mutonzi wa buli kintu era yye, ye mutambuza wa buli kintu.

At-Talaq 65:3

وَيَرۡزُقۡهُ مِنۡ حَيۡثُ لَا يَحۡتَسِبُۚ وَمَن يَتَوَكَّلۡ عَلَى ٱللَّهِ فَهُوَ حَسۡبُهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ بَٰلِغُ أَمۡرِهِۦۚ قَدۡ جَعَلَ ٱللَّهُ لِكُلِّ شَيۡءٖ قَدۡرٗا ﴿٣﴾

Era naamugabirira mu ngeri gyatasuubira, era oyo yenna eyeesiga Katonda, Katonda amumala, anti Katonda ekigambokye kye kyenkomeredde, mazima Katonda yategeka ekigero kya buli kintu.

Al-Muzzammil 73:9

رَّبُّ ٱلۡمَشۡرِقِ وَٱلۡمَغۡرِبِ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ فَٱتَّخِذۡهُ وَكِيلٗا ﴿٩﴾

Mukama Katonda omufuziwo buvanjuba n'obugwanjuba tewali kirala kyonna kisaanye kusinzibwa okugyako yye, kale nno gwoba wesigamako.

Ali 'Imran 3:111

لَن يَضُرُّوكُمۡ إِلَّآ أَذٗىۖ وَإِن يُقَٰتِلُوكُمۡ يُوَلُّوكُمُ ٱلۡأَدۡبَارَ ثُمَّ لَا يُنصَرُونَ ﴿١١١﴾

Tebayinza kubatuusaako buzibu, okugyako ebinyiizo ebitonotono, naye bwebaba balwanaganye nammwe babakuba amabega ne badduka ate era nga tebataasibwa.

Al-Ma'idah 5:42

سَمَّـٰعُونَ لِلۡكَذِبِ أَكَّـٰلُونَ لِلسُّحۡتِۚ فَإِن جَآءُوكَ فَٱحۡكُم بَيۡنَهُمۡ أَوۡ أَعۡرِضۡ عَنۡهُمۡۖ وَإِن تُعۡرِضۡ عَنۡهُمۡ فَلَن يَضُرُّوكَ شَيۡـٔٗاۖ وَإِنۡ حَكَمۡتَ فَٱحۡكُم بَيۡنَهُم بِٱلۡقِسۡطِۚ إِنَّ ٱللَّهَ يُحِبُّ ٱلۡمُقۡسِطِينَ ﴿٤٢﴾

Bawuliriza ebigambo ebyobulimba, balya emmaali gyebafuna mu makubo aga haramu, singa bajja gyoli (Ggwe Muhammad) lamula wakati waabwe oba baveeko, bwoba obavuddeko tebagenda kukutuusaako kabi, naye bwobanga osazeewo okubalamula, lamula wakati waabwe n'obwenkyanya, anti bulijjo Katonda ayagala abakola obwenkanya.

Al-An'am 6:17

وَإِن يَمۡسَسۡكَ ٱللَّهُ بِضُرّٖ فَلَا كَاشِفَ لَهُۥٓ إِلَّا هُوَۖ وَإِن يَمۡسَسۡكَ بِخَيۡرٖ فَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿١٧﴾

Singa Katonda akutusaako akabi tewali ayinza kukakuwonya okugyako yye, singa aba akuwadde e birungi yye Katonda muyinza wa buli kintu.

Yunus 10:107

وَإِن يَمۡسَسۡكَ ٱللَّهُ بِضُرّٖ فَلَا كَاشِفَ لَهُۥٓ إِلَّا هُوَۖ وَإِن يُرِدۡكَ بِخَيۡرٖ فَلَا رَآدَّ لِفَضۡلِهِۦۚ يُصِيبُ بِهِۦ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ ﴿١٠٧﴾

Singa Mukama Katonda akutuusaako ekibi tewali ayinza kukikuggyako okugyako yye, ate singa aba akwagalizza kirungi teri ayinza kuzzaayo birungibye, abifunyisa oyo gwaba ayagadde mu baddube, era yye bulijjo ye musonyiyi, omusaasizi owa nnamaddala.

Al-Anbya 21:83

۞وَأَيُّوبَ إِذۡ نَادَىٰ رَبَّهُۥٓ أَنِّي مَسَّنِيَ ٱلضُّرُّ وَأَنتَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿٨٣﴾

. Era (jjukira) Ayubu bwe yakoowoola Mukama omulabiriziwe nti mazima nze ntuukiddwako obuzibu, era ggwe musasizi asinga abasaasizi bonna.

Al-Anbya 21:84

فَٱسۡتَجَبۡنَا لَهُۥ فَكَشَفۡنَا مَا بِهِۦ مِن ضُرّٖۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ أَهۡلَهُۥ وَمِثۡلَهُم مَّعَهُمۡ رَحۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَا وَذِكۡرَىٰ لِلۡعَٰبِدِينَ ﴿٨٤﴾

. Twamwanukula (okusaba) kwe netumuggyako obuzibu obwali bumutuuseeko netumuwa abantube (abaali bafudde) netumuwa n’abalala awamu nabali, ekyo nga kusaasira okuva gye tuli era nga kya kubuulirira eri abasinza (Katonda).

Emitwe