quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 8)

481 Aya · Emitwe · lg

Ar-Rahman 55:5

ٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُ بِحُسۡبَانٖ ﴿٥﴾

Enjuba n’omwezi bitambulira ku nteekateeka (eyabiweebwa).

Ar-Rahman 55:6

وَٱلنَّجۡمُ وَٱلشَّجَرُ يَسۡجُدَانِ ﴿٦﴾

Ebiddo n’emiti (bivunnama nga bisinza Katonda).

Ar-Rahman 55:7

وَٱلسَّمَآءَ رَفَعَهَا وَوَضَعَ ٱلۡمِيزَانَ ﴿٧﴾

Era eggulu yalisitula era nassaawo obwenkanya.

Ar-Rahman 55:8

أَلَّا تَطۡغَوۡاْ فِي ٱلۡمِيزَانِ ﴿٨﴾

Mube nga temusukka ebipimo (mu kutuukiriza obwenkanya).

Ar-Rahman 55:9

وَأَقِيمُواْ ٱلۡوَزۡنَ بِٱلۡقِسۡطِ وَلَا تُخۡسِرُواْ ٱلۡمِيزَانَ ﴿٩﴾

Era muyirizeewo ebipimo mu bwenkanya era temukendezanga minzane.

Ar-Rahman 55:10

وَٱلۡأَرۡضَ وَضَعَهَا لِلۡأَنَامِ ﴿١٠﴾

N'ensi yagiteerawo ebitonde.

Ar-Rahman 55:11

فِيهَا فَٰكِهَةٞ وَٱلنَّخۡلُ ذَاتُ ٱلۡأَكۡمَامِ ﴿١١﴾

Nga erimu ebibalo n’emitende egirina ebirimba.

Ar-Rahman 55:12

وَٱلۡحَبُّ ذُو ٱلۡعَصۡفِ وَٱلرَّيۡحَانُ ﴿١٢﴾

N'ebimera ebye mpeke eziri mu bikuta n’ebimera ebya kawoowo.

Ar-Rahman 55:13

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿١٣﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

Ar-Rahman 55:14

خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ مِن صَلۡصَٰلٖ كَٱلۡفَخَّارِ ﴿١٤﴾

Yatonda omuntu mu bumba eggumu eriringa ejjokye.

Ar-Rahman 55:15

وَخَلَقَ ٱلۡجَآنَّ مِن مَّارِجٖ مِّن نَّارٖ ﴿١٥﴾

Ate naatonda amajinni mu bitawuliro by’omuliro.

Ar-Rahman 55:16

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿١٦﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

Ar-Rahman 55:17

رَبُّ ٱلۡمَشۡرِقَيۡنِ وَرَبُّ ٱلۡمَغۡرِبَيۡنِ ﴿١٧﴾

Mukama omulabirizi w’o buvanjuba bwombi, era Mukama omulabirizi w'obugwanjuba bwombi.

Ar-Rahman 55:18

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿١٨﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

Ar-Rahman 55:19

مَرَجَ ٱلۡبَحۡرَيۡنِ يَلۡتَقِيَانِ ﴿١٩﴾

Yagatta enyanja ebbiri (ez’amazzi agenjawulo aganyweka na gatanyweka) zesisinkana.

Ar-Rahman 55:20

بَيۡنَهُمَا بَرۡزَخٞ لَّا يَبۡغِيَانِ ﴿٢٠﴾

Wakati wa zombi waliwo ekyawula, tezigenda kwetabula.

Ar-Rahman 55:21

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿٢١﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

Ar-Rahman 55:22

يَخۡرُجُ مِنۡهُمَا ٱللُّؤۡلُؤُ وَٱلۡمَرۡجَانُ ﴿٢٢﴾

Ate nga mu zombi mwe muva Luulu ne Marijaani (amayinja ag’omuwendo).

Ar-Rahman 55:23

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿٢٣﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

Ar-Rahman 55:24

وَلَهُ ٱلۡجَوَارِ ٱلۡمُنشَـَٔاتُ فِي ٱلۡبَحۡرِ كَٱلۡأَعۡلَٰمِ ﴿٢٤﴾

Era gatambula ku lwo buyinza bwe amaato agakolwa ku lwo kutambulira ku nyanja nga galinga ensozi.

Ar-Rahman 55:25

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿٢٥﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

Ar-Rahman 55:26

كُلُّ مَنۡ عَلَيۡهَا فَانٖ ﴿٢٦﴾

Buli kyonna ekigiriko (ensi) kya kuggwawo.

Ar-Rahman 55:27

وَيَبۡقَىٰ وَجۡهُ رَبِّكَ ذُو ٱلۡجَلَٰلِ وَٱلۡإِكۡرَامِ ﴿٢٧﴾

Olwo nno wasigalewo obwennyini bwa Mukama omulabirizi wo, nannyini kugulumizibwa era nannyini kitiibwa.

Ar-Rahman 55:28

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿٢٨﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

Ar-Rahman 55:29

يَسۡـَٔلُهُۥ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ كُلَّ يَوۡمٍ هُوَ فِي شَأۡنٖ ﴿٢٩﴾

Bimusaba ebyo ebiri mu ggulu omusanvu n'ensi (naye nga) buli lunaku aba ku ngeri ndala (mu kugera kwe).

Ar-Rahman 55:30

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿٣٠﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

Ar-Rahman 55:31

سَنَفۡرُغُ لَكُمۡ أَيُّهَ ٱلثَّقَلَانِ ﴿٣١﴾

Tujja kubateerawo ekiseera abange mmwe ebitonde ebizito ebibiri (amajinni n’abantu, ekiseera ekyo mwe tulibalira buli omu).

Ar-Rahman 55:32

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿٣٢﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

Ar-Rahman 55:33

يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ إِنِ ٱسۡتَطَعۡتُمۡ أَن تَنفُذُواْ مِنۡ أَقۡطَارِ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ فَٱنفُذُواْۚ لَا تَنفُذُونَ إِلَّا بِسُلۡطَٰنٖ ﴿٣٣﴾

Abange mmwe ab'oluse lwa majinni n’oluse lwa bantu, bwe muba musobola okuyita mu bitundu bye ggulu omusanvu n'ensi (mube nga mudduka ku Katonda) kale muyitemu (naye) temuyinza kuyitamu okugyako nga mulina obusobozi.

Ar-Rahman 55:34

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿٣٤﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

Ar-Rahman 55:35

يُرۡسَلُ عَلَيۡكُمَا شُوَاظٞ مِّن نَّارٖ وَنُحَاسٞ فَلَا تَنتَصِرَانِ ﴿٣٥﴾

Musindikirwa mwe ab'emirundi ebiri (amajinni n’abantu) ebitawuliro byomuliro, n’ekikomo ekisaanuuse (naye temusobola kwetaasa).

Ar-Rahman 55:36

فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكُمَا تُكَذِّبَانِ ﴿٣٦﴾

Kaakano kiriwa kye mulimbisa ku byengera bya Mukama omulabirizi wa mmwe (mmwe ab’emirundi ebiri abantu na majinni).

Al-Hadid 57:1

سَبَّحَ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿١﴾

Byonna ebiri mu ggulu omusanvu ne nsi bitendereza Katonda, era yye ye nnantakubwa ku mukono mugoba nsonga.

Al-Hadid 57:2

لَهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ يُحۡيِۦ وَيُمِيتُۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿٢﴾

Bubwe yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi,awa obulamu era natta, era yemuyinza ku buli kintu.

Al-Hadid 57:3

هُوَ ٱلۡأَوَّلُ وَٱلۡأٓخِرُ وَٱلظَّـٰهِرُ وَٱلۡبَاطِنُۖ وَهُوَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٌ ﴿٣﴾

Yye ye yasooka era ow'enkomerero, era yye yaali waggulu wa buli kintu, era yaasooka wansi, nga wansii we tewali kintu kirala, era yye amanyi ebifa ku buli kintu.

Al-Hadid 57:4

هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ فِي سِتَّةِ أَيَّامٖ ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰ عَلَى ٱلۡعَرۡشِۖ يَعۡلَمُ مَا يَلِجُ فِي ٱلۡأَرۡضِ وَمَا يَخۡرُجُ مِنۡهَا وَمَا يَنزِلُ مِنَ ٱلسَّمَآءِ وَمَا يَعۡرُجُ فِيهَاۖ وَهُوَ مَعَكُمۡ أَيۡنَ مَا كُنتُمۡۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٞ ﴿٤﴾

Yye yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi mu nnaku omukaaga, oluvanyuma yatebenkera ku Arish, amanyi ebikka ku nsi nebigifuluma n'ebyo ebikka okuva mu ggulu nebiryambukamu, era yye aba wamu na mmwe wonna wemuba, era Katonda alabira ddala ebyo bye mukola.

Al-Hadid 57:5

لَّهُۥ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَإِلَى ٱللَّهِ تُرۡجَعُ ٱلۡأُمُورُ ﴿٥﴾

Bubwe yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu n'ensi era eri Katonda ebintu byonna gye bizzibwa.

Al-Hadid 57:6

يُولِجُ ٱلَّيۡلَ فِي ٱلنَّهَارِ وَيُولِجُ ٱلنَّهَارَ فِي ٱلَّيۡلِۚ وَهُوَ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿٦﴾

Abuliza ekiro mu musana, era naabuliza omusana mu kiro, era yye amanyidde ddala ebiri mu bifuba.

Al-Hadid 57:7

ءَامِنُواْ بِٱللَّهِ وَرَسُولِهِۦ وَأَنفِقُواْ مِمَّا جَعَلَكُم مُّسۡتَخۡلَفِينَ فِيهِۖ فَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنكُمۡ وَأَنفَقُواْ لَهُمۡ أَجۡرٞ كَبِيرٞ ﴿٧﴾

Mukkirize Katonda n’omubaka we, era mugabe kwebyo bya yabafuula abasigire mu byo, abo nno abakkiriza mu mmwe era ne bagaba, balina empeera ensuffu.

At-Taghabun 64:1

يُسَبِّحُ لِلَّهِ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۖ لَهُ ٱلۡمُلۡكُ وَلَهُ ٱلۡحَمۡدُۖ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿١﴾

Ebiri mu ggulu ne mu nsi byonna bitenda Katonda, obufuzi bwonna n'amatendo gonna bibye, anti ye muyinza wa buli kintu.

At-Taghabun 64:2

هُوَ ٱلَّذِي خَلَقَكُمۡ فَمِنكُمۡ كَافِرٞ وَمِنكُم مُّؤۡمِنٞۚ وَٱللَّهُ بِمَا تَعۡمَلُونَ بَصِيرٌ ﴿٢﴾

Yye yooyo eyabatonda nga mu mmwe mulimu abakafiiri na bandi bakkiriza. Lubeerera Katonda alaba bye mukola.

At-Taghabun 64:3

خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِٱلۡحَقِّ وَصَوَّرَكُمۡ فَأَحۡسَنَ صُوَرَكُمۡۖ وَإِلَيۡهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿٣﴾

Yatonda eggulu n'ensi lwa nsonga. Ekifaananyi kye yabatonderako kye kisingira ddala okuba ekirungi. Era gyali gye mugenda okudda.

At-Taghabun 64:4

يَعۡلَمُ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَيَعۡلَمُ مَا تُسِرُّونَ وَمَا تُعۡلِنُونَۚ وَٱللَّهُ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿٤﴾

Amanyi ebiri mu ggulu ne mu nsi, era nga bwa manyi bye mukweka ne bye mwolesa. Anti Katonda amanyi ebiri mu bifuba.

At-Talaq 65:12

ٱللَّهُ ٱلَّذِي خَلَقَ سَبۡعَ سَمَٰوَٰتٖ وَمِنَ ٱلۡأَرۡضِ مِثۡلَهُنَّۖ يَتَنَزَّلُ ٱلۡأَمۡرُ بَيۡنَهُنَّ لِتَعۡلَمُوٓاْ أَنَّ ٱللَّهَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ وَأَنَّ ٱللَّهَ قَدۡ أَحَاطَ بِكُلِّ شَيۡءٍ عِلۡمَۢا ﴿١٢﴾

Katonda yooyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi naazitonda omuwendo gwe gumu, obubaka bwa Katonda bukka wakati we ggulu n'ensi mulyoke mumanye nti, mazima Katonda musobozi ku buli kintu, era mazima Katonda mumanyi wa buli kintu.

Al-Mulk 67:1

تَبَٰرَكَ ٱلَّذِي بِيَدِهِ ٱلۡمُلۡكُ وَهُوَ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿١﴾

Mukama Katonda nanyini buyinza bwonna musukkulumu, era nga muyinza w'abuli kintu.

Al-Mulk 67:2

ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلۡمَوۡتَ وَٱلۡحَيَوٰةَ لِيَبۡلُوَكُمۡ أَيُّكُمۡ أَحۡسَنُ عَمَلٗاۚ وَهُوَ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡغَفُورُ ﴿٢﴾

Oyo eyatonda okufa n'obulamu, olwokubageseza alabe ani asinga okukola obulungi. Naye ye Nnantakubwa ku mukono omusonyiyi.

Al-Mulk 67:3

ٱلَّذِي خَلَقَ سَبۡعَ سَمَٰوَٰتٖ طِبَاقٗاۖ مَّا تَرَىٰ فِي خَلۡقِ ٱلرَّحۡمَٰنِ مِن تَفَٰوُتٖۖ فَٱرۡجِعِ ٱلۡبَصَرَ هَلۡ تَرَىٰ مِن فُطُورٖ ﴿٣﴾

Oyo eyatonda eggulu omusanvu nga myaliro, toyinza kulaba mu kutonda kwa Katonda kamogo konna w'etegereze abaffe olabamu obukyamu bwonna.

Al-Mulk 67:4

ثُمَّ ٱرۡجِعِ ٱلۡبَصَرَ كَرَّتَيۡنِ يَنقَلِبۡ إِلَيۡكَ ٱلۡبَصَرُ خَاسِئٗا وَهُوَ حَسِيرٞ ﴿٤﴾

Era zzaayo amaaso emirundi nemirundi eriiso lijja ku kuddira nga likooye era nga tolina kyofunyeeyo.

Al-Mulk 67:5

وَلَقَدۡ زَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِمَصَٰبِيحَ وَجَعَلۡنَٰهَا رُجُومٗا لِّلشَّيَٰطِينِۖ وَأَعۡتَدۡنَا لَهُمۡ عَذَابَ ٱلسَّعِيرِ ﴿٥﴾

Mazima eggulu eriri okumpi n'ensi twalinyiriza nemunyeeye ezaaka, era nga bitawuliro ebigoba Sitani era Sitani ezo twazitegekera ebibonerezo byomuliro Ssair.

Al-Mulk 67:13

وَأَسِرُّواْ قَوۡلَكُمۡ أَوِ ٱجۡهَرُواْ بِهِۦٓۖ إِنَّهُۥ عَلِيمُۢ بِذَاتِ ٱلصُّدُورِ ﴿١٣﴾

Kyekimu mukwese ebigambo byamwe oba mubyatudde mazima yye amanyi ebiri mu bifuba

Emitwe