quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 2)

240 Aya · Emitwe · lg

An-Nahl 16:103

وَلَقَدۡ نَعۡلَمُ أَنَّهُمۡ يَقُولُونَ إِنَّمَا يُعَلِّمُهُۥ بَشَرٞۗ لِّسَانُ ٱلَّذِي يُلۡحِدُونَ إِلَيۡهِ أَعۡجَمِيّٞ وَهَٰذَا لِسَانٌ عَرَبِيّٞ مُّبِينٌ ﴿١٠٣﴾

Mazima tukimanyi nti bo bagamba nti ddala amuyigiriza muntu (ekyo kyabulimba) anti olulimi lw'oyo gwebemulugunyako nti yamuyigiriza si Ruwarabu ate nga eno Kur’ani eri mu lulimi oluwarabu olweyolefu.

An-Nahl 16:125

ٱدۡعُ إِلَىٰ سَبِيلِ رَبِّكَ بِٱلۡحِكۡمَةِ وَٱلۡمَوۡعِظَةِ ٱلۡحَسَنَةِۖ وَجَٰدِلۡهُم بِٱلَّتِي هِيَ أَحۡسَنُۚ إِنَّ رَبَّكَ هُوَ أَعۡلَمُ بِمَن ضَلَّ عَن سَبِيلِهِۦ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِٱلۡمُهۡتَدِينَ ﴿١٢٥﴾

Kowoola (abantu) okudda eri ekkubo lya Mukama omulabiriziwo nga okozesa amagezi n'okubuulirira okulungi, nyonnyolagana nabo nga okozesa amakubo agasinga obulungi mazima Mukama omulabiriziwo y'asinga okumanya ebikwata ku oyo eyabula okuva ku kkubolye era yaasinga okumanya ebikwata ku balungamu.

Al-Isra 17:39

ذَٰلِكَ مِمَّآ أَوۡحَىٰٓ إِلَيۡكَ رَبُّكَ مِنَ ٱلۡحِكۡمَةِۗ وَلَا تَجۡعَلۡ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ فَتُلۡقَىٰ فِي جَهَنَّمَ مَلُومٗا مَّدۡحُورًا ﴿٣٩﴾

. Ebyo bye bimu ku ebyo Mukama omulabiriziwo byassa gyoli mu bigambo eby'amagezi, era tossanga ku Katonda ba katonda abalala, n'okakatibwako okukasukibwa mu muliro Jahannama, ng'ovumirirwa era nga ogobeddwa mu kusaasira kwa Katonda.

Al-Isra 17:85

وَيَسۡـَٔلُونَكَ عَنِ ٱلرُّوحِۖ قُلِ ٱلرُّوحُ مِنۡ أَمۡرِ رَبِّي وَمَآ أُوتِيتُم مِّنَ ٱلۡعِلۡمِ إِلَّا قَلِيلٗا ﴿٨٥﴾

. Era bakubuuza ku mwoyo, gamba nti omwoyo kye kimu ku bintu Mukama omulabirizi wange bye yeesigaliza, era temwaweebwa kumanya okugyako kutono.

Al-Kahf 18:5

مَّا لَهُم بِهِۦ مِنۡ عِلۡمٖ وَلَا لِأٓبَآئِهِمۡۚ كَبُرَتۡ كَلِمَةٗ تَخۡرُجُ مِنۡ أَفۡوَٰهِهِمۡۚ إِن يَقُولُونَ إِلَّا كَذِبٗا ﴿٥﴾

. Kye batalinaako kumanya kwonna wadde bakadde baabwe, kibi nnyo ekigambo ekiva mu mimwa gya bwe. Bye boogera temuli okugyako bulimba bwereere.

Al-Kahf 18:65

فَوَجَدَا عَبۡدٗا مِّنۡ عِبَادِنَآ ءَاتَيۡنَٰهُ رَحۡمَةٗ مِّنۡ عِندِنَا وَعَلَّمۡنَٰهُ مِن لَّدُنَّا عِلۡمٗا ﴿٦٥﴾

. Nebasanga omuddu mu baddu baffe gwe twawa okusaasira okuva gye tuli, era netumuyigiriza okuva gye tuli okumanya (okw'enjawulo).

Al-Kahf 18:66

قَالَ لَهُۥ مُوسَىٰ هَلۡ أَتَّبِعُكَ عَلَىٰٓ أَن تُعَلِّمَنِ مِمَّا عُلِّمۡتَ رُشۡدٗا ﴿٦٦﴾

. Musa naamugamba nti abaffe (onzikiriza) nkugoberere olwo nno obe nga onjigiriza ku bulungamu bwe wayigirizibwa?.

Maryam 19:12

يَٰيَحۡيَىٰ خُذِ ٱلۡكِتَٰبَ بِقُوَّةٖۖ وَءَاتَيۡنَٰهُ ٱلۡحُكۡمَ صَبِيّٗا ﴿١٢﴾

. (Yahaya naalagirwa nti) owange Yahaya ekitabo (Tawurat) kikwate na maanyi, era twamuwa okumanya ensonga nga akyali muto.

Maryam 19:29

فَأَشَارَتۡ إِلَيۡهِۖ قَالُواْ كَيۡفَ نُكَلِّمُ مَن كَانَ فِي ٱلۡمَهۡدِ صَبِيّٗا ﴿٢٩﴾

. (Mariam) naasonga ku mwana, (bali) nebagamba tuyinza tutya okwogera n'omwana ali ku kaali omuwere.

Maryam 19:30

قَالَ إِنِّي عَبۡدُ ٱللَّهِ ءَاتَىٰنِيَ ٱلۡكِتَٰبَ وَجَعَلَنِي نَبِيّٗا ﴿٣٠﴾

. (Omwana) naagamba nti mazima nze ndi muddu wa Katonda, ampadde ekitabo (enjiri) era nanfuula Nabbi.

Maryam 19:31

وَجَعَلَنِي مُبَارَكًا أَيۡنَ مَا كُنتُ وَأَوۡصَٰنِي بِٱلصَّلَوٰةِ وَٱلزَّكَوٰةِ مَا دُمۡتُ حَيّٗا ﴿٣١﴾

. Era nanfuula ow'omukisa wonna wennabanga, era ankuutidde okusaala, n'okutoola Zakka, ebbanga lye nnaamala nga ndi mulamu.

Maryam 19:43

يَـٰٓأَبَتِ إِنِّي قَدۡ جَآءَنِي مِنَ ٱلۡعِلۡمِ مَا لَمۡ يَأۡتِكَ فَٱتَّبِعۡنِيٓ أَهۡدِكَ صِرَٰطٗا سَوِيّٗا ﴿٤٣﴾

. Owange Taata mazima nze nzigyiddwa okumanya okutaakujjira, n'olwekyo ngoberera, nja kukulungamya ku kkubo eggolokofu.

Taha 20:114

فَتَعَٰلَى ٱللَّهُ ٱلۡمَلِكُ ٱلۡحَقُّۗ وَلَا تَعۡجَلۡ بِٱلۡقُرۡءَانِ مِن قَبۡلِ أَن يُقۡضَىٰٓ إِلَيۡكَ وَحۡيُهُۥۖ وَقُل رَّبِّ زِدۡنِي عِلۡمٗا ﴿١١٤﴾

. Wa waggulu nnyo Katonda omufuzi owa mazima, (gwe Muhmmad) toyanguyiriza noosoma Kur’ani nga obubaka obukuweebwa tebunnagwayo, era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nyongera okumanya.

Al-Anbya 21:7

وَمَآ أَرۡسَلۡنَا قَبۡلَكَ إِلَّا رِجَالٗا نُّوحِيٓ إِلَيۡهِمۡۖ فَسۡـَٔلُوٓاْ أَهۡلَ ٱلذِّكۡرِ إِن كُنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٧﴾

. Oluberyeberyelwo tetwatumanga okugyako basajja nga tubawa obubaka kale mubuuze abalina okumanya bwe muba nga temumanyi.

Al-Anbya 21:74

وَلُوطًا ءَاتَيۡنَٰهُ حُكۡمٗا وَعِلۡمٗا وَنَجَّيۡنَٰهُ مِنَ ٱلۡقَرۡيَةِ ٱلَّتِي كَانَت تَّعۡمَلُ ٱلۡخَبَـٰٓئِثَۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمَ سَوۡءٖ فَٰسِقِينَ ﴿٧٤﴾

. Ne Luutu twamuwa okusengejja ensonga n'okumanya era twamuwonya netumuggya mu kitundu ekyali kikola ebyonoono mazima bo baali bantu ba kibi aboonoonyi.

Al-Anbya 21:79

فَفَهَّمۡنَٰهَا سُلَيۡمَٰنَۚ وَكُلًّا ءَاتَيۡنَا حُكۡمٗا وَعِلۡمٗاۚ وَسَخَّرۡنَا مَعَ دَاوُۥدَ ٱلۡجِبَالَ يُسَبِّحۡنَ وَٱلطَّيۡرَۚ وَكُنَّا فَٰعِلِينَ ﴿٧٩﴾

. (Omusango ogwo) twawa Sulaiman okutegeera obulungi, naye buli omu twamuwa okugoba ensonga n’okumanya, era twagondeza Dauda ensozi nga zitendereza, n’ebinyonyi bwe bityo, (buli lwe yatenderezanga nga nabyo bitendereza). Era ebyo twali tusobolera ddala okubikola.

Al-Anbya 21:80

وَعَلَّمۡنَٰهُ صَنۡعَةَ لَبُوسٖ لَّكُمۡ لِتُحۡصِنَكُم مِّنۢ بَأۡسِكُمۡۖ فَهَلۡ أَنتُمۡ شَٰكِرُونَ ﴿٨٠﴾

. Era twamuyigiriza okukola ebyambalo bya mmwe (eby'entalo) biryoke bibakuume ku buzibu bwa mmwe, abaffe mmwe mwebaza!.

Al-Hajj 22:5

يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ إِن كُنتُمۡ فِي رَيۡبٖ مِّنَ ٱلۡبَعۡثِ فَإِنَّا خَلَقۡنَٰكُم مِّن تُرَابٖ ثُمَّ مِن نُّطۡفَةٖ ثُمَّ مِنۡ عَلَقَةٖ ثُمَّ مِن مُّضۡغَةٖ مُّخَلَّقَةٖ وَغَيۡرِ مُخَلَّقَةٖ لِّنُبَيِّنَ لَكُمۡۚ وَنُقِرُّ فِي ٱلۡأَرۡحَامِ مَا نَشَآءُ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى ثُمَّ نُخۡرِجُكُمۡ طِفۡلٗا ثُمَّ لِتَبۡلُغُوٓاْ أَشُدَّكُمۡۖ وَمِنكُم مَّن يُتَوَفَّىٰ وَمِنكُم مَّن يُرَدُّ إِلَىٰٓ أَرۡذَلِ ٱلۡعُمُرِ لِكَيۡلَا يَعۡلَمَ مِنۢ بَعۡدِ عِلۡمٖ شَيۡـٔٗاۚ وَتَرَى ٱلۡأَرۡضَ هَامِدَةٗ فَإِذَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡهَا ٱلۡمَآءَ ٱهۡتَزَّتۡ وَرَبَتۡ وَأَنۢبَتَتۡ مِن كُلِّ زَوۡجِۭ بَهِيجٖ ﴿٥﴾

. Abange mmwe abantu bwe muba nga mulina okubuusabuusa ku kuzuukira (mukimanye) nti mazima ffe twabatonda nga tubajja mu ttaka (okusinziira ku jajja mmwe Adam nga bwe yatondebwa) oluvanyuma (ne tuba nga) tubatonda mu mazzi agazaala nate oluvanyuma netubajja mu kisaayisaayi oluvanyuma ekifuuka ekinyamanyama ekituukiridde mu butonde bwakyo n'ekitatuukiridde olwo nno tube nga tubalaga (obuyinza bwaffe) olwo nno netukuumira mu nnabaana ekyo kye tuba twagadde okumala ebbanga eggere oluvanyuma tubafulumya nga muli bawere ate oluvanyuma mube nga mufuuka abakulu, ne mu mmwe mulimu abafa (nga bakyali) era mu mmwe mulimu abazzibwayo eri obuwangaazi obusinga okuba obunafu (n'akaddiwa nga takyesobola) n'aba nga takyasobola kumanya kintu kyonna oluvanyuma lw'okuba nga yali amanyi (ekirala ekiraga nti okuzuukira kulibaayo) ogenda noolaba ensi ng'ekaze naye ketugitonnyesaako enkuba edda buto n'etinta n'emeza buli mutindo gwa bimera ebirungi.

Al-Hajj 22:8

وَمِنَ ٱلنَّاسِ مَن يُجَٰدِلُ فِي ٱللَّهِ بِغَيۡرِ عِلۡمٖ وَلَا هُدٗى وَلَا كِتَٰبٖ مُّنِيرٖ ﴿٨﴾

. Mu bantu mulimu oyo awakanya ebikwata ku Katonda nga tasinziira ku kumanya wadde okulungamizibwa oba ekitabo ekiraga obutangaavu.

Al-Hajj 22:54

وَلِيَعۡلَمَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ أَنَّهُ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكَ فَيُؤۡمِنُواْ بِهِۦ فَتُخۡبِتَ لَهُۥ قُلُوبُهُمۡۗ وَإِنَّ ٱللَّهَ لَهَادِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿٥٤﴾

. Bateekeddwa okutegeera abo abaaweebwa okumanya nti mazima ddala (Kur’ani) ge mazima agavudde ewa Mukama omulabiriziwo olwo nno bagakkirize, era gyewombeke ku lw'ekyo emitima gya bwe, era mazima Katonda wa kulungamya abo abakkiriza eri ekkubo eggolokofu.

An-Nur 24:15

إِذۡ تَلَقَّوۡنَهُۥ بِأَلۡسِنَتِكُمۡ وَتَقُولُونَ بِأَفۡوَاهِكُم مَّا لَيۡسَ لَكُم بِهِۦ عِلۡمٞ وَتَحۡسَبُونَهُۥ هَيِّنٗا وَهُوَ عِندَ ٱللَّهِ عَظِيمٞ ﴿١٥﴾

. Mu kiseera wemwabisaasaanyiza ne nnimi za mmwe ne mwogera n'emimwa gya mmwe bye mutaalinako kumanya, mwakitwala nga ekyangu naye nga ewa Katonda kinene.

Ash-Shu'ara 26:21

فَفَرَرۡتُ مِنكُمۡ لَمَّا خِفۡتُكُمۡ فَوَهَبَ لِي رَبِّي حُكۡمٗا وَجَعَلَنِي مِنَ ٱلۡمُرۡسَلِينَ ﴿٢١﴾

. Olwo nno nembadduka bwe nnabatya, awo Mukama omulabirizi wange nangabira okumanya e nsonga era nanteeka mu babaka.

Ash-Shu'ara 26:83

رَبِّ هَبۡ لِي حُكۡمٗا وَأَلۡحِقۡنِي بِٱلصَّـٰلِحِينَ ﴿٨٣﴾

. Ayi Mukama omulabirizi ngabira okumanya ensonga era onsisinkanye abalongoofu.

An-Naml 27:15

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا دَاوُۥدَ وَسُلَيۡمَٰنَ عِلۡمٗاۖ وَقَالَا ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي فَضَّلَنَا عَلَىٰ كَثِيرٖ مِّنۡ عِبَادِهِ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ ﴿١٥﴾

. Era mazima twawa Dauda ne Sulaiman okumanya era ne bagamba nti atenderezebwa Katonda oyo eyatusukkulumya ku bangi mu baddube abakkiriza.

An-Naml 27:16

وَوَرِثَ سُلَيۡمَٰنُ دَاوُۥدَۖ وَقَالَ يَـٰٓأَيُّهَا ٱلنَّاسُ عُلِّمۡنَا مَنطِقَ ٱلطَّيۡرِ وَأُوتِينَا مِن كُلِّ شَيۡءٍۖ إِنَّ هَٰذَا لَهُوَ ٱلۡفَضۡلُ ٱلۡمُبِينُ ﴿١٦﴾

. Era Sulaiman yasikira Dauda naagamba nti abange mmwe abantu tuyigiriziddwa olulimi lw'ebinyonyi era tuweereddwa ku buli kintu mazima kino bwe bulungi obweyolefu.

An-Naml 27:40

قَالَ ٱلَّذِي عِندَهُۥ عِلۡمٞ مِّنَ ٱلۡكِتَٰبِ أَنَا۠ ءَاتِيكَ بِهِۦ قَبۡلَ أَن يَرۡتَدَّ إِلَيۡكَ طَرۡفُكَۚ فَلَمَّا رَءَاهُ مُسۡتَقِرًّا عِندَهُۥ قَالَ هَٰذَا مِن فَضۡلِ رَبِّي لِيَبۡلُوَنِيٓ ءَأَشۡكُرُ أَمۡ أَكۡفُرُۖ وَمَن شَكَرَ فَإِنَّمَا يَشۡكُرُ لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن كَفَرَ فَإِنَّ رَبِّي غَنِيّٞ كَرِيمٞ ﴿٤٠﴾

. (Omulala) oyo alina okumanya (okw'enjawulo) okuva mu kitabo kya (Katonda) naagamba nti, nze nja kugikuleetera nga eriisolyo terinnadda gyoli (nga tonnatemya), bwe yagiraba nga eteredde waali yagamba nti, kino kya mu birungi bya Mukama omulabirizi wange abe nga angezesa, abaffe nneebaza oba sseebaza byengera, era bulijjo omuntu eyeebaza yeebaza yebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Mukama omulabirizi wange talina kye yeetaaga, mugabi nnyo.

An-Naml 27:42

فَلَمَّا جَآءَتۡ قِيلَ أَهَٰكَذَا عَرۡشُكِۖ قَالَتۡ كَأَنَّهُۥ هُوَۚ وَأُوتِينَا ٱلۡعِلۡمَ مِن قَبۡلِهَا وَكُنَّا مُسۡلِمِينَ ﴿٤٢﴾

. (Balikiisi) bwe yajja naagambibwa nti: eyo ye namulondoyo? naagamba nti mazima eringa yeeyo, (Sulaiman) naagamba nti: twaweebwa okumanya (Katonda) oluberyeberye lw'omukyala ono nga tanajja era tubadde basiraamu.

An-Naml 27:66

بَلِ ٱدَّـٰرَكَ عِلۡمُهُمۡ فِي ٱلۡأٓخِرَةِۚ بَلۡ هُمۡ فِي شَكّٖ مِّنۡهَاۖ بَلۡ هُم مِّنۡهَا عَمُونَ ﴿٦٦﴾

. Wabula (ekibuuzo kiri nti) okumanya kwa bwe kwamalayo byonna okutuusa ku lunaku lw'enkomerero (olwo nno babe nga bakubuuza okuzuukira kulibaawo ddi) wabula (ekituufu kiri nti) bo ku bikwata ku lunaku lw'enkomerero bali mu kubuusabuusa, wabula (si ekyo kyokka) bo bamuzibe ku bikwata ku lunaku olwo.

Al-Qasas 28:14

وَلَمَّا بَلَغَ أَشُدَّهُۥ وَٱسۡتَوَىٰٓ ءَاتَيۡنَٰهُ حُكۡمٗا وَعِلۡمٗاۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُحۡسِنِينَ ﴿١٤﴾

. (Musa) bwe yakula n'asajjakula twamuwa okusengeka ensonga n'okumanya. Era bwe tutyo bwe tusasula abalongoosa.

Al-Qasas 28:78

قَالَ إِنَّمَآ أُوتِيتُهُۥ عَلَىٰ عِلۡمٍ عِندِيٓۚ أَوَلَمۡ يَعۡلَمۡ أَنَّ ٱللَّهَ قَدۡ أَهۡلَكَ مِن قَبۡلِهِۦ مِنَ ٱلۡقُرُونِ مَنۡ هُوَ أَشَدُّ مِنۡهُ قُوَّةٗ وَأَكۡثَرُ جَمۡعٗاۚ وَلَا يُسۡـَٔلُ عَن ذُنُوبِهِمُ ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿٧٨﴾

. (Karuna) naagamba mazima (bye nnina) nnabiweebwa lwa kumanya kwe nnina. Abaffe teyamanya nti ddala Katonda yazikiriza oluberyeberyerwe e mirembe gy'abo abaali bamusinga amaanyi era nga baakungaanya bingi okumusinga. Era aboonoonyi tebasabibwa (kunnyonnyola bikwata ku) byonoono bya bwe (anti Katonda abimanyi).

Al-Qasas 28:80

وَقَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ وَيۡلَكُمۡ ثَوَابُ ٱللَّهِ خَيۡرٞ لِّمَنۡ ءَامَنَ وَعَمِلَ صَٰلِحٗاۚ وَلَا يُلَقَّىٰهَآ إِلَّا ٱلصَّـٰبِرُونَ ﴿٨٠﴾

. Abo abaaweebwa okumanya ne bagamba nti nga mulabye empeera za Katonda z'ezisinga obulungi eri oyo akkiriza n'akola emirimu emirungi (kyokka ekyo) tekiweebwa okugyako abagumiikiriza.

Al-'Ankabut 29:43

وَتِلۡكَ ٱلۡأَمۡثَٰلُ نَضۡرِبُهَا لِلنَّاسِۖ وَمَا يَعۡقِلُهَآ إِلَّا ٱلۡعَٰلِمُونَ ﴿٤٣﴾

. Era ebyo ebifaananyi tubikubira abantu naye tebabitegeera okugyako abamanyi.

Al-'Ankabut 29:49

بَلۡ هُوَ ءَايَٰتُۢ بَيِّنَٰتٞ فِي صُدُورِ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَۚ وَمَا يَجۡحَدُ بِـَٔايَٰتِنَآ إِلَّا ٱلظَّـٰلِمُونَ ﴿٤٩﴾

. Wabula (ekituufu kiri nti) Kur’ani bigambo bya (Katonda) ebinnyonnyofu, eri mu bifuba byaabo abaaweebwa okumanya tewali awakanya bigambo byaffe (ebiri mu Kur’ani) okugyako abeeyisa obubi.

Ar-Rum 30:7

يَعۡلَمُونَ ظَٰهِرٗا مِّنَ ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَهُمۡ عَنِ ٱلۡأٓخِرَةِ هُمۡ غَٰفِلُونَ ﴿٧﴾

. (Anti) bamanyi bya kungulu ku bikwata ku bulamu bw'ensi, era nga nabo ku bikwata ku nkomerero tebalina kye bamanyi.

Ar-Rum 30:56

وَقَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ وَٱلۡإِيمَٰنَ لَقَدۡ لَبِثۡتُمۡ فِي كِتَٰبِ ٱللَّهِ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡبَعۡثِۖ فَهَٰذَا يَوۡمُ ٱلۡبَعۡثِ وَلَٰكِنَّكُمۡ كُنتُمۡ لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٥٦﴾

. Ate abo abaaweebwa okumanya n'obukkiriza baligamba nti: mazima mwatuula (ku nsi) okumala ebbanga Katonda lye yabawandiikira, okutuuka ku lunaku lw'okuzuukira, kaakano luno lwe lunaku lw'okuzuukira (lutuuse) naye mazima mwali temumanyi.

Luqman 31:12

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا لُقۡمَٰنَ ٱلۡحِكۡمَةَ أَنِ ٱشۡكُرۡ لِلَّهِۚ وَمَن يَشۡكُرۡ فَإِنَّمَا يَشۡكُرُ لِنَفۡسِهِۦۖ وَمَن كَفَرَ فَإِنَّ ٱللَّهَ غَنِيٌّ حَمِيدٞ ﴿١٢﴾

. Era mazima twawa Lukman okumanya ensonga (ne tumugamba) nti weebaze Katonda, era omuntu eyeebaza yeebaza ku lulwe, ate oyo akaafuwala mazima Katonda talina kye yeetaaga (eri kitonde kyonna) era atenderezebwa nnyo.

Saba 34:6

وَيَرَى ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ ٱلَّذِيٓ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ هُوَ ٱلۡحَقَّ وَيَهۡدِيٓ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ ﴿٦﴾

. Bo abo abaaweebwa okumanya ebissibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo baliraba nga g’emazima era nga birungamya eri ekkubo lya nantakubwa ku mukono atenderezebwa.

Fatir 35:28

وَمِنَ ٱلنَّاسِ وَٱلدَّوَآبِّ وَٱلۡأَنۡعَٰمِ مُخۡتَلِفٌ أَلۡوَٰنُهُۥ كَذَٰلِكَۗ إِنَّمَا يَخۡشَى ٱللَّهَ مِنۡ عِبَادِهِ ٱلۡعُلَمَـٰٓؤُاْۗ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٌ غَفُورٌ ﴿٢٨﴾

. Mu ngeri y'emu ne mu bantu n'ensolo n’ebisolo ebirundibwa awaka amabala gaabyo ga njawulo mazima ddala abamanyi be batya Katonda mu baddube, mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono omusonyiyi ennyo.

Sad 38:20

وَشَدَدۡنَا مُلۡكَهُۥ وَءَاتَيۡنَٰهُ ٱلۡحِكۡمَةَ وَفَصۡلَ ٱلۡخِطَابِ ﴿٢٠﴾

Era twanyweza obufuzibwe era netumuwa okumanya ensonga n’okusalawo ekituufu ku bigambo ebiba byogeddwa.

Sad 38:87

إِنۡ هُوَ إِلَّا ذِكۡرٞ لِّلۡعَٰلَمِينَ ﴿٨٧﴾

(Kur’ani) yyo teri okugyako okuba nti kya kubuulirira eri ebitonde.

Sad 38:88

وَلَتَعۡلَمُنَّ نَبَأَهُۥ بَعۡدَ حِينِۭ ﴿٨٨﴾

Era ekigambo kyayo mujja kukimanyira ddala oluvanyuma lw'ekiseera kitono.

Az-Zumar 39:9

أَمَّنۡ هُوَ قَٰنِتٌ ءَانَآءَ ٱلَّيۡلِ سَاجِدٗا وَقَآئِمٗا يَحۡذَرُ ٱلۡأٓخِرَةَ وَيَرۡجُواْ رَحۡمَةَ رَبِّهِۦۗ قُلۡ هَلۡ يَسۡتَوِي ٱلَّذِينَ يَعۡلَمُونَ وَٱلَّذِينَ لَا يَعۡلَمُونَۗ إِنَّمَا يَتَذَكَّرُ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿٩﴾

Abaffe oyo asinza mu biseera by'ekiro nga avunnama era ng'ayimirira (ng'asaala) nga atya olunaku lw'enkomerero ate nga asuubira okusaasira kwa Mukama omulabiriziwe, (oyo yenkana n'atakola ekyo) gamba (ggwe Nabbi Muhammad) nti abaffe abamanyi n'abatamanyi benkana? mazima (abamanyi enjawulo eyo) era nga beebuulirira be ba nannyini magezi amatuufu.

Az-Zumar 39:49

فَإِذَا مَسَّ ٱلۡإِنسَٰنَ ضُرّٞ دَعَانَا ثُمَّ إِذَا خَوَّلۡنَٰهُ نِعۡمَةٗ مِّنَّا قَالَ إِنَّمَآ أُوتِيتُهُۥ عَلَىٰ عِلۡمِۭۚ بَلۡ هِيَ فِتۡنَةٞ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَهُمۡ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٤٩﴾

Omuntu bwatuukibwako akabi olwo nno nga atusaba oluvanyuma bwe tumugabira ekyengera kyonna okuva gye tuli, agamba nti mazima kyampebwa lwa kumanya (kwange) wabula (si bwe kiri) kyo kikemo naye ddala abasinga obungi mu bo tebamanyi.

Ghafir 40:83

فَلَمَّا جَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَرِحُواْ بِمَا عِندَهُم مِّنَ ٱلۡعِلۡمِ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿٨٣﴾

Anti ababaka baabwe bwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baasigala basanyuka n’okumanya kwe baali balina ne bazingwako ebyo bye baali bajeeja.

Ash-Shuraa 42:14

وَمَا تَفَرَّقُوٓاْ إِلَّا مِنۢ بَعۡدِ مَا جَآءَهُمُ ٱلۡعِلۡمُ بَغۡيَۢا بَيۡنَهُمۡۚ وَلَوۡلَا كَلِمَةٞ سَبَقَتۡ مِن رَّبِّكَ إِلَىٰٓ أَجَلٖ مُّسَمّٗى لَّقُضِيَ بَيۡنَهُمۡۚ وَإِنَّ ٱلَّذِينَ أُورِثُواْ ٱلۡكِتَٰبَ مِنۢ بَعۡدِهِمۡ لَفِي شَكّٖ مِّنۡهُ مُرِيبٖ ﴿١٤﴾

Tebaayawukana okugyako luvannyuma lwa kumanya okubajjira (nga ekyabatuusa kwekyo) bwe bukyayi obwali wakati waabwe, era singa si kigambo ekyakulembera nga kiva ewa Mukama omulabirizi wo (ekyo butazikirizaawo bonoonyi) okutuusa ebbanga eggere (erya baweebwa) waalisaliddwawo wakati waabwe (mu kiseera ekyo kye nnyini) era mazima abo abasikizibwa ekitabo oluvanyuma lwabwe, mu kyo bali mu kubuusabuusa okujjudde okutankana.

Ash-Shuraa 42:52

وَكَذَٰلِكَ أَوۡحَيۡنَآ إِلَيۡكَ رُوحٗا مِّنۡ أَمۡرِنَاۚ مَا كُنتَ تَدۡرِي مَا ٱلۡكِتَٰبُ وَلَا ٱلۡإِيمَٰنُ وَلَٰكِن جَعَلۡنَٰهُ نُورٗا نَّهۡدِي بِهِۦ مَن نَّشَآءُ مِنۡ عِبَادِنَاۚ وَإِنَّكَ لَتَهۡدِيٓ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿٥٢﴾

Nabwekityo twakutumira (ggwe Nabbi Muhammad) omwoyo (Kur’ani eyitibwa mwoyo wano olwokuba yeewa emyooyo gy’abantu obulamu) nga ekyo kisinziira ku kiragiro kyaffe. Wali tomanyi nti ekitabo (Kur’ani) kye ki, wadde obukkiriza naye twagifuula ekitangaala nga tulungamya nayo oyo gwetuba twagadde mu baddu baffe, era mazima ggwe ddala olungamya eri ekkubo eggolokofu.

Az-Zukhruf 43:63

وَلَمَّا جَآءَ عِيسَىٰ بِٱلۡبَيِّنَٰتِ قَالَ قَدۡ جِئۡتُكُم بِٱلۡحِكۡمَةِ وَلِأُبَيِّنَ لَكُم بَعۡضَ ٱلَّذِي تَخۡتَلِفُونَ فِيهِۖ فَٱتَّقُواْ ٱللَّهَ وَأَطِيعُونِ ﴿٦٣﴾

(Nabbi) Isa bweyajja nobunnyonnyofu yagamba nti mazima mbajjidde nebigambo ebyamagezi era mbannyonnyole ebimu kwebyo bye muwakanamu kale mutye Katonda era mungondere.

Ad-Dukhan 44:4

فِيهَا يُفۡرَقُ كُلُّ أَمۡرٍ حَكِيمٍ ﴿٤﴾

Mu kyo (ekiro) mwekigerekerwa buli kigambo ekiba kisaliddwawo.

Ad-Dukhan 44:14

ثُمَّ تَوَلَّوۡاْ عَنۡهُ وَقَالُواْ مُعَلَّمٞ مَّجۡنُونٌ ﴿١٤﴾

Oluvannnyuma ate ne bamuvaako, era nebagamba nti (Muhmmad) ayigirizibwa buyigirizibwa era mulalu.

Al-Jathiyah 45:9

وَإِذَا عَلِمَ مِنۡ ءَايَٰتِنَا شَيۡـًٔا ٱتَّخَذَهَا هُزُوًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ لَهُمۡ عَذَابٞ مُّهِينٞ ﴿٩﴾

Bwamanya ekintu kyonna mu bigambo byaffe akifuula kya kujeeja, abo balina ebibonerezo ebinyoomesa.

Emitwe