quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 3)

240 Aya · Emitwe · lg

Al-Jathiyah 45:23

أَفَرَءَيۡتَ مَنِ ٱتَّخَذَ إِلَٰهَهُۥ هَوَىٰهُ وَأَضَلَّهُ ٱللَّهُ عَلَىٰ عِلۡمٖ وَخَتَمَ عَلَىٰ سَمۡعِهِۦ وَقَلۡبِهِۦ وَجَعَلَ عَلَىٰ بَصَرِهِۦ غِشَٰوَةٗ فَمَن يَهۡدِيهِ مِنۢ بَعۡدِ ٱللَّهِۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ ﴿٢٣﴾

Abaffe olabye oyo okwagalakwe nga kwafuula Katonda we, Katonda naamubuza awamu n’okuba nti (omuntu oyo) amanyi ekituufu era naazibikira amatuuge n'omutimagwe, era nassa ku maasoge ekibikka, olwo nno ate ani ayinza okumulungamya oluvanyuma lwa Katonda (okumutusa awo), abaffe temwebulirira!.

An-Najm 53:5

عَلَّمَهُۥ شَدِيدُ ٱلۡقُوَىٰ ﴿٥﴾

Yabimuyigiriza owamaanyi amayitirivu (Malayika Jiburilu).

An-Najm 53:30

ذَٰلِكَ مَبۡلَغُهُم مِّنَ ٱلۡعِلۡمِۚ إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعۡلَمُ بِمَن ضَلَّ عَن سَبِيلِهِۦ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِمَنِ ٱهۡتَدَىٰ ﴿٣٠﴾

Ekyo kye kikomo kyabwe mu kumanya mazima Mukama omulabirizi wo yaasinga okumanya oyo abula naava ku kkubo lye era yaasinga okumanya oyo alungama.

Al-Qamar 54:5

حِكۡمَةُۢ بَٰلِغَةٞۖ فَمَا تُغۡنِ ٱلنُّذُرُ ﴿٥﴾

(Kur’ani eno) ejjudde amagezi etuukira ddala wala omuntu, (ekyekitalo) okutiisa kwokka tekumala (kwetagisaako okulungamya kwa Katonda).

Ar-Rahman 55:1

ٱلرَّحۡمَٰنُ ﴿١﴾

(Katonda) omusaasizi ennyo.

Ar-Rahman 55:2

عَلَّمَ ٱلۡقُرۡءَانَ ﴿٢﴾

Yayigiriza (omuntu) Kur’ani.

Ar-Rahman 55:3

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ ﴿٣﴾

Yatonda omuntu.

Al-Mujadila 58:11

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا قِيلَ لَكُمۡ تَفَسَّحُواْ فِي ٱلۡمَجَٰلِسِ فَٱفۡسَحُواْ يَفۡسَحِ ٱللَّهُ لَكُمۡۖ وَإِذَا قِيلَ ٱنشُزُواْ فَٱنشُزُواْ يَرۡفَعِ ٱللَّهُ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنكُمۡ وَٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ دَرَجَٰتٖۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ خَبِيرٞ ﴿١١﴾

Abange mmwe abakkiriza bwe muba mugambiddwa nti mwefunze mu ntuula (ne banammwe bafune ebifo) mukikole. Katonda ajja ku basobozesa okugaziwa, ate bwe muba mugambiddwa okusituka (okuva mu kifo olwensonga yonna) musituke, anti Katonda asitula amadaala mu mmwe abakkiriza n'abo abaweebwa okumanya. Bulijjo Katonda mumanyi nnyo webyo byonna byemukola.

Al-Jumu'ah 62:2

هُوَ ٱلَّذِي بَعَثَ فِي ٱلۡأُمِّيِّـۧنَ رَسُولٗا مِّنۡهُمۡ يَتۡلُواْ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتِهِۦ وَيُزَكِّيهِمۡ وَيُعَلِّمُهُمُ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡحِكۡمَةَ وَإِن كَانُواْ مِن قَبۡلُ لَفِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ ﴿٢﴾

Yye yooyo eyatuma eri abo abataamanya kusoma na kuwandiika omubaka (Muhammad) nga ava mu bo ng'abasomera e bigambo bya Katonda era nga abatukuza (okubajja mu bukafiiri) era nga abayigiriza ekitabo (Kur'ani) n'ebiva mu Hadith so nga oluberyeberye (nga Nabbi tannatumwa) baali mu bubuze obw'olwatu.

