قَالَ لَا تَثۡرِيبَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡيَوۡمَۖ يَغۡفِرُ ٱللَّهُ لَكُمۡۖ وَهُوَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿٩٢﴾
Naagamba nti olwa leero si lunaku lwa kubanenya, nsaba Katonda abasonyiwe era yye ye musaasizi asinga abasaazizi bonna.
288 Aya · Emitwe · lg
قَالَ لَا تَثۡرِيبَ عَلَيۡكُمُ ٱلۡيَوۡمَۖ يَغۡفِرُ ٱللَّهُ لَكُمۡۖ وَهُوَ أَرۡحَمُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿٩٢﴾
Naagamba nti olwa leero si lunaku lwa kubanenya, nsaba Katonda abasonyiwe era yye ye musaasizi asinga abasaazizi bonna.
ٱذۡهَبُواْ بِقَمِيصِي هَٰذَا فَأَلۡقُوهُ عَلَىٰ وَجۡهِ أَبِي يَأۡتِ بَصِيرٗا وَأۡتُونِي بِأَهۡلِكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿٩٣﴾
Mutwale ekyambalo kyange kino mukisuule ku maaso ga Kitange ajja kuddamu alabe era mundeetere abantu ba mmwe bonna.
فَلَمَّا دَخَلُواْ عَلَىٰ يُوسُفَ ءَاوَىٰٓ إِلَيۡهِ أَبَوَيۡهِ وَقَالَ ٱدۡخُلُواْ مِصۡرَ إِن شَآءَ ٱللَّهُ ءَامِنِينَ ﴿٩٩﴾
Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza bakaddebe gyali era naagamba nti muyingire Misiri mubeere mirembe Katonda bwanaaba ayagadde.
وَرَفَعَ أَبَوَيۡهِ عَلَى ٱلۡعَرۡشِ وَخَرُّواْ لَهُۥ سُجَّدٗاۖ وَقَالَ يَـٰٓأَبَتِ هَٰذَا تَأۡوِيلُ رُءۡيَٰيَ مِن قَبۡلُ قَدۡ جَعَلَهَا رَبِّي حَقّٗاۖ وَقَدۡ أَحۡسَنَ بِيٓ إِذۡ أَخۡرَجَنِي مِنَ ٱلسِّجۡنِ وَجَآءَ بِكُم مِّنَ ٱلۡبَدۡوِ مِنۢ بَعۡدِ أَن نَّزَغَ ٱلشَّيۡطَٰنُ بَيۡنِي وَبَيۡنَ إِخۡوَتِيٓۚ إِنَّ رَبِّي لَطِيفٞ لِّمَا يَشَآءُۚ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلۡعَلِيمُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿١٠٠﴾
Era yasitula bakaddebe naabatuuza ku Ntebeye (Ey'obukulubwe) bonna ne bakutama ne bamuvunnamira era naagamba nti owange Kitange, gano ge makulu g’ekirooto kyange kye nnaloota edda, mazima Katonda wange akituukirizza, era mazima yankolera obulungi bwe yanzija mu kkomera ate na mmwe naabaleeta okubajja mu kyalo oluvanyuma lwa Sitane okuba nti yatabula wakati wange ne baganda bange. Mazima Mukama omulabirizi wange alumirwa oyo gwaba ayagadde anti mazima yye mumanyi nnyo mugoba nsonga.
۞وَإِن تَعۡجَبۡ فَعَجَبٞ قَوۡلُهُمۡ أَءِذَا كُنَّا تُرَٰبًا أَءِنَّا لَفِي خَلۡقٖ جَدِيدٍۗ أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ ٱلۡأَغۡلَٰلُ فِيٓ أَعۡنَاقِهِمۡۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿٥﴾
Bwoba oli wa kwewuunya, kyewuunyisa ekigambo kyabwe bwe bagamba nti: bwe tulimala okufuuka ettaka (nga tufudde) abaffe tuliddamu ne tutondebwa, abo nno beebo abaajeemera Mukama omulabirizi waabwe era abo enkoligo zigenda kubeera mu nsingo zaabwe era abo be bantu bo muliro bo baakutuula bugenderevu mu gwo.
