quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 3)

710 Aya · Emitwe · lg

Ibrahim 14:17

يَتَجَرَّعُهُۥ وَلَا يَكَادُ يُسِيغُهُۥ وَيَأۡتِيهِ ٱلۡمَوۡتُ مِن كُلِّ مَكَانٖ وَمَا هُوَ بِمَيِّتٖۖ وَمِن وَرَآئِهِۦ عَذَابٌ غَلِيظٞ ﴿١٧﴾

Agenda kugezaako okuganywa naye nga tagasobola, ate okufa nekumujjira nga kuva mu buli luuyi so nga ate tagenda kufa, nga ate oluvanyuma lw'ekyo alindiriddwa ebibonerezo ebizito.

Ibrahim 14:18

مَّثَلُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡۖ أَعۡمَٰلُهُمۡ كَرَمَادٍ ٱشۡتَدَّتۡ بِهِ ٱلرِّيحُ فِي يَوۡمٍ عَاصِفٖۖ لَّا يَقۡدِرُونَ مِمَّا كَسَبُواْ عَلَىٰ شَيۡءٖۚ ذَٰلِكَ هُوَ ٱلضَّلَٰلُ ٱلۡبَعِيدُ ﴿١٨﴾

Ekifaananyi ky'abo abawakanya Mukama omulabirizi waabwe, (kiri nti) emirimu gya bwe giringa vvu erikungusiddwa empewo ku lunaku olulimu kibuyaga nga mu bye baakola byonna tebalina kye balinako buyinza okwo nno kwe kubula okwewala.

Ibrahim 14:28

۞أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ بَدَّلُواْ نِعۡمَتَ ٱللَّهِ كُفۡرٗا وَأَحَلُّواْ قَوۡمَهُمۡ دَارَ ٱلۡبَوَارِ ﴿٢٨﴾

Abaffe tolaba abo ekyengera kya Katonda abaakiwaanyisaamu obukaafiiri (olw'ekyo), nebatwala abantu ba bwe mu nyumba ey'okuzikirira.

Ibrahim 14:29

جَهَنَّمَ يَصۡلَوۡنَهَاۖ وَبِئۡسَ ٱلۡقَرَارُ ﴿٢٩﴾

(Nga nayo) gwe muliro Jahannama, gwe bagenda okwesogga era obwo obuddo bubi.

Ibrahim 14:30

وَجَعَلُواْ لِلَّهِ أَندَادٗا لِّيُضِلُّواْ عَن سَبِيلِهِۦۗ قُلۡ تَمَتَّعُواْ فَإِنَّ مَصِيرَكُمۡ إِلَى ٱلنَّارِ ﴿٣٠﴾

Nebateeka ku Katonda ebisinzibwa ebirala babe nga babuza abantu okubaggya ku kkubolye, bagambe nti mweyagale, mazima ddala obuddo bwa mmwe buli mu muliro.

Ibrahim 14:46

وَقَدۡ مَكَرُواْ مَكۡرَهُمۡ وَعِندَ ٱللَّهِ مَكۡرُهُمۡ وَإِن كَانَ مَكۡرُهُمۡ لِتَزُولَ مِنۡهُ ٱلۡجِبَالُ ﴿٤٦﴾

Mazima ddala bakola enkwe zaabwe naye nga enkwe zaabwe zonna ewa Katonda weziggwera, era ensozi tezibangako zaakuvaawo olw'enkwe zaabwe.

Ibrahim 14:47

فَلَا تَحۡسَبَنَّ ٱللَّهَ مُخۡلِفَ وَعۡدِهِۦ رُسُلَهُۥٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَزِيزٞ ذُو ٱنتِقَامٖ ﴿٤٧﴾

Tokirowoozanga nti Katonda wa kwawukana ku ndagaanoye gye yawa ababakabe (okubataasa). Mazima Katonda ye nantakubwa ku mukono alina obusobozi bw'okubonereza.

Ibrahim 14:48

يَوۡمَ تُبَدَّلُ ٱلۡأَرۡضُ غَيۡرَ ٱلۡأَرۡضِ وَٱلسَّمَٰوَٰتُۖ وَبَرَزُواْ لِلَّهِ ٱلۡوَٰحِدِ ٱلۡقَهَّارِ ﴿٤٨﴾

Ku lunaku ensi lwe likyusibwa neba nga tekyali nsi, nabwekityo eggulu omusanvu, (abantu bonna) ne beeyoleka ewa Katonda omu nantalemwa.