Al-'Alaq 96:1

ٱقۡرَأۡ بِٱسۡمِ رَبِّكَ ٱلَّذِي خَلَقَ ﴿١﴾

Soma ng'otandika ne linnya lya mukamawo oyo eyatonda (buli kintu).

Al-'Alaq 96:2

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِنۡ عَلَقٍ ﴿٢﴾

Yatonda omuntu nga amuggya mu kisaayisaayi.

Al-'Alaq 96:3

ٱقۡرَأۡ وَرَبُّكَ ٱلۡأَكۡرَمُ ﴿٣﴾

Soma, kuba Omulezi wo (Katonda) ye mugabi asinga.

Al-'Alaq 96:4

ٱلَّذِي عَلَّمَ بِٱلۡقَلَمِ ﴿٤﴾

Oyo eyayigiriza omuntu okuwandiika n'ekkalaamu.

Al-'Alaq 96:5

عَلَّمَ ٱلۡإِنسَٰنَ مَا لَمۡ يَعۡلَمۡ ﴿٥﴾

Yayigiriza omuntu ebyo (omuntu) bye yali tamanyi.

Al-Ahzab 33:34

وَٱذۡكُرۡنَ مَا يُتۡلَىٰ فِي بُيُوتِكُنَّ مِنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ وَٱلۡحِكۡمَةِۚ إِنَّ ٱللَّهَ كَانَ لَطِيفًا خَبِيرًا ﴿٣٤﴾

. Era mujjukirenga ebyo ebisomerwa mu mayumba gammwe mu bigambo bya Katonda n’ebigambo eby'amagezi (Hadith za Nabbi), mazima bulijjo Katonda akwata bulungi (abaddu) ate nga amanyi byonna ebibafaako.

Al-An'am 6:25

وَمِنۡهُم مَّن يَسۡتَمِعُ إِلَيۡكَۖ وَجَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۚ وَإِن يَرَوۡاْ كُلَّ ءَايَةٖ لَّا يُؤۡمِنُواْ بِهَاۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءُوكَ يُجَٰدِلُونَكَ يَقُولُ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّآ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿٢٥﴾

Era mu bo mulimu abawulira byoyogera, naye nga ku mitima gyabwe twassaako e kibikka ne batasobola kubitegeera n’amatu gaabwe ne tuteekamu e nvumbo, ne bwebalaba e kyamagero kyonna tebakikkiriza, ne batuusa okujja gyali nga bakuwakanya abo abaakaafuwala ne bagamba nti (byonna byayigiriza) tebirina kye biri okugyako okuba nti nfumo z’abedda.

At-Tawbah 9:87

رَضُواْ بِأَن يَكُونُواْ مَعَ ٱلۡخَوَالِفِ وَطُبِعَ عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ فَهُمۡ لَا يَفۡقَهُونَ ﴿٨٧﴾

Baasiima okubeera awamu n’abaasigala. Emitima gyabwe negizibikirwa, ne baba nga tebasobola kutegeera.

Al-Kahf 18:93

حَتَّىٰٓ إِذَا بَلَغَ بَيۡنَ ٱلسَّدَّيۡنِ وَجَدَ مِن دُونِهِمَا قَوۡمٗا لَّا يَكَادُونَ يَفۡقَهُونَ قَوۡلٗا ﴿٩٣﴾

. Okutuusa lwe yatuuka wakati w'ensozi ebbiri, naasanga wakati wa zombiriri abantu, kumpi nga tebategeera kigambo kyonna.

Al-Baqarah 2:63

وَإِذۡ أَخَذۡنَا مِيثَٰقَكُمۡ وَرَفَعۡنَا فَوۡقَكُمُ ٱلطُّورَ خُذُواْ مَآ ءَاتَيۡنَٰكُم بِقُوَّةٖ وَٱذۡكُرُواْ مَا فِيهِ لَعَلَّكُمۡ تَتَّقُونَ ﴿٦٣﴾

Era mujjukire (mmwe abaana ba Israel) lwe twabakozesa e ndagaano. Netuwanika waggulu wa mmwe olusozi (ne tubagamba nti) mukwate namaanyi ebyo byetubawadde (Taurat). Era mujjukire ebyo ebiri mu yo mulyoke mubeere abatya Katonda.

