quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 6)

481 Aya · Emitwe · lg

Ya-Sin 36:76

فَلَا يَحۡزُنكَ قَوۡلُهُمۡۘ إِنَّا نَعۡلَمُ مَا يُسِرُّونَ وَمَا يُعۡلِنُونَ ﴿٧٦﴾

. Kale nno tebikunyiiza ebigambo bya bwe mazima ffe tumanyi ebyo bye bakweka ne bye bakola mu lwatu.

Ya-Sin 36:77

أَوَلَمۡ يَرَ ٱلۡإِنسَٰنُ أَنَّا خَلَقۡنَٰهُ مِن نُّطۡفَةٖ فَإِذَا هُوَ خَصِيمٞ مُّبِينٞ ﴿٧٧﴾

. Abaffe omuntu talaba nti mazima ffe twamutonda nga tumujja mu mazzi agazaala, ogenda okulaba nga ye muyitirivu wa kukaayana okw'olwatu.

Ya-Sin 36:78

وَضَرَبَ لَنَا مَثَلٗا وَنَسِيَ خَلۡقَهُۥۖ قَالَ مَن يُحۡيِ ٱلۡعِظَٰمَ وَهِيَ رَمِيمٞ ﴿٧٨﴾

. Naatukubira ekifaananyi neyeerabira obutonde bwe, nga agamba nti ani aliramusa amagumba nga gamaze okuba amamerengufu.

Ya-Sin 36:79

قُلۡ يُحۡيِيهَا ٱلَّذِيٓ أَنشَأَهَآ أَوَّلَ مَرَّةٖۖ وَهُوَ بِكُلِّ خَلۡقٍ عَلِيمٌ ﴿٧٩﴾

. Gamba nti agenda kugalamusa oyo eyagatandika omulundi ogwasooka era nga yye amanyidde ddala ebikwata ku buli kitonde.

Ya-Sin 36:80

ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُم مِّنَ ٱلشَّجَرِ ٱلۡأَخۡضَرِ نَارٗا فَإِذَآ أَنتُم مِّنۡهُ تُوقِدُونَ ﴿٨٠﴾

. Oyo eyabateerawo omuliro okuva mu muti omubisi okugenda okulaba nga mmwe mukuma omuliro okuva mu gwo (omuti).

Ya-Sin 36:81

أَوَلَيۡسَ ٱلَّذِي خَلَقَ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضَ بِقَٰدِرٍ عَلَىٰٓ أَن يَخۡلُقَ مِثۡلَهُمۚ بَلَىٰ وَهُوَ ٱلۡخَلَّـٰقُ ٱلۡعَلِيمُ ﴿٨١﴾

. Abaffe oyo eyatonda eggulu omusanvu n'ensi tasobola kutonda bintu (birala) biringa byo, weewaawo (asobolera ddala) era ddala yye ye mutonzi omumanyi ennyo.

Ya-Sin 36:82

إِنَّمَآ أَمۡرُهُۥٓ إِذَآ أَرَادَ شَيۡـًٔا أَن يَقُولَ لَهُۥ كُن فَيَكُونُ ﴿٨٢﴾

. Mazima ekiragirokye bwaba ayagadde ekintu (kibeewo) agamba bugambi nti bba ne kiba.

Ya-Sin 36:83

فَسُبۡحَٰنَ ٱلَّذِي بِيَدِهِۦ مَلَكُوتُ كُلِّ شَيۡءٖ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ ﴿٨٣﴾

. N’olwekyo musukkulumu nnyo oyo mu mikono gye mwokka mwemuli obufuzi bwa buli kintu ate nga gyali yokka gye mulizzibwa.

Az-Zumar 39:67

وَمَا قَدَرُواْ ٱللَّهَ حَقَّ قَدۡرِهِۦ وَٱلۡأَرۡضُ جَمِيعٗا قَبۡضَتُهُۥ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَٱلسَّمَٰوَٰتُ مَطۡوِيَّـٰتُۢ بِيَمِينِهِۦۚ سُبۡحَٰنَهُۥ وَتَعَٰلَىٰ عَمَّا يُشۡرِكُونَ ﴿٦٧﴾

(Abagatta ku Katonda ebintu ebirala) Katonda tebamussa mu kifo kimusaanira, so nga ensi yonna eriba mu kibatu kye ku lunaku lw'enkomerero, nga eggulu omusanvu gazingiddwa mu mukono gwe ogwa ddyo, musukkulumu era wa waggulu ku ebyo bye bamugattako.