Ibrahim 14:49

وَتَرَى ٱلۡمُجۡرِمِينَ يَوۡمَئِذٖ مُّقَرَّنِينَ فِي ٱلۡأَصۡفَادِ ﴿٤٩﴾

Oliraba aboonoonyi ku lunaku olwo nga bagattiddwa ku mpingu.

Ibrahim 14:50

سَرَابِيلُهُم مِّن قَطِرَانٖ وَتَغۡشَىٰ وُجُوهَهُمُ ٱلنَّارُ ﴿٥٠﴾

Engoye zaabwe ziriba zikoleddwa mu bikwata amangu omuliro, era omuliro gulibikka ebyenyi byaabwe.

Ibrahim 14:51

لِيَجۡزِيَ ٱللَّهُ كُلَّ نَفۡسٖ مَّا كَسَبَتۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿٥١﴾

Olwo nno Katonda abe nga asasula buli mwoyo ebyo bye gwakola, mazima Katonda mwangu mu kubala.

Ibrahim 14:52

هَٰذَا بَلَٰغٞ لِّلنَّاسِ وَلِيُنذَرُواْ بِهِۦ وَلِيَعۡلَمُوٓاْ أَنَّمَا هُوَ إِلَٰهٞ وَٰحِدٞ وَلِيَذَّكَّرَ أُوْلُواْ ٱلۡأَلۡبَٰبِ ﴿٥٢﴾

Kuno kutuusa (obubaka) eri abantu era babe nga balabulwa nabwo (ebyaziyizibwa), era babe nga bamanya nti mazima yye ali Katonda omu, era abalina amagezi beebuulirire.

An-Nahl 16:26

قَدۡ مَكَرَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ فَأَتَى ٱللَّهُ بُنۡيَٰنَهُم مِّنَ ٱلۡقَوَاعِدِ فَخَرَّ عَلَيۡهِمُ ٱلسَّقۡفُ مِن فَوۡقِهِمۡ وَأَتَىٰهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِنۡ حَيۡثُ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿٢٦﴾

Ab’abakulembera baakola enkwe, Katonda naasitula ebizimbe byabwe nga asinziira ku musingi akasolya nekabagwira waggulu waabwe ebibonerezo nebibajjira okuva webatasuubira.

An-Nahl 16:27

ثُمَّ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ يُخۡزِيهِمۡ وَيَقُولُ أَيۡنَ شُرَكَآءِيَ ٱلَّذِينَ كُنتُمۡ تُشَـٰٓقُّونَ فِيهِمۡۚ قَالَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡعِلۡمَ إِنَّ ٱلۡخِزۡيَ ٱلۡيَوۡمَ وَٱلسُّوٓءَ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٢٧﴾

Oluvanyuma ku lunaku lw'enkomerero agenda kubaswaza, era agambe nti baliwa bannange abo bemwayawukanangamu, baligamba abo abaaweebwa okumanya nti mazima obuswavu ne nnaku olwa leero bigenda kubeera ku bakaafiiri.

An-Nahl 16:28

ٱلَّذِينَ تَتَوَفَّىٰهُمُ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ ظَالِمِيٓ أَنفُسِهِمۡۖ فَأَلۡقَوُاْ ٱلسَّلَمَ مَا كُنَّا نَعۡمَلُ مِن سُوٓءِۭۚ بَلَىٰٓۚ إِنَّ ٱللَّهَ عَلِيمُۢ بِمَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٢٨﴾

Abo ba Malayika bebatuusa ku ntuuko zaabwe nga bakyeyisa bubi olwo nno nebalangirira okukkiriza Katonda (nga bwe bagamba nti) tetukolanga kibi kyonna. Nedda mazima Katonda amanyidde ddala ebyo bye mwakolanga.

An-Nahl 16:29

فَٱدۡخُلُوٓاْ أَبۡوَٰبَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ فَلَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلۡمُتَكَبِّرِينَ ﴿٢٩﴾

Kale muyingire emiryango gyo muliro Jahannama mugenda kutuula mu gwo obugenderevu. Obuddo bwa beekuza bubi.