Al-Baqarah 2:152

فَٱذۡكُرُونِيٓ أَذۡكُرۡكُمۡ وَٱشۡكُرُواْ لِي وَلَا تَكۡفُرُونِ ﴿١٥٢﴾

Kale nno munzijukire nga munjogerako. Nja kubajjukira. Era munneebaze, temunjeemeranga.

Al-Baqarah 2:235

وَلَا جُنَاحَ عَلَيۡكُمۡ فِيمَا عَرَّضۡتُم بِهِۦ مِنۡ خِطۡبَةِ ٱلنِّسَآءِ أَوۡ أَكۡنَنتُمۡ فِيٓ أَنفُسِكُمۡۚ عَلِمَ ٱللَّهُ أَنَّكُمۡ سَتَذۡكُرُونَهُنَّ وَلَٰكِن لَّا تُوَاعِدُوهُنَّ سِرًّا إِلَّآ أَن تَقُولُواْ قَوۡلٗا مَّعۡرُوفٗاۚ وَلَا تَعۡزِمُواْ عُقۡدَةَ ٱلنِّكَاحِ حَتَّىٰ يَبۡلُغَ ٱلۡكِتَٰبُ أَجَلَهُۥۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ يَعۡلَمُ مَا فِيٓ أَنفُسِكُمۡ فَٱحۡذَرُوهُۚ وَٱعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ غَفُورٌ حَلِيمٞ ﴿٢٣٥﴾

Era temulina musango olw'ekyo kyemuba mukoze nga temwatudde nga mugenderera okwogereza abakyala (abo) oba kyemuba mukwese mu mitima gyammwe. Katonda amanyi nti mujja kwogera nabo (kunsonga y'okubawasa) naye temubalagaanyisanga mukyama mu ngeri yaakukukuta, okugyako nga mubagamba ebigambo ebirungi. Temwetantalanga kukola ndagaano y'abufumbo n'abakyala abo (abali mu Idda) okutuusa ebbanga (lya Idda) nga liweddeko. Era musaana mumanye nti mazima Katonda amanyi ebiri mu myoyo gyammwe. Mumwegendereze awamu n'ekyo mumanye nti muyitirivu waakusonyiwa era waakisa kingi.

Al-An'am 6:80

وَحَآجَّهُۥ قَوۡمُهُۥۚ قَالَ أَتُحَـٰٓجُّوٓنِّي فِي ٱللَّهِ وَقَدۡ هَدَىٰنِۚ وَلَآ أَخَافُ مَا تُشۡرِكُونَ بِهِۦٓ إِلَّآ أَن يَشَآءَ رَبِّي شَيۡـٔٗاۚ وَسِعَ رَبِّي كُلَّ شَيۡءٍ عِلۡمًاۚ أَفَلَا تَتَذَكَّرُونَ ﴿٨٠﴾

Abantube ne bamuwakanya naagamba nti mumpakanya ku Katonda nga ate mazima yannungamya, era nga sitya e byo bye mumugattako (okuba nga bintusaako akabi), be ppo nga Mukama omulabirizi wange alina kyakkirizza, Mukama omulabirizi wange yeetooloola buli kintu mu kumanya, abaffe temwebuulirira.

Al-An'am 6:126

وَهَٰذَا صِرَٰطُ رَبِّكَ مُسۡتَقِيمٗاۗ قَدۡ فَصَّلۡنَا ٱلۡأٓيَٰتِ لِقَوۡمٖ يَذَّكَّرُونَ ﴿١٢٦﴾

Lino lye kkubo lya Mukama omulabirizi wo e ggolokofu, mazima e bigambo tubinnyonnyodde eri abo abasobola okwebuulirira.