وَنَبِّئۡهُمۡ عَن ضَيۡفِ إِبۡرَٰهِيمَ ﴿٥١﴾
Era bategeeze ebikwata ku bagenyi ba Ibrahim.
إِذۡ دَخَلُواْ عَلَيۡهِ فَقَالُواْ سَلَٰمٗا قَالَ إِنَّا مِنكُمۡ وَجِلُونَ ﴿٥٢﴾
Mu kiseera bwe baayingira we yali nebagamba nti mirembe (Salaamu) naagamba (Ibrahim) mazima ffe tubatidde.
وَلَقَدۡ جَعَلۡنَا فِي ٱلسَّمَآءِ بُرُوجٗا وَزَيَّنَّـٰهَا لِلنَّـٰظِرِينَ ﴿١٦﴾
Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi.
وَحَفِظۡنَٰهَا مِن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ رَّجِيمٍ ﴿١٧﴾
Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda.
لَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّنۡهُمۡ وَلَا تَحۡزَنۡ عَلَيۡهِمۡ وَٱخۡفِضۡ جَنَاحَكَ لِلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿٨٨﴾
Tokanulanga amaaso go (nga otunuulira nga weegomba) eri ebyo bye twasanyusa nabyo emitindo egimu ku bo, era tebakunakuwazanga era wekkakkanye eri abakkiriza.
وَلَكُمۡ فِيهَا جَمَالٌ حِينَ تُرِيحُونَ وَحِينَ تَسۡرَحُونَ ﴿٦﴾
Era mulina mu byo okunyumirwa mu kiseera wemubiggyirayo ne mu kiseera wemubitwalirayo (ku ttale).
وَإِن تَعُدُّواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ لَا تُحۡصُوهَآۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿١٨﴾
Ne bwe mubala ebyengera bya Katonda temusobola kubikomekkereza, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.
وَمَا بِكُم مِّن نِّعۡمَةٖ فَمِنَ ٱللَّهِۖ ثُمَّ إِذَا مَسَّكُمُ ٱلضُّرُّ فَإِلَيۡهِ تَجۡـَٔرُونَ ﴿٥٣﴾
Buli kyengera kyonna kye mulina kiva eri Katonda, oluvanyuma akabi bwe kabatuukako gyali gye musaba okuyambibwa.
وَٱللَّهُ فَضَّلَ بَعۡضَكُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖ فِي ٱلرِّزۡقِۚ فَمَا ٱلَّذِينَ فُضِّلُواْ بِرَآدِّي رِزۡقِهِمۡ عَلَىٰ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُمۡ فَهُمۡ فِيهِ سَوَآءٌۚ أَفَبِنِعۡمَةِ ٱللَّهِ يَجۡحَدُونَ ﴿٧١﴾
Era Katonda yasukkulumya abamu mu mmwe ku balala mu by'enfuna, abo abaasukkulumizibwa ku balala tebaddiza ku bya nfuna bya bwe eri abo bebafuga, olwo nno babe nga bonna benkanankana, abaffe ate olwo ebyengera bya Katonda bye bawakanya!.
كُلّٗا نُّمِدُّ هَـٰٓؤُلَآءِ وَهَـٰٓؤُلَآءِ مِنۡ عَطَآءِ رَبِّكَۚ وَمَا كَانَ عَطَآءُ رَبِّكَ مَحۡظُورًا ﴿٢٠﴾
. Buli bamu (abalungi n'ababi ku nsi) tuwa bano nabali okuva mu bigabwa bya Mukama omulabiriziwo. Okugaba kwa Mukama omulabiriziwo tekussibwangako kkomo (ku muntu yenna kuno ku nsi).
