quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 2)

183 Aya · Emitwe · lg

Al-Ma'idah 5:69

إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَٱلَّذِينَ هَادُواْ وَٱلصَّـٰبِـُٔونَ وَٱلنَّصَٰرَىٰ مَنۡ ءَامَنَ بِٱللَّهِ وَٱلۡيَوۡمِ ٱلۡأٓخِرِ وَعَمِلَ صَٰلِحٗا فَلَا خَوۡفٌ عَلَيۡهِمۡ وَلَا هُمۡ يَحۡزَنُونَ ﴿٦٩﴾

Mazima abo abakkiriza, na Bayudaaya ne ba Swabi-uuna (be bantu abataasinza bintu bitali Katonda omu so nga ate tebaalina ddini ya mu ggulu yonna gyebaaliko) n'abakrisitayo, oyo yenna eyakkiriza Katonda n'olunaku lw’enkomerero naakola e mirimu e mirungi (abo) tebalina kutya era tebagenda kunakuwala.

Al-Ma'idah 5:70

لَقَدۡ أَخَذۡنَا مِيثَٰقَ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ وَأَرۡسَلۡنَآ إِلَيۡهِمۡ رُسُلٗاۖ كُلَّمَا جَآءَهُمۡ رَسُولُۢ بِمَا لَا تَهۡوَىٰٓ أَنفُسُهُمۡ فَرِيقٗا كَذَّبُواْ وَفَرِيقٗا يَقۡتُلُونَ ﴿٧٠﴾

Twakozesa abaana ba Israil endagaano era netubatumira ababaka wabula buli lweyabajjiranga omubaka n’ebyo emyoyo gyaabwe byegitayagala nga ekitundu bakirimbisa nga ate abalala babatta.

Al-Ma'idah 5:71

وَحَسِبُوٓاْ أَلَّا تَكُونَ فِتۡنَةٞ فَعَمُواْ وَصَمُّواْ ثُمَّ تَابَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمۡ ثُمَّ عَمُواْ وَصَمُّواْ كَثِيرٞ مِّنۡهُمۡۚ وَٱللَّهُ بَصِيرُۢ بِمَا يَعۡمَلُونَ ﴿٧١﴾

Baalowooza nti ekyo tekijja kuvaako mutawaana, naye nebafuuka ba muzibe era bakiggala, oluvanyuma Katonda yakkiriza okwenenya kwaabwe, ate bangi mu bo baddamu nebafuuka ba muzibe era bakiggala, Katonda bulijjo alaba byebakola.

Al-Ma'idah 5:72

لَقَدۡ كَفَرَ ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡمَسِيحُ ٱبۡنُ مَرۡيَمَۖ وَقَالَ ٱلۡمَسِيحُ يَٰبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱعۡبُدُواْ ٱللَّهَ رَبِّي وَرَبَّكُمۡۖ إِنَّهُۥ مَن يُشۡرِكۡ بِٱللَّهِ فَقَدۡ حَرَّمَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِ ٱلۡجَنَّةَ وَمَأۡوَىٰهُ ٱلنَّارُۖ وَمَا لِلظَّـٰلِمِينَ مِنۡ أَنصَارٖ ﴿٧٢﴾

Mazima baakaafuwala abo abagamba nti ddala Katonda ye Masiya mutabani wa mariam, nga ate Masiya yagamba nti abange abaana ba Israil musinze Katonda Mukama wange era nga ye Mukama wa mmwe, mazima ddala oyo agatta ku Katonda ekintu ekirala Katonda yamuziyizaako okuyingira e jjana, nga n’obuddobwe muliro. Era abeeyisa obubi tebagenda kuba namutaasa yenna.

Al-Ma'idah 5:77

قُلۡ يَـٰٓأَهۡلَ ٱلۡكِتَٰبِ لَا تَغۡلُواْ فِي دِينِكُمۡ غَيۡرَ ٱلۡحَقِّ وَلَا تَتَّبِعُوٓاْ أَهۡوَآءَ قَوۡمٖ قَدۡ ضَلُّواْ مِن قَبۡلُ وَأَضَلُّواْ كَثِيرٗا وَضَلُّواْ عَن سَوَآءِ ٱلسَّبِيلِ ﴿٧٧﴾

Gamba (Ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abaaweebwa ekitabo temusukkanga ekigero ekyetaagisa nga mukola eddiini yammwe ebyobutaliimu, era temugobereranga okwagala kw’abantu, mazima bo basooka nebabula era nebabuza n’abantu bangi, era nebabulira ddala okuva ku kkubo eggolokofu.

Al-Ma'idah 5:78

لُعِنَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۢ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ عَلَىٰ لِسَانِ دَاوُۥدَ وَعِيسَى ٱبۡنِ مَرۡيَمَۚ ذَٰلِكَ بِمَا عَصَواْ وَّكَانُواْ يَعۡتَدُونَ ﴿٧٨﴾

Baakolimirwa abo Abaakaafuwala mu baana ba Israil ku lulimi lwa Dauda ne Issa Mutabani wa Mariam, ekyo nno kulwakujeema kwaabw,e era nga bulijjo baasukkanga (Amateeka g’a Katonda).

Al-Ma'idah 5:82

۞لَتَجِدَنَّ أَشَدَّ ٱلنَّاسِ عَدَٰوَةٗ لِّلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱلۡيَهُودَ وَٱلَّذِينَ أَشۡرَكُواْۖ وَلَتَجِدَنَّ أَقۡرَبَهُم مَّوَدَّةٗ لِّلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱلَّذِينَ قَالُوٓاْ إِنَّا نَصَٰرَىٰۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّ مِنۡهُمۡ قِسِّيسِينَ وَرُهۡبَانٗا وَأَنَّهُمۡ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ ﴿٨٢﴾

Ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'obulabe eri abo abakkiriza be bayudaaya naabo abagatta ku Katonda ebintu ebirala era ojja kukirabira ddala nti abasinga okuba ab'omukwano ogw'okumpi eri abo abakkiriza beebo abagamba nti mazima ffe tuli ba Kristayo, ekyo nno lwakuba nti mazima ddala mu bo mulimu abayivu mu bye ddiini, na Basosorodoti era nalwakuba nti bo tebeekuluntaza.