Az-Zumar 39:68

وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَصَعِقَ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا مَن شَآءَ ٱللَّهُۖ ثُمَّ نُفِخَ فِيهِ أُخۡرَىٰ فَإِذَا هُمۡ قِيَامٞ يَنظُرُونَ ﴿٦٨﴾

Engombe erifuuyibwa, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi nebizikirira, okugyako ekyo Katonda kyaliba ayagadde, oluvanyuma erifuuyibwa omulundi omulala oligenda okulaba nga beesiimbye (bwa ntoogo) batunula.

Az-Zumar 39:69

وَأَشۡرَقَتِ ٱلۡأَرۡضُ بِنُورِ رَبِّهَا وَوُضِعَ ٱلۡكِتَٰبُ وَجِاْيٓءَ بِٱلنَّبِيِّـۧنَ وَٱلشُّهَدَآءِ وَقُضِيَ بَيۡنَهُم بِٱلۡحَقِّ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ﴿٦٩﴾

Ensi egenda kwakaayakana olw'ekitangaala kya Mukama omulabirizi waayo, ebitabo (by’emirimu gya baddu) bissibwewo, ba Nabbi n’abajulizi (ba Malayika abawandiika emirimu gya baddu) baleetebwe era balamulwe mu mazima era bo tebagenda kulyazaamaanyizibwa.

Ghafir 40:2

تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ مِنَ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡعَلِيمِ ﴿٢﴾

Okussa ekitabo (kino Kur’ani) kuva wa Katonda nantakubwa ku mukono, omumanyi ennyo.

Ghafir 40:3

غَافِرِ ٱلذَّنۢبِ وَقَابِلِ ٱلتَّوۡبِ شَدِيدِ ٱلۡعِقَابِ ذِي ٱلطَّوۡلِۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ إِلَيۡهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿٣﴾

Omusonyiyi we byonoono, era akkiriza okwenenya, nannyini bibonerezo ebikakali, nannyini kugaba, tewali kisinzibwa okugyako yye, obuddo buli gyali.

Ghafir 40:13

هُوَ ٱلَّذِي يُرِيكُمۡ ءَايَٰتِهِۦ وَيُنَزِّلُ لَكُم مِّنَ ٱلسَّمَآءِ رِزۡقٗاۚ وَمَا يَتَذَكَّرُ إِلَّا مَن يُنِيبُ ﴿١٣﴾

Yye yooyo abalaga obubonero bwe era abassiza amazzi okuva waggulu nga riziki (gye muli) naye teyebulirira (nabyo) okugyako oyo adda eri (Katonda).

Ghafir 40:14

فَٱدۡعُواْ ٱللَّهَ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَ وَلَوۡ كَرِهَ ٱلۡكَٰفِرُونَ ﴿١٤﴾

Kale musabe Katonda ng’eddiini mugikola ku lulwe yekka newakubadde nga abakafiiri bakitamwa.

Ghafir 40:15

رَفِيعُ ٱلدَّرَجَٰتِ ذُو ٱلۡعَرۡشِ يُلۡقِي ٱلرُّوحَ مِنۡ أَمۡرِهِۦ عَلَىٰ مَن يَشَآءُ مِنۡ عِبَادِهِۦ لِيُنذِرَ يَوۡمَ ٱلتَّلَاقِ ﴿١٥﴾

(Katonda oyo) ow'ebitiibwa ebya waggulu nannyini Arish, assa obubaka okusinziira ku kiragiro kye kwoyo gwaba ayagadde mu baddu be, abe nga atiisa (abantu ebiribaawo ku) lunaku lw'okusisinkana.

Ghafir 40:16

يَوۡمَ هُم بَٰرِزُونَۖ لَا يَخۡفَىٰ عَلَى ٱللَّهِ مِنۡهُمۡ شَيۡءٞۚ لِّمَنِ ٱلۡمُلۡكُ ٱلۡيَوۡمَۖ لِلَّهِ ٱلۡوَٰحِدِ ٱلۡقَهَّارِ ﴿١٦﴾

Olunaku bo (abantu) bonna lwe balyeyoleka )mu maaso ga Katonda) tewali kintu kyonna kyava mu bo kiryekweka Katonda, (balibuuzibwa nti) obufuzi bwani olwaleero? (olwo nno nebategezebwa nti) bwa Katonda ali omu nantalemwa.