Al-A'raf 7:201

إِنَّ ٱلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ إِذَا مَسَّهُمۡ طَـٰٓئِفٞ مِّنَ ٱلشَّيۡطَٰنِ تَذَكَّرُواْ فَإِذَا هُم مُّبۡصِرُونَ ﴿٢٠١﴾

Mazima abo abatya Katonda, bwe baba baggyiddwa okubuzibwabuzibwa okuva eri Sitane, bajjukira Katonda, olwo nno nebalaba e kituufu.

Al-A'raf 7:205

وَٱذۡكُر رَّبَّكَ فِي نَفۡسِكَ تَضَرُّعٗا وَخِيفَةٗ وَدُونَ ٱلۡجَهۡرِ مِنَ ٱلۡقَوۡلِ بِٱلۡغُدُوِّ وَٱلۡأٓصَالِ وَلَا تَكُن مِّنَ ٱلۡغَٰفِلِينَ ﴿٢٠٥﴾

Bulijjo jjukira Mukama omulabiriziwo, mu mwoyogwo, nga olaga obugonvu n’okutya, awatali kusitula ddoboozi mu bigambo (nga ekyo okikola), enkya n’eggulo, era tobeeranga mu bagayaavu.

At-Tawbah 9:126

أَوَلَا يَرَوۡنَ أَنَّهُمۡ يُفۡتَنُونَ فِي كُلِّ عَامٖ مَّرَّةً أَوۡ مَرَّتَيۡنِ ثُمَّ لَا يَتُوبُونَ وَلَا هُمۡ يَذَّكَّرُونَ ﴿١٢٦﴾

Abaffe tebakiraba nti mu buli mwaka bagezesebwa omulundi gumu oba ebiri, oluvanyuma ne bateenenya wadde okuba abeebuulirira.

Yunus 10:71

۞وَٱتۡلُ عَلَيۡهِمۡ نَبَأَ نُوحٍ إِذۡ قَالَ لِقَوۡمِهِۦ يَٰقَوۡمِ إِن كَانَ كَبُرَ عَلَيۡكُم مَّقَامِي وَتَذۡكِيرِي بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ فَعَلَى ٱللَّهِ تَوَكَّلۡتُ فَأَجۡمِعُوٓاْ أَمۡرَكُمۡ وَشُرَكَآءَكُمۡ ثُمَّ لَا يَكُنۡ أَمۡرُكُمۡ عَلَيۡكُمۡ غُمَّةٗ ثُمَّ ٱقۡضُوٓاْ إِلَيَّ وَلَا تُنظِرُونِ ﴿٧١﴾

Banyumize ebyafa ku Nuhu bwe yagamba abantube nti abange bantu bange, okubeera kwange mu mmwe n'okubajjukiza e bigambo bya Katonda bwe bibeeranga bibazitooweredde, nze nneekwasizza Katonda, kale mmwe mwekobaane ne bannammwe ate kyemusazeewo kireme kuba kya kyama olwo nno musalewo kye mwagala okukola era temunnindiriza.

Hud 11:114

وَأَقِمِ ٱلصَّلَوٰةَ طَرَفَيِ ٱلنَّهَارِ وَزُلَفٗا مِّنَ ٱلَّيۡلِۚ إِنَّ ٱلۡحَسَنَٰتِ يُذۡهِبۡنَ ٱلسَّيِّـَٔاتِۚ ذَٰلِكَ ذِكۡرَىٰ لِلذَّـٰكِرِينَ ﴿١١٤﴾

Era yimirizaawo e sswala ku nsalosalo ebbiri ez'emisana (ku makya n'akawungezi) n'ekiseera ekisooka ku kiro mazima ebirungi bijjawo ebibi. Okwo nno kubuulirira eri abo abajjukira.

Hud 11:120

وَكُلّٗا نَّقُصُّ عَلَيۡكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ ٱلرُّسُلِ مَا نُثَبِّتُ بِهِۦ فُؤَادَكَۚ وَجَآءَكَ فِي هَٰذِهِ ٱلۡحَقُّ وَمَوۡعِظَةٞ وَذِكۡرَىٰ لِلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١٢٠﴾

Era tukutegeeza buli kimu ekikwata ku babaka, ekyo kyetunyweza nakyo omutima gwo, era mu kino ojjiddwa amazima n'okubuulirira, era nga kya kujjukiza eri abakkiriza.

Yusuf 12:42

وَقَالَ لِلَّذِي ظَنَّ أَنَّهُۥ نَاجٖ مِّنۡهُمَا ٱذۡكُرۡنِي عِندَ رَبِّكَ فَأَنسَىٰهُ ٱلشَّيۡطَٰنُ ذِكۡرَ رَبِّهِۦ فَلَبِثَ فِي ٱلسِّجۡنِ بِضۡعَ سِنِينَ ﴿٤٢﴾

(Yusuf) naagamba oyo gwe yalinamu essuubi ly'okuwona ku bombi nti: onjogererayo nga otuuse ewa Mukama wo (kabaka), wabula Sitane neemwerabiza okumwogererayo ewa Mukamaawe, olwo nno naatuula mu kkomera emyaka egiwera.

Yusuf 12:45

وَقَالَ ٱلَّذِي نَجَا مِنۡهُمَا وَٱدَّكَرَ بَعۡدَ أُمَّةٍ أَنَا۠ أُنَبِّئُكُم بِتَأۡوِيلِهِۦ فَأَرۡسِلُونِ ﴿٤٥﴾

Omu ku basibe ababiri eyawona (e kkomera) naagamba era nga yajjukira wamaze kuyitawo kaseera nti nze njakubabuulira amakulu g'ekirooto ekyo, kale muntume.

Ibrahim 14:5

وَلَقَدۡ أَرۡسَلۡنَا مُوسَىٰ بِـَٔايَٰتِنَآ أَنۡ أَخۡرِجۡ قَوۡمَكَ مِنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِ وَذَكِّرۡهُم بِأَيَّىٰمِ ٱللَّهِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٖ ﴿٥﴾

Mazima twatuma Musa n'obubonero bwaffe (netumugamba) nti: Abantu bo baggye mu bizikiza obazze eri ekitangaala, era obajjukize ennaku za Katonda, (kwe yakolera) ebintu ebiteekwa okujjukirwa mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa (Katonda) eri omugumiikiriza omwebaza owa nnamaddala.

Al-Hijr 15:9

إِنَّا نَحۡنُ نَزَّلۡنَا ٱلذِّكۡرَ وَإِنَّا لَهُۥ لَحَٰفِظُونَ ﴿٩﴾

Mazima ffe, ffe twassa ekijjukiza (Kur’ani) era mazima ffe tujja kugikuuma.

Al-Isra 17:41

وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَا فِي هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانِ لِيَذَّكَّرُواْ وَمَا يَزِيدُهُمۡ إِلَّا نُفُورٗا ﴿٤١﴾

. Mazima twannyonnyola mu Kur’ani eno buli kintu (eri abantu), babe nga bajjukira (beebuulirire), wabula tekibongera okugyako okweyongera (okwesamba amazima).

Al-Isra 17:45

وَإِذَا قَرَأۡتَ ٱلۡقُرۡءَانَ جَعَلۡنَا بَيۡنَكَ وَبَيۡنَ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ حِجَابٗا مَّسۡتُورٗا ﴿٤٥﴾

. Bwosoma Kur’ani, tussa wakatiwo ne wakati w'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ekibikka ekitalabika.

Al-Isra 17:46

وَجَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۚ وَإِذَا ذَكَرۡتَ رَبَّكَ فِي ٱلۡقُرۡءَانِ وَحۡدَهُۥ وَلَّوۡاْ عَلَىٰٓ أَدۡبَٰرِهِمۡ نُفُورٗا ﴿٤٦﴾

. Era netussa ku mitima gya bwe ekibikka ekibagaana okubitegeera, netussa mu matu gaabwe envumbo, era bwoyogera ku Mukama omulabiriziwo yekka mu Kur’ani, bakubayo amabega nebadduka.

Al-Kahf 18:24

إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ وَٱذۡكُر رَّبَّكَ إِذَا نَسِيتَ وَقُلۡ عَسَىٰٓ أَن يَهۡدِيَنِ رَبِّي لِأَقۡرَبَ مِنۡ هَٰذَا رَشَدٗا ﴿٢٤﴾

. Okugyako nga ogasseeko nti Katonda bwanaaba ayagadde, era yogera ku Mukama omulabiriziwo wooba nga weerabidde, era gamba nti nsuubira nti Mukama omulabirizi wange ajja ku nnungamya eri obujulizi obusinga ku buno, (eky'abavubuka bo mu mpuku okulaga obwa Nabbi bwange).

Al-Kahf 18:57

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦ فَأَعۡرَضَ عَنۡهَا وَنَسِيَ مَا قَدَّمَتۡ يَدَاهُۚ إِنَّا جَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۖ وَإِن تَدۡعُهُمۡ إِلَى ٱلۡهُدَىٰ فَلَن يَهۡتَدُوٓاْ إِذًا أَبَدٗا ﴿٥٧﴾

. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo ajjukizibwa ebigambo bya Mukama omulabiriziwe naabivaako, neyeerabira ebyo emikono gye bye gyakulembeza (okukola), mazima ffe twassa ku mitima gya bwe ekibikka, babe nga tebabitegeera ne mu matu gaabwe mulimu envumbo era nebwobayita okujja eri obulungamu tebagenda kulungama olubeerera bwe baba bwe batyo.

Al-Kahf 18:63

قَالَ أَرَءَيۡتَ إِذۡ أَوَيۡنَآ إِلَى ٱلصَّخۡرَةِ فَإِنِّي نَسِيتُ ٱلۡحُوتَ وَمَآ أَنسَىٰنِيهُ إِلَّا ٱلشَّيۡطَٰنُ أَنۡ أَذۡكُرَهُۥۚ وَٱتَّخَذَ سَبِيلَهُۥ فِي ٱلۡبَحۡرِ عَجَبٗا ﴿٦٣﴾

. (Omuweerezawe) naagamba nti ojjukira wetwawummulidde ku lwazi, mazima nze neerabidde ekyenyanja tewali kyanneerabizza kukijjukira okugyako Sitane era awo wekyakoledde ekkubo mu nnyanja mu ngeri eyeewuunyisa.

Maryam 19:67

أَوَلَا يَذۡكُرُ ٱلۡإِنسَٰنُ أَنَّا خَلَقۡنَٰهُ مِن قَبۡلُ وَلَمۡ يَكُ شَيۡـٔٗا ﴿٦٧﴾

. Abaffe omuntu tajjukira nti mazima ffe twamutonda omulundi ogwasooka nga yali tabangako kintu kyonna.

Taha 20:3

إِلَّا تَذۡكِرَةٗ لِّمَن يَخۡشَىٰ ﴿٣﴾

. Wabula twagikussaako nga kya kujjukiza eri oyo atya Katonda.

Taha 20:44

فَقُولَا لَهُۥ قَوۡلٗا لَّيِّنٗا لَّعَلَّهُۥ يَتَذَكَّرُ أَوۡ يَخۡشَىٰ ﴿٤٤﴾

. Mumugambe ebigambo ebigonvu, alyoke ajjukire era atye.

Al-Hajj 22:40

ٱلَّذِينَ أُخۡرِجُواْ مِن دِيَٰرِهِم بِغَيۡرِ حَقٍّ إِلَّآ أَن يَقُولُواْ رَبُّنَا ٱللَّهُۗ وَلَوۡلَا دَفۡعُ ٱللَّهِ ٱلنَّاسَ بَعۡضَهُم بِبَعۡضٖ لَّهُدِّمَتۡ صَوَٰمِعُ وَبِيَعٞ وَصَلَوَٰتٞ وَمَسَٰجِدُ يُذۡكَرُ فِيهَا ٱسۡمُ ٱللَّهِ كَثِيرٗاۗ وَلَيَنصُرَنَّ ٱللَّهُ مَن يَنصُرُهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَقَوِيٌّ عَزِيزٌ ﴿٤٠﴾

. (Bo) beebo abaagobwa mu mayumba gaabwe awatali nsonga okugyako okuba nga bagamba nti: Katonda ye Mukama omulabirizi waffe, singa Katonda tajjawo bantu ng'akozesa abalala, amasinzizo ga bakabona, n'amakanisa ga ba Kurisitayo, n'amasinzizo ga ba Yudaaya n'emizikiti gy'abasiraamu, omwogererwa ennyo ku linnya lya Katonda byandimenyeddwa era Katonda ajja kutaasiza ddala abo abamutaasa, mazima Katonda wa maanyi Nantakubwa ku mukono.