ٱنظُرۡ كَيۡفَ فَضَّلۡنَا بَعۡضَهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۚ وَلَلۡأٓخِرَةُ أَكۡبَرُ دَرَجَٰتٖ وَأَكۡبَرُ تَفۡضِيلٗا ﴿٢١﴾
. Tunula olabe engeri gye twasukkulumya abamu ku balala, wabula enkomerero y'erimu amadaala agasinga obukulu era y'erimu okusingana okusinga obulungi.
وَإِن كَادُواْ لَيَسۡتَفِزُّونَكَ مِنَ ٱلۡأَرۡضِ لِيُخۡرِجُوكَ مِنۡهَاۖ وَإِذٗا لَّا يَلۡبَثُونَ خِلَٰفَكَ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿٧٦﴾
. Newaakubadde nga basemberera okukunyenya bakuggye mu nsi (yo) olwo nno bagikugobemu, ekyo nebwekituukirira nga gwe ofulumye, tebayinza kugituulamu okugyako ebbanga ttono.
مَّا لَهُم بِهِۦ مِنۡ عِلۡمٖ وَلَا لِأٓبَآئِهِمۡۚ كَبُرَتۡ كَلِمَةٗ تَخۡرُجُ مِنۡ أَفۡوَٰهِهِمۡۚ إِن يَقُولُونَ إِلَّا كَذِبٗا ﴿٥﴾
. Kye batalinaako kumanya kwonna wadde bakadde baabwe, kibi nnyo ekigambo ekiva mu mimwa gya bwe. Bye boogera temuli okugyako bulimba bwereere.
وَكَذَٰلِكَ بَعَثۡنَٰهُمۡ لِيَتَسَآءَلُواْ بَيۡنَهُمۡۚ قَالَ قَآئِلٞ مِّنۡهُمۡ كَمۡ لَبِثۡتُمۡۖ قَالُواْ لَبِثۡنَا يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖۚ قَالُواْ رَبُّكُمۡ أَعۡلَمُ بِمَا لَبِثۡتُمۡ فَٱبۡعَثُوٓاْ أَحَدَكُم بِوَرِقِكُمۡ هَٰذِهِۦٓ إِلَى ٱلۡمَدِينَةِ فَلۡيَنظُرۡ أَيُّهَآ أَزۡكَىٰ طَعَامٗا فَلۡيَأۡتِكُم بِرِزۡقٖ مِّنۡهُ وَلۡيَتَلَطَّفۡ وَلَا يُشۡعِرَنَّ بِكُمۡ أَحَدًا ﴿١٩﴾
. Era bwe tutyo twabazuukusa babe nga beebuuzaganya wakati waabwe (ku kyabatuukako) omwogezi omu ku bo naagamba nti wano mumazeewo bbangaki? nebagamba nti tumazeewo lunaku oba kitundu kya lunaku nebagamba nti Mukama omulabirizi wa mmwe yaasinga okumanya ebbanga lye mumazeewo kale mutume omu ku mmwe, agende mu kibuga ne Sente zammwe zino alabe mmere ki esinga obulungi eriyo abaleetereyo ku yo eky'okulya, wabula atambule nga yeegendereza tewali muntu n'omu asaanidde kubamanya.
وَٱصۡبِرۡ نَفۡسَكَ مَعَ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ رَبَّهُم بِٱلۡغَدَوٰةِ وَٱلۡعَشِيِّ يُرِيدُونَ وَجۡهَهُۥۖ وَلَا تَعۡدُ عَيۡنَاكَ عَنۡهُمۡ تُرِيدُ زِينَةَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَا تُطِعۡ مَنۡ أَغۡفَلۡنَا قَلۡبَهُۥ عَن ذِكۡرِنَا وَٱتَّبَعَ هَوَىٰهُ وَكَانَ أَمۡرُهُۥ فُرُطٗا ﴿٢٨﴾
. Wenyweze nga obeera wamu n'abo abasaba Mukama Omulabirizi waabwe enkya n'olweggulo nga baluubirira kuba ku luddalwe, tobaggyako amaaso (nootunuulira babinojjo) nga ogenderera kufuna eby'okwewunda by'obulamu bwensi, era togondera oyo yenna gwe twagayaaza omutimagwe naatatwogerako naagoberera okwagalakwe embeera ye yonna neeba bwonoonyi.