Ghafir 40:17

ٱلۡيَوۡمَ تُجۡزَىٰ كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا كَسَبَتۡۚ لَا ظُلۡمَ ٱلۡيَوۡمَۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿١٧﴾

Olwaleero buli mwoyo gugenda kusasulwa olwebyo bye gwakola tewali kulyazamanya olwaleero, mazima Katonda mwangu wa kubala.

Ghafir 40:56

إِنَّ ٱلَّذِينَ يُجَٰدِلُونَ فِيٓ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ بِغَيۡرِ سُلۡطَٰنٍ أَتَىٰهُمۡ إِن فِي صُدُورِهِمۡ إِلَّا كِبۡرٞ مَّا هُم بِبَٰلِغِيهِۚ فَٱسۡتَعِذۡ بِٱللَّهِۖ إِنَّهُۥ هُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡبَصِيرُ ﴿٥٦﴾

Mazima abo abawalaaza empaka ku bubonero bwa Katonda awatali bujulizi bubajjidde, mu bifuba byabwe temuli okugyako okwekuza ate nga tekuyinza kukibatuusaako (ekye kitiibwa n'obulungi Katonda bya gonnomola ku Nabbi we) kale nno saba obukuumi ewa Katonda (anti) mazima yye yemuwulizi omulabi enyo.

Ghafir 40:57

لَخَلۡقُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ أَكۡبَرُ مِنۡ خَلۡقِ ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَعۡلَمُونَ ﴿٥٧﴾

Ddala, okutonda eggulu omusanvu n'ensi kinene okusinga okutonda abantu, naye ddala abantu abasinga obungi tebamanyi.

Ghafir 40:58

وَمَا يَسۡتَوِي ٱلۡأَعۡمَىٰ وَٱلۡبَصِيرُ وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّـٰلِحَٰتِ وَلَا ٱلۡمُسِيٓءُۚ قَلِيلٗا مَّا تَتَذَكَّرُونَ ﴿٥٨﴾

Era muzibe n'alaba tebenkana nga bwe batenkana abo abakkiriza ne bakola emirimu emirongoofu nomwonoonyi (wabula) mujjukira kitono nnyo.

Ghafir 40:59

إِنَّ ٱلسَّاعَةَ لَأٓتِيَةٞ لَّا رَيۡبَ فِيهَا وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿٥٩﴾

Mazima olunaku lw’enkomerero lwa kutuuka teruliimu kubuusabuusa, naye ddala abantu abasinga obungi tebakkiriza.

Ghafir 40:60

وَقَالَ رَبُّكُمُ ٱدۡعُونِيٓ أَسۡتَجِبۡ لَكُمۡۚ إِنَّ ٱلَّذِينَ يَسۡتَكۡبِرُونَ عَنۡ عِبَادَتِي سَيَدۡخُلُونَ جَهَنَّمَ دَاخِرِينَ ﴿٦٠﴾

Mukama omulabirizi wa mmwe yagamba nti munsabe nja kubaanukula ,mazima abo abeekuza nebatansinza bagenda kuyingira omuliro Jahannama nga baswavu.

Ghafir 40:61

ٱللَّهُ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلَّيۡلَ لِتَسۡكُنُواْ فِيهِ وَٱلنَّهَارَ مُبۡصِرًاۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَذُو فَضۡلٍ عَلَى ٱلنَّاسِ وَلَٰكِنَّ أَكۡثَرَ ٱلنَّاسِ لَا يَشۡكُرُونَ ﴿٦١﴾

Katonda yooyo eyabateerawo obudde obwekiro muwummuliremu nabateerawo obudde obwemisana nga butangaala (musobole okukoleramu emirimu gya mmwe). Mazima Katonda akolera abantu ebirungi bingi, naye ddala abantu abasinga obungi tebeebaza.

Ghafir 40:62

ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُ رَبُّكُمۡ خَٰلِقُ كُلِّ شَيۡءٖ لَّآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ فَأَنَّىٰ تُؤۡفَكُونَ ﴿٦٢﴾

Oyo nno mwe ye Katonda omulabirizi wa mmwe, omutonzi wa buli kintu, tewali kisinzibwa (mu butuufu) okugyako yye ate muwugulwa mutya.

Ghafir 40:63

كَذَٰلِكَ يُؤۡفَكُ ٱلَّذِينَ كَانُواْ بِـَٔايَٰتِ ٱللَّهِ يَجۡحَدُونَ ﴿٦٣﴾

(Nga bwe muwugulwa) bwe batyo bwe bwe baawugulwanga abo abaalinga bawakanya ebigambo bya Katonda.

Ghafir 40:64

ٱللَّهُ ٱلَّذِي جَعَلَ لَكُمُ ٱلۡأَرۡضَ قَرَارٗا وَٱلسَّمَآءَ بِنَآءٗ وَصَوَّرَكُمۡ فَأَحۡسَنَ صُوَرَكُمۡ وَرَزَقَكُم مِّنَ ٱلطَّيِّبَٰتِۚ ذَٰلِكُمُ ٱللَّهُ رَبُّكُمۡۖ فَتَبَارَكَ ٱللَّهُ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٦٤﴾

Katonda yooyo eyabateerawo ensi nga ntebenkevu, nabaterawo eggulu nga kasolya, era nabawa endabika ya mmwe, olwo nno nanyiriza endabika ya mmwe era nabagabirira ebintu ebirungi, oyo nno mmwe ye Katonda omulabirizi wa mmwe, kale nno musukkulumu Katonda, Mukama, omulabirizi w'ebitonde.

Ghafir 40:65

هُوَ ٱلۡحَيُّ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ فَٱدۡعُوهُ مُخۡلِصِينَ لَهُ ٱلدِّينَۗ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ رَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٦٥﴾

Yye ye mulamu tewali kisinzibwa okugyako yye, kale mumusabe ng'eddiini yonna mugikolera yye yekka, (anti) ebitendo byonna bya Katonda omulabirizi webitonde.

Fussilat 41:9

۞قُلۡ أَئِنَّكُمۡ لَتَكۡفُرُونَ بِٱلَّذِي خَلَقَ ٱلۡأَرۡضَ فِي يَوۡمَيۡنِ وَتَجۡعَلُونَ لَهُۥٓ أَندَادٗاۚ ذَٰلِكَ رَبُّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٩﴾

Bagambe nti abaffe mmwe muwakanya oyo eyatonda ensi mu nnaku bbiri nemumuteekako ebisinzibwa ebirala, oyo (gwe mukola ebyo) ye mulezi w'ebitonde.

Fussilat 41:10

وَجَعَلَ فِيهَا رَوَٰسِيَ مِن فَوۡقِهَا وَبَٰرَكَ فِيهَا وَقَدَّرَ فِيهَآ أَقۡوَٰتَهَا فِيٓ أَرۡبَعَةِ أَيَّامٖ سَوَآءٗ لِّلسَّآئِلِينَ ﴿١٠﴾

Era yassa mu yo (ensi) ensozi nga asinziira ku ngulu kwayo, (olwo nno nezikka wansi) era naagissaamu omukisa era yagererera mu yo ebyokulya byayo (ebiriibwa ebiramu byonna ebigirimu, ebyo byonna yabimalira) mu nnaku nnya, (ekyo kye kyokwanukula) ekituufu eri ababuuza.

Fussilat 41:11

ثُمَّ ٱسۡتَوَىٰٓ إِلَى ٱلسَّمَآءِ وَهِيَ دُخَانٞ فَقَالَ لَهَا وَلِلۡأَرۡضِ ٱئۡتِيَا طَوۡعًا أَوۡ كَرۡهٗا قَالَتَآ أَتَيۡنَا طَآئِعِينَ ﴿١١﴾

Oluvanyuma yadda ku kukola eggulu nga nalyo (mu kusooka) lyali mukka, olwo nno naligamba n'ensi, nti mujje okwagala n'obutayagala, byombi nebigamba nti tuzze nga tugonze.

Fussilat 41:12

فَقَضَىٰهُنَّ سَبۡعَ سَمَٰوَاتٖ فِي يَوۡمَيۡنِ وَأَوۡحَىٰ فِي كُلِّ سَمَآءٍ أَمۡرَهَاۚ وَزَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِمَصَٰبِيحَ وَحِفۡظٗاۚ ذَٰلِكَ تَقۡدِيرُ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡعَلِيمِ ﴿١٢﴾

Olwo naagamaliriza nga gali eggulu musanvu mu nnaku bbiri, naalagira mu buli ggulu ne mussibwamu ebintu byamu era netuwunda eggulu eririraanye ensi n’amataala n’abakuumi, okwo nno kugera kwa nantakubwa ku mukono, omumanyi ennyo.

Fussilat 41:37

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِ ٱلَّيۡلُ وَٱلنَّهَارُ وَٱلشَّمۡسُ وَٱلۡقَمَرُۚ لَا تَسۡجُدُواْ لِلشَّمۡسِ وَلَا لِلۡقَمَرِ وَٱسۡجُدُواْۤ لِلَّهِۤ ٱلَّذِي خَلَقَهُنَّ إِن كُنتُمۡ إِيَّاهُ تَعۡبُدُونَ ﴿٣٧﴾

Ne mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kye kiro n’emisana ne njuba n’omwezi, temuvunnamiranga enjuba wadde omwezi, muvunnamirenga Katonda oyo eyabitonda bwe muba nga yye yekka gwe musinza.

Fussilat 41:38

فَإِنِ ٱسۡتَكۡبَرُواْ فَٱلَّذِينَ عِندَ رَبِّكَ يُسَبِّحُونَ لَهُۥ بِٱلَّيۡلِ وَٱلنَّهَارِ وَهُمۡ لَا يَسۡـَٔمُونَ۩ ﴿٣٨﴾

(Naye bwe baneekuza (ssi kikulu) anti abo abali ewa Mukama omulabirizi wo bamutendereza ekiro n’emisana era nga bo tebakoowa.

Fussilat 41:39

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦٓ أَنَّكَ تَرَى ٱلۡأَرۡضَ خَٰشِعَةٗ فَإِذَآ أَنزَلۡنَا عَلَيۡهَا ٱلۡمَآءَ ٱهۡتَزَّتۡ وَرَبَتۡۚ إِنَّ ٱلَّذِيٓ أَحۡيَاهَا لَمُحۡيِ ٱلۡمَوۡتَىٰٓۚ إِنَّهُۥ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٌ ﴿٣٩﴾

Era mu bubonero bwe (kwe kuba nti) mazima ggwe olaba ensi nga nkalu ketugitonnyesaako amazzi yenyeenya (nefuuka yakiragala) era neyongera okumeza ebimera. Mazima oyo agizzaamu obulamu (neeba ngimu) ddala wa kuzuukiza abafu mazima yye muyinza wa buli kintu kyonna.

Ash-Shuraa 42:3

كَذَٰلِكَ يُوحِيٓ إِلَيۡكَ وَإِلَى ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِكَ ٱللَّهُ ٱلۡعَزِيزُ ٱلۡحَكِيمُ ﴿٣﴾

Bwatyo Katonda nantalemwa, mugobansonga, akutumira obubaka era nga bweyatuma eri abo abaaliwo oluberyeberye lwo.

Ash-Shuraa 42:4

لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۖ وَهُوَ ٱلۡعَلِيُّ ٱلۡعَظِيمُ ﴿٤﴾

Bibye yekka byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi ,era yye ye wa waggulu ennyo owekitiibwa.

Ash-Shuraa 42:5

تَكَادُ ٱلسَّمَٰوَٰتُ يَتَفَطَّرۡنَ مِن فَوۡقِهِنَّۚ وَٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يُسَبِّحُونَ بِحَمۡدِ رَبِّهِمۡ وَيَسۡتَغۡفِرُونَ لِمَن فِي ٱلۡأَرۡضِۗ أَلَآ إِنَّ ٱللَّهَ هُوَ ٱلۡغَفُورُ ٱلرَّحِيمُ ﴿٥﴾

Eggulu omusanvu kumpi kweyuzaamu okutandikira waggulu waago (ku lwo kugulumiza Katonda) ne ba Malayika batendereza ebitendo bya Mukama omulabirizi waabwe, era basabira abali mu nsi ekisonyiwo, abange mazima Katonda yye ye musonyiyi ennyo omusaasizi.

Ash-Shuraa 42:6

وَٱلَّذِينَ ٱتَّخَذُواْ مِن دُونِهِۦٓ أَوۡلِيَآءَ ٱللَّهُ حَفِيظٌ عَلَيۡهِمۡ وَمَآ أَنتَ عَلَيۡهِم بِوَكِيلٖ ﴿٦﴾

Naye abo abeteerawo ebisinzibwa ebirala nebamuvaako, Katonda mulondoozi ku bo, era ggwe toli mukuumi ku bo.

