وَلَمَّا جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ قَالُواْ هَٰذَا سِحۡرٞ وَإِنَّا بِهِۦ كَٰفِرُونَ ﴿٣٠﴾
Naye nno amazima bwe gaamala okubajjira nebagamba nti lino ddogo, era mazima ffe tuliwakanya.
211 Aya · Emitwe · lg
وَلَمَّا جَآءَهُمُ ٱلۡحَقُّ قَالُواْ هَٰذَا سِحۡرٞ وَإِنَّا بِهِۦ كَٰفِرُونَ ﴿٣٠﴾
Naye nno amazima bwe gaamala okubajjira nebagamba nti lino ddogo, era mazima ffe tuliwakanya.
كَذَٰلِكَ مَآ أَتَى ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِم مِّن رَّسُولٍ إِلَّا قَالُواْ سَاحِرٌ أَوۡ مَجۡنُونٌ ﴿٥٢﴾
Bwekityo abo ababakulembera tewali mubaka yabajjira okugyako nga bagamba nti mulogo oba mulalu.
أَفَسِحۡرٌ هَٰذَآ أَمۡ أَنتُمۡ لَا تُبۡصِرُونَ ﴿١٥﴾
Abaffe lino ddogo oba mmwe temulaba.
وَإِن يَرَوۡاْ ءَايَةٗ يُعۡرِضُواْ وَيَقُولُواْ سِحۡرٞ مُّسۡتَمِرّٞ ﴿٢﴾
Bwe balaba ekya magero bakyawukanamu ne bagamba nti lino ddogo eritakoma.
ثُمَّ نَظَرَ ﴿٢١﴾
Oluvanyuma yakirowozaako.
ثُمَّ عَبَسَ وَبَسَرَ ﴿٢٢﴾
Olwo nno ne yeekaba najja emitaafu.
ثُمَّ أَدۡبَرَ وَٱسۡتَكۡبَرَ ﴿٢٣﴾
Ne kyaddirira ebituufu yabivaako neyekuluntaza.
فَقَالَ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ يُؤۡثَرُ ﴿٢٤﴾
Olwo nno n'alangirira nti e bigambo bya Muhammad temuli wabula ddogo erijjibwa ku balogo abasooka.
وَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ فِيمَا عَرَّضۡتُم بِهِۦ مِنۡ خِطۡبَةِ ٱلنِّسَآءِ أَوۡ أَكۡنَنتُمۡ فِيٓ أَنفُسِكُمۡۚ عَلِمَ ٱللَّهُ أَنَّكُمۡ سَتَذۡكُرُونَهُنَّ وَلَٰكِن لَّا تُوَاعِدُوهُنَّ سِرًّا إِلَّآ أَن تَقُولُواْ قَوۡلٗا مَّعۡرُوفٗاۚ وَلَا تَعۡزِمُواْ عُقۡدَةَ ٱلنِّكَاحِ حَتَّىٰ يَبۡلُغَ ٱلۡكِتَٰبُ أَجَلَهُۥۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا فِيٓ أَنفُسِكُمۡ فَٱحۡذَرُوهُۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ غَفُورٌ حَلِيمٞ ﴿٢٣٥﴾
Era temulina musango olw'ekyo kyemuba mukoze nga temwatudde nga mugenderera okwogereza abakyala (abo) oba kyemuba mukwese mu mitima gyammwe. Katonda amanyi nti mujja kwogera nabo (kunsonga y'okubawasa) naye temubalagaanyisanga mukyama mu ngeri yaakukukuta, okugyako nga mubagamba ebigambo ebirungi. Temwetantalanga kukola ndagaano y'abufumbo n'abakyala abo (abali mu Idda) okutuusa ebbanga (lya Idda) nga liweddeko. Era musaana mumanye nti mazima Katonda amanyi ebiri mu myoyo gyammwe. Mumwegendereze awamu n'ekyo mumanye nti muyitirivu waakusonyiwa era waakisa kingi.
وَإِن طَلَّقۡتُمُوهُنَّ مِن قَبۡلِ أَن تَمَسُّوهُنَّ وَقَدۡ فَرَضۡتُمۡ لَهُنَّ فَرِيضَةٗ فَنِصۡفُ مَا فَرَضۡتُمۡ إِلَّآ أَن يَعۡفُونَ أَوۡ يَعۡفُوَاْ ٱلَّذِي بِيَدِهِۦ عُقۡدَةُ ٱلنِّكَاحِۚ وَأَن تَعۡفُوٓاْ أَقۡرَبُ لِلتَّقۡوَىٰۚ وَلَا تَنسَوُاْ ٱلۡفَضۡلَ بَيۡنَكُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٌ ﴿٢٣٧﴾
Wabula bwe muba nga mubatadde nga temunnaba kwegatta nabo naye nga mwabagerekera amahare, mubawe kitundu kyago, okugyako nga abakyala abo bagasonyiye oba nga asonyiye oyo alina obuyinza okukakasa endagaano y'obufumbo (omusajja). Naye bwe muba nga musonyiye, ekyo kye kisinga okuba okumpi n'okutya Katonda. Temwerabiranga enkolagana ennungi ebadde wakati wa mmwe. Mazima Katonda alaba ebyo byonna byemukola.
وَٱحۡلُلۡ عُقۡدَةٗ مِّن لِّسَانِي ﴿٢٧﴾
. Era ojje okwesiba mu lulimi lwange.
قُلۡ أَعُوذُ بِرَبِّ ٱلۡفَلَقِ ﴿١﴾
Gamba nti, nsaba obukuumi ewa Katonda afuga okukya kw’obudde.
مِن شَرِّ مَا خَلَقَ ﴿٢﴾
Mu bubi bw’ebyo bye yatonda.
وَمِن شَرِّ غَاسِقٍ إِذَا وَقَبَ ﴿٣﴾
Ne mu bubi bw’ekiro nga kikutte.
وَمِن شَرِّ ٱلنَّفَّـٰثَٰتِ فِي ٱلۡعُقَدِ ﴿٤﴾
Ne mu bubi bw’abakazi abalogo abasiba ebifundikwa (ne babifuuwamu nga balaamiriza).
وَمِن شَرِّ حَاسِدٍ إِذَا حَسَدَ ﴿٥﴾
Ne mu bubi obuva mu mukozi wensaalwa ng'akoze ensaalwa.
قُلۡ أَعُوذُ بِرَبِّ ٱلنَّاسِ ﴿١﴾
Gamba nti, nsaba obukuumi okuva eri Mukama omulabirizi wa bantu.
مَلِكِ ٱلنَّاسِ ﴿٢﴾
Omufuzi w'abantu
إِلَٰهِ ٱلنَّاسِ ﴿٣﴾
Asinzibwa abantu.
مِن شَرِّ ٱلۡوَسۡوَاسِ ٱلۡخَنَّاسِ ﴿٤﴾
Amponye obubi bw’omulabankanya sitaani omwekwesi
ٱلَّذِي يُوَسۡوِسُ فِي صُدُورِ ٱلنَّاسِ ﴿٥﴾
Oyo alabankanya (e mitima egiri) mu bifuba by'abantu.
مِنَ ٱلۡجِنَّةِ وَٱلنَّاسِ ﴿٦﴾
(Sitaani) ow’omu majiinni ne sitaani ow’omu bantu.
قُلۡ جَآءَ ٱلۡحَقُّ وَمَا يُبۡدِئُ ٱلۡبَٰطِلُ وَمَا يُعِيدُ ﴿٤٩﴾
. Bagambe nti obutuufu buzze era obutali butuufu tebuyinza kutandika nate era ssi bwa kudda.
وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا رُسُلٗا مِّن قَبۡلِكَ مِنۡهُم مَّن قَصَصۡنَا عَلَيۡكَ وَمِنۡهُم مَّن لَّمۡ نَقۡصُصۡ عَلَيۡكَۗ وَمَا كَانَ لِرَسُولٍ أَن يَأۡتِيَ بِـَٔايَةٍ إِلَّا بِإِذۡنِ ٱللَّهِۚ فَإِذَا جَآءَ أَمۡرُ ٱللَّهِ قُضِيَ بِٱلۡحَقِّ وَخَسِرَ هُنَالِكَ ٱلۡمُبۡطِلُونَ ﴿٧٨﴾
Mazima twatuma ababaka oluberyeberye lwo, mu bo mulimu betwakunyumizaako, era mu bo mulimu betutakunyumizaako, era Nabbi yenna yali tayinza kuleeta kya magero okugyako nga Katonda yasazeewo, kale nno ekigambo kya Katonda bwekirijja ensonga zirilamulwa mu mazima, era awo abonoonyi webalifafaganirwa.
أَمۡ يَقُولُونَ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبٗاۖ فَإِن يَشَإِ ٱللَّهُ يَخۡتِمۡ عَلَىٰ قَلۡبِكَۗ وَيَمۡحُ ٱللَّهُ ٱلۡبَٰطِلَ وَيُحِقُّ ٱلۡحَقَّ بِكَلِمَٰتِهِۦٓۚ إِنَّهُۥ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿٢٤﴾
Oba (ekibabuza lwakuba) bagamba nti (Muhmmad) yajweteka ku Katonda ebigambo mu bulimba, Katonda bwaba ayagadde asobola okuzibikira omutima gwo (singa okola nga bwe bagamba), era Katonda naggyawo ebitali bituufu nakakasa amazima olwebigambo bye, mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.
أَشِحَّةً عَلَيۡكُمۡۖ فَإِذَا جَآءَ ٱلۡخَوۡفُ رَأَيۡتَهُمۡ يَنظُرُونَ إِلَيۡكَ تَدُورُ أَعۡيُنُهُمۡ كَٱلَّذِي يُغۡشَىٰ عَلَيۡهِ مِنَ ٱلۡمَوۡتِۖ فَإِذَا ذَهَبَ ٱلۡخَوۡفُ سَلَقُوكُم بِأَلۡسِنَةٍ حِدَادٍ أَشِحَّةً عَلَى ٱلۡخَيۡرِۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَمۡ يُؤۡمِنُواْ فَأَحۡبَطَ ٱللَّهُ أَعۡمَٰلَهُمۡۚ وَكَانَ ذَٰلِكَ عَلَى ٱللَّهِ يَسِيرٗا ﴿١٩﴾
. Bulijjo baba bakodo ku mmwe, tebaagala (kubayamba ku lutalo). Ekiseera ekya kazigizigi bwe kijja obalaba nga bakukanulira amaaso gaabwe nga gakyuka ng’oyo azirise ng'agenda okufa, naye akaseera ka kazigizigi bwe kavaawo bakkakkana ku mmwe ne nnimi enjogi nga balulunkanira e birungi, abo tebakkirizanga, olwo nno Katonda asangula e mirimu gya bwe era ekyo ku Katonda kyangu nnyo.
ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَرِهُواْ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ فَأَحۡبَطَ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿٩﴾
Ekyo lwakuba nti mazima bo bakyawa ebyo Katonda byeyassa, olwo nno nayonoona emirimu gyabwe.
ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمُ ٱتَّبَعُواْ مَآ أَسۡخَطَ ٱللَّهَ وَكَرِهُواْ رِضۡوَٰنَهُۥ فَأَحۡبَطَ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿٢٨﴾
Ekyo (bwekityo bwekiriba) olwokuba nti mazima bo baagoberera ebyo ebinyiiza Katonda nebakyawa okusiima kwe, olwo nno naayonoona emirimu gyabwe.
إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَشَآقُّواْ ٱلرَّسُولَ مِنۢ بَعۡدِ مَا تَبَيَّنَ لَهُمُ ٱلۡهُدَىٰ لَن يَضُرُّواْ ٱللَّهَ شَيۡـٔٗا وَسَيُحۡبِطُ أَعۡمَٰلَهُمۡ ﴿٣٢﴾
Mazima abo abaakafuwala nebaziyiza abantu ku kkubo lya Katonda, nebeesimba mu mubaka oluvanyuma lwo bulungamu okubeeyoleka, (abo) tebalina kabi konna kebayinza kutuusa ku Katonda, era wa kusazaamu emirimu gyabwe.
فَمَكَثَ غَيۡرَ بَعِيدٖ فَقَالَ أَحَطتُ بِمَا لَمۡ تُحِطۡ بِهِۦ وَجِئۡتُكَ مِن سَبَإِۭ بِنَبَإٖ يَقِينٍ ﴿٢٢﴾
. (E fulungu) lyamala ebbanga eritaali ddene (oluvanyuma nerijja ewa Sulaiman) nerigamba nti nategedde ekintu kyotategeeranga era nkuleetedde okuva e Sabaa amawulire amakakafu.
أَلَآ إِنَّهُمۡ فِي مِرۡيَةٖ مِّن لِّقَآءِ رَبِّهِمۡۗ أَلَآ إِنَّهُۥ بِكُلِّ شَيۡءٖ مُّحِيطُۢ ﴿٥٤﴾
Abange mazima bo bali mu kubuusabuusa okusisinkana Mukama omulabirizi waabwe, abange (mukimanye nti) mazima yye yetoolodde (mu kumanya kwe) buli kintu.
وَأُخۡرَىٰ لَمۡ تَقۡدِرُواْ عَلَيۡهَا قَدۡ أَحَاطَ ٱللَّهُ بِهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٗا ﴿٢١﴾
(Waliyo n'eminyago) emirala gye mutannasobola (kufuna) naye nga mazima Katonda agyetoolodde (gyonna agimanyi) era bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu.
لِّيَعۡلَمَ أَن قَدۡ أَبۡلَغُواْ رِسَٰلَٰتِ رَبِّهِمۡ وَأَحَاطَ بِمَا لَدَيۡهِمۡ وَأَحۡصَىٰ كُلَّ شَيۡءٍ عَدَدَۢا ﴿٢٨﴾
Nabbi alyoke amanye nti mazima ba Nabbi baatuukiriza obubaka bwa Katonda waabwe (nga naye bwa butuukiriza) era bamanye nti Katonda amanyi ebyo byonna bye bakola nga era bwamanyi buli kintu kyonna.
وَٱللَّهُ مِن وَرَآئِهِم مُّحِيطُۢ ﴿٢٠﴾
So nga Katonda abeetoolodde.
ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ ٱلۡحَيُّ ٱلۡقَيُّومُۚ لَا تَأۡخُذُهُۥ سِنَةٞ وَلَا نَوۡمٞۚ لَّهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ مَن ذَا ٱلَّذِي يَشۡفَعُ عِندَهُۥٓ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦۚ يَعۡلَمُ مَا بَيۡنَ أَيۡدِيهِمۡ وَمَا خَلۡفَهُمۡۖ وَلَا يُحِيطُونَ بِشَيۡءٖ مِّنۡ عِلۡمِهِۦٓ إِلَّا بِمَا شَآءَۚ وَسِعَ كُرۡسِيُّهُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَۖ وَلَا يَـُٔودُهُۥ حِفۡظُهُمَاۚ وَهُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡعَظِيمُ ﴿٢٥٥﴾
Katonda yekka, ateekwa okusinzibwa, yooyo omulamu obulamu obwolubeerera nga yeyimirizaawo yekka awatali kwetaaga buyambi bwonna, takwatibwa kusumagira wadde otulo, nannyini wa byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi, tewali agenda kwetantala kuwolereza (munne) ewa Katonda okugyako nga amukkirizza, Katonda amanyi ebyo ebiri mumaaso gaabwe n'emabega wabwe ate bo tebasobola kumanya mubujjuvu kintu kyonna mwebyo byamanyi okugyako kyaba ayagadde, entebe ye ngazi okumalayo eggulu ne nsi, so nga ate eggulu ne nsi okubikuuma byombi tekimukaluubirira. Era ye yaasinga okuba owa waggulu, ow'ekitiibwa e kisuffu.
وَهُوَ ٱلۡقَاهِرُ فَوۡقَ عِبَادِهِۦۖ وَيُرۡسِلُ عَلَيۡكُمۡ حَفَظَةً حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَ أَحَدَكُمُ ٱلۡمَوۡتُ تَوَفَّتۡهُ رُسُلُنَا وَهُمۡ لَا يُفَرِّطُونَ ﴿٦١﴾
Era yye yaalina obuyinza obwenkomeredde ku baddube, era abassaako (ba Malayika) abakuumi, okutuusa omu ku mmwe bwaba atuuse okufa, ababaka baffe bamuggyamu obulamu, era bulijjo tebasubwa.
فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَقَدۡ أَبۡلَغۡتُكُم مَّآ أُرۡسِلۡتُ بِهِۦٓ إِلَيۡكُمۡۚ وَيَسۡتَخۡلِفُ رَبِّي قَوۡمًا غَيۡرَكُمۡ وَلَا تَضُرُّونَهُۥ شَيۡـًٔاۚ إِنَّ رَبِّي عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ حَفِيظٞ ﴿٥٧﴾
Bwe munaava ku ekyo mazima nze mmaze okubatuusaako ekyo kye nnatumwa nakyo era Mukama omulabirizi wange mu kifo kya mmwe ajja kussaawo abantu abalala abatali mmwe, era temulina kabi kemugenda kumutuusaako. Mazima Mukama omulabirizi wange buli kyonna ekikolebwa akilondoola (tewali kimubuuka).
قَالَ هَلۡ ءَامَنُكُمۡ عَلَيۡهِ إِلَّا كَمَآ أَمِنتُكُمۡ عَلَىٰٓ أَخِيهِ مِن قَبۡلُ فَٱللَّهُ خَيۡرٌ حَٰفِظٗاۖ وَهُوَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿٦٤﴾
Yakub naagamba nti abaffe munsuubira okubeesiga ku ye, okugyako nga bwennabeesiga ku mugandawe oluberyeberye (nemutatuukiriza), Katonda ye mukuumi asinga era yye, ye musaasizi asinga abasaasizi bonna.
لَهُۥ مُعَقِّبَٰتٞ مِّنۢ بَيۡنِ يَدَيۡهِ وَمِنۡ خَلۡفِهِۦ يَحۡفَظُونَهُۥ مِنۡ أَمۡرِ ٱللَّهِۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُغَيِّرُ مَا بِقَوۡمٍ حَتَّىٰ يُغَيِّرُواْ مَا بِأَنفُسِهِمۡۗ وَإِذَآ أَرَادَ ٱللَّهُ بِقَوۡمٖ سُوٓءٗا فَلَا مَرَدَّ لَهُۥۚ وَمَا لَهُم مِّن دُونِهِۦ مِن وَالٍ ﴿١١﴾
(Buli muntu) aliko (ba Malayika) abakolera mu mpalo, buli kiseera babeera mu maasoge n'emabegawe nga bamukuuma nga ekyo kiragiro kya Katonda, mazima Katonda takyusa mbeera nnungi eri ku bantu okugyako nga bo bennyini be bakyusizza, Katonda bwaba ayagaliza obubi okutuuka ku bantu tewali ayinza kubuzzaayo, era tebayinza kufuna ng'oggyeko Katonda mukuumi mulala yenna.
وَحَفِظۡنَٰهَا مِن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ رَّجِيمٍ ﴿١٧﴾
Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda.
وَمَا كَانَ لَهُۥ عَلَيۡهِم مِّن سُلۡطَٰنٍ إِلَّا لِنَعۡلَمَ مَن يُؤۡمِنُ بِٱلۡأٓخِرَةِ مِمَّنۡ هُوَ مِنۡهَا فِي شَكّٖۗ وَرَبُّكَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٍ حَفِيظٞ ﴿٢١﴾
. Tabangako na buyinza ku bo wabula (ekimufunyisa abagoberezi) lwakuba twagala tumanye oyo akkiriza olunaku lw’enkomerero nga tumwawula ku oyo alulinamu okubuusabuusa, bulijjo Mukama omulabirizi wo mulondoozi wa buli kintu.
وَحِفۡظٗا مِّن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ مَّارِدٖ ﴿٧﴾
N'okulikuuma ku buli Sitane kyewaggula.
وَٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَ ٱللَّهُ حَفِيظٌ عَلَيۡهِمۡ وَمَآ أَنتَ عَلَيۡهِم بِوَكِيلٖ ﴿٦﴾
Naye abo abeteerawo ebisinzibwa ebirala nebamuvaako, Katonda mulondoozi ku bo, era ggwe toli mukuumi ku bo.
وَإِنَّ عَلَيۡكُمۡ لَحَٰفِظِينَ ﴿١٠﴾
Mazima muliko abakuumi (Ba Malayika).
إِن كُلُّ نَفۡسٖ لَّمَّا عَلَيۡهَا حَافِظٞ ﴿٤﴾
Buli muntu yenna aliko abakuumi (Ba Malayika).
وَمَا تَكُونُ فِي شَأۡنٖ وَمَا تَتۡلُواْ مِنۡهُ مِن قُرۡءَانٖ وَلَا تَعۡمَلُونَ مِنۡ عَمَلٍ إِلَّا كُنَّا عَلَيۡكُمۡ شُهُودًا إِذۡ تُفِيضُونَ فِيهِۚ وَمَا يَعۡزُبُ عَن رَّبِّكَ مِن مِّثۡقَالِ ذَرَّةٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلَا فِي ٱلسَّمَآءِ وَلَآ أَصۡغَرَ مِن ذَٰلِكَ وَلَآ أَكۡبَرَ إِلَّا فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٍ ﴿٦١﴾
Tolina mbeera yonna gyobeerako era tewali kintu kyonna kyosoma mu Kur’ani era tewali mulimu gwonna gwe mukola, wabula tubeera bajulizi ku mmwe nga tubalaba mu kiseera wemugutandikira, tewali wadde akantu akatono ennyo ku nsi wadde mu ggulu kasobola kubula ku Mukama omulabiriziwo, wadde akatono okusingako awo oba ekinene tewali kintu kyonna okugyako nga kyawandiikibwa mu kitabo ekinnyonnyofu.
قَالَ يَٰنُوحُ إِنَّهُۥ لَيۡسَ مِنۡ أَهۡلِكَۖ إِنَّهُۥ عَمَلٌ غَيۡرُ صَٰلِحٖۖ فَلَا تَسۡـَٔلۡنِ مَا لَيۡسَ لَكَ بِهِۦ عِلۡمٌۖ إِنِّيٓ أَعِظُكَ أَن تَكُونَ مِنَ ٱلۡجَٰهِلِينَ ﴿٤٦﴾
(Katonda) naagamba nti owange Nuhu mazima yye si wa mu bantubo mazima yye yakola ekikolwa ekitali kirungi, n'olwekyo tonsaba ekyo kyotalinaako kumanya, mazima nze nkubuulirira oleme kubeera mu batategeera.
ٱلَّذِينَ تَتَوَفَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ ظَالِمِيٓ أَنفُسِهِمۡۖ فَأَلۡقَوُاْ ٱلسَّلَمَ مَا كُنَّا نَعۡمَلُ مِن سُوٓءِۭۚ بَلَىٰٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٢٨﴾
Abo ba Malayika bebatuusa ku ntuuko zaabwe nga bakyeyisa bubi olwo nno nebalangirira okukkiriza Katonda (nga bwe bagamba nti) tetukolanga kibi kyonna. Nedda mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye mwakolanga.
فَأَصَابَهُمۡ سَيِّـَٔاتُ مَا عَمِلُواْ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿٣٤﴾
Obubi bw'ebyo bye baakola nebubatuukako era bye baali bajeeja nebibeetoloola.
وَلُوطًا ءَاتَيۡنَٰهُ حُكۡمٗا وَعِلۡمٗا وَنَجَّيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلَّتِي كَانَت تَّعۡمَلُ ٱلۡخَبَـٰٓئِثَۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمَ سَوۡءٖ فَٰسِقِينَ ﴿٧٤﴾
. Ne Luutu twamuwa okusengejja ensonga n'okumanya era twamuwonya netumuggya mu kitundu ekyali kikola ebyonoono mazima bo baali bantu ba kibi aboonoonyi.