An-Nahl 16:84

وَيَوۡمَ نَبۡعَثُ مِن كُلِّ أُمَّةٖ شَهِيدٗا ثُمَّ لَا يُؤۡذَنُ لِلَّذِينَ كَفَرُواْ وَلَا هُمۡ يُسۡتَعۡتَبُونَ ﴿٨٤﴾

(Bajjukize) olunaku lwe tulizuukiza mu buli kibiina omujulizi, oluvanyuma abo abaakaafuwala tebagenda kukkirizibwa kwetonda, nga era bwe batagenda kusabibwa kwemenya.

An-Nahl 16:85

وَإِذَا رَءَا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ ٱلۡعَذَابَ فَلَا يُخَفَّفُ عَنۡهُمۡ وَلَا هُمۡ يُنظَرُونَ ﴿٨٥﴾

Abo abeeyisa obubi kebaliraba ku bibonerezo tebigenda kukendezebwa ku bo era tebagenda kulindirizibwa.

An-Nahl 16:86

وَإِذَا رَءَا ٱلَّذِينَ أَشۡرَكُواْ شُرَكَآءَهُمۡ قَالُواْ رَبَّنَا هَـٰٓؤُلَآءِ شُرَكَآؤُنَا ٱلَّذِينَ كُنَّا نَدۡعُواْ مِن دُونِكَۖ فَأَلۡقَوۡاْ إِلَيۡهِمُ ٱلۡقَوۡلَ إِنَّكُمۡ لَكَٰذِبُونَ ﴿٨٦﴾

Abo abagatta ku Katonda ebintu ebirala bwe baliraba ebyo bye baamugattangako, baligamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe abo be bannaffe betwasabanga gwe netukuvaako, nebabaddiza ekigambo nti, mazima mmwe muli balimba.

An-Nahl 16:87

وَأَلۡقَوۡاْ إِلَى ٱللَّهِ يَوۡمَئِذٍ ٱلسَّلَمَۖ وَضَلَّ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ﴿٨٧﴾

Olunaku olwo bagenda kulangirira okwewaayo ewa Katonda era bigenda kubabulako ebyo bye bagunjawo.

An-Nahl 16:88

ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ وَصَدُّواْ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ زِدۡنَٰهُمۡ عَذَابٗا فَوۡقَ ٱلۡعَذَابِ بِمَا كَانُواْ يُفۡسِدُونَ ﴿٨٨﴾

Abo abaakaafuwala nebalobera abantu abalafuubana nga baweereza mu kkubo lya Katonda, tugenda kubongera ebibonerezo waggulu w'ebibonerezo ku lw'ebyo bye baayonoonanga.

Al-Isra 17:45

وَإِذَا قَرَأۡتَ ٱلۡقُرۡءَانَ جَعَلۡنَا بَيۡنَكَ وَبَيۡنَ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ حِجَابٗا مَّسۡتُورٗا ﴿٤٥﴾

. Bwosoma Kur’ani, tussa wakatiwo ne wakati w'abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ekibikka ekitalabika.

Al-Isra 17:46

وَجَعَلۡنَا عَلَىٰ قُلُوبِهِمۡ أَكِنَّةً أَن يَفۡقَهُوهُ وَفِيٓ ءَاذَانِهِمۡ وَقۡرٗاۚ وَإِذَا ذَكَرۡتَ رَبَّكَ فِي ٱلۡقُرۡءَانِ وَحۡدَهُۥ وَلَّوۡاْ عَلَىٰٓ أَدۡبَٰرِهِمۡ نُفُورٗا ﴿٤٦﴾

. Era netussa ku mitima gya bwe ekibikka ekibagaana okubitegeera, netussa mu matu gaabwe envumbo, era bwoyogera ku Mukama omulabiriziwo yekka mu Kur’ani, bakubayo amabega nebadduka.