وَدَخَلَ جَنَّتَهُۥ وَهُوَ ظَالِمٞ لِّنَفۡسِهِۦ قَالَ مَآ أَظُنُّ أَن تَبِيدَ هَٰذِهِۦٓ أَبَدٗا ﴿٣٥﴾
. Olwo nno naayingira ennimiro yye nga yeeyisizza bubi yennyini, naagamba nti sirowooza nti bino biyinza okuggwawo.
وَلَوۡلَآ إِذۡ دَخَلۡتَ جَنَّتَكَ قُلۡتَ مَا شَآءَ ٱللَّهُ لَا قُوَّةَ إِلَّا بِٱللَّهِۚ إِن تَرَنِ أَنَا۠ أَقَلَّ مِنكَ مَالٗا وَوَلَدٗا ﴿٣٩﴾
. Kale singa ggwe bwe wabadde oyingira ennimiroyo wagambye nti: ekyo kyonna Katonda kyaba ayagadde kyekiba, tewali maanyi okugyako nga Katonda y'agagabye, newaakubadde nga ondaba nga nze nnina emmaali ntono n'abaana batono obutenkana ggwe.
فَعَسَىٰ رَبِّيٓ أَن يُؤۡتِيَنِ خَيۡرٗا مِّن جَنَّتِكَ وَيُرۡسِلَ عَلَيۡهَا حُسۡبَانٗا مِّنَ ٱلسَّمَآءِ فَتُصۡبِحَ صَعِيدٗا زَلَقًا ﴿٤٠﴾
. Nina essuubi nti Mukama omulabirizi wange lumu alimpa ebirungi okusinga ennimiroyo ate naasindikira eyiyo kibuyaga okuva waggulu neekeesa enkya ttaka jjereere.
أَوۡ يُصۡبِحَ مَآؤُهَا غَوۡرٗا فَلَن تَسۡتَطِيعَ لَهُۥ طَلَبٗا ﴿٤١﴾
. Oba amazzi gaamu negafuuka gakkekwa n'oba nga tosobola kugazuula.
ٱلۡمَالُ وَٱلۡبَنُونَ زِينَةُ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَٱلۡبَٰقِيَٰتُ ٱلصَّـٰلِحَٰتُ خَيۡرٌ عِندَ رَبِّكَ ثَوَابٗا وَخَيۡرٌ أَمَلٗا ﴿٤٦﴾
. Emmaali n'abaana byakwewunda bya bulamu bwansi, emirimu emirungi egisigalawo gye gisinga obulungi ewa Mukama omulabiriziwo, okuba nga ye mpeera era nga lye ssuubi erisinga obulungi.
وَأَمَّا ٱلۡجِدَارُ فَكَانَ لِغُلَٰمَيۡنِ يَتِيمَيۡنِ فِي ٱلۡمَدِينَةِ وَكَانَ تَحۡتَهُۥ كَنزٞ لَّهُمَا وَكَانَ أَبُوهُمَا صَٰلِحٗا فَأَرَادَ رَبُّكَ أَن يَبۡلُغَآ أَشُدَّهُمَا وَيَسۡتَخۡرِجَا كَنزَهُمَا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۚ وَمَا فَعَلۡتُهُۥ عَنۡ أَمۡرِيۚ ذَٰلِكَ تَأۡوِيلُ مَا لَمۡ تَسۡطِع عَّلَيۡهِ صَبۡرٗا ﴿٨٢﴾
. Ate kyo ekisenge kyabadde kya balenzi babiri bamulekwa mu kibuga (ekyo), wansi waakyo waabaddeyo eby'ogugagga bya bombi era nga Kitaabwe wa bombi yali mulongoofu, olwo nno Mukama omulabiriziwo yayagala bombi okumala okusajjakula, olwo nno baggyeyo eby'obugagga byabwe bombi, ekyo nga kusaasira okuva eri Mukama Omulabiriziwo, era ssaakikoze lwa kusalawo kwange (wabula) bubaka obwavudde eri (Katonda), okwo nno kwe kunnyonnyola byotasobodde kugumiikiriza.
حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ مَغۡرِبَ ٱلشَّمۡسِ وَجَدَهَا تَغۡرُبُ فِي عَيۡنٍ حَمِئَةٖ وَوَجَدَ عِندَهَا قَوۡمٗاۖ قُلۡنَا يَٰذَا ٱلۡقَرۡنَيۡنِ إِمَّآ أَن تُعَذِّبَ وَإِمَّآ أَن تَتَّخِذَ فِيهِمۡ حُسۡنٗا ﴿٨٦﴾
. Okutuusa lwe yatuuka enjuba gyegwa, naagisanga nga erabika nga egwa mu luzzi olw'ettosi, era mu kitundu ekyo naasangayo abantu, netumugamba nti owange Dhul Karinaini, bwoba oyagadde osobola okubabonereza oba oyinza okubakolamu ekirungi.
قَالَ مَوۡعِدُكُمۡ يَوۡمُ ٱلزِّينَةِ وَأَن يُحۡشَرَ ٱلنَّاسُ ضُحٗى ﴿٥٩﴾
. (Musa) naagamba nti endagaano yammwe (tusisinkane) olunaku lw'okwenyiriza, era abantu balagirwanga okukungaana mu kalasa mayanzi.
وَلَا تَمُدَّنَّ عَيۡنَيۡكَ إِلَىٰ مَا مَتَّعۡنَا بِهِۦٓ أَزۡوَٰجٗا مِّنۡهُمۡ زَهۡرَةَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا لِنَفۡتِنَهُمۡ فِيهِۚ وَرِزۡقُ رَبِّكَ خَيۡرٞ وَأَبۡقَىٰ ﴿١٣١﴾
. Era totunuzanga amaaso go eri ebyo bye tweyagaza nabyo abaafumbiriganwa mu bo (abakaafiiri), nga bya kwewunda bya bulamu bwansi, tubakeme nabyo. Era bulijjo okugabirira kwa Mukama omulabiriziwo kwe kusinga obulungi era kwe kw'olubeerera.
بَلۡ نَقۡذِفُ بِٱلۡحَقِّ عَلَى ٱلۡبَٰطِلِ فَيَدۡمَغُهُۥ فَإِذَا هُوَ زَاهِقٞۚ وَلَكُمُ ٱلۡوَيۡلُ مِمَّا تَصِفُونَ ﴿١٨﴾
. Wabula tukasuka amazima ku bulimba negabuggyawo, olwo nno bwo nebuvaawo era mugenda kubonerezebwa olw'ebyo bye mwogera.
قَالُواْ فَأۡتُواْ بِهِۦ عَلَىٰٓ أَعۡيُنِ ٱلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَشۡهَدُونَ ﴿٦١﴾
. Nebagamba nti kale mumuleete mu maaso g'abantu bamuweeko obujulizi.
وَٱقۡتَرَبَ ٱلۡوَعۡدُ ٱلۡحَقُّ فَإِذَا هِيَ شَٰخِصَةٌ أَبۡصَٰرُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يَٰوَيۡلَنَا قَدۡ كُنَّا فِي غَفۡلَةٖ مِّنۡ هَٰذَا بَلۡ كُنَّا ظَٰلِمِينَ ﴿٩٧﴾
. Endagaano eya mazima neba nga esembedde olwo nno oligenda okulaba nga amaaso gaabo abaakaafuwala galalambadde (olw'entiisa nebagamba nti) zitusanze ekintu kino tubadde tukigayaaliridde si kyokka wabula tubadde tweyisa bubi.
قَٰلَ رَبِّ ٱحۡكُم بِٱلۡحَقِّۗ وَرَبُّنَا ٱلرَّحۡمَٰنُ ٱلۡمُسۡتَعَانُ عَلَىٰ مَا تَصِفُونَ ﴿١١٢﴾
. (Nabbi Muhammad) naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange salawo mu butuufu (wakati wange n'abo abannimbisa) era Mukama omulabirizi waffe omusaasizi ow'ekisa ekingi gwe tusaba obuyambi ku ebyo bye mwogera.
مَن كَانَ يَظُنُّ أَن لَّن يَنصُرَهُ ٱللَّهُ فِي ٱلدُّنۡيَا وَٱلۡأٓخِرَةِ فَلۡيَمۡدُدۡ بِسَبَبٍ إِلَى ٱلسَّمَآءِ ثُمَّ لۡيَقۡطَعۡ فَلۡيَنظُرۡ هَلۡ يُذۡهِبَنَّ كَيۡدُهُۥ مَا يَغِيظُ ﴿١٥﴾
. Omuntu alowooza nti Katonda tagenda kutaasa Mubakawe kuno ku nsi ne ku nkomerero kimugwanidde akasuke omuguwa waggulu ku kasolya oluvanyuma yeerippe (yeetuge) olwo nno alabe abaffe byakola bisobola okumuwonya byatayagala.
وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ تَعۡرِفُ فِي وُجُوهِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلۡمُنكَرَۖ يَكَادُونَ يَسۡطُونَ بِٱلَّذِينَ يَتۡلُونَ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِنَاۗ قُلۡ أَفَأُنَبِّئُكُم بِشَرّٖ مِّن ذَٰلِكُمُۚ ٱلنَّارُ وَعَدَهَا ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿٧٢﴾
. Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa nga binnyonnyofu olaba mu byenyi by'abo abaakaafuwala ekifaananyi ekitali kirungi, kumpi babuukire abo ababasomera ebigambo byaffe, bagambe nti abaffe mbabuulire ekibi okusinga abo, gwe muliro Katonda gwe yalagaanyisa abo abaakaafuwala era buddo obusinga okuba obubi.
مَا ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ مِن وَلَدٖ وَمَا كَانَ مَعَهُۥ مِنۡ إِلَٰهٍۚ إِذٗا لَّذَهَبَ كُلُّ إِلَٰهِۭ بِمَا خَلَقَ وَلَعَلَا بَعۡضُهُمۡ عَلَىٰ بَعۡضٖۚ سُبۡحَٰنَ ٱللَّهِ عَمَّا يَصِفُونَ ﴿٩١﴾
. Katonda teyeeteerangawo mwana era tawabangawo naye katonda mulala, singa bwe kyali buli katonda yandigenze ne bye yatonda era abamu baaliwambye bannaabwe. Katonda yeesambidde ddala ebyo bye boogera.
ٱدۡفَعۡ بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُ ٱلسَّيِّئَةَۚ نَحۡنُ أَعۡلَمُ بِمَا يَصِفُونَ ﴿٩٦﴾
. Ggyawo ekibi nga okozesa ekyo ekisinga obulungi, ffe tusinga okumanya ebyo bye boogera.
قُل لِّلۡمُؤۡمِنِينَ يَغُضُّواْ مِنۡ أَبۡصَٰرِهِمۡ وَيَحۡفَظُواْ فُرُوجَهُمۡۚ ذَٰلِكَ أَزۡكَىٰ لَهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ خَبِيرُۢ بِمَا يَصۡنَعُونَ ﴿٣٠﴾
. Gamba abakkiriza bakkakkanye ku maaso ga bwe, era bakuume obwereere bwa bwe, ekyo kye kisinga obutukuvu gye bali, mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.
وَقُل لِّلۡمُؤۡمِنَٰتِ يَغۡضُضۡنَ مِنۡ أَبۡصَٰرِهِنَّ وَيَحۡفَظۡنَ فُرُوجَهُنَّ وَلَا يُبۡدِينَ زِينَتَهُنَّ إِلَّا مَا ظَهَرَ مِنۡهَاۖ وَلۡيَضۡرِبۡنَ بِخُمُرِهِنَّ عَلَىٰ جُيُوبِهِنَّۖ وَلَا يُبۡدِينَ زِينَتَهُنَّ إِلَّا لِبُعُولَتِهِنَّ أَوۡ ءَابَآئِهِنَّ أَوۡ ءَابَآءِ بُعُولَتِهِنَّ أَوۡ أَبۡنَآئِهِنَّ أَوۡ أَبۡنَآءِ بُعُولَتِهِنَّ أَوۡ إِخۡوَٰنِهِنَّ أَوۡ بَنِيٓ إِخۡوَٰنِهِنَّ أَوۡ بَنِيٓ أَخَوَٰتِهِنَّ أَوۡ نِسَآئِهِنَّ أَوۡ مَا مَلَكَتۡ أَيۡمَٰنُهُنَّ أَوِ ٱلتَّـٰبِعِينَ غَيۡرِ أُوْلِي ٱلۡإِرۡبَةِ مِنَ ٱلرِّجَالِ أَوِ ٱلطِّفۡلِ ٱلَّذِينَ لَمۡ يَظۡهَرُواْ عَلَىٰ عَوۡرَٰتِ ٱلنِّسَآءِۖ وَلَا يَضۡرِبۡنَ بِأَرۡجُلِهِنَّ لِيُعۡلَمَ مَا يُخۡفِينَ مِن زِينَتِهِنَّۚ وَتُوبُوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ جَمِيعًا أَيُّهَ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ لَعَلَّكُمۡ تُفۡلِحُونَ ﴿٣١﴾
. Era gamba abakyala abakkiriza bakkakkanye ku maaso gaabwe era bakuume obwereere bwa bwe, era teboolesa eby'okwewunda bya bwe okugyako ebyo ebiba biteekwa okulabika, era bateekwa beebikkirire obukaaya bwa bwe (nga butuuka) ku bifuba bya bwe, era teboolesa bya kwewunda bya bwe okugyako eri ba bbaabwe, oba ba kitaabwe, oba ba taata ba ba bbaabwe ,oba abaana baabwe, oba abaana ba ba bbaabwe, oba bannyinaabwe, oba abaana ba bannyinaabwe, oba abaana ba baganda baabwe, oba abakyala nga bbo, oba abo abaddu emikono gya bwe egyaddyo be gyafuna, oba abaweereza abalala abasajja abatakyalina bwetaavu eri bakyala, oba abaana abato abatalabanga ku bwereere bwa bakyala, era (abakyala abakkiriza bwe baba batambula) tebakuba bigere bya bwe kibe nga kituuka okumanyika ekyo kye bakusise mu by'okwewunda bya bwe. Mwenna mwenenyeze Katonda abange mmwe abakkiriza kibayambe okutuuka ku buwanguzi.
لِيَجۡزِيَهُمُ ٱللَّهُ أَحۡسَنَ مَا عَمِلُواْ وَيَزِيدَهُم مِّن فَضۡلِهِۦۗ وَٱللَّهُ يَرۡزُقُ مَن يَشَآءُ بِغَيۡرِ حِسَابٖ ﴿٣٨﴾
. Olwo nno Katonda abasasule ebirungi by'ebyo bye baakola era abongeze mu birungibye, bulijjo Katonda agabirira oyo gwaba ayagadde awatali kubalirira.
وَإِذَا رَأَوۡكَ إِن يَتَّخِذُونَكَ إِلَّا هُزُوًا أَهَٰذَا ٱلَّذِي بَعَثَ ٱللَّهُ رَسُولًا ﴿٤١﴾
. Era bwe baba bakulabye tebalina ngeri gye bakulaba okugyako ekyokujeeja obujeeja (nga bwe bagamba) nti ono yooyo Katonda gwatumye nga Mubaka!.
وَٱلَّذِينَ يَقُولُونَ رَبَّنَا هَبۡ لَنَا مِنۡ أَزۡوَٰجِنَا وَذُرِّيَّـٰتِنَا قُرَّةَ أَعۡيُنٖ وَٱجۡعَلۡنَا لِلۡمُتَّقِينَ إِمَامًا ﴿٧٤﴾
. Era beebo abagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe, tuwe nga oggya mu betwafumbiriganwa nabo era nga oggya ne mu zadde lyaffe ekitebenkeza amaaso gaffe, era otufuule abakulembeze baabo abakutya.
ٱلَّذِي يَرَىٰكَ حِينَ تَقُومُ ﴿٢١٨﴾
. Oyo akulaba woobeerera nga oyimiridde (mu kusaala).
وَتَقَلُّبَكَ فِي ٱلسَّـٰجِدِينَ ﴿٢١٩﴾
. Era n'alaba okwekyusakyusakwo mu bavunnama.
وَأَلۡقِ عَصَاكَۚ فَلَمَّا رَءَاهَا تَهۡتَزُّ كَأَنَّهَا جَآنّٞ وَلَّىٰ مُدۡبِرٗا وَلَمۡ يُعَقِّبۡۚ يَٰمُوسَىٰ لَا تَخَفۡ إِنِّي لَا يَخَافُ لَدَيَّ ٱلۡمُرۡسَلُونَ ﴿١٠﴾
. Era suula omuggogwo, bwe yagulaba nga gwenyeenya nga gulinga akasota akatono yakyuka nadduka era nga tayagala kudda, (Katonda kwe kumukoowoola nti) owange Musa totya mazima nze ababaka tebatya mu maaso gange.
وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ وَسُلَيۡمَٰنَ عِلۡمٗاۖ وَقَالَا ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي فَضَّلَنَا عَلَىٰ كَثِيرٖ مِّنۡ عِبَادِهِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١٥﴾
. Era mazima twawa Dauda ne Sulaiman okumanya era ne bagamba nti atenderezebwa Katonda oyo eyatusukkulumya ku bangi mu baddube abakkiriza.
وَوَرِثَ سُلَيۡمَٰنُ دَاوُۥدَۖ وَقَالَ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ عُلِّمۡنَا مَنطِقَ ٱلطَّيۡرِ وَأُوتِينَا مِن كُلِّ شَيۡءٍۖ إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ ٱلۡفَضۡلُ ٱلۡمُبِينُ ﴿١٦﴾
. Era Sulaiman yasikira Dauda naagamba nti abange mmwe abantu tuyigiriziddwa olulimi lw'ebinyonyi era tuweereddwa ku buli kintu mazima kino bwe bulungi obweyolefu.
فَتَبَسَّمَ ضَاحِكٗا مِّن قَوۡلِهَا وَقَالَ رَبِّ أَوۡزِعۡنِيٓ أَنۡ أَشۡكُرَ نِعۡمَتَكَ ٱلَّتِيٓ أَنۡعَمۡتَ عَلَيَّ وَعَلَىٰ وَٰلِدَيَّ وَأَنۡ أَعۡمَلَ صَٰلِحٗا تَرۡضَىٰهُ وَأَدۡخِلۡنِي بِرَحۡمَتِكَ فِي عِبَادِكَ ٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿١٩﴾
. Mu kiseera ekyo (Sulaiman) naamwenya ng'ate aseka olw'ekigambo kyayo era naagamba nti: ayi Mukama omulabirizi wange, nyamba mbe nga nsobola okwebaza ebyengerabyo ebyo bye wangabira era n'ebyo bye wagabira bakadde bange bombi era mbe nga nkola ebirungi byosiima era ku lw'okusaasirakwo onnyingize mu baddubo abalongoofu.
إِنِّي وَجَدتُّ ٱمۡرَأَةٗ تَمۡلِكُهُمۡ وَأُوتِيَتۡ مِن كُلِّ شَيۡءٖ وَلَهَا عَرۡشٌ عَظِيمٞ ﴿٢٣﴾
. Mazima nze nnasanze nga omukyala y'abafuga ate nga yaweebwa buli kintu, era alina namulondo empitirivu.
۞قَالَ سَنَنظُرُ أَصَدَقۡتَ أَمۡ كُنتَ مِنَ ٱلۡكَٰذِبِينَ ﴿٢٧﴾
. (Sulaiman) naagamba nti tujja kulaba oyogedde mazima oba oli mu balimba.