quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 2)

481 Aya · Emitwe · lg

Yunus 10:31

قُلۡ مَن يَرۡزُقُكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ وَٱلۡأَرۡضِ أَمَّن يَمۡلِكُ ٱلسَّمۡعَ وَٱلۡأَبۡصَٰرَ وَمَن يُخۡرِجُ ٱلۡحَيَّ مِنَ ٱلۡمَيِّتِ وَيُخۡرِجُ ٱلۡمَيِّتَ مِنَ ٱلۡحَيِّ وَمَن يُدَبِّرُ ٱلۡأَمۡرَۚ فَسَيَقُولُونَ ٱللَّهُۚ فَقُلۡ أَفَلَا تَتَّقُونَ ﴿٣١﴾

Bagambe (Ggwe Muhammad) nti ani abagabirira okuva mu ggulu ne mu nsi oba ani afuga okuwulira n'okulaba era ani aggya ekiramu mu kifu era n'aggya ekifu mu kiramu era ani atambuza buli kintu? Ddala bajja kukugamba nti Katonda, bagambe nti abaffe temutya!.

Yunus 10:32

فَذَٰلِكُمُ ٱللَّهُ رَبُّكُمُ ٱلۡحَقُّۖ فَمَاذَا بَعۡدَ ٱلۡحَقِّ إِلَّا ٱلضَّلَٰلُۖ فَأَنَّىٰ تُصۡرَفُونَ ﴿٣٢﴾

Oyo nno mmwe ye Katonda Mukama omulabirizi wa mmwe omutuufu. Oluvanyuma lwa mazima gano ate kiki (omuntu) kyalinda! okugyako okubula, kale nno ate muwugulwa mutya (okuva ku Katonda).

Yunus 10:33

كَذَٰلِكَ حَقَّتۡ كَلِمَتُ رَبِّكَ عَلَى ٱلَّذِينَ فَسَقُوٓاْ أَنَّهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿٣٣﴾

Bwe kityo e kigambo kya Mukama omulabiriziwo, bwe kyakakata ku abo abaayonoona ne kiba nti mazima ddala bo tebagenda kukkiriza.

Yunus 10:34

قُلۡ هَلۡ مِن شُرَكَآئِكُم مَّن يَبۡدَؤُاْ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥۚ قُلِ ٱللَّهُ يَبۡدَؤُاْ ٱلۡخَلۡقَ ثُمَّ يُعِيدُهُۥۖ فَأَنَّىٰ تُؤۡفَكُونَ ﴿٣٤﴾

Gamba ggwe (Muhammad) nti abaffe mu abo bemugatta ku Katonda mulimu asobola okutandikawo ebitonde (bwamala n'abiggyawo) ate n'abizzaawo, gamba nti Katonda atandika ebitonde ate agenda kubizzaawo kale ate muwugulwa mutya!.

Yunus 10:65

وَلَا يَحۡزُنكَ قَوۡلُهُمۡۘ إِنَّ ٱلۡعِزَّةَ لِلَّهِ جَمِيعًاۚ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿٦٥﴾

Bye boogera tebikunakuwaza anti ekitiibwa n'amaanyi byonna bya Katonda, anti yye y'awulira ennyo omumanyi.

Yunus 10:66

أَلَآ إِنَّ لِلَّهِ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَمَا يَتَّبِعُ ٱلَّذِينَ يَدۡعُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ شُرَكَآءَۚ إِن يَتَّبِعُونَ إِلَّا ٱلظَّنَّ وَإِنۡ هُمۡ إِلَّا يَخۡرُصُونَ ﴿٦٦﴾

Abange mazima bya Katonda byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi, abo abaleka Katonda nebasaba ebintu ebirala tebalina kye baliko, tebalina kye bagoberera okugyako ebirowoozo nga bo bwe balaba, bye bakola tebisukka okuba nti bateebereza buteebereza.

Yunus 10:67

هُوَ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ لِتَسۡكُنُواْ فِيهِ وَٱلنَّهَارَ مُبۡصِرًاۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَسۡمَعُونَ ﴿٦٧﴾

Yye yooyo Katonda eyabateerawo ekiro mube nga mukiwummuliramu, era naabateerawo obudde obw'emisana nga butangaala mazima mu ekyo mulimu obubonero (obulaga okubaawo kwa Katonda era n'obuyinzabwe), eri abantu abawulira.

Yunus 10:68

قَالُواْ ٱتَّخَذَ ٱللَّهُ وَلَدٗاۗ سُبۡحَٰنَهُۥۖ هُوَ ٱلۡغَنِيُّۖ لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۚ إِنۡ عِندَكُم مِّن سُلۡطَٰنِۭ بِهَٰذَآۚ أَتَقُولُونَ عَلَى ٱللَّهِ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٦٨﴾

Bagamba nti Katonda yeeteerawo omwana, Katonda musukkulumu (ku ebyo bye bamujwetekako anti) yye talina kye yeetaaga, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebiri mu nsi byonna bibye, (eky'okugamba nti Katonda alina omwana) temukirinaako bujulizi bwonna, abaffe mwogera ku Katonda bye mutamanyi.

Yunus 10:69

قُلۡ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَفۡتَرُونَ عَلَى ٱللَّهِ ٱلۡكَذِبَ لَا يُفۡلِحُونَ ﴿٦٩﴾

Gamba nti mazima abo abagunjaawo obulimba ku Katonda tebagenda kwesiima.

Yunus 10:70

مَتَٰعٞ فِي ٱلدُّنۡيَا ثُمَّ إِلَيۡنَا مَرۡجِعُهُمۡ ثُمَّ نُذِيقُهُمُ ٱلۡعَذَابَ ٱلشَّدِيدَ بِمَا كَانُواْ يَكۡفُرُونَ ﴿٧٠﴾

Kale beeyagale mu nsi oluvanyuma gye tuli y'egenda okuba obuddo bwa bwe olwo nno tubakombye ku bibonerezo ebikakali olw'ebyo bye baawakanyanga.

Hud 11:6

۞وَمَا مِن دَآبَّةٖ فِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا عَلَى ٱللَّهِ رِزۡقُهَا وَيَعۡلَمُ مُسۡتَقَرَّهَا وَمُسۡتَوۡدَعَهَاۚ كُلّٞ فِي كِتَٰبٖ مُّبِينٖ ﴿٦﴾

Tewali kitonde kyonna mu bitambula ku nsi okugyako nga okugabirirwa kwa kyo kuli ku Katonda, era amanyi byonna ebikikwatako mu bulamu bw'ensi n’obwoluvanyuma, buli kimu kiri mu kitabo ekyeyolefu.

Hud 11:7

وَهُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ وَكَانَ عَرۡشُهُۥ عَلَى ٱلۡمَآءِ لِيَبۡلُوَكُمۡ أَيُّكُمۡ أَحۡسَنُ عَمَلٗاۗ وَلَئِن قُلۡتَ إِنَّكُم مَّبۡعُوثُونَ مِنۢ بَعۡدِ ٱلۡمَوۡتِ لَيَقُولَنَّ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِنۡ هَٰذَآ إِلَّا سِحۡرٞ مُّبِينٞ ﴿٧﴾

Era yye yooyo, eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku mukaaga, era Arish ye yali ku mazzi, olwo nno alyoke abagezese ani mu mmwe asinga okukola obulungi, singa ogamba (Ggwe Muhammad) nti mazima mmwe mujja kuzuukizibwa oluvanyuma lw'okufa abo abakaafuwala bajja kugambira ddala nti tekiri kino (Kur’ani) okugyako eddogo ery'olwatu.

Ar-Ra'd 13:1

الٓمٓرۚ تِلۡكَ ءَايَٰتُ ٱلۡكِتَٰبِۗ وَٱلَّذِيٓ أُنزِلَ إِلَيۡكَ مِن رَّبِّكَ ٱلۡحَقُّ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿١﴾

Alif Laam Miim Raa, zino aya za kitabo (Kur’ani) ekyo ekyassibwa gyoli okuva ewa Mukama omulabiriziwo, ge mazima. Naye abantu abasinga obungi tebakkiriza.

Ar-Ra'd 13:2

ٱللَّهُ ٱلَّذِي رَفَعَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ بِغَيۡرِ عَمَدٖ تَرَوۡنَهَاۖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ وَسَخَّرَ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ كُلّٞ يَجۡرِي لِأَجَلٖ مُّسَمّٗىۚ يُدَبِّرُ ٱلۡأَمۡرَ يُفَصِّلُ ٱلۡأٓيَٰتِ لَعَلَّكُم بِلِقَآءِ رَبِّكُمۡ تُوقِنُونَ ﴿٢﴾

Katonda yooyo eyasitula eggulu omusanvu awatali mpagi ze mulaba, oluvanyuma yatebenkera ku ntebe ye, era yagonza enjuba n'omwezi buli kimu kigenda kutambula okumala ebbanga eryakigererwa, atambuza buli kintu, annyonnyola ebigambo, kibasobozese okukkiriza nti mugenda kusisinkana Mukama omulabirizi wa mmwe.

Ar-Ra'd 13:3

وَهُوَ ٱلَّذِي مَدَّ ٱلۡأَرۡضَ وَجَعَلَ فِيهَا رَوَٰسِيَ وَأَنۡهَٰرٗاۖ وَمِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِ جَعَلَ فِيهَا زَوۡجَيۡنِ ٱثۡنَيۡنِۖ يُغۡشِي ٱلَّيۡلَ ٱلنَّهَارَۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ ﴿٣﴾

Era yye yooyo eyagaziya ensi Nassa mu yo e nsozi n'emigga, ate nabuli bibala, yateeka mu yo emitendera ebiri (ekisajja n'ekikazi) obudde bw'ekiro abubikkisa emisana. Mazima ebyo birimu obubonero eri abantu abafumiitiriza.

Ar-Ra'd 13:4

وَفِي ٱلۡأَرۡضِ قِطَعٞ مُّتَجَٰوِرَٰتٞ وَجَنَّـٰتٞ مِّنۡ أَعۡنَٰبٖ وَزَرۡعٞ وَنَخِيلٞ صِنۡوَانٞ وَغَيۡرُ صِنۡوَانٖ يُسۡقَىٰ بِمَآءٖ وَٰحِدٖ وَنُفَضِّلُ بَعۡضَهَا عَلَىٰ بَعۡضٖ فِي ٱلۡأُكُلِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ ﴿٤﴾

Ate ne mu ttaka mulimu ebitundu ebiriraanye (naye ate tebifaanagana) era nga mulimu amalimiro ag'e Nzabibu era nga mulimu n'ebimera n'emitende ekikolo eky'emiti emingi n'ekikolo eky'omuti ogumu (nga byonna) binywekerezebwa ku mazzi ge gamu, era tusukkulumya ebimu ku binnaabyo mu kuwooma, mazima mu ebyo mulimu obubonero eri abantu abalina amagezi.

Ar-Ra'd 13:8

ٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تَحۡمِلُ كُلُّ أُنثَىٰ وَمَا تَغِيضُ ٱلۡأَرۡحَامُ وَمَا تَزۡدَادُۚ وَكُلُّ شَيۡءٍ عِندَهُۥ بِمِقۡدَارٍ ﴿٨﴾

Katonda amanyi buli kikazi ekyo kye kiba kirina mu lubuto lwa kyo, n'ekyo nnabaana kyayongera ne kyakendeeza, (ku bbanga olubuto lye lumala) era buli kintu kyonna ewa Mukama Katonda kikolera ku kigero (ekyakiweebwa).

Ar-Ra'd 13:9

عَٰلِمُ ٱلۡغَيۡبِ وَٱلشَّهَٰدَةِ ٱلۡكَبِيرُ ٱلۡمُتَعَالِ ﴿٩﴾

Amanyi ebyekusifu n'ebirabwako, ow'ekitiibwa ennyo eyeesukulumya yekka.

Ar-Ra'd 13:10

سَوَآءٞ مِّنكُم مَّنۡ أَسَرَّ ٱلۡقَوۡلَ وَمَن جَهَرَ بِهِۦ وَمَنۡ هُوَ مُسۡتَخۡفِۭ بِٱلَّيۡلِ وَسَارِبُۢ بِٱلنَّهَارِ ﴿١٠﴾

Kye kimu (ewa Katonda) mu mmwe oyo aba akweese, ekigambo n'oyo akyatula, n'oyo akukuta ekiro, n'oyo assa ebibye mu musana.

Ar-Ra'd 13:11

لَهُۥ مُعَقِّبَٰتٞ مِّنۢ بَيۡنِ يَدَيۡهِ وَمِنۡ خَلۡفِهِۦ يَحۡفَظُونَهُۥ مِنۡ أَمۡرِ ٱللَّهِۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُغَيِّرُ مَا بِقَوۡمٍ حَتَّىٰ يُغَيِّرُواْ مَا بِأَنفُسِهِمۡۗ وَإِذَآ أَرَادَ ٱللَّهُ بِقَوۡمٖ سُوٓءٗا فَلَا مَرَدَّ لَهُۥۚ وَمَا لَهُم مِّن دُونِهِۦ مِن وَالٍ ﴿١١﴾

(Buli muntu) aliko (ba Malayika) abakolera mu mpalo, buli kiseera babeera mu maasoge n'emabegawe nga bamukuuma nga ekyo kiragiro kya Katonda, mazima Katonda takyusa mbeera nnungi eri ku bantu okugyako nga bo bennyini be bakyusizza, Katonda bwaba ayagaliza obubi okutuuka ku bantu tewali ayinza kubuzzaayo, era tebayinza kufuna ng'oggyeko Katonda mukuumi mulala yenna.

Ar-Ra'd 13:12

هُوَ ٱلَّذِي يُرِيكُمُ ٱلۡبَرۡقَ خَوۡفٗا وَطَمَعٗا وَيُنشِئُ ٱلسَّحَابَ ٱلثِّقَالَ ﴿١٢﴾

Yye yooyo abalaga ekimyanso waggulu ne muba mu kutya ate nemuba nga muyaayaanira (enkuba), era yassaawo ebire ebizito ebitonnyesa enkuba.

Ar-Ra'd 13:13

وَيُسَبِّحُ ٱلرَّعۡدُ بِحَمۡدِهِۦ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ مِنۡ خِيفَتِهِۦ وَيُرۡسِلُ ٱلصَّوَٰعِقَ فَيُصِيبُ بِهَا مَن يَشَآءُ وَهُمۡ يُجَٰدِلُونَ فِي ٱللَّهِ وَهُوَ شَدِيدُ ٱلۡمِحَالِ ﴿١٣﴾

Okubwatuka okuva waggulu kutendereza Katonda nga bwe kumusuuta, ba Malayika (nabo bamutendereza) olw'okumutya era asindika okubwatuka kwe ggulu naazikiriza nakwo oyo gwaba ayagadde okuzikiriza. (Awamu n'ekyo) bo abakaafiiri bagenda mu maaso nga bawakana ku bwomu bwa Katonda mazima yye Katonda amaanyige masuffu.

Ibrahim 14:32

ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ وَأَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَخۡرَجَ بِهِۦ مِنَ ٱلثَّمَرَٰتِ رِزۡقٗا لَّكُمۡۖ وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلۡفُلۡكَ لِتَجۡرِيَ فِي ٱلۡبَحۡرِ بِأَمۡرِهِۦۖ وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلۡأَنۡهَٰرَ ﴿٣٢﴾

Katonda oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi naatonnyesa okuva waggulu, amazzi n'ameza nago ebibala nga bya kulya bya mmwe, era yabagondeza amaato okuba nga gatambulira ku nyanja ku lw'obuyinzabwe era naabagondeza emigga.

Ibrahim 14:33

وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَ دَآئِبَيۡنِۖ وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ ﴿٣٣﴾

Era naabagondeza enjuba n'omwezi nga byombi bitambula era naabagondeza ekiro n'omusana.

Ibrahim 14:34

وَءَاتَىٰكُم مِّن كُلِّ مَا سَأَلۡتُمُوهُۚ وَإِن تَعُدُّواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ لَا تُحۡصُوهَآۗ إِنَّ ٱلۡإِنسَٰنَ لَظَلُومٞ كَفَّارٞ ﴿٣٤﴾

Era naabawa ekyo kyonna kye mumusaba, singa mugezaako okubala ebyengera bya Katonda temuyinza kubimalayo, anti mazima bulijjo omuntu yeeyisa bubi, yeewakana ebyengera.

An-Nahl 16:1

أَتَىٰٓ أَمۡرُ ٱللَّهِ فَلَا تَسۡتَعۡجِلُوهُۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿١﴾

Ekiragiro kya Katonda kisembedde n'olwekyo temusaba kwanguwa kwakyo, (Katonda) yasukkuluma neyeesamba ku ebyo bye bamugattako.

An-Nahl 16:2

يُنَزِّلُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ بِٱلرُّوحِ مِنۡ أَمۡرِهِۦ عَلَىٰ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦٓ أَنۡ أَنذِرُوٓاْ أَنَّهُۥ لَآ إِلَٰهَ إِلَّآ أَنَا۠ فَٱتَّقُونِ ﴿٢﴾

Assa ba Malayika nga baleeta obubaka ku lw'ekiragirokye ku oyo gwaba ayagadde mu baddube, mutiise (abantu nga mubagamba nti), mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako nze kale nno muntye.

An-Nahl 16:3

خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّۚ تَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿٣﴾

Yatonda eggulu omusanvu n'ensi lwa nsonga, musukkulumu nnyo ku ebyo bye bamugattako.

An-Nahl 16:4

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِن نُّطۡفَةٖ فَإِذَا هُوَ خَصِيمٞ مُّبِينٞ ﴿٤﴾

Yatonda omuntu nga amuggya mu mazzi agazaala, (bwakula) naafuuka omukaayanye ow'olwatu.

An-Nahl 16:5

وَٱلۡأَنۡعَٰمَ خَلَقَهَاۖ لَكُمۡ فِيهَا دِفۡءٞ وَمَنَٰفِعُ وَمِنۡهَا تَأۡكُلُونَ ﴿٥﴾

N’ebisolo ebirundibwa yabibatondera mufune mu byo okubuguma, n'emigaso (emirala) nga era kwe mulya.

An-Nahl 16:6

وَلَكُمۡ فِيهَا جَمَالٌ حِينَ تُرِيحُونَ وَحِينَ تَسۡرَحُونَ ﴿٦﴾

Era mulina mu byo okunyumirwa mu kiseera wemubiggyirayo ne mu kiseera wemubitwalirayo (ku ttale).

An-Nahl 16:7

وَتَحۡمِلُ أَثۡقَالَكُمۡ إِلَىٰ بَلَدٖ لَّمۡ تَكُونُواْ بَٰلِغِيهِ إِلَّا بِشِقِّ ٱلۡأَنفُسِۚ إِنَّ رَبَّكُمۡ لَرَءُوفٞ رَّحِيمٞ ﴿٧﴾

(Nga ebisolo ebimu) byetikka emigugu gya mmwe okugitwala eri ekitundu gye mutandituuse okugyako mu buzibu obw'ekitalo, mazima bulijjo Mukama omulabirizi wa mmwe alumirwa nnyo wa kisa.

An-Nahl 16:8

وَٱلۡخَيۡلَ وَٱلۡبِغَالَ وَٱلۡحَمِيرَ لِتَرۡكَبُوهَا وَزِينَةٗۚ وَيَخۡلُقُ مَا لَا تَعۡلَمُونَ ﴿٨﴾

Era (yatonda) enfalaasi, n'e nyumbu n'endogoyi mube nga mubyebagala era nga bya kubasanyusa, era atonda ne bye mutamanyi.

An-Nahl 16:9

وَعَلَى ٱللَّهِ قَصۡدُ ٱلسَّبِيلِ وَمِنۡهَا جَآئِرٞۚ وَلَوۡ شَآءَ لَهَدَىٰكُمۡ أَجۡمَعِينَ ﴿٩﴾

Katonda y'alaga ekkubo ettuufu, ate amakubo agamu makyamu, singa yali ayagadde mwenna yandibalungamizza.

An-Nahl 16:10

هُوَ ٱلَّذِيٓ أَنزَلَ مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗۖ لَّكُم مِّنۡهُ شَرَابٞ وَمِنۡهُ شَجَرٞ فِيهِ تُسِيمُونَ ﴿١٠﴾

Yye yooyo abatonnyeseza enkuba okuva waggulu, ku nkuba eyo kwe munywa, era ku nkuba eyo emiti kwe gimerera nga ku gyo kwe muliisa ensolo za mmwe.

An-Nahl 16:11

يُنۢبِتُ لَكُم بِهِ ٱلزَّرۡعَ وَٱلزَّيۡتُونَ وَٱلنَّخِيلَ وَٱلۡأَعۡنَٰبَ وَمِن كُلِّ ٱلثَّمَرَٰتِۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَتَفَكَّرُونَ ﴿١١﴾

Abamereza nayo ebirimwa ne Zaituni n'emitende ne nzabibu nabuli bibala byonna, mazima mu ekyo mulimu akabonero (akalaga obuyinza) bwa Katonda eri abantu abafumiitiriza.

An-Nahl 16:12

وَسَخَّرَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ وَٱلنَّهَارَ وَٱلشَّمۡسَ وَٱلۡقَمَرَۖ وَٱلنُّجُومُ مُسَخَّرَٰتُۢ بِأَمۡرِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّقَوۡمٖ يَعۡقِلُونَ ﴿١٢﴾

Era yabagondeza ekiro n'emisana era enjuba n'omwezi n'emmunyeenye byonna byagonzebwa (bitambulira) ku kiragiro kye. Mazima mu ebyo byonna mulimu obubonero eri abantu abategeera.

An-Nahl 16:13

وَمَا ذَرَأَ لَكُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ مُخۡتَلِفًا أَلۡوَٰنُهُۥٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّقَوۡمٖ يَذَّكَّرُونَ ﴿١٣﴾

N’ebyo bye yabateera mu nsi nga amabala g'abyo tegafaanagana, mazima mu ekyo mulimu akabonero eri abantu abejjukanya.

An-Nahl 16:14

وَهُوَ ٱلَّذِي سَخَّرَ ٱلۡبَحۡرَ لِتَأۡكُلُواْ مِنۡهُ لَحۡمٗا طَرِيّٗا وَتَسۡتَخۡرِجُواْ مِنۡهُ حِلۡيَةٗ تَلۡبَسُونَهَاۖ وَتَرَى ٱلۡفُلۡكَ مَوَاخِرَ فِيهِ وَلِتَبۡتَغُواْ مِن فَضۡلِهِۦ وَلَعَلَّكُمۡ تَشۡكُرُونَ ﴿١٤﴾

Era yye, yooyo eyagonza enyanja mube nga mulya muyo ennyama (ebyenyanja) ebibisi era muggye mu yo eby'okwewunda bye mwambala. Ogenda noolaba amaato nga gakola ekkubo muyo, olwo nno musobole okugenda okunoonya ebigabwabye (Katonda), era kibasobozese okwebaza.

An-Nahl 16:15

وَأَلۡقَىٰ فِي ٱلۡأَرۡضِ رَوَٰسِيَ أَن تَمِيدَ بِكُمۡ وَأَنۡهَٰرٗا وَسُبُلٗا لَّعَلَّكُمۡ تَهۡتَدُونَ ﴿١٥﴾

Era yassa mu nsi enkondo (ensozi) ereme kubayuuza, era nassaamu emigga, n'amakubo musobole okulungama.

An-Nahl 16:16

وَعَلَٰمَٰتٖۚ وَبِٱلنَّجۡمِ هُمۡ يَهۡتَدُونَ ﴿١٦﴾

Era naateeka (mu nsi) obubonero, okwo nno bwogattako emmunyeenye basobole okumanya gye balaga.

An-Nahl 16:17

أَفَمَن يَخۡلُقُ كَمَن لَّا يَخۡلُقُۚ أَفَلَا تَذَكَّرُونَ ﴿١٧﴾

Abange oyo atonda ayinza okuba nga atatonda! abaffe temujjukira.

An-Nahl 16:18

وَإِن تَعُدُّواْ نِعۡمَةَ ٱللَّهِ لَا تُحۡصُوهَآۗ إِنَّ ٱللَّهَ لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿١٨﴾

Ne bwe mubala ebyengera bya Katonda temusobola kubikomekkereza, mazima Katonda musonyiyi nnyo musaasizi.

An-Nahl 16:19

وَٱللَّهُ يَعۡلَمُ مَا تُسِرُّونَ وَمَا تُعۡلِنُونَ ﴿١٩﴾

Era Katonda amanyi bye mukola mu kyama ne bye mukola mu lwatu.

An-Nahl 16:48

أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ إِلَىٰ مَا خَلَقَ ٱللَّهُ مِن شَيۡءٖ يَتَفَيَّؤُاْ ظِلَٰلُهُۥ عَنِ ٱلۡيَمِينِ وَٱلشَّمَآئِلِ سُجَّدٗا لِّلَّهِ وَهُمۡ دَٰخِرُونَ ﴿٤٨﴾

Abaffe tebatunuulira ne balaba ebintu Katonda bye yatonda, ebisiikirize byabyo engeri gye bikyukamu ku ddyo ne ku kkono nga bivunnamira Katonda era nga bimugondera.

An-Nahl 16:49

وَلِلَّهِۤ يَسۡجُدُۤ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِ مِن دَآبَّةٖ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ وَهُمۡ لَا يَسۡتَكۡبِرُونَ ﴿٤٩﴾

Katonda yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi gwe bivunnamira, kabibe ebitambula ku nsi, ne ba Malayika, era byonna tebyekuza.

An-Nahl 16:50

يَخَافُونَ رَبَّهُم مِّن فَوۡقِهِمۡ وَيَفۡعَلُونَ مَا يُؤۡمَرُونَ۩ ﴿٥٠﴾

Batya Mukama omulabirizi waabwe ali waggulu waabwe era bakola buli ekibalagirwa.

An-Nahl 16:51

۞وَقَالَ ٱللَّهُ لَا تَتَّخِذُوٓاْ إِلَٰهَيۡنِ ٱثۡنَيۡنِۖ إِنَّمَا هُوَ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ فَإِيَّـٰيَ فَٱرۡهَبُونِ ﴿٥١﴾

Katonda agamba nti temugunjawo ba katonda ababiri, mazima yye ali Katonda omu kale nno nze nzekka gwe muba mutya.

An-Nahl 16:52

وَلَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَلَهُ ٱلدِّينُ وَاصِبًاۚ أَفَغَيۡرَ ٱللَّهِ تَتَّقُونَ ﴿٥٢﴾

Era bibye yekka ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi era yekka yaateekwa okugonderwa, ngeriki bwe muyinza okutya atali Katonda!.

An-Nahl 16:77

وَلِلَّهِ غَيۡبُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَمَآ أَمۡرُ ٱلسَّاعَةِ إِلَّا كَلَمۡحِ ٱلۡبَصَرِ أَوۡ هُوَ أَقۡرَبُۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ ﴿٧٧﴾

Katonda amanyi ebikusike mu ggulu omusanvu ne mu nsi, obwangu bw'okujja kw’olunaku lw'enkomerero tebuli okugyako nga olutemya lweriiso, oba kyo kyekisinga obwangu, anti mazima Katonda ku buli kintu muyinza.

Emitwe