Al-Isra 17:97

وَمَن يَهۡدِ ٱللَّهُ فَهُوَ ٱلۡمُهۡتَدِۖ وَمَن يُضۡلِلۡ فَلَن تَجِدَ لَهُمۡ أَوۡلِيَآءَ مِن دُونِهِۦۖ وَنَحۡشُرُهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ عُمۡيٗا وَبُكۡمٗا وَصُمّٗاۖ مَّأۡوَىٰهُمۡ جَهَنَّمُۖ كُلَّمَا خَبَتۡ زِدۡنَٰهُمۡ سَعِيرٗا ﴿٩٧﴾

. Oyo yenna Katonda gwalungamya, yye, yaaba omulungamu ate oyo gwaba abuzizza oba toyinza kubafunira bayambi batali yye, (Katonda) era tugenda kubazuukiza ku lunaku lw'enkomerero nga babutamidde ebyenyi bya bwe nga ba Muzibe ba Kasiru, ba Kiggala, obuddo bwa bwe buliba muliro Jahannama buli lwe gunaakenderanga nga tugubaseesezamu.

Al-Kahf 18:29

وَقُلِ ٱلۡحَقُّ مِن رَّبِّكُمۡۖ فَمَن شَآءَ فَلۡيُؤۡمِن وَمَن شَآءَ فَلۡيَكۡفُرۡۚ إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا لِلظَّـٰلِمِينَ نَارًا أَحَاطَ بِهِمۡ سُرَادِقُهَاۚ وَإِن يَسۡتَغِيثُواْ يُغَاثُواْ بِمَآءٖ كَٱلۡمُهۡلِ يَشۡوِي ٱلۡوُجُوهَۚ بِئۡسَ ٱلشَّرَابُ وَسَآءَتۡ مُرۡتَفَقًا ﴿٢٩﴾

. Gamba nti gano ge mazima agavudde ewa Mukama omulabirizi wa mmwe kale ayagala akkirize n'anayagala akaafuwale, mazima ffe abeeyisa obubi twabateekerateekera omuliro, lugenda kubeetoolola olugo lwa gwo, buli lwe banaasabanga okuweebwa amazzi balinywesebwa amazzi agalinga olutabu lw'ekyuma olulyoka ebyenyi. Kiriba kya kunywa kibi era nga n'obutuulo buliba bubi.

Al-Kahf 18:47

وَيَوۡمَ نُسَيِّرُ ٱلۡجِبَالَ وَتَرَى ٱلۡأَرۡضَ بَارِزَةٗ وَحَشَرۡنَٰهُمۡ فَلَمۡ نُغَادِرۡ مِنۡهُمۡ أَحَدٗا ﴿٤٧﴾

. Era (fumiitiriza ku) lunaku lwe tulitambuza ensozi olwo nno oliraba ensi nga njereere era tulibakunganya bonna, tetugenda kusubwa n'omu yenna.

Al-Kahf 18:48

وَعُرِضُواْ عَلَىٰ رَبِّكَ صَفّٗا لَّقَدۡ جِئۡتُمُونَا كَمَا خَلَقۡنَٰكُمۡ أَوَّلَ مَرَّةِۭۚ بَلۡ زَعَمۡتُمۡ أَلَّن نَّجۡعَلَ لَكُم مَّوۡعِدٗا ﴿٤٨﴾

. Olwo nno balyanjulwa ewa Mukama Omulabiriziwo nga bali mu nnyiriri (Katonda aligamba nti) mazima muzze gye tuli nga bwe twabatonda ku mulundi ogwasooka naye mwalowooza nti tetwali baakubateerawo kiseera kigere.

Al-Kahf 18:49

وَوُضِعَ ٱلۡكِتَٰبُ فَتَرَى ٱلۡمُجۡرِمِينَ مُشۡفِقِينَ مِمَّا فِيهِ وَيَقُولُونَ يَٰوَيۡلَتَنَا مَالِ هَٰذَا ٱلۡكِتَٰبِ لَا يُغَادِرُ صَغِيرَةٗ وَلَا كَبِيرَةً إِلَّآ أَحۡصَىٰهَاۚ وَوَجَدُواْ مَا عَمِلُواْ حَاضِرٗاۗ وَلَا يَظۡلِمُ رَبُّكَ أَحَدٗا ﴿٤٩﴾

. Ekitabo kya buli omu kigenda kuleetebwa olwo nno noolaba aboonoonyi nga batya olw'ebyo ebikirimu, baligamba nti: nga tulabye kitabo kya ngeriki kino! Tekirekaayo katono oba kinