quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 2)

288 Aya · Emitwe · lg

An-Nisa 4:113

وَلَوۡلَا فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكَ وَرَحۡمَتُهُۥ لَهَمَّت طَّآئِفَةٞ مِّنۡهُمۡ أَن يُضِلُّوكَ وَمَا يُضِلُّونَ إِلَّآ أَنفُسَهُمۡۖ وَمَا يَضُرُّونَكَ مِن شَيۡءٖۚ وَأَنزَلَ ٱللَّهُ عَلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَعَلَّمَكَ مَا لَمۡ تَكُن تَعۡلَمُۚ وَكَانَ فَضۡلُ ٱللَّهِ عَلَيۡكَ عَظِيمٗا ﴿١١٣﴾

Singa si kisa kya Katonda n'okusaasirakwe bya kulinako, (Ggwe Muhammad) ekibiina mu bo kyaliyagadde okukubuza, byonna byebakola beebuza bokka, tebayinza kukutuusako kabi konna nga Katonda assa ku ggwe ekitabo (Kur’ani) n’ebigambo ebya magezi (Hadith) era nga yakumanyisa n'ebyo byewali tomanyi era bulijjo e birungi bya Katonda byakuwa bingi nnyo.

An-Nisa 4:141

ٱلَّذِينَ يَتَرَبَّصُونَ بِكُمۡ فَإِن كَانَ لَكُمۡ فَتۡحٞ مِّنَ ٱللَّهِ قَالُوٓاْ أَلَمۡ نَكُن مَّعَكُمۡ وَإِن كَانَ لِلۡكَٰفِرِينَ نَصِيبٞ قَالُوٓاْ أَلَمۡ نَسۡتَحۡوِذۡ عَلَيۡكُمۡ وَنَمۡنَعۡكُم مِّنَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَۚ فَٱللَّهُ يَحۡكُمُ بَيۡنَكُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ وَلَن يَجۡعَلَ ٱللَّهُ لِلۡكَٰفِرِينَ عَلَى ٱلۡمُؤۡمِنِينَ سَبِيلًا ﴿١٤١﴾

(Era Abannanfusi) beebo bulijjo abalindirira ekintu ekinaatuuka ku mmwe, bwemufuna obuwanguzi okuva ewa Katonda bagamba nti bulijjo tetuli nammwe, abakafiiri bwebaba nga beebafunyeeyo ku buwanguzi babagamba nti tetwabayamba netubataasa ku bakkiriza, wabula Katonda agenda kulamula wakati wa mmwe ku lunaku lw’enkomerero, ate nga Katonda tagenda kuwa Bakafiiri kkubo lyebayinza kuwanguliramu Bakkiriza.

Al-Ma'idah 5:45

وَكَتَبۡنَا عَلَيۡهِمۡ فِيهَآ أَنَّ ٱلنَّفۡسَ بِٱلنَّفۡسِ وَٱلۡعَيۡنَ بِٱلۡعَيۡنِ وَٱلۡأَنفَ بِٱلۡأَنفِ وَٱلۡأُذُنَ بِٱلۡأُذُنِ وَٱلسِّنَّ بِٱلسِّنِّ وَٱلۡجُرُوحَ قِصَاصٞۚ فَمَن تَصَدَّقَ بِهِۦ فَهُوَ كَفَّارَةٞ لَّهُۥۚ وَمَن لَّمۡ يَحۡكُم بِمَآ أَنزَلَ ٱللَّهُ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿٤٥﴾

Era (mu Taurat eyo) twabalaalikako nti mazima omuntu attibwa olwokutta omuntu, n’eriiso liggyibwamu olw’okugyamu eriiso, nennyindo esalwako olwokusala ennyindo y'omulala, n'okutu kusalwako olwokusala okutu kw'omuntu, n'erinnyo balikulamu olwokukuula erinnyo lyomuntu, n'ebiwundu bisasulwa. Wabula omuntu akisonyiwa kimubeerera e nsonga yo kumusonyiwa e bibibye. Era bulijjo omuntu yenna atalamuza Katonda bye yassa abo nno be bantu abeeyisa obubi.

Al-Ma'idah 5:83

وَإِذَا سَمِعُواْ مَآ أُنزِلَ إِلَى ٱلرَّسُولِ تَرَىٰٓ أَعۡيُنَهُمۡ تَفِيضُ مِنَ ٱلدَّمۡعِ مِمَّا عَرَفُواْ مِنَ ٱلۡحَقِّۖ يَقُولُونَ رَبَّنَآ ءَامَنَّا فَٱكۡتُبۡنَا مَعَ ٱلشَّـٰهِدِينَ ﴿٨٣﴾

Bwebaba bawulidde e byassibwa ku Mubaka, olaba amaaso gaabwe nga gakulukusa amaziga olwamazima gebaba bategedde nebagamba nti ayi Mukama Katonda waffe tukkirizza tuwandiike mu bajulizi.