Al-Ma'idah 5:110

إِذۡ قَالَ ٱللَّهُ يَٰعِيسَى ٱبۡنَ مَرۡيَمَ ٱذۡكُرۡ نِعۡمَتِي عَلَيۡكَ وَعَلَىٰ وَٰلِدَتِكَ إِذۡ أَيَّدتُّكَ بِرُوحِ ٱلۡقُدُسِ تُكَلِّمُ ٱلنَّاسَ فِي ٱلۡمَهۡدِ وَكَهۡلٗاۖ وَإِذۡ عَلَّمۡتُكَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَٱلتَّوۡرَىٰةَ وَٱلۡإِنجِيلَۖ وَإِذۡ تَخۡلُقُ مِنَ ٱلطِّينِ كَهَيۡـَٔةِ ٱلطَّيۡرِ بِإِذۡنِي فَتَنفُخُ فِيهَا فَتَكُونُ طَيۡرَۢا بِإِذۡنِيۖ وَتُبۡرِئُ ٱلۡأَكۡمَهَ وَٱلۡأَبۡرَصَ بِإِذۡنِيۖ وَإِذۡ تُخۡرِجُ ٱلۡمَوۡتَىٰ بِإِذۡنِيۖ وَإِذۡ كَفَفۡتُ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ عَنكَ إِذۡ جِئۡتَهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡهُمۡ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٞ ﴿١١٠﴾

Era mufumiitirize Katonda bwaligamba nti owange Isa mutabani wa Mariam, jjukira e byengera byange bye nnakuwa ne bye nnawa Maamawo, bwe nnakuwagira ne mwoyo mutukuvu n'oyogera n’abantu ng’okyali mu kibaya, ne bwe wasajjakula, era jjukira bwennakuyigiriza okuwandiika n’okukozesa amagezi ne Taurat ne Injili, era jjukira bwe wasobola okubumba mu ttaka e kibumbe kye kinyonyi ku lw’okukkiriza kwange, n’okifuuwamu ne kiba e kinyonyi ku lw'okukkiriza kwange, era n’osobola okuwonya ba Muzibe n’abolukeke, byonna lwa kukkiriza kwa nge, era jjukira bwe wasabiranga abafu ne bazuukira olw'okukkiriza kwange, era jjukira bwe nnakuwonya abaana ba Israil bwe wabajjira n’obunnyonnyofu, abaakaafuwala mu bo ne bagamba nti bino byaleese si kirala okugyako ddogo e ryeyolefu.

Al-An'am 6:84

وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَۚ كُلًّا هَدَيۡنَاۚ وَنُوحًا هَدَيۡنَا مِن قَبۡلُۖ وَمِن ذُرِّيَّتِهِۦ دَاوُۥدَ وَسُلَيۡمَٰنَ وَأَيُّوبَ وَيُوسُفَ وَمُوسَىٰ وَهَٰرُونَۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿٨٤﴾

Era twamugabira (Ibrahim) Ishak ne Yakub, bombi twabalungamya nga n’okusooka twalungamya Nuhu, ne mu zadderye twalungamya Dauda ne Sulaiman ne Ayub ne Yusuf ne Musa ne Haruna, na bwekityo nno bwe tusasula abalongoofu.

Al-An'am 6:91

وَمَا قَدَرُواْ ٱللَّهَ حَقَّ قَدۡرِهِۦٓ إِذۡ قَالُواْ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ عَلَىٰ بَشَرٖ مِّن شَيۡءٖۗ قُلۡ مَنۡ أَنزَلَ ٱلۡكِتَٰبَ ٱلَّذِي جَآءَ بِهِۦ مُوسَىٰ نُورٗا وَهُدٗى لِّلنَّاسِۖ تَجۡعَلُونَهُۥ قَرَاطِيسَ تُبۡدُونَهَا وَتُخۡفُونَ كَثِيرٗاۖ وَعُلِّمۡتُم مَّا لَمۡ تَعۡلَمُوٓاْ أَنتُمۡ وَلَآ ءَابَآؤُكُمۡۖ قُلِ ٱللَّهُۖ ثُمَّ ذَرۡهُمۡ فِي خَوۡضِهِمۡ يَلۡعَبُونَ ﴿٩١﴾

(Wabula Abayudaaya) tebaawa Katonda kitiibwa kimusaanira, bwe baagamba nti Katonda tassanga ku muntu yenna kintu kyonna.Gamba (gwe Nnabbi Muhammad) nti ani yassa e kitabo e kyo Musa kye yajja nakyo nga kitangaala era e kyokulungama eri abantu, (mmwe) kye mwafuula e mpapula zemulaga abantu, ate ne mukweka bingi so nga ate mwamanyisibwa bye mwali temumanyi, mmwe ne bakadde ba mmwe, bagambe nti Katonda ye yassa e kitabo e kyo, olwo nno obaleke mu bubuze bwabwe nga bazannya.

