أَوۡ يُوبِقۡهُنَّ بِمَا كَسَبُواْ وَيَعۡفُ عَن كَثِيرٖ ﴿٣٤﴾
Oba ayinza okugabbiza (nebazikirira) olw'ebibi bye baba bakoze, anti bulujjo alekera bingi.
481 Aya · Emitwe · lg
أَوۡ يُوبِقۡهُنَّ بِمَا كَسَبُواْ وَيَعۡفُ عَن كَثِيرٖ ﴿٣٤﴾
Oba ayinza okugabbiza (nebazikirira) olw'ebibi bye baba bakoze, anti bulujjo alekera bingi.
وَيَعۡلَمَ ٱلَّذِينَ يُجَٰدِلُونَ فِيٓ ءَايَٰتِنَا مَا لَهُم مِّن مَّحِيصٖ ﴿٣٥﴾
Era abo abawakanya ebigambo byaffe, bateekwa bamanye nti tebagenda kufuna buddukiro.
وَإِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِمۡ ءَايَٰتُنَا بَيِّنَٰتٖ مَّا كَانَ حُجَّتَهُمۡ إِلَّآ أَن قَالُواْ ٱئۡتُواْ بِـَٔابَآئِنَآ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿٢٥﴾
Ebigambo byaffe bwe bibasomerwa mu bunnyonnyofu (bwabyo), ekyekwaso kyabwe tekiba okugyako bagamba (bweba nga eriyo okuzuukira kale) mukomyewo bakadde baffe (abaafa) mwemuba mwogera mazima.
قُلِ ٱللَّهُ يُحۡيِيكُمۡ ثُمَّ يُمِيتُكُمۡ ثُمَّ يَجۡمَعُكُمۡ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ لَا رَيۡبَ فِيهِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٢٦﴾
Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) nti Katonda y'abawa obulamu oluvanyuma nabatta ate oluvanyuma agenda kubakungaanya nga batwala eri olunaku lw’enkomerero teruliimu kubuusabuusa naye abantu abasinga obungi tebamanyi.
وَلِلَّهِ مُلۡكُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ وَيَوۡمَ تَقُومُ ٱلسَّاعَةُ يَوۡمَئِذٖ يَخۡسَرُ ٱلۡمُبۡطِلُونَ ﴿٢٧﴾
Bwa Katonda yekka obufuzi bwe ggulu omusanvu ne nsi, era era bubwe olunaku lw’enkomerero lwelituuka, olunaku olwo abonoonyi balifafaganirwa.
وَتَرَىٰ كُلَّ أُمَّةٖ جَاثِيَةٗۚ كُلُّ أُمَّةٖ تُدۡعَىٰٓ إِلَىٰ كِتَٰبِهَا ٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَوۡنَ مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٢٨﴾
(Kwolwo) oliraba buli kibiina nga kifukamidde (olwokutya). Buli kibiina kiriyitibwa okugenda awali ekitabo kyakyo (ekyo ekirimu emirimu gyabwe era baligambibwa nti) olwaleero muli ba kusasulwa ebyo bye mwali mukola.
هَٰذَا كِتَٰبُنَا يَنطِقُ عَلَيۡكُم بِٱلۡحَقِّۚ إِنَّا كُنَّا نَسۡتَنسِخُ مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٢٩﴾
(Era baligambibwa nti) ekitabo kyaffe kino kiboogerako mu mazima (anti) mazima ffe twawandikanga buli kye mwakolanga.
فَأَمَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ فَيُدۡخِلُهُمۡ رَبُّهُمۡ فِي رَحۡمَتِهِۦۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلۡفَوۡزُ ٱلۡمُبِينُ ﴿٣٠﴾
Olwo nno abaakola emirimu emirongoofu Mukama omulabirizi waabwe ali bayingiza mu kusaasira kwe (era) ekyo kwe kwesiima okweyolefu.
وَأَمَّا ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَفَلَمۡ تَكُنۡ ءَايَٰتِي تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فَٱسۡتَكۡبَرۡتُمۡ وَكُنتُمۡ قَوۡمٗا مُّجۡرِمِينَ ﴿٣١﴾
Ate abo abakafuwala (Katonda alibagamba nti) abaffe ebigambo byange tebyabasomerwa ne mwekuluntaza ne mubeera abantu abonoonyi.
وَٱلسَّمَآءَ بَنَيۡنَٰهَا بِأَيۡيْدٖ وَإِنَّا لَمُوسِعُونَ ﴿٤٧﴾
(N'ebirala ebirimu ekyokuyiga) ne ggulu twalizimba n'obuyinza (bwaffe) era mazima tukyaligaziya.
وَٱلۡأَرۡضَ فَرَشۡنَٰهَا فَنِعۡمَ ٱلۡمَٰهِدُونَ ﴿٤٨﴾
N'ensi twagiseteeza, ddala nga ffe abatesiteesi abasinga.
وَمِن كُلِّ شَيۡءٍ خَلَقۡنَا زَوۡجَيۡنِ لَعَلَّكُمۡ تَذَكَّرُونَ ﴿٤٩﴾
Era twatonda mu buli kintu emitindo ebiri ebiri (ekisajja ne kikazi) oba olyawo ne mujjukira.
فَفِرُّوٓاْ إِلَى ٱللَّهِۖ إِنِّي لَكُم مِّنۡهُ نَذِيرٞ مُّبِينٞ ﴿٥٠﴾
Kale mudduke mudde eri Katonda mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali.
وَلَا تَجۡعَلُواْ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَۖ إِنِّي لَكُم مِّنۡهُ نَذِيرٞ مُّبِينٞ ﴿٥١﴾
N’olwekyo temussanga ku Katonda ebisinzibwa ebirala, mazima nze ndi mutiisa owolwatu gye muli okuva gyali.
وَٱلطُّورِ ﴿١﴾
Ndayidde olusozi (Sinaa).
وَكِتَٰبٖ مَّسۡطُورٖ ﴿٢﴾
Ndayidde ekitabo ekiwandiike.
فِي رَقّٖ مَّنشُورٖ ﴿٣﴾
Mu mpapula ennyanjuluze.
وَٱلۡبَيۡتِ ٱلۡمَعۡمُورِ ﴿٤﴾
Era ndayidde e nyumba etaggwako basinza (ba Malayika bagyetoloola olubeerera).
وَٱلسَّقۡفِ ٱلۡمَرۡفُوعِ ﴿٥﴾
Era ndayidde akasolya (k'eggulu) akasitufu.
وَٱلۡبَحۡرِ ٱلۡمَسۡجُورِ ﴿٦﴾
Era ndayidde ennyanja ezijjudde amazzi.
إِنَّ عَذَابَ رَبِّكَ لَوَٰقِعٞ ﴿٧﴾
Ddala ebibonerezo bya Mukama omulabirizi wo bya kutuukirira.
مَّا لَهُۥ مِن دَافِعٖ ﴿٨﴾
Tewali kigenda kubiremesa.
يَوۡمَ تَمُورُ ٱلسَّمَآءُ مَوۡرٗا ﴿٩﴾
Ku lunaku eggulu lwe liri yuguuma oluyuguuma.
وَتَسِيرُ ٱلۡجِبَالُ سَيۡرٗا ﴿١٠﴾
Ensozi nezitambula butambuzi.
فَوَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ ﴿١١﴾
N’olwekyo okubonabona ku lunaku olwo kuliba ku balimbisa.
وَأَنَّ إِلَىٰ رَبِّكَ ٱلۡمُنتَهَىٰ ﴿٤٢﴾
Era nti mazima ewa Mukama omulabirizi wo yeeri enkomerero (ya buli kimu).
وَأَنَّهُۥ هُوَ أَضۡحَكَ وَأَبۡكَىٰ ﴿٤٣﴾
Era nti mazima yye yaasesa era yaakaabya.
وَأَنَّهُۥ هُوَ أَمَاتَ وَأَحۡيَا ﴿٤٤﴾
Era nti mazima yye yatta era yaawa obulamu.
وَأَنَّهُۥ خَلَقَ ٱلزَّوۡجَيۡنِ ٱلذَّكَرَ وَٱلۡأُنثَىٰ ﴿٤٥﴾
Era nti mazima yatonda emitindo ebiri omusajja n'omukazi.
مِن نُّطۡفَةٍ إِذَا تُمۡنَىٰ ﴿٤٦﴾
Abagya mu mazzi agazaala bwe gafulumizibwa (negateekebwa mu kifo ekituufu).
وَأَنَّ عَلَيۡهِ ٱلنَّشۡأَةَ ٱلۡأُخۡرَىٰ ﴿٤٧﴾
Era nti mazima kuli ku ye yekka okusibusa okulala (okuzuukiza).
وَأَنَّهُۥ هُوَ أَغۡنَىٰ وَأَقۡنَىٰ ﴿٤٨﴾
Era nti mazima yye ya gaggawaza era naayavuwaza.
وَأَنَّهُۥ هُوَ رَبُّ ٱلشِّعۡرَىٰ ﴿٤٩﴾
Era nti mazima yye ye Mukama omulabirizi we munyeenye eyitibwa Shiiraa (abakafiiri gye basinzanga).
وَأَنَّهُۥٓ أَهۡلَكَ عَادًا ٱلۡأُولَىٰ ﴿٥٠﴾
Era nti mazima yye yazikiriza abe kibiina kya A'adi abasooka.
وَثَمُودَاْ فَمَآ أَبۡقَىٰ ﴿٥١﴾
Na be kibiina kya Thamud era nga teyalekawo (wadde omu).
وَقَوۡمَ نُوحٖ مِّن قَبۡلُۖ إِنَّهُمۡ كَانُواْ هُمۡ أَظۡلَمَ وَأَطۡغَىٰ ﴿٥٢﴾
Na bantu ba Nuhu mu kusooka anti mazima bo be baali basinga okweyisa obubi n'okubula.
وَٱلۡمُؤۡتَفِكَةَ أَهۡوَىٰ ﴿٥٣﴾
Era ye yae yazikiriza abantu ba be kitundu ekyavuunikibwa (Sodoma ne gomora).
فَغَشَّىٰهَا مَا غَشَّىٰ ﴿٥٤﴾
Olwo nno ne kikibuutikira ekya kibuutikira.
فَبِأَيِّ ءَالَآءِ رَبِّكَ تَتَمَارَىٰ ﴿٥٥﴾
Kale olwo kiriwa ku byengera bya Mukama omulabiri wo kyobuusabuusa!.
هَٰذَا نَذِيرٞ مِّنَ ٱلنُّذُرِ ٱلۡأُولَىٰٓ ﴿٥٦﴾
Ono (omubaka Muhammad) mutiisa ali mu luse lwa batiisa abaakulembera.
أَزِفَتِ ٱلۡأٓزِفَةُ ﴿٥٧﴾
Enkomerero esembedde.
لَيۡسَ لَهَا مِن دُونِ ٱللَّهِ كَاشِفَةٌ ﴿٥٨﴾
Tewali ayinza kugizzaayo bweriba ezze mpozzi Katonda.
أَفَمِنۡ هَٰذَا ٱلۡحَدِيثِ تَعۡجَبُونَ ﴿٥٩﴾
Abaffe ebigambo bino bye mujereegerera.
وَتَضۡحَكُونَ وَلَا تَبۡكُونَ ﴿٦٠﴾
Nemuba nga museka nemutakaaba.
وَأَنتُمۡ سَٰمِدُونَ ﴿٦١﴾
Nga nammwe muzannya buzannyi.
فَٱسۡجُدُواْۤ لِلَّهِۤ وَٱعۡبُدُواْ۩ ﴿٦٢﴾
Kale muvunname ku lwa Katonda era mumusinze (ekyo kye kisinga ebya mmwe bye mulimu).
ٱلرَّحۡمَٰنُ ﴿١﴾
(Katonda) omusaasizi ennyo.
عَلَّمَ ٱلۡقُرۡءَانَ ﴿٢﴾
Yayigiriza (omuntu) Kur’ani.
خَلَقَ ٱلۡإِنسَٰنَ ﴿٣﴾
Yatonda omuntu.
عَلَّمَهُ ٱلۡبَيَانَ ﴿٤﴾
Yamuyizigiriza okunnyonnyola.