Al-An'am 6:33

قَدۡ نَعۡلَمُ إِنَّهُۥ لَيَحۡزُنُكَ ٱلَّذِي يَقُولُونَۖ فَإِنَّهُمۡ لَا يُكَذِّبُونَكَ وَلَٰكِنَّ ٱلظَّـٰلِمِينَ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ يَجۡحَدُونَ ﴿٣٣﴾

Mazima tumanyi nti ddala bye boogera bikunyiiza, mazima ddala bo tebakulimbisa naye mazima ddala abeeyisa obubi e bigambo bya Katonda bye bawakanya.

Al-An'am 6:93

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّنِ ٱفۡتَرَىٰ عَلَى ٱللَّهِ كَذِبًا أَوۡ قَالَ أُوحِيَ إِلَيَّ وَلَمۡ يُوحَ إِلَيۡهِ شَيۡءٞ وَمَن قَالَ سَأُنزِلُ مِثۡلَ مَآ أَنزَلَ ٱللَّهُۗ وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذِ ٱلظَّـٰلِمُونَ فِي غَمَرَٰتِ ٱلۡمَوۡتِ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ بَاسِطُوٓاْ أَيۡدِيهِمۡ أَخۡرِجُوٓاْ أَنفُسَكُمُۖ ٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَوۡنَ عَذَابَ ٱلۡهُونِ بِمَا كُنتُمۡ تَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ غَيۡرَ ٱلۡحَقِّ وَكُنتُمۡ عَنۡ ءَايَٰتِهِۦ تَسۡتَكۡبِرُونَ ﴿٩٣﴾

Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ayogera ku Katonda e bigambo e byo bulimba, oba naagamba nti nnaweebwa obubaka so nga taweebwanga bubaka bwonna, era ani mubi okusinga oyo agamba nti njakuleeta e bigambo e bifaanana n'ebyo Katonda bye yassa! naye n’omala olaba e kiseera abeeyisa obubi bwe babeera mu bulumi bw'okufa nga ba Malayika bagolodde e mikono gyabwe (nga bwebagamba nti,) muggyemu e myoyo gyammwe, olwaleero luno mugenda kusasulwa e bibonerezo e binyoomesa olw'ebyo bye mwayogeranga ku Katonda e byobutaliimu, e kyabatuusa okwekuza nemuva ku bigambo bye.

Al-An'am 6:103

لَّا تُدۡرِكُهُ ٱلۡأَبۡصَٰرُ وَهُوَ يُدۡرِكُ ٱلۡأَبۡصَٰرَۖ وَهُوَ ٱللَّطِيفُ ٱلۡخَبِيرُ ﴿١٠٣﴾

Amaaso tegasobola kumulaba, so nga ate ye agalaba n’amalayo e bintu byonna, anti ye Katonda alina obusobozi bw’okumanya buli kintu atalina kiyinza kumwekweka.

Al-An'am 6:110

وَنُقَلِّبُ أَفۡـِٔدَتَهُمۡ وَأَبۡصَٰرَهُمۡ كَمَا لَمۡ يُؤۡمِنُواْ بِهِۦٓ أَوَّلَ مَرَّةٖ وَنَذَرُهُمۡ فِي طُغۡيَٰنِهِمۡ يَعۡمَهُونَ ﴿١١٠﴾

Tugenda kukyusa e mitima gyabwe n'okulaba kwabwe nga nabo bwe batakkiriza (Kur’ani) mu kusooka era tubaleke mu bubuze bwa bwe nga babulubuuta.

Al-An'am 6:139

وَقَالُواْ مَا فِي بُطُونِ هَٰذِهِ ٱلۡأَنۡعَٰمِ خَالِصَةٞ لِّذُكُورِنَا وَمُحَرَّمٌ عَلَىٰٓ أَزۡوَٰجِنَاۖ وَإِن يَكُن مَّيۡتَةٗ فَهُمۡ فِيهِ شُرَكَآءُۚ سَيَجۡزِيهِمۡ وَصۡفَهُمۡۚ إِنَّهُۥ حَكِيمٌ عَلِيمٞ ﴿١٣٩﴾

Era (abagatta ku Katonda e bintu e birala) baagamba nti amawako g’ebisolo gakkirizibwa kuliibwa basajja bokka mu ffe, era tegakkirizibwa bakyala baffe, naye (amawako ago) bwegavaamu nga gafudde olwo bonna bakkiziribwa okubirya, Katonda ajja kubasasula olw'okutetenkanya kwabwe okwo, anti mazima Katonda mugoba nsonga, muyitirizu wa kumanya.

Al-An'am 6:165

وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَكُمۡ خَلَـٰٓئِفَ ٱلۡأَرۡضِ وَرَفَعَ بَعۡضَكُمۡ فَوۡقَ بَعۡضٖ دَرَجَٰتٖ لِّيَبۡلُوَكُمۡ فِي مَآ ءَاتَىٰكُمۡۗ إِنَّ رَبَّكَ سَرِيعُ ٱلۡعِقَابِ وَإِنَّهُۥ لَغَفُورٞ رَّحِيمُۢ ﴿١٦٥﴾

Era yye yooyo eyabateekawo nga mujja musikira obuvunaanyizibwa ku nsi, era naasitula abamu ku mmwe mu madaala, olwo nno abenga abagezesa mu ebyo bye yabawa, mazima Mukama omulabirizi wo mwangu wa kubonereza, era mazima ddala yye musonyiyi nnyo musaasizi.

Al-A'raf 7:43

وَنَزَعۡنَا مَا فِي صُدُورِهِم مِّنۡ غِلّٖ تَجۡرِي مِن تَحۡتِهِمُ ٱلۡأَنۡهَٰرُۖ وَقَالُواْ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي هَدَىٰنَا لِهَٰذَا وَمَا كُنَّا لِنَهۡتَدِيَ لَوۡلَآ أَنۡ هَدَىٰنَا ٱللَّهُۖ لَقَدۡ جَآءَتۡ رُسُلُ رَبِّنَا بِٱلۡحَقِّۖ وَنُودُوٓاْ أَن تِلۡكُمُ ٱلۡجَنَّةُ أُورِثۡتُمُوهَا بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٤٣﴾

Era tugenda kujja mu bifuba byabwe obukukuuzi bwonna, (balibeera mu jjana) nga ekulukutiramu e migga, era baligamba nti amatendo gonna ga Katonda oyo eyatulungamya eri e kkubo erituuka eri kino, tetwali baakulungama singa Katonda teyatulungamya mazima ababaka ba Mukama omulabirizi waffe bye baaleeta mazima meereere, era balikowoolwa nti eyo e jjana mugifunye olw'ebyo bye mwaali mukola.

Al-A'raf 7:108

وَنَزَعَ يَدَهُۥ فَإِذَا هِيَ بَيۡضَآءُ لِلنَّـٰظِرِينَ ﴿١٠٨﴾

Era naggyayo omukonogwe, okugenda okulaba nga mweru eri buli atunula.

Al-A'raf 7:116

قَالَ أَلۡقُواْۖ فَلَمَّآ أَلۡقَوۡاْ سَحَرُوٓاْ أَعۡيُنَ ٱلنَّاسِ وَٱسۡتَرۡهَبُوهُمۡ وَجَآءُو بِسِحۡرٍ عَظِيمٖ ﴿١١٦﴾

Naagamba nti musseewo, bwe bassaawo baaloga amaaso g’abantu, era nebabatiisa nnyo, anti baaleeta e ddogo e pitirivu.

Al-A'raf 7:179

وَلَقَدۡ ذَرَأۡنَا لِجَهَنَّمَ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِۖ لَهُمۡ قُلُوبٞ لَّا يَفۡقَهُونَ بِهَا وَلَهُمۡ أَعۡيُنٞ لَّا يُبۡصِرُونَ بِهَا وَلَهُمۡ ءَاذَانٞ لَّا يَسۡمَعُونَ بِهَآۚ أُوْلَـٰٓئِكَ كَٱلۡأَنۡعَٰمِ بَلۡ هُمۡ أَضَلُّۚ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡغَٰفِلُونَ ﴿١٧٩﴾

Omuliro Jahannama twagutegekera bangi mu majinni ne mu Bantu, (kyova olaba) nti, balina e mitima naye tebagikozesa kutegeera, era balina amaaso gebatalabisa, era balina amatu gebatawuliza, abo nno balinga e bisolo, sinakindi bo b’e babuze okusinga e bisolo, abo nno be beesuulirayo ogwa nnagamba (ku bigambo bye ddiini).

Al-A'raf 7:195

أَلَهُمۡ أَرۡجُلٞ يَمۡشُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ أَيۡدٖ يَبۡطِشُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ أَعۡيُنٞ يُبۡصِرُونَ بِهَآۖ أَمۡ لَهُمۡ ءَاذَانٞ يَسۡمَعُونَ بِهَاۗ قُلِ ٱدۡعُواْ شُرَكَآءَكُمۡ ثُمَّ كِيدُونِ فَلَا تُنظِرُونِ ﴿١٩٥﴾

Abaffe balina amagulu nti gebatambuza, oba balina e mikono gye bakwasa, oba balina amaaso gebalabisa, oba balina amatu gebawuliza, gamba nti muyite bye musinza ne mubigatta ku Katonda, olwo nno munneekobaanire temunnindiriza.

Al-A'raf 7:198

وَإِن تَدۡعُوهُمۡ إِلَى ٱلۡهُدَىٰ لَا يَسۡمَعُواْۖ وَتَرَىٰهُمۡ يَنظُرُونَ إِلَيۡكَ وَهُمۡ لَا يُبۡصِرُونَ ﴿١٩٨﴾

Bwe mubakoowoola okujja eri obulungamu tebawulira, obalaba nga bakutunuulidde kyokka nga tebalaba.

Al-Anfal 8:6

يُجَٰدِلُونَكَ فِي ٱلۡحَقِّ بَعۡدَ مَا تَبَيَّنَ كَأَنَّمَا يُسَاقُونَ إِلَى ٱلۡمَوۡتِ وَهُمۡ يَنظُرُونَ ﴿٦﴾

Bakuwakanya ku kintu e kituufu (kyoliko), oluvanyuma lw'okuba nti kimaze okweyoleka, nebaba nga abawalulwa, nga batwalibwa eri okufa, nga batunula.

Al-Anfal 8:44

وَإِذۡ يُرِيكُمُوهُمۡ إِذِ ٱلۡتَقَيۡتُمۡ فِيٓ أَعۡيُنِكُمۡ قَلِيلٗا وَيُقَلِّلُكُمۡ فِيٓ أَعۡيُنِهِمۡ لِيَقۡضِيَ ٱللَّهُ أَمۡرٗا كَانَ مَفۡعُولٗاۗ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ ﴿٤٤﴾

Era jjukira Katonda bwe yababalaga nga batono mu maaso ga mmwe, bwe mwasisinkana, mmwe naabafuula batono mu maaso gaabwe, Katonda alyoke atuukirize ekyo kye yasalawo okukolebwa, era bulijjo e nsonga zonna ewa Katonda gye zizzibwa.

Al-Anfal 8:53

ذَٰلِكَ بِأَنَّ ٱللَّهَ لَمۡ يَكُ مُغَيِّرٗا نِّعۡمَةً أَنۡعَمَهَا عَلَىٰ قَوۡمٍ حَتَّىٰ يُغَيِّرُواْ مَا بِأَنفُسِهِمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ ﴿٥٣﴾

Ebyo ebituuse ku bakaafiiri (bibasaanira), anti mazima Katonda takyusa kyengera kyaba awadde bantu, okutuusa nga bo bennyini bakyusizza embeera zaabwe, era nga bulijjo mazima Katonda muyitirivu wa kuwulira, mumanyi nnyo.

At-Tawbah 9:8

كَيۡفَ وَإِن يَظۡهَرُواْ عَلَيۡكُمۡ لَا يَرۡقُبُواْ فِيكُمۡ إِلّٗا وَلَا ذِمَّةٗۚ يُرۡضُونَكُم بِأَفۡوَٰهِهِمۡ وَتَأۡبَىٰ قُلُوبُهُمۡ وَأَكۡثَرُهُمۡ فَٰسِقُونَ ﴿٨﴾

Ngeriki (bwe wayinza okubaawo e ndagaano wakati wa mmwe nabo) so nga bwe baba babawangudde tebafa ku ndagaano wadde oluganda lwe mulina nabo, babasiimiikiriza n’ebigambo bya bwe, so nga e mitima gy’abwe tegiri nammwe ng’ate abasinga obungi mu bo, boonoonyi.

At-Tawbah 9:50

إِن تُصِبۡكَ حَسَنَةٞ تَسُؤۡهُمۡۖ وَإِن تُصِبۡكَ مُصِيبَةٞ يَقُولُواْ قَدۡ أَخَذۡنَآ أَمۡرَنَا مِن قَبۡلُ وَيَتَوَلَّواْ وَّهُمۡ فَرِحُونَ ﴿٥٠﴾

Bwotuukibwako e kirungi, kibanakuwaza, ate bw’otuukibwako e kibi, bagamba nti, ffe ekyo twakirabirawo ne tukyekeengera, olwo nno nebadda mu maka gaabwe nga basanyufu.

At-Tawbah 9:51

قُل لَّن يُصِيبَنَآ إِلَّا مَا كَتَبَ ٱللَّهُ لَنَا هُوَ مَوۡلَىٰنَاۚ وَعَلَى ٱللَّهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُؤۡمِنُونَ ﴿٥١﴾

(Ggwe Muhammad) gamba nti tewali kitutuukako okugyako Katonda kye yatuwandiikako, yye, ye mutaasa waffe, abakkiriza Katonda yekka gwe bateekwa okwesiga,

At-Tawbah 9:55

فَلَا تُعۡجِبۡكَ أَمۡوَٰلُهُمۡ وَلَآ أَوۡلَٰدُهُمۡۚ إِنَّمَا يُرِيدُ ٱللَّهُ لِيُعَذِّبَهُم بِهَا فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَتَزۡهَقَ أَنفُسُهُمۡ وَهُمۡ كَٰفِرُونَ ﴿٥٥﴾

Emmaali yaabwe n’abaana baabwe tebikuyigula ttama, anti mazima Katonda ayagala kubabonereza nabyo mu bulamu obw'ensi, era batuuke okussa omukka ogusembayo nga bakaafiiri.

At-Tawbah 9:91

لَّيۡسَ عَلَى ٱلضُّعَفَآءِ وَلَا عَلَى ٱلۡمَرۡضَىٰ وَلَا عَلَى ٱلَّذِينَ لَا يَجِدُونَ مَا يُنفِقُونَ حَرَجٌ إِذَا نَصَحُواْ لِلَّهِ وَرَسُولِهِۦۚ مَا عَلَى ٱلۡمُحۡسِنِينَ مِن سَبِيلٖۚ وَٱللَّهُ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿٩١﴾

Abanafu n’abalwadde, n’abo abatasobola kufuna kye bawaayo, tewali kibavunaanwa kasita baba nga bakola ku lwa Katonda n’omubakawe, abakozi b’obulungi (ng’abo) tewali wooyita kubassaako musango, nga bulijjo Katonda musonyiyi, musaasizi.

At-Tawbah 9:98

وَمِنَ ٱلۡأَعۡرَابِ مَن يَتَّخِذُ مَا يُنفِقُ مَغۡرَمٗا وَيَتَرَبَّصُ بِكُمُ ٱلدَّوَآئِرَۚ عَلَيۡهِمۡ دَآئِرَةُ ٱلسَّوۡءِۗ وَٱللَّهُ سَمِيعٌ عَلِيمٞ ﴿٩٨﴾

Mu ba nnamalungu mulimu abo abalaba kye baba bawaddeyo kyonna mu kkubo lya Katonda nga kufiirwa era nga babaagaliza bizibu naye nga e bizibu bya kutuuka ku bo, (sso si ku mmwe), Katonda awulira nnyo era muyitirivu wa kumanya.

At-Tawbah 9:127

وَإِذَا مَآ أُنزِلَتۡ سُورَةٞ نَّظَرَ بَعۡضُهُمۡ إِلَىٰ بَعۡضٍ هَلۡ يَرَىٰكُم مِّنۡ أَحَدٖ ثُمَّ ٱنصَرَفُواْۚ صَرَفَ ٱللَّهُ قُلُوبَهُم بِأَنَّهُمۡ قَوۡمٞ لَّا يَفۡقَهُونَ ﴿١٢٧﴾

Era e ssuula bweba essiddwa abamu batunula ku bannaabwe (nga bagamba nti) abaffe waliwo omuntu yenna abalaba olwo nno ne beemulula, Katonda yakyusa e myoyo gya bwe kubanga bo bantu abatategeera.

At-Tawbah 9:128

لَقَدۡ جَآءَكُمۡ رَسُولٞ مِّنۡ أَنفُسِكُمۡ عَزِيزٌ عَلَيۡهِ مَا عَنِتُّمۡ حَرِيصٌ عَلَيۡكُم بِٱلۡمُؤۡمِنِينَ رَءُوفٞ رَّحِيمٞ ﴿١٢٨﴾

Omubaka yabajjira nga ava mu mmwe mwennyini nga kimuzitoowerera nnyo ekyo ekibakaluubiriza abalumirwa nnyo, era eri abakkiriza bonna wa kisa musaasizi.

At-Tawbah 9:129

فَإِن تَوَلَّوۡاْ فَقُلۡ حَسۡبِيَ ٱللَّهُ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ عَلَيۡهِ تَوَكَّلۡتُۖ وَهُوَ رَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡعَظِيمِ ﴿١٢٩﴾

Wabula kebava ku ebyo, gwe (Nabbi Muhammad) gamba nti Katonda ammala, tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, yye gwenneesiga era yye ye mufuzi wa Arish ey'ekitiibwa.

Yunus 10:43

وَمِنۡهُم مَّن يَنظُرُ إِلَيۡكَۚ أَفَأَنتَ تَهۡدِي ٱلۡعُمۡيَ وَلَوۡ كَانُواْ لَا يُبۡصِرُونَ ﴿٤٣﴾

Era mu bo mulimu akutunuulira naye abaffe ggwe osobola okulungamya ba muzibe wadde nga tebalaba!.

Yunus 10:101

قُلِ ٱنظُرُواْ مَاذَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَمَا تُغۡنِي ٱلۡأٓيَٰتُ وَٱلنُّذُرُ عَن قَوۡمٖ لَّا يُؤۡمِنُونَ ﴿١٠١﴾

Bagambe nti: mwetegereze ebiri mu ggulu (omusanvu) n'ensi naye obubonero n'okutiisa tebigasa bantu batakkiriza.

Yunus 10:107

وَإِن يَمۡسَسۡكَ ٱللَّهُ بِضُرّٖ فَلَا كَاشِفَ لَهُۥٓ إِلَّا هُوَۖ وَإِن يُرِدۡكَ بِخَيۡرٖ فَلَا رَآدَّ لِفَضۡلِهِۦۚ يُصِيبُ بِهِۦ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦۚ وَهُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ ﴿١٠٧﴾

Singa Mukama Katonda akutuusaako ekibi tewali ayinza kukikuggyako okugyako yye, ate singa aba akwagalizza kirungi teri ayinza kuzzaayo birungibye, abifunyisa oyo gwaba ayagadde mu baddube, era yye bulijjo ye musonyiyi, omusaasizi owa nnamaddala.

Hud 11:5

أَلَآ إِنَّهُمۡ يَثۡنُونَ صُدُورَهُمۡ لِيَسۡتَخۡفُواْ مِنۡهُۚ أَلَا حِينَ يَسۡتَغۡشُونَ ثِيَابَهُمۡ يَعۡلَمُ مَا يُسِرُّونَ وَمَا يُعۡلِنُونَۚ إِنَّهُۥ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿٥﴾

Abange mazima bbo (abatakkiriza) bakweka ebifuba byabwe babe nga beekweka Katonda, abange (mukimanye nti) ne mu kiseera webeebikkira engoye zaabwe Katonda amanya ebyo bye bakweka ne bye boolesa, anti mazima yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.

Hud 11:31

وَلَآ أَقُولُ لَكُمۡ عِندِي خَزَآئِنُ ٱللَّهِ وَلَآ أَعۡلَمُ ٱلۡغَيۡبَ وَلَآ أَقُولُ إِنِّي مَلَكٞ وَلَآ أَقُولُ لِلَّذِينَ تَزۡدَرِيٓ أَعۡيُنُكُمۡ لَن يُؤۡتِيَهُمُ ٱللَّهُ خَيۡرًاۖ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا فِيٓ أَنفُسِهِمۡ إِنِّيٓ إِذٗا لَّمِنَ ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٣١﴾

Era siyinza kubagamba (mmwe) nti nina amawanika ga Katonda, era simanyi byekusifu, sigamba nti mazima nze ndi Malayika era sigamba abo amaaso ga mmwe begatawa kitiibwa nti Katonda tagenda kubawa birungi, Katonda y'amanyidde ddala ebyo ebiri mu mitima gya bwe, n'olwekyo mazima nze nemmala nkikola ddala mbeera mu beeyisa obubi.

Yusuf 12:5

قَالَ يَٰبُنَيَّ لَا تَقۡصُصۡ رُءۡيَاكَ عَلَىٰٓ إِخۡوَتِكَ فَيَكِيدُواْ لَكَ كَيۡدًاۖ إِنَّ ٱلشَّيۡطَٰنَ لِلۡإِنسَٰنِ عَدُوّٞ مُّبِينٞ ﴿٥﴾

(Kitaawe Yakubu) naagamba nti owange Katabani kange, ekirooto kyo tokinyumiza bagandabo nebakukolera enkwe mazima, bulijjo Sitane ku muntu mulabe ow'olwatu.

Yusuf 12:6

وَكَذَٰلِكَ يَجۡتَبِيكَ رَبُّكَ وَيُعَلِّمُكَ مِن تَأۡوِيلِ ٱلۡأَحَادِيثِ وَيُتِمُّ نِعۡمَتَهُۥ عَلَيۡكَ وَعَلَىٰٓ ءَالِ يَعۡقُوبَ كَمَآ أَتَمَّهَا عَلَىٰٓ أَبَوَيۡكَ مِن قَبۡلُ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡحَٰقَۚ إِنَّ رَبَّكَ عَلِيمٌ حَكِيمٞ ﴿٦﴾

Mu ngeri y'emu Mukama omulabiriziwo agenda ku kulonda era akuyigirize okuvvuunula endooto era ajjulize abantu ba Yakub ekyengera kye, nga mu kusooka bwe yakijjulizza bakadde bo bombi Ibrahim ne Ishaka. Mazima Mukama omulabiriziwo mumanyi nnyo era mugobansonga.

Yusuf 12:7

۞لَّقَدۡ كَانَ فِي يُوسُفَ وَإِخۡوَتِهِۦٓ ءَايَٰتٞ لِّلسَّآئِلِينَ ﴿٧﴾

Mazima (mu kyafaayo kya) Yusuf ne bagandabe mulimu obujulizi eri ababuuza.

Yusuf 12:8

إِذۡ قَالُواْ لَيُوسُفُ وَأَخُوهُ أَحَبُّ إِلَىٰٓ أَبِينَا مِنَّا وَنَحۡنُ عُصۡبَةٌ إِنَّ أَبَانَا لَفِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ ﴿٨﴾

Jukira (baganda ba Yusuf) bwe baagamba nti kirabika Yusuf ne Mugandawe (bwe bazaalibwa mu nnyabwe) be baganzi ewa Kitaffe okusinga ffe ate nga tuli bangi, mazima Kitaffe ali mu bubuze obuyitirivu.

Yusuf 12:9

ٱقۡتُلُواْ يُوسُفَ أَوِ ٱطۡرَحُوهُ أَرۡضٗا يَخۡلُ لَكُمۡ وَجۡهُ أَبِيكُمۡ وَتَكُونُواْ مِنۢ بَعۡدِهِۦ قَوۡمٗا صَٰلِحِينَ ﴿٩﴾

(Omu n'aleeta ekiteeso nti) Yusuf mumutte oba mumukasuke mu nsi (etamanyiddwa) olwo mwekomye okwagalwa Kitammwe, era oluvanyuma lw'ekyo musobola okubeera abantu abalongoofu.

Yusuf 12:18

وَجَآءُو عَلَىٰ قَمِيصِهِۦ بِدَمٖ كَذِبٖۚ قَالَ بَلۡ سَوَّلَتۡ لَكُمۡ أَنفُسُكُمۡ أَمۡرٗاۖ فَصَبۡرٞ جَمِيلٞۖ وَٱللَّهُ ٱلۡمُسۡتَعَانُ عَلَىٰ مَا تَصِفُونَ ﴿١٨﴾

Nebajja nga batadde ku kyambalo kye omusaayi ogw'obulimba (Yakub naagamba nti) wabula emyoyo gya mmwe gyatetenkanyizza negilungiya ekintu kino gye muli. Obugumiikiriza bulungi era Katonda ye Muyambi ku ebyo bye mwogera.

Yusuf 12:21

وَقَالَ ٱلَّذِي ٱشۡتَرَىٰهُ مِن مِّصۡرَ لِٱمۡرَأَتِهِۦٓ أَكۡرِمِي مَثۡوَىٰهُ عَسَىٰٓ أَن يَنفَعَنَآ أَوۡ نَتَّخِذَهُۥ وَلَدٗاۚ وَكَذَٰلِكَ مَكَّنَّا لِيُوسُفَ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَلِنُعَلِّمَهُۥ مِن تَأۡوِيلِ ٱلۡأَحَادِيثِۚ وَٱللَّهُ غَالِبٌ عَلَىٰٓ أَمۡرِهِۦ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٢١﴾

Oyo eyamugula ow'emisiri naagamba mukyalawe nti mulabirire, muyise bulungi sinakindi ayinza okutugasa (mu maaso eyo) oba tumufuule omwana (Katonda kwe kugamba nti) bwe tutyo bwe twasobozesa Yusuf (A.S) okubeera mu nsi era tube nga tumuyigiriza okuvvuunula endooto. Era bulijjo Katonda ekigambokye kiwangula, wabula mazima abantu abasinga obungi tebamanyi.

Yusuf 12:31

فَلَمَّا سَمِعَتۡ بِمَكۡرِهِنَّ أَرۡسَلَتۡ إِلَيۡهِنَّ وَأَعۡتَدَتۡ لَهُنَّ مُتَّكَـٔٗا وَءَاتَتۡ كُلَّ وَٰحِدَةٖ مِّنۡهُنَّ سِكِّينٗا وَقَالَتِ ٱخۡرُجۡ عَلَيۡهِنَّۖ فَلَمَّا رَأَيۡنَهُۥٓ أَكۡبَرۡنَهُۥ وَقَطَّعۡنَ أَيۡدِيَهُنَّ وَقُلۡنَ حَٰشَ لِلَّهِ مَا هَٰذَا بَشَرًا إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا مَلَكٞ كَرِيمٞ ﴿٣١﴾

Omukyala bwe yawulira e bigambo abakyala bye basaasaanya, yabatumira naabategekera ekifo aw'okutuula buli omu naamuwa akambe naagamba nti: (Yusuf) fuluma ogende gye bali, bwe baamulaba ne bamutendereza ne beesala engalo, era nebagamba nti: ono ssi muntu ono tali okugyako Malayika ow'ekitiibwa.

Yusuf 12:38

وَٱتَّبَعۡتُ مِلَّةَ ءَابَآءِيٓ إِبۡرَٰهِيمَ وَإِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَۚ مَا كَانَ لَنَآ أَن نُّشۡرِكَ بِٱللَّهِ مِن شَيۡءٖۚ ذَٰلِكَ مِن فَضۡلِ ٱللَّهِ عَلَيۡنَا وَعَلَى ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَشۡكُرُونَ ﴿٣٨﴾

Era nengoberera eddiini ya bakadde bange Ibrahim ne Ishaka ne Yakub, teki kusaanirangako kugatta ku Katonda kintu kyonna. Byonna ebyo bye bimu ku birungi bya Katonda bye yatugabira era bye yagabira abantu abalala. Naye abantu abasinga obungi tebeebaza.

Yusuf 12:67

وَقَالَ يَٰبَنِيَّ لَا تَدۡخُلُواْ مِنۢ بَابٖ وَٰحِدٖ وَٱدۡخُلُواْ مِنۡ أَبۡوَٰبٖ مُّتَفَرِّقَةٖۖ وَمَآ أُغۡنِي عَنكُم مِّنَ ٱللَّهِ مِن شَيۡءٍۖ إِنِ ٱلۡحُكۡمُ إِلَّا لِلَّهِۖ عَلَيۡهِ تَوَكَّلۡتُۖ وَعَلَيۡهِ فَلۡيَتَوَكَّلِ ٱلۡمُتَوَكِّلُونَ ﴿٦٧﴾

Era naagamba nti abange baana bange (bwe mutuukayo) temuyingirira mu mulyango gumu, wabula muyingirire mu milyango gya njawulo, (ngambye ntyo) wabula sisobola kubamalira kintu kyonna ewa Katonda anti okulamula kwonna tekulina gye kuli okugyako ewa Katonda, ye yekka gwe nneesize, anti abeesiga bonna ye yekka gwe bateekwa okwesiga.

Yusuf 12:68

وَلَمَّا دَخَلُواْ مِنۡ حَيۡثُ أَمَرَهُمۡ أَبُوهُم مَّا كَانَ يُغۡنِي عَنۡهُم مِّنَ ٱللَّهِ مِن شَيۡءٍ إِلَّا حَاجَةٗ فِي نَفۡسِ يَعۡقُوبَ قَضَىٰهَاۚ وَإِنَّهُۥ لَذُو عِلۡمٖ لِّمَا عَلَّمۡنَٰهُ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٦٨﴾

Bwe baayingira nga Kitaabwe bwe yabalagira ekitaali kya kubagasa kintu kyonna ewa Katonda okugyako okutuukiriza ekyetaago ekyali mu mutima gwa Yakub, era mazima yye yamanyira ddala bye twamuyigiriza naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi.

Yusuf 12:69

وَلَمَّا دَخَلُواْ عَلَىٰ يُوسُفَ ءَاوَىٰٓ إِلَيۡهِ أَخَاهُۖ قَالَ إِنِّيٓ أَنَا۠ أَخُوكَ فَلَا تَبۡتَئِسۡ بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿٦٩﴾

Bwe baayingira awaali Yusuf yasembeza gyali Mugandawe naagamba nti: mazima ddala nze Mugandawo (eyabula) kale nno tonakuwala olw'ebyo bye baakolanga.

Yusuf 12:77

۞قَالُوٓاْ إِن يَسۡرِقۡ فَقَدۡ سَرَقَ أَخٞ لَّهُۥ مِن قَبۡلُۚ فَأَسَرَّهَا يُوسُفُ فِي نَفۡسِهِۦ وَلَمۡ يُبۡدِهَا لَهُمۡۚ قَالَ أَنتُمۡ شَرّٞ مَّكَانٗاۖ وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا تَصِفُونَ ﴿٧٧﴾

Nebagamba nti (Biniyamini) bwaba abbye Mugandawe yabba dda, Yusuf naakyesigaliza mu mutimagwe naatabaatulira, naagamba mmwe babi okusinga, era Katonda y'asinga okumanya ebyo bye mwogera.

Yusuf 12:84

وَتَوَلَّىٰ عَنۡهُمۡ وَقَالَ يَـٰٓأَسَفَىٰ عَلَىٰ يُوسُفَ وَٱبۡيَضَّتۡ عَيۡنَاهُ مِنَ ٱلۡحُزۡنِ فَهُوَ كَظِيمٞ ﴿٨٤﴾

Awo nno naabaviira era naagamba nti: ndabye n'omwana wange Yusuf, amaasoge negatukula olw'obunakuwavu, era nga yye munyiikaavu.

Yusuf 12:89

قَالَ هَلۡ عَلِمۡتُم مَّا فَعَلۡتُم بِيُوسُفَ وَأَخِيهِ إِذۡ أَنتُمۡ جَٰهِلُونَ ﴿٨٩﴾

(Yusuf) naagamba nti: mumanyi ekyo kye mwakola Yusuf ne Mugandawe nga temumanyi (bigenda kuddirira).

Yusuf 12:90

قَالُوٓاْ أَءِنَّكَ لَأَنتَ يُوسُفُۖ قَالَ أَنَا۠ يُوسُفُ وَهَٰذَآ أَخِيۖ قَدۡ مَنَّ ٱللَّهُ عَلَيۡنَآۖ إِنَّهُۥ مَن يَتَّقِ وَيَصۡبِرۡ فَإِنَّ ٱللَّهَ لَا يُضِيعُ أَجۡرَ ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿٩٠﴾

Nebagamba nti mazima ddala ggwe Yusuf, naagamba nti nze Yusuf era ono Muganda wange, Katonda yatugonnomolako ebyengera era anti mazima omuntu atya Katonda era naagumiikiriza mazima Katonda tayinza butasasula bakozi ba bulungi.

Yusuf 12:91

قَالُواْ تَٱللَّهِ لَقَدۡ ءَاثَرَكَ ٱللَّهُ عَلَيۡنَا وَإِن كُنَّا لَخَٰطِـِٔينَ ﴿٩١﴾

Nebagamba nti tulayira Katonda nti mazima Katonda yakuwa enkizo ku ffe, era mazima mu byonna bye twakola twali basobya.

Emitwe