Al-An'am 6:146

وَعَلَى ٱلَّذِينَ هَادُواْ حَرَّمۡنَا كُلَّ ذِي ظُفُرٖۖ وَمِنَ ٱلۡبَقَرِ وَٱلۡغَنَمِ حَرَّمۡنَا عَلَيۡهِمۡ شُحُومَهُمَآ إِلَّا مَا حَمَلَتۡ ظُهُورُهُمَآ أَوِ ٱلۡحَوَايَآ أَوۡ مَا ٱخۡتَلَطَ بِعَظۡمٖۚ ذَٰلِكَ جَزَيۡنَٰهُم بِبَغۡيِهِمۡۖ وَإِنَّا لَصَٰدِقُونَ ﴿١٤٦﴾

Era twaziza ku bayudaaya buli kisolo ekirina e njala, ate nga ente n'embuzi, twaziza ku bo amasavu gaazo okugyako ag'oku mugongo oba e byenda oba agali mu nnyama e y'okuggumba ekyo twababonereza nakyo lwabubuze bwabwe, mazima ffe buli lwe twogera kiba kyekyo.

Al-An'am 6:154

ثُمَّ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ تَمَامًا عَلَى ٱلَّذِيٓ أَحۡسَنَ وَتَفۡصِيلٗا لِّكُلِّ شَيۡءٖ وَهُدٗى وَرَحۡمَةٗ لَّعَلَّهُم بِلِقَآءِ رَبِّهِمۡ يُؤۡمِنُونَ ﴿١٥٤﴾

Era (mukimanye) nti twawa Musa e kitabo nga kujjuuliriza eri oyo akola obulungi era nga kittottola buli kintu, era nga bulungamu na kusaasira, kibasobozese okukkiriza nti bagenda kusisinkana Mukama omulabirizi waabwe.

Al-A'raf 7:137

وَأَوۡرَثۡنَا ٱلۡقَوۡمَ ٱلَّذِينَ كَانُواْ يُسۡتَضۡعَفُونَ مَشَٰرِقَ ٱلۡأَرۡضِ وَمَغَٰرِبَهَا ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَاۖ وَتَمَّتۡ كَلِمَتُ رَبِّكَ ٱلۡحُسۡنَىٰ عَلَىٰ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ بِمَا صَبَرُواْۖ وَدَمَّرۡنَا مَا كَانَ يَصۡنَعُ فِرۡعَوۡنُ وَقَوۡمُهُۥ وَمَا كَانُواْ يَعۡرِشُونَ ﴿١٣٧﴾

Era abantu abo abaali batwalibwa okuba nti ba wansi netubasikiza obuvanjuba n’obugwanjuba bwensi, eyo gye twassaamu e mikisa, nekituukirira e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, e kirungi ku baana ba Israil ku lw'ebyo bye baagumiikiriza, netusaanyaawo byonna Firawo n’abantube bye baali bakola ne bye baali bazimba.

Al-A'raf 7:138

وَجَٰوَزۡنَا بِبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱلۡبَحۡرَ فَأَتَوۡاْ عَلَىٰ قَوۡمٖ يَعۡكُفُونَ عَلَىٰٓ أَصۡنَامٖ لَّهُمۡۚ قَالُواْ يَٰمُوسَى ٱجۡعَل لَّنَآ إِلَٰهٗا كَمَا لَهُمۡ ءَالِهَةٞۚ قَالَ إِنَّكُمۡ قَوۡمٞ تَجۡهَلُونَ ﴿١٣٨﴾

Netusomosa abaana ba Israil e nnyanja, nebayita ku bantu abaali beefunyiridde ku kusinza amasanamu gaabwe, nebagamba nti owange (Musa) tuteerewo e kisinzibwa nga nabo bwe balina e bisinzibwa, (Musa) naagamba nti mazima ddala mmwe, muli bantu abatategeera.

Al-A'raf 7:139

إِنَّ هَـٰٓؤُلَآءِ مُتَبَّرٞ مَّا هُمۡ فِيهِ وَبَٰطِلٞ مَّا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿١٣٩﴾

Mazima abo bye balimu bya kuzikirizibwa, era ebyo bye bakola bifu.

Al-A'raf 7:140

قَالَ أَغَيۡرَ ٱللَّهِ أَبۡغِيكُمۡ إِلَٰهٗا وَهُوَ فَضَّلَكُمۡ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿١٤٠﴾

Naagamba nti, ekitali Katonda omu omutuufu kyemba mbateerawo musinze! ate nga yye yabasukkulumya ku bitonde byonna!

Al-A'raf 7:141

وَإِذۡ أَنجَيۡنَٰكُم مِّنۡ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ يَسُومُونَكُمۡ سُوٓءَ ٱلۡعَذَابِ يُقَتِّلُونَ أَبۡنَآءَكُمۡ وَيَسۡتَحۡيُونَ نِسَآءَكُمۡۚ وَفِي ذَٰلِكُم بَلَآءٞ مِّن رَّبِّكُمۡ عَظِيمٞ ﴿١٤١﴾

(Ebyogeddwa byonna mu aya ezikulembedde okubaawo kyagoberera e kyafaayo e kiddirira e kigamba nti), mujjukire bwe twabataasa ku bantu ba Firawo bwe baali babakombesa ku bukaawu bwe bibonyobonyo, nga batemula abaana ba mmwe abalenzi nebalekawo bawala ba mmwe, mu ekyo mwalimu okugezesa kunene nnyo okuva eri Mukama omulabirizi wa mmwe.

Al-A'raf 7:142

۞وَوَٰعَدۡنَا مُوسَىٰ ثَلَٰثِينَ لَيۡلَةٗ وَأَتۡمَمۡنَٰهَا بِعَشۡرٖ فَتَمَّ مِيقَٰتُ رَبِّهِۦٓ أَرۡبَعِينَ لَيۡلَةٗۚ وَقَالَ مُوسَىٰ لِأَخِيهِ هَٰرُونَ ٱخۡلُفۡنِي فِي قَوۡمِي وَأَصۡلِحۡ وَلَا تَتَّبِعۡ سَبِيلَ ٱلۡمُفۡسِدِينَ ﴿١٤٢﴾

Twalagira Musa amale e biro makumi asatu nga yeetegekera okusisinkana Mukama omulabiriziwe, ate netubijjuza n’ekkumi, olwo nno Mukama omulabiriziwe kye yamugerera nekituukirira, nga z’ennaku amakumi ana, awo Musa naagamba mugandawe, Haruna nti, nsigalira mu bantu bange, era kola bulungi, togoberera n’omulundi n’ogumu e kkubo ly’aboonoonyi.

Al-A'raf 7:143

وَلَمَّا جَآءَ مُوسَىٰ لِمِيقَٰتِنَا وَكَلَّمَهُۥ رَبُّهُۥ قَالَ رَبِّ أَرِنِيٓ أَنظُرۡ إِلَيۡكَۚ قَالَ لَن تَرَىٰنِي وَلَٰكِنِ ٱنظُرۡ إِلَى ٱلۡجَبَلِ فَإِنِ ٱسۡتَقَرَّ مَكَانَهُۥ فَسَوۡفَ تَرَىٰنِيۚ فَلَمَّا تَجَلَّىٰ رَبُّهُۥ لِلۡجَبَلِ جَعَلَهُۥ دَكّٗا وَخَرَّ مُوسَىٰ صَعِقٗاۚ فَلَمَّآ أَفَاقَ قَالَ سُبۡحَٰنَكَ تُبۡتُ إِلَيۡكَ وَأَنَا۠ أَوَّلُ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١٤٣﴾

Musa bwe yajja mu kifo kye twamulagira, Mukama omulabiriziwe n’ayogera naye, (Musa) yagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, nzikiriza nkutunuleko, n’amugamba nti tosobola kundaba, naye tunula ku lusozi olwo, bwe lunaasobola okusigala mu kifo kyalwo, olwo nno ojja kundaba, wabula Mukama omulabiriziwe bwe yeeyoleka eri olusozi, yalufuula e nsaano, era Musa n’agwa ku ttaka nga azirise, bwe yadda e ngulu yagamba nti, oli musukkulumu, nkwenenyerezza, era nkwata kisooka mu bakkiriza.

Al-A'raf 7:144

قَالَ يَٰمُوسَىٰٓ إِنِّي ٱصۡطَفَيۡتُكَ عَلَى ٱلنَّاسِ بِرِسَٰلَٰتِي وَبِكَلَٰمِي فَخُذۡ مَآ ءَاتَيۡتُكَ وَكُن مِّنَ ٱلشَّـٰكِرِينَ ﴿١٤٤﴾

(Katonda) naagamba nti, owange Musa mazima nze nkuwadde e nkizo ku bantu, olw’obubaka bwange, n’okwogera kwange naawe, kale twala bye nkuwadde, era obeere mu beebaza.

Al-A'raf 7:145

وَكَتَبۡنَا لَهُۥ فِي ٱلۡأَلۡوَاحِ مِن كُلِّ شَيۡءٖ مَّوۡعِظَةٗ وَتَفۡصِيلٗا لِّكُلِّ شَيۡءٖ فَخُذۡهَا بِقُوَّةٖ وَأۡمُرۡ قَوۡمَكَ يَأۡخُذُواْ بِأَحۡسَنِهَاۚ سَأُوْرِيكُمۡ دَارَ ٱلۡفَٰسِقِينَ ﴿١٤٥﴾

Era twamuwandiikira ku mbaawo buli kintu, kibe ekyokubuulirira, era nga kunnyonnyola mu bujjuvu, ku buli kintu, kale nno bikuume butiribiri, era olagire abantubo babikwate mu ngeri esinga okuba e nnungi, oluvanyuma ngenda ku balaga e kifo ky’aboonoonyi.

Al-A'raf 7:146

سَأَصۡرِفُ عَنۡ ءَايَٰتِيَ ٱلَّذِينَ يَتَكَبَّرُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَإِن يَرَوۡاْ كُلَّ ءَايَةٖ لَّا يُؤۡمِنُواْ بِهَا وَإِن يَرَوۡاْ سَبِيلَ ٱلرُّشۡدِ لَا يَتَّخِذُوهُ سَبِيلٗا وَإِن يَرَوۡاْ سَبِيلَ ٱلۡغَيِّ يَتَّخِذُوهُ سَبِيلٗاۚ ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَكَانُواْ عَنۡهَا غَٰفِلِينَ ﴿١٤٦﴾

Abo abeekuza mu nsi awatali nsonga ntuufu, ngenda kubeesambya e bigambo byange, buli lwe banaalabanga, akabonero konna, tebajja ku kakkirizanga, era bwe banaalabanga e kkubo ly’o bu lungamu, tebagendanga kulifuula kkubo gye bali (kulikwata), naye bwe banaalabanga e kkubo ly’obwonoonefu lye banaatwalanga okuba e kkubo, ekyonno lwa kuba nti mazima ddala bo, baalimbisa e bigambo byaffe, nebaba nga ku byo, beesuulirayo gwa naggamba.

Al-A'raf 7:147

وَٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَلِقَآءِ ٱلۡأٓخِرَةِ حَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡۚ هَلۡ يُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿١٤٧﴾

Naabo abaalimbisa e bigambo byaffe, n’okusisinkana olunaku lw’enkomerero, e mirimu gyabwe gyonna gyafaafaagana, (ate olwo) abaffe balisasulwa okugyako ebyo bye baakolanga!

Al-A'raf 7:148

وَٱتَّخَذَ قَوۡمُ مُوسَىٰ مِنۢ بَعۡدِهِۦ مِنۡ حُلِيِّهِمۡ عِجۡلٗا جَسَدٗا لَّهُۥ خُوَارٌۚ أَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّهُۥ لَا يُكَلِّمُهُمۡ وَلَا يَهۡدِيهِمۡ سَبِيلًاۘ ٱتَّخَذُوهُ وَكَانُواْ ظَٰلِمِينَ ﴿١٤٨﴾

Musa bwe yagenda, abantube, baabumba e nnyana okuva mu by'okwewunda byabwe, nga erabikira ddala nga erina omubiri, n’okungonga engonga, abaffe tebaakiraba nti mazima ddala yyo tesobola kw’ogera nabo! era nga tesobola kubalungamya ku kkubo, b’agyeteerawo, era olwekikolwa ekyo nebabeera ab’omu bantu abeeyisa obubi.

Al-A'raf 7:149

وَلَمَّا سُقِطَ فِيٓ أَيۡدِيهِمۡ وَرَأَوۡاْ أَنَّهُمۡ قَدۡ ضَلُّواْ قَالُواْ لَئِن لَّمۡ يَرۡحَمۡنَا رَبُّنَا وَيَغۡفِرۡ لَنَا لَنَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡخَٰسِرِينَ ﴿١٤٩﴾

Bwe beefumiitiriza, nebalaba nti ddala mazima baabula olw’ekikolwa kyabwe ekyo, (beenenya) nebagamba nti, singa Mukama omulabirizi waffe tatusaasira, naatusonyiwa, tujja kubeerera ddala mu bafaafaaganiddwa.

Al-A'raf 7:150

وَلَمَّا رَجَعَ مُوسَىٰٓ إِلَىٰ قَوۡمِهِۦ غَضۡبَٰنَ أَسِفٗا قَالَ بِئۡسَمَا خَلَفۡتُمُونِي مِنۢ بَعۡدِيٓۖ أَعَجِلۡتُمۡ أَمۡرَ رَبِّكُمۡۖ وَأَلۡقَى ٱلۡأَلۡوَاحَ وَأَخَذَ بِرَأۡسِ أَخِيهِ يَجُرُّهُۥٓ إِلَيۡهِۚ قَالَ ٱبۡنَ أُمَّ إِنَّ ٱلۡقَوۡمَ ٱسۡتَضۡعَفُونِي وَكَادُواْ يَقۡتُلُونَنِي فَلَا تُشۡمِتۡ بِيَ ٱلۡأَعۡدَآءَ وَلَا تَجۡعَلۡنِي مَعَ ٱلۡقَوۡمِ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿١٥٠﴾

Musa bwe yamala okudda eri abantube, nga musunguwavu, era nga asaaliddwa, yagamba nti, kibi nnyo kye mwakoze nga siriiwo, mwayaanguyirizza e kigambo ky’a Mukama omulabirizi wa mmwe! olwo nno kwe kukasuka e mbaawo, n’akwata omutwe gw’a mugandawe, nga amusika amuzza gyali, (Haruna) naagamba nti mwana wa nnyabo, mazima abantu bansinzizza amaanyi, era kumpi banzite, tontusaako kino olw'okusanyusa abalabe, era tonzisa mu bantu abeeyisa obubi.

Al-A'raf 7:151

قَالَ رَبِّ ٱغۡفِرۡ لِي وَلِأَخِي وَأَدۡخِلۡنَا فِي رَحۡمَتِكَۖ وَأَنتَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿١٥١﴾

Musa naagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, nsonyiwa ne muganda wange, era otuyingize mu kusaasirakwo, anti bulijjo ggwe musaasizi asinga abasaasizi bonna.

Al-A'raf 7:152

إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ ٱلۡعِجۡلَ سَيَنَالُهُمۡ غَضَبٞ مِّن رَّبِّهِمۡ وَذِلَّةٞ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُفۡتَرِينَ ﴿١٥٢﴾

Mazima abo abeeteerawo e nnyana (bagisinze), bajja kutuukwako obusungu n’okukkakkannyizibwa ebiva ewa Mukama omulabirizi waabwe, mu bulamu obwe nsi, era bwe tutyo bwe tusasula abo abatemerera e bigambo.

Al-A'raf 7:153

وَٱلَّذِينَ عَمِلُواْ ٱلسَّيِّـَٔاتِ ثُمَّ تَابُواْ مِنۢ بَعۡدِهَا وَءَامَنُوٓاْ إِنَّ رَبَّكَ مِنۢ بَعۡدِهَا لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿١٥٣﴾

Naabo abakola ebibi, ate nebeenenya oluvanyuma lwabyo, era nebakkiriza, mazima ddala Mukama omulabiriziwo, oluvanyuma lwabyo, musonyiyi, musaasizi.

Al-A'raf 7:154

وَلَمَّا سَكَتَ عَن مُّوسَى ٱلۡغَضَبُ أَخَذَ ٱلۡأَلۡوَاحَۖ وَفِي نُسۡخَتِهَا هُدٗى وَرَحۡمَةٞ لِّلَّذِينَ هُمۡ لِرَبِّهِمۡ يَرۡهَبُونَ ﴿١٥٤﴾

Obusungu bwe bwaggwa ku Musa, yasitula e mbawo, nga ne mu biwandiikiddwa ku zo, mulimu obulungamu, n’okusaasira eri abo, bo abatya Mukama omulabirizi waabwe.

Al-A'raf 7:155

وَٱخۡتَارَ مُوسَىٰ قَوۡمَهُۥ سَبۡعِينَ رَجُلٗا لِّمِيقَٰتِنَاۖ فَلَمَّآ أَخَذَتۡهُمُ ٱلرَّجۡفَةُ قَالَ رَبِّ لَوۡ شِئۡتَ أَهۡلَكۡتَهُم مِّن قَبۡلُ وَإِيَّـٰيَۖ أَتُهۡلِكُنَا بِمَا فَعَلَ ٱلسُّفَهَآءُ مِنَّآۖ إِنۡ هِيَ إِلَّا فِتۡنَتُكَ تُضِلُّ بِهَا مَن تَشَآءُ وَتَهۡدِي مَن تَشَآءُۖ أَنتَ وَلِيُّنَا فَٱغۡفِرۡ لَنَا وَٱرۡحَمۡنَاۖ وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلۡغَٰفِرِينَ ﴿١٥٥﴾

Musa yalonda mu bantube, abasajja nsanvu, bagende mu kifo kye twamuteerawo, wabula musisi bwe yabajjira, (Musa) yagamba nti, ayi Mukama omulabirizi wange, singa kino kye wali oyagala, wandibadde wabazikiriza olubereberye wamu nange, oyagala kutuzikiriza olw'ekyo ababuyabuya mu ffe kye baakola! kino si kintu kirala kyonna okugyako okugezesakwo, obuza nakwo oyo gwoba oyagadde, ate n’olungamya nakwo, oyo gwoba oyagadde, otulinako obuyinza, n’olwekyo tusonyiwe, era otusaasire, bulijjo ggwe asinga abasaasizi bonna.

Al-A'raf 7:156

۞وَٱكۡتُبۡ لَنَا فِي هَٰذِهِ ٱلدُّنۡيَا حَسَنَةٗ وَفِي ٱلۡأٓخِرَةِ إِنَّا هُدۡنَآ إِلَيۡكَۚ قَالَ عَذَابِيٓ أُصِيبُ بِهِۦ مَنۡ أَشَآءُۖ وَرَحۡمَتِي وَسِعَتۡ كُلَّ شَيۡءٖۚ فَسَأَكۡتُبُهَا لِلَّذِينَ يَتَّقُونَ وَيُؤۡتُونَ ٱلزَّكَوٰةَ وَٱلَّذِينَ هُم بِـَٔايَٰتِنَا يُؤۡمِنُونَ ﴿١٥٦﴾

Tuwandiikeko birungi kuno ku nsi, era ne ku nkomerero, (anti) tukwemenyedde, (Katonda) naagamba nti, e bibonerezo byange mbituusa kw’oyo gwemba njagadde, ate okusaasira kwange kwamalayo buli kintu, ngenda ku kukuwa abo abatya Katonda, nebatoola zzaka, era abo abakkiriza e bigambo byaffe.

Al-A'raf 7:157

ٱلَّذِينَ يَتَّبِعُونَ ٱلرَّسُولَ ٱلنَّبِيَّ ٱلۡأُمِّيَّ ٱلَّذِي يَجِدُونَهُۥ مَكۡتُوبًا عِندَهُمۡ فِي ٱلتَّوۡرَىٰةِ وَٱلۡإِنجِيلِ يَأۡمُرُهُم بِٱلۡمَعۡرُوفِ وَيَنۡهَىٰهُمۡ عَنِ ٱلۡمُنكَرِ وَيُحِلُّ لَهُمُ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَيُحَرِّمُ عَلَيۡهِمُ ٱلۡخَبَـٰٓئِثَ وَيَضَعُ عَنۡهُمۡ إِصۡرَهُمۡ وَٱلۡأَغۡلَٰلَ ٱلَّتِي كَانَتۡ عَلَيۡهِمۡۚ فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ بِهِۦ وَعَزَّرُوهُ وَنَصَرُوهُ وَٱتَّبَعُواْ ٱلنُّورَ ٱلَّذِيٓ أُنزِلَ مَعَهُۥٓ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿١٥٧﴾

Abo abagoberera omubaka, Nabbi, atasoma biwandiiko, oyo gwe basanga nga muwandiike ewaabwe mu Taurat ne enjili, nga abalagira e mpisa e nnungi, era n’abagaana e mpisa e mbi, era nga abakkiriza e birungi (mu biriibwa n’ebinywebwa), era naabaziyiza e bibi, era naabaggyako obuzito n’amakoligo, ebyo e byabaliko, kale nno abo abamukkiriza, nebamuwagira, ne bamutaasa, era ne bagoberera e kitangaala ekyo e kyamuweebwa, abo nno bo, be balituuka ku buwanguzi.

Al-A'raf 7:158

قُلۡ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِنِّي رَسُولُ ٱللَّهِ إِلَيۡكُمۡ جَمِيعًا ٱلَّذِي لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۖ فَـَٔامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِ ٱلنَّبِيِّ ٱلۡأُمِّيِّ ٱلَّذِي يُؤۡمِنُ بِٱللَّهِ وَكَلِمَٰتِهِۦ وَٱتَّبِعُوهُ لَعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ ﴿١٥٨﴾

Gamba (ggwe Nabbi Muhammad), nti abange abantu, mazima nze ndi mubaka w’a Katonda, eri mmwe mwenna, (Katonda) oyo bubwe obufuzi bw'eggulu omusanvu ne nsi, tewali kintu kyonna kisinzibwa okugyako yye, awa obulamu, era natta, kale nno mukkirize Katonda n’omubakawe, Nabbi ataasoma biwandiiko, oyo akkiriza Katonda n’ebigambobye, era mu mugoberere, olwo nno mube nga mulungamye.

Al-A'raf 7:159

وَمِن قَوۡمِ مُوسَىٰٓ أُمَّةٞ يَهۡدُونَ بِٱلۡحَقِّ وَبِهِۦ يَعۡدِلُونَ ﴿١٥٩﴾

Mu bantu ba Musa, mulimu e kibiina nga bakozesa amazima, era nga gebakozesa okukola obwenkanya.

Al-A'raf 7:160

وَقَطَّعۡنَٰهُمُ ٱثۡنَتَيۡ عَشۡرَةَ أَسۡبَاطًا أُمَمٗاۚ وَأَوۡحَيۡنَآ إِلَىٰ مُوسَىٰٓ إِذِ ٱسۡتَسۡقَىٰهُ قَوۡمُهُۥٓ أَنِ ٱضۡرِب بِّعَصَاكَ ٱلۡحَجَرَۖ فَٱنۢبَجَسَتۡ مِنۡهُ ٱثۡنَتَا عَشۡرَةَ عَيۡنٗاۖ قَدۡ عَلِمَ كُلُّ أُنَاسٖ مَّشۡرَبَهُمۡۚ وَظَلَّلۡنَا عَلَيۡهِمُ ٱلۡغَمَٰمَ وَأَنزَلۡنَا عَلَيۡهِمُ ٱلۡمَنَّ وَٱلسَّلۡوَىٰۖ كُلُواْ مِن طَيِّبَٰتِ مَا رَزَقۡنَٰكُمۡۚ وَمَا ظَلَمُونَا وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ ﴿١٦٠﴾

Era twabakutulamu e nnyiriri kkumi na bbiri nga bika, era twatumira Musa, abantube bwe baamusaba okubafunira amazzi, ne tumugamba nti, kuba omuggo gwo ku jjinja, olwo nno nemufubutukamu e nsulo kkumi na bbiri, buli bantu baamanya webalina okunywa, ekirala twabasiikiriza n’ekire, era twabassiza Manna, ne Saluwa (nga bwe tubagamba nti) mulye e birungi mu ebyo bye tubagabira, si ffe bebaayisa obubi, wabula beeyisa bokka obubi.

At-Tawbah 9:30

وَقَالَتِ ٱلۡيَهُودُ عُزَيۡرٌ ٱبۡنُ ٱللَّهِ وَقَالَتِ ٱلنَّصَٰرَى ٱلۡمَسِيحُ ٱبۡنُ ٱللَّهِۖ ذَٰلِكَ قَوۡلُهُم بِأَفۡوَٰهِهِمۡۖ يُضَٰهِـُٔونَ قَوۡلَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِن قَبۡلُۚ قَٰتَلَهُمُ ٱللَّهُۖ أَنَّىٰ يُؤۡفَكُونَ ﴿٣٠﴾

Abayudaaya baagamba nti Uzairu mwana wa Katonda, ate Abanaswara ne bagamba nti Masiya mwana w’a Katonda, ekyo kigambo kyabwe kye boogera n’emimwa gyabwe, nebifaanana e kigambo ky'abo abaakaafuwala oluberyeberye. Katonda yabakolimira, bawugulwa batya (okuva ku mazima)!.

Yunus 10:83

فَمَآ ءَامَنَ لِمُوسَىٰٓ إِلَّا ذُرِّيَّةٞ مِّن قَوۡمِهِۦ عَلَىٰ خَوۡفٖ مِّن فِرۡعَوۡنَ وَمَلَإِيْهِمۡ أَن يَفۡتِنَهُمۡۚ وَإِنَّ فِرۡعَوۡنَ لَعَالٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَإِنَّهُۥ لَمِنَ ٱلۡمُسۡرِفِينَ ﴿٨٣﴾

Tewaali bakkiriza Musa (awamu n'obubonero bwe yajja nabwo) okugyako bazzukulu baabwe, nga batya Firawo n'abakungu mu bo okubatuusaako ebikemo, era naye mazima Firawo yeekuluntaza (ne yessa mu ddaala erya waggulu) kuno ku nsi era mazima yye yagenda wala nnyo mu bwonoonyi.

Yunus 10:84

وَقَالَ مُوسَىٰ يَٰقَوۡمِ إِن كُنتُمۡ ءَامَنتُم بِٱللَّهِ فَعَلَيۡهِ تَوَكَّلُوٓاْ إِن كُنتُم مُّسۡلِمِينَ ﴿٨٤﴾

Musa naagamba nti abange bantu bange bwe muba nga mwakkiriza Katonda mwekwase yye bwe muba nga muli abasiraamu (abeewaayo eri Katonda).

Yunus 10:93

وَلَقَدۡ بَوَّأۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ مُبَوَّأَ صِدۡقٖ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ فَمَا ٱخۡتَلَفُواْ حَتَّىٰ جَآءَهُمُ ٱلۡعِلۡمُۚ إِنَّ رَبَّكَ يَقۡضِي بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كَانُواْ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ ﴿٩٣﴾

Mazima twasenza abaana ba Israil mu kifo e kirungi ekyesiimisa netubagabirira mu bigabwa ebirungi, nebataba na njawukana (mu ddiini) okutuusa okumanya lwe kwabajjira (nti Nabbi Muhammad ajja kujja nga mubaka wa Katonda) mazima Katonda agenda kulamula wakati wa bwe ku lunaku lw'enkomerero mu ekyo kye baali baawukanamu.

Hud 11:17

أَفَمَن كَانَ عَلَىٰ بَيِّنَةٖ مِّن رَّبِّهِۦ وَيَتۡلُوهُ شَاهِدٞ مِّنۡهُ وَمِن قَبۡلِهِۦ كِتَٰبُ مُوسَىٰٓ إِمَامٗا وَرَحۡمَةًۚ أُوْلَـٰٓئِكَ يُؤۡمِنُونَ بِهِۦۚ وَمَن يَكۡفُرۡ بِهِۦ مِنَ ٱلۡأَحۡزَابِ فَٱلنَّارُ مَوۡعِدُهُۥۚ فَلَا تَكُ فِي مِرۡيَةٖ مِّنۡهُۚ إِنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿١٧﴾

Abaffe balimbisa oyo (Muhammad) ku bunnyonnyofu obuva ewali Mukama omulabiriziwe, era nga abusoma omujulizi (Jiburilu) ava ewa Katonda nga n'oluberyeberyelwe waliwo ekitabo kya Musa nga kiraga ekkubo era nga kusaasira, abo (Muhammad n'abantube) bagikkiriza ate ebibiina byonna ebitagikkiriza omuliro y'endagaano yaabwe, tobeeranga mu kugibuusabuusaamu, mazima yyo ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo. Naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza.

Hud 11:110

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡكِتَٰبَ فَٱخۡتُلِفَ فِيهِۚ وَلَوۡلَا كَلِمَةٞ سَبَقَتۡ مِن رَّبِّكَ لَقُضِيَ بَيۡنَهُمۡۚ وَإِنَّهُمۡ لَفِي شَكّٖ مِّنۡهُ مُرِيبٖ ﴿١١٠﴾

Mazima twawa Musa ekitabo ne kyawukanwamu, singa si kigambo ekyava ewa Mukama omulabiriziwo ekyakulembera, eggoye lyandisaliddwawo (nebazikirira) era mazima bo bali mu kubuusabuusa era nga batankana (ku nsonga ya Kur’ani).

Hud 11:111

وَإِنَّ كُلّٗا لَّمَّا لَيُوَفِّيَنَّهُمۡ رَبُّكَ أَعۡمَٰلَهُمۡۚ إِنَّهُۥ بِمَا يَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ ﴿١١١﴾

Na mazima ddala bonna Mukama omulabiriziwo agenda kubasasula emirimu gya bwe mu bujjuvu, mazima yye amanyidde ddala bye bakola.

Hud 11:112

فَٱسۡتَقِمۡ كَمَآ أُمِرۡتَ وَمَن تَابَ مَعَكَ وَلَا تَطۡغَوۡاْۚ إِنَّهُۥ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ ﴿١١٢﴾

Kale beera mwesimbu nga bwolagiddwa, n'abo abeenenyezza naawe era temubeera ba kiwagi, anti mazima ye (Katonda) bye mukola abiraba.

Hud 11:113

وَلَا تَرۡكَنُوٓاْ إِلَى ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ فَتَمَسَّكُمُ ٱلنَّارُ وَمَا لَكُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ مِنۡ أَوۡلِيَآءَ ثُمَّ لَا تُنصَرُونَ ﴿١١٣﴾

Era temuggweranga ku abo abeeyisa obubi, omuliro negubakwata ate nga ojjeeko Katonda temulinaayo bayambi balala, era temugenda kutaasibwa.

Ibrahim 14:5

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مُوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَآ أَنۡ أَخۡرِجۡ قَوۡمَكَ مِنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِ وَذَكِّرۡهُم بِأَيَّىٰمِ ٱللَّهِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٖ ﴿٥﴾

Mazima twatuma Musa n'obubonero bwaffe (netumugamba) nti: Abantu bo baggye mu bizikiza obazze eri ekitangaala, era obajjukize ennaku za Katonda, (kwe yakolera) ebintu ebiteekwa okujjukirwa mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa (Katonda) eri omugumiikiriza omwebaza owa nnamaddala.

Ibrahim 14:6

وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِقَوۡمِهِ ٱذۡكُرُواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ عَلَيۡكُمۡ إِذۡ أَنجَىٰكُم مِّنۡ ءَالِ فِرۡعَوۡنَ يَسُومُونَكُمۡ سُوٓءَ ٱلۡعَذَابِ وَيُذَبِّحُونَ أَبۡنَآءَكُمۡ وَيَسۡتَحۡيُونَ نِسَآءَكُمۡۚ وَفِي ذَٰلِكُم بَلَآءٞ مِّن رَّبِّكُمۡ عَظِيمٞ ﴿٦﴾

Era jjukira Musa bwe yagamba abantube nti mujjukire ekyengera Katonda kye yabawa, bwe yabawonya abantu ba Firawo nga babakombya ku bibonyobonyo ebikakali, nga batirimbula abaana ba mmwe abalenzi nebalekawo abaana ba mmwe ab'obuwala, mu kukola ekyo mwalimu okugezesebwa kunene nnyo okuva eri Mukama omulabirizi wa mmwe.

Ibrahim 14:7

وَإِذۡ تَأَذَّنَ رَبُّكُمۡ لَئِن شَكَرۡتُمۡ لَأَزِيدَنَّكُمۡۖ وَلَئِن كَفَرۡتُمۡ إِنَّ عَذَابِي لَشَدِيدٞ ﴿٧﴾

Era mujjukire Mukama omulabirizi wa mmwe bwe yalangirira nti singa mwebaza nja kubongerera ddala naye singa mukaafuwala mazima ebibonerezo byange bikakali.

Ibrahim 14:8

وَقَالَ مُوسَىٰٓ إِن تَكۡفُرُوٓاْ أَنتُمۡ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ جَمِيعٗا فَإِنَّ ٱللَّهَ لَغَنِيٌّ حَمِيدٌ ﴿٨﴾

Musa naagamba nti singa mmwe mukaafuwala n'abantu bonna abali mu nsi, mazima Katonda talina kye yeetaaga eri muntu yenna era yye y'atenderezebwa.

An-Nahl 16:118

وَعَلَى ٱلَّذِينَ هَادُواْ حَرَّمۡنَا مَا قَصَصۡنَا عَلَيۡكَ مِن قَبۡلُۖ وَمَا ظَلَمۡنَٰهُمۡ وَلَٰكِن كَانُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ يَظۡلِمُونَ ﴿١١٨﴾

Ate twaziza ku abo abagamba nti bayudaaya ebyo bye twakutegeeza oluberyeberye, si ffe twabayisa obubi bo bennyini be beeyisa obubi.

Emitwe