Ash-Shuraa 42:11

فَاطِرُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۚ جَعَلَ لَكُم مِّنۡ أَنفُسِكُمۡ أَزۡوَٰجٗا وَمِنَ ٱلۡأَنۡعَٰمِ أَزۡوَٰجٗا يَذۡرَؤُكُمۡ فِيهِۚ لَيۡسَ كَمِثۡلِهِۦ شَيۡءٞۖ وَهُوَ ٱلسَّمِيعُ ٱلۡبَصِيرُ ﴿١١﴾

Omutandisi weggulu ne nsi, abateerawo nga agya mu mmwe bemufumbiriganwa nabo, era yabateerawo mu bisolo ebirundibwa bibiri bibiri (ekisajja n'ekikazi) nga abazalukusa mu nkola eyo, tewali kintu kiringa yye, era yye ye muwulizi ennyo omulabi ennyo.

Ash-Shuraa 42:12

لَهُۥ مَقَالِيدُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِۖ يَبۡسُطُ ٱلرِّزۡقَ لِمَن يَشَآءُ وَيَقۡدِرُۚ إِنَّهُۥ بِكُلِّ شَيۡءٍ عَلِيمٞ ﴿١٢﴾

Yekka yaalina ebitambulirwako eggulu omusanvu ne nsi, ayanjuluza riziki eri oyo gwaba ayagadde, ate nafunza (kwoyo gwaba ayagadde) mazima yye ye mumanyi ennyo wa buli kintu.

Ash-Shuraa 42:28

وَهُوَ ٱلَّذِي يُنَزِّلُ ٱلۡغَيۡثَ مِنۢ بَعۡدِ مَا قَنَطُواْ وَيَنشُرُ رَحۡمَتَهُۥۚ وَهُوَ ٱلۡوَلِيُّ ٱلۡحَمِيدُ ﴿٢٨﴾

Era ye yooyo atonnyesa enkuba oluvanyuma (lwa bantu) okukutuka n’okusuubira ,era abunyisa okusaasira kwe, era yye, ye mukuumi atenderezebwa ennyo.

Ash-Shuraa 42:29

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِۦ خَلۡقُ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَثَّ فِيهِمَا مِن دَآبَّةٖۚ وَهُوَ عَلَىٰ جَمۡعِهِمۡ إِذَا يَشَآءُ قَدِيرٞ ﴿٢٩﴾

Naakamu mu bubonero bwe (obulaga obuyinza bwe) kwe kutondebwa kwe ggulu omusanvu ne nsi. Nebyo ebirimu obulamu ebitambula bye yassa mu byombi. Era yye asobola okubakungaanya wayagalira.

Ash-Shuraa 42:30

وَمَآ أَصَٰبَكُم مِّن مُّصِيبَةٖ فَبِمَا كَسَبَتۡ أَيۡدِيكُمۡ وَيَعۡفُواْ عَن كَثِيرٖ ﴿٣٠﴾

Obuzibu bwonna obubatuukako kiba lwa nsonga yeebyo emikono gya mmwe byegiba gikoze ate nga alekera bingi.

Ash-Shuraa 42:31

وَمَآ أَنتُم بِمُعۡجِزِينَ فِي ٱلۡأَرۡضِۖ وَمَا لَكُم مِّن دُونِ ٱللَّهِ مِن وَلِيّٖ وَلَا نَصِيرٖ ﴿٣١﴾

Era mmwe temuli bayinza kulemesa (Katonda) ku nsi ate era nga ogyeko Katonda temulina mukuumi wadde omutaasa.

Ash-Shuraa 42:32

وَمِنۡ ءَايَٰتِهِ ٱلۡجَوَارِ فِي ٱلۡبَحۡرِ كَٱلۡأَعۡلَٰمِ ﴿٣٢﴾

Era mu bubonero bwe g’emaato agaseyeeya ku nyanja nga galinga ensozi.

Ash-Shuraa 42:33

إِن يَشَأۡ يُسۡكِنِ ٱلرِّيحَ فَيَظۡلَلۡنَ رَوَاكِدَ عَلَىٰ ظَهۡرِهِۦٓۚ إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَٰتٖ لِّكُلِّ صَبَّارٖ شَكُورٍ ﴿٣٣﴾

Bwaba ayagadde asobola okuyimiriza empewo (amaato) negabeera nga gayimiridde ku ngulu kwayo (ennyanja, nga tegabbira), mazima mwekyo mulimu obubonero (obulaga obuyinza bwa Katonda) eri buli mugumikiriza ennyo omwebaza.

Emitwe