Al-Ahzab 33:26وَأَنزَلَ ٱلَّذِينَ ظَٰهَرُوهُم مِّنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ مِن صَيَاصِيهِمۡ وَقَذَفَ فِي قُلُوبِهِمُ ٱلرُّعۡبَ فَرِيقٗا تَقۡتُلُونَ وَتَأۡسِرُونَ فَرِيقٗا ﴿٢٦﴾
. Era yawanula abo abaabayamba mu ba nannyini kitabo ng'abajja mu bikomera byabwe, nassa mu mitima gya bwe okutya ne muba nga mutta e kitundu ate ne muwamba e kitundu e kirala (mu bo).
Al-Ahzab 33:27وَأَوۡرَثَكُمۡ أَرۡضَهُمۡ وَدِيَٰرَهُمۡ وَأَمۡوَٰلَهُمۡ وَأَرۡضٗا لَّمۡ تَطَـُٔوهَاۚ وَكَانَ ٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٗا ﴿٢٧﴾
. Era naasikiza mmwe e bibanja byaabwe n'amaka gaabwe ne mmaali yaabwe n'ebitundu by'ensi ebirala bye mutatuukangamu, bulijjo Katonda muyinza ku buli kintu.
Ghafir 40:53وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَى ٱلۡهُدَىٰ وَأَوۡرَثۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱلۡكِتَٰبَ ﴿٥٣﴾
Mazima twawa Musa obulungamu era netusikiza abaana ba Israil ekitabo (ekyo).
Ghafir 40:54هُدٗى وَذِكۡرَىٰ لِأُوْلِي ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿٥٤﴾
Nga bulungamu era nga kya kujjukiza eri abo abalina amagezi.
Az-Zukhruf 43:63وَلَمَّا جَآءَ عِيسَىٰ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ قَالَ قَدۡ جِئۡتُكُم بِٱلۡحِكۡمَةِ وَلِأُبَيِّنَ لَكُم بَعۡضَ ٱلَّذِي تَخۡتَلِفُونَ فِيهِۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ﴿٦٣﴾
(Nabbi) Isa bweyajja nobunnyonnyofu yagamba nti mazima mbajjidde nebigambo ebyamagezi era mbannyonnyole ebimu kwebyo bye muwakanamu kale mutye Katonda era mungondere.
Az-Zukhruf 43:64إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ رَبِّي وَرَبُّكُمۡ فَٱعۡبُدُوهُۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ ﴿٦٤﴾
Mazima Katonda ye Mukama omulabirizi wange era Mukama omulabirizi wa mmwe, kale mumusinze lino lye kkubo eggolokofu.
Az-Zukhruf 43:65فَٱخۡتَلَفَ ٱلۡأَحۡزَابُ مِنۢ بَيۡنِهِمۡۖ فَوَيۡلٞ لِّلَّذِينَ ظَلَمُواْ مِنۡ عَذَابِ يَوۡمٍ أَلِيمٍ ﴿٦٥﴾
Wabula ebibiina byayawukana nga biva mu bo bennyini (ku nsonga ya Isa) kale okubonabona okwe bibonyobonyo by'olunaku oluzito kugenda kubeera kwabo abeeyisa obubi.
Al-Jathiyah 45:16وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحُكۡمَ وَٱلنُّبُوَّةَ وَرَزَقۡنَٰهُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِ وَفَضَّلۡنَٰهُمۡ عَلَى ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿١٦﴾
Mazima twawa abaana ba Israil ekitabo n’okulamula wakati wa bantu n’obwa Nabbi netubagabirira ebirungi era netubasukkulumya ku bantu abalala (abaaliwo ku mulembe gwabwe).
Al-Jathiyah 45:17وَءَاتَيۡنَٰهُم بَيِّنَٰتٖ مِّنَ ٱلۡأَمۡرِۖ فَمَا ٱخۡتَلَفُوٓاْ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَهُمُ ٱلۡعِلۡمُ بَغۡيَۢا بَيۡنَهُمۡۚ إِنَّ رَبَّكَ يَقۡضِي بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ فِيمَا كَانُواْ فِيهِ يَخۡتَلِفُونَ ﴿١٧﴾
Era twabawa obunnyonnyofu bwe kigambo (ekikwata ku kutumwa kwa Nabbi Muhammad) olwo nno tebayawukana okugyako luvannyuma lwa kumanya kubajjira (nga ekyo baakikola) olwo bukyayi obwali wakati waabwe, mazima Mukama omulabirizi wo agenda kulamula wakati waabwe ku lunaku lw’enkomerero mwebyo bye bayawukanangamu.
Al-Ahqaf 46:10قُلۡ أَرَءَيۡتُمۡ إِن كَانَ مِنۡ عِندِ ٱللَّهِ وَكَفَرۡتُم بِهِۦ وَشَهِدَ شَاهِدٞ مِّنۢ بَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ عَلَىٰ مِثۡلِهِۦ فَـَٔامَنَ وَٱسۡتَكۡبَرۡتُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿١٠﴾
Bagambe nti abaffe mulaba nti singa (Kur’ani) eva wa Katonda ate mmwe nemugiwakanya, naye nga omujulizi mu baana ba Israil yajulira ku kiringa yo (nti kiva wa Katonda) olwo nno yye) nakkiriza ate mmwe ne mwekuluntaza (olwo mu mbeera eyo kiba kitya), mazima bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
Al-Ahqaf 46:11وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لِلَّذِينَ ءَامَنُواْ لَوۡ كَانَ خَيۡرٗا مَّا سَبَقُونَآ إِلَيۡهِۚ وَإِذۡ لَمۡ يَهۡتَدُواْ بِهِۦ فَسَيَقُولُونَ هَٰذَآ إِفۡكٞ قَدِيمٞ ﴿١١﴾
Abo abaakafuwala nebagamba abo abakkiriza nti (Muhammad byagamba) singa bibadde birungi (abo) tebanditusoose kugenda gyebiri, naye olwokuba tebalungama nayo, bajja kugamba nti Kur’ani kugunja okwedda.
Al-Ahqaf 46:12وَمِن قَبۡلِهِۦ كِتَٰبُ مُوسَىٰٓ إِمَامٗا وَرَحۡمَةٗۚ وَهَٰذَا كِتَٰبٞ مُّصَدِّقٞ لِّسَانًا عَرَبِيّٗا لِّيُنذِرَ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ وَبُشۡرَىٰ لِلۡمُحۡسِنِينَ ﴿١٢﴾
Nga noluberyeberye lwayo (waliyo) ekitabo kya Musa nga kyagobererwa nga kya kusaasira n'ekitabo kino (Kur’ani kyajja nga) kikakasa (ebyakulembera) nga kiri mu lulimi luwarabu, kibe nga kirabula abo abeeyisa obubi era nga kya kusanyusa eri abalongoosa.
Al-Hadid 57:28يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ ٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَءَامِنُواْ بِرَسُولِهِۦ يُؤۡتِكُمۡ كِفۡلَيۡنِ مِن رَّحۡمَتِهِۦ وَيَجۡعَل لَّكُمۡ نُورٗا تَمۡشُونَ بِهِۦ وَيَغۡفِرۡ لَكُمۡۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿٢٨﴾
Abange mmwe abakkiriza mutye Katonda era mukkirize n’omubaka we, ajja kubawa okusaasira kwe emirundi ebiri, era abateerewo ekitangaala nga kwe mutambulira, era abasonyiwe, bulijjo Katonda musonyiyi nnyo, musaasizi.
Al-Hadid 57:29لِّئَلَّا يَعۡلَمَ أَهۡلُ ٱلۡكِتَٰبِ أَلَّا يَقۡدِرُونَ عَلَىٰ شَيۡءٖ مِّن فَضۡلِ ٱللَّهِ وَأَنَّ ٱلۡفَضۡلَ بِيَدِ ٱللَّهِ يُؤۡتِيهِ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ ذُو ٱلۡفَضۡلِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿٢٩﴾
(Ebyo byonna lwakuba nti) abaweebwa ekitabo babe nga bamanya nti tebalina kintu kyonna ku bigabwa bya Katonda kye balinako buyinza, era bamanye nti ebigabwa byonna biri mu mukono gwa Katonda, abiwa gwaba ayagadde, bulijjo Katonda ye nanyini bigabwa ebisuffu.
Al-Hashr 59:2هُوَ ٱلَّذِيٓ أَخۡرَجَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ مِن دِيَٰرِهِمۡ لِأَوَّلِ ٱلۡحَشۡرِۚ مَا ظَنَنتُمۡ أَن يَخۡرُجُواْۖ وَظَنُّوٓاْ أَنَّهُم مَّانِعَتُهُمۡ حُصُونُهُم مِّنَ ٱللَّهِ فَأَتَىٰهُمُ ٱللَّهُ مِنۡ حَيۡثُ لَمۡ يَحۡتَسِبُواْۖ وَقَذَفَ فِي قُلُوبِهِمُ ٱلرُّعۡبَۚ يُخۡرِبُونَ بُيُوتَهُم بِأَيۡدِيهِمۡ وَأَيۡدِي ٱلۡمُؤۡمِنِينَ فَٱعۡتَبِرُواْ يَـٰٓأُوْلِي ٱلۡأَبۡصَٰرِ ﴿٢﴾
Y'eyafulumya abo abaakafuwala mu bayudaaya (Ab'ekiika kya ba Banu Nadhiri) mu ngeri y'okubawangangusa okuva mu mayumba gaabwe olufuluma olwasooka. Temulowoozangako mmwe abakkiriza nti (ba Banu Nadhiri) bayinza okugobwa ate bo (ba Banu Nadhiri) baalowooza nti ebigo byabwe bijja kulemesa Katonda okubatuusaako ekyo kyayagala. Katonda nakibatuusaako mu kiseera webaali batakisuubirira. Era Katonda nateeka mu mitima gyabwe okutya okwensusso nga bo bennyini be bemenyera amayumba gaabwe n'emikono gyabwe, n'emikono gya bakkiriza negikola ekyo. Kale nno abategeera mumwe mugyemu ekyokuyiga.
Al-Hashr 59:3وَلَوۡلَآ أَن كَتَبَ ٱللَّهُ عَلَيۡهِمُ ٱلۡجَلَآءَ لَعَذَّبَهُمۡ فِي ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِ عَذَابُ ٱلنَّارِ ﴿٣﴾
Singa tekyali nti Katonda yabasalirawo ku bawangangusa yaalibadde ababonereza kuno ku nsi, ate nga ne ku nkomerero abategekedde ebibonerezo byomuliro.
Al-Hashr 59:4ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ شَآقُّواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥۖ وَمَن يُشَآقِّ ٱللَّهَ فَإِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿٤﴾
Ekyo nno lwansonga yaakuba nti baawakanya Katonda n'omubakawe. Ate nga oyo yenna awakanya Katonda, amanye nti mazima Katonda muyitirivu waakubonereza.
Al-Hashr 59:5مَا قَطَعۡتُم مِّن لِّينَةٍ أَوۡ تَرَكۡتُمُوهَا قَآئِمَةً عَلَىٰٓ أُصُولِهَا فَبِإِذۡنِ ٱللَّهِ وَلِيُخۡزِيَ ٱلۡفَٰسِقِينَ ﴿٥﴾
Emiti gye ntende gyonna gyemwatema oba jemwaleka nga giyimiridde nga bwegyali, ebyo byonna byakolebwa lwa kiragiro kya Katonda, era alyoke aswaze abo abonoonyi.
Al-Hashr 59:6وَمَآ أَفَآءَ ٱللَّهُ عَلَىٰ رَسُولِهِۦ مِنۡهُمۡ فَمَآ أَوۡجَفۡتُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ خَيۡلٖ وَلَا رِكَابٖ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يُسَلِّطُ رُسُلَهُۥ عَلَىٰ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٦﴾
Eyo emmaali Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza abalabe. (ba Banu Nadhiri) temwebagala nfaransi wadde engamiya okugenda gyebali. Wabula Katonda asobozesa ababakabe okuwangula oyo yenna gwaba ayagadde okuwangulwa, mazima Katonda asobola buli kintu kyonna.
As-Saf 61:5وَإِذۡ قَالَ مُوسَىٰ لِقَوۡمِهِۦ يَٰقَوۡمِ لِمَ تُؤۡذُونَنِي وَقَد تَّعۡلَمُونَ أَنِّي رَسُولُ ٱللَّهِ إِلَيۡكُمۡۖ فَلَمَّا زَاغُوٓاْ أَزَاغَ ٱللَّهُ قُلُوبَهُمۡۚ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلۡفَٰسِقِينَ ﴿٥﴾
Mu ngeri y'emu bajjukize ekyafaayo kya Musa bwe yagamba abantube nti, lwaki munnyiiza ng'ate mumanyidde ddala nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gweyabatumira. Bwe baabula, Katonda kwekubuza emitima gyabwe, anti Katonda talungamya bantu bajeemu.
As-Saf 61:6وَإِذۡ قَالَ عِيسَى ٱبۡنُ مَرۡيَمَ يَٰبَنِيٓ إِسۡرَـٰٓءِيلَ إِنِّي رَسُولُ ٱللَّهِ إِلَيۡكُم مُّصَدِّقٗا لِّمَا بَيۡنَ يَدَيَّ مِنَ ٱلتَّوۡرَىٰةِ وَمُبَشِّرَۢا بِرَسُولٖ يَأۡتِي مِنۢ بَعۡدِي ٱسۡمُهُۥٓ أَحۡمَدُۖ فَلَمَّا جَآءَهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ قَالُواْ هَٰذَا سِحۡرٞ مُّبِينٞ ﴿٦﴾
Era bajjukize e kyafaayo kya Isa mutabani wa Mariam bwe yagamba abaana ba Israel nti mazima nze ndi Mubaka wa Katonda gye muli, nga nkakasa Taurat eyankulembera era nga mpa amawulire ag'essanyu ag'omubaka alijja oluvanyuma lwange, nga erinyalye ye Ahmad. Wabula omubaka (Muhammad) oyo bwe yabajjira n'obubonero obunnyonnyofu, ate bo ne bagamba nti lino ddogo eryeyolefu.
Al-Jumu'ah 62:5مَثَلُ ٱلَّذِينَ حُمِّلُواْ ٱلتَّوۡرَىٰةَ ثُمَّ لَمۡ يَحۡمِلُوهَا كَمَثَلِ ٱلۡحِمَارِ يَحۡمِلُ أَسۡفَارَۢاۚ بِئۡسَ مَثَلُ ٱلۡقَوۡمِ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِۚ وَٱللَّهُ لَا يَهۡدِي ٱلۡقَوۡمَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٥﴾
Ekifaananyi kyabo abaaweebwa Taurat ne batagikozesa, balinga endogoyi ey'etikka ebitabo (nga tesobola kwe gasa nabiri mu bitabo ebyo), kibi nnyo ekifaananyi ekyo, ekyabo abalimbisa ebigambo bya Katonda. Bulijjo Katonda talungamya bantu beeyisa bubi.
Al-Jumu'ah 62:6قُلۡ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ هَادُوٓاْ إِن زَعَمۡتُمۡ أَنَّكُمۡ أَوۡلِيَآءُ لِلَّهِ مِن دُونِ ٱلنَّاسِ فَتَمَنَّوُاْ ٱلۡمَوۡتَ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿٦﴾
Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti abange mmwe abayudaaya bwe muba nga mweyita abaagalwa ba Katonda (mwe mwekka) so ssi abantu abalala, kale nno mwegombe okufa bwe muba nga muli ba mazima.
Al-Jumu'ah 62:7وَلَا يَتَمَنَّوۡنَهُۥٓ أَبَدَۢا بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيهِمۡۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٧﴾
Tebagenda kwe gombera ddala kufa, olwebyo byebaakola. Bulijjo Katonda amanyi nnyo abeeyisa obubi.
Al-Jumu'ah 62:8قُلۡ إِنَّ ٱلۡمَوۡتَ ٱلَّذِي تَفِرُّونَ مِنۡهُ فَإِنَّهُۥ مُلَٰقِيكُمۡۖ ثُمَّ تُرَدُّونَ إِلَىٰ عَٰلِمِ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ فَيُنَبِّئُكُم بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٨﴾
Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti mazima okwo okufa kwe mudduka kwakubatuukako, oluvanyuma muzzibwe eri omumanyi w'ebitalabikako n'ebirabika. Ate nno olwo alyoke abategeeze ebyo byonna bye mwali mukola.
Al-Bayyinah 98:1لَمۡ يَكُنِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ وَٱلۡمُشۡرِكِينَ مُنفَكِّينَ حَتَّىٰ تَأۡتِيَهُمُ ٱلۡبَيِّنَةُ ﴿١﴾
Abajeemu mu bantu abaweebwa e kitabo, n'abo abagatta ebintu ebirala ku Katonda, tebaali baakuva ku nzikiriza yaabwe enkyamu okutuusa nga obunnyonnyofu bubajjidde.
Al-Bayyinah 98:2رَسُولٞ مِّنَ ٱللَّهِ يَتۡلُواْ صُحُفٗا مُّطَهَّرَةٗ ﴿٢﴾
Nga, ye Mubaka (Nabbi Muhammad) eyatumwa okuva ewa Katonda, nga asoma ekitabo ekitukuvu (Kur'ani).
Al-Bayyinah 98:3فِيهَا كُتُبٞ قَيِّمَةٞ ﴿٣﴾
Ekirimu amateeka amalambulukufu.
Al-Bayyinah 98:4وَمَا تَفَرَّقَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَتۡهُمُ ٱلۡبَيِّنَةُ ﴿٤﴾
Era abantu abo abaweebwa e kitabo tebayawukanayawukana okutuusa nga obunnyonnyofu bumaze okubajjira.
Al-Bayyinah 98:5وَمَآ أُمِرُوٓاْ إِلَّا لِيَعۡبُدُواْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ حُنَفَآءَ وَيُقِيمُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَيُؤۡتُواْ ٱلزَّكَوٰةَۚ وَذَٰلِكَ دِينُ ٱلۡقَيِّمَةِ ﴿٥﴾
So nga ate tebaalagirwa okugyako okusinza Katonda yekka nga buli kyebakola bakikola ku lulwe yekka, awatali ku mugattirizaako kantu konna. Era nga bateekwa okuyimirizaawo e sswala n’okutoola Zzaka. Era nga eyo nno y'eddiini ennambulukufu.
Al-Bayyinah 98:6إِنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡكِتَٰبِ وَٱلۡمُشۡرِكِينَ فِي نَارِ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَآۚ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمۡ شَرُّ ٱلۡبَرِيَّةِ ﴿٦﴾
Mazima abo abaajeema mu bantu abaaweebwa e kitabo n’abo abagatta ku Katonda e bintu ebirala bakuyingira omuliro Jahannama mwe bagenda okubeera olubeerera. Abo nno be babi okusinga ebitonde ebirala byonna.
Al-Bayyinah 98:7إِنَّ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمۡ خَيۡرُ ٱلۡبَرِيَّةِ ﴿٧﴾
Mazima abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirungi be balungi okusinga ebitonde byonna.
Al-Bayyinah 98:8جَزَآؤُهُمۡ عِندَ رَبِّهِمۡ جَنَّـٰتُ عَدۡنٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهَا ٱلۡأَنۡهَٰرُ خَٰلِدِينَ فِيهَآ أَبَدٗاۖ رَّضِيَ ٱللَّهُ عَنۡهُمۡ وَرَضُواْ عَنۡهُۚ ذَٰلِكَ لِمَنۡ خَشِيَ رَبَّهُۥ ﴿٨﴾
E mpeera yaabwe ewa Katonda waabwe kubayingiza jjana eyitibwa Aden, nga emigga gikulukutira mu yo. Baakugibeeramu olubeerera. Katonda yabasiima nabo ne bamusiima. Ebyo nno bigenda kufunwa oyo eyatya omuleziwe (Katonda).