An-Nur 24:36

فِي بُيُوتٍ أَذِنَ ٱللَّهُ أَن تُرۡفَعَ وَيُذۡكَرَ فِيهَا ٱسۡمُهُۥ يُسَبِّحُ لَهُۥ فِيهَا بِٱلۡغُدُوِّ وَٱلۡأٓصَالِ ﴿٣٦﴾

. Mu mayumba (e mizikiti) Katonda geyakkiriza gazimbibwe era n'alagira erinnyalye libeere nga lyogerwako mu go, (omwo nno) bamutendereza mu go enkya n'olweggulo.

An-Nur 24:37

رِجَالٞ لَّا تُلۡهِيهِمۡ تِجَٰرَةٞ وَلَا بَيۡعٌ عَن ذِكۡرِ ٱللَّهِ وَإِقَامِ ٱلصَّلَوٰةِ وَإِيتَآءِ ٱلزَّكَوٰةِ يَخَافُونَ يَوۡمٗا تَتَقَلَّبُ فِيهِ ٱلۡقُلُوبُ وَٱلۡأَبۡصَٰرُ ﴿٣٧﴾

. Abasajja abatalabankanyizibwa bya busuubuzi wadde okutunda nebava ku kwogera ku Katonda n'okuyimirizaawo e sswala n'okutoola Zakka nga batya olunaku emitima n'amaaso lwe birikankana.

Al-Furqan 25:29

لَّقَدۡ أَضَلَّنِي عَنِ ٱلذِّكۡرِ بَعۡدَ إِذۡ جَآءَنِيۗ وَكَانَ ٱلشَّيۡطَٰنُ لِلۡإِنسَٰنِ خَذُولٗا ﴿٢٩﴾

. Mazima yambuza nanzigya ku kubuulirira oluvanyuma lw'okuba nti kwanzijira, anti bulijjo Sitane ayabulira omuntu.

Al-Furqan 25:50

وَلَقَدۡ صَرَّفۡنَٰهُ بَيۡنَهُمۡ لِيَذَّكَّرُواْ فَأَبَىٰٓ أَكۡثَرُ ٱلنَّاسِ إِلَّا كُفُورٗا ﴿٥٠﴾

. Era mazima twaginnyonnyola (Kur’ani) mu bo babe nga beebuulirira wabula abantu abasinga obungi ne bagaana era nebakalambirira ku bukaafiiri.

Al-Furqan 25:62

وَهُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ خِلۡفَةٗ لِّمَنۡ أَرَادَ أَن يَذَّكَّرَ أَوۡ أَرَادَ شُكُورٗا ﴿٦٢﴾

. Era yye yooyo eyassaawo ekiro n'emisana nga bigoberegana (yabiteerawo) oyo ayagala okwebuulirira oba ayagala okwebaza.

As-Sajdah 32:15

إِنَّمَا يُؤۡمِنُ بِـَٔايَٰتِنَا ٱلَّذِينَ إِذَا ذُكِّرُواْ بِهَا خَرُّواْۤ سُجَّدٗاۤ وَسَبَّحُواْ بِحَمۡدِ رَبِّهِمۡ وَهُمۡ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ۩ ﴿١٥﴾

. Mazima abakkiriza e bigambo byaffe, beebo buli lwe baba babuuliriddwa nabyo nga babutama wansi ne bavunnama era nebatendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era bulijjo bbo tebeekuza.

As-Sajdah 32:22

وَمَنۡ أَظۡلَمُ مِمَّن ذُكِّرَ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِۦ ثُمَّ أَعۡرَضَ عَنۡهَآۚ إِنَّا مِنَ ٱلۡمُجۡرِمِينَ مُنتَقِمُونَ ﴿٢٢﴾

. Ani eyeeyisa obubi okusinga oyo abuulirirwa ne bigambo bya Mukama omulabiriziwe ate naabivaako! Mazima ffe tugenda kubonereza aboonoonyi.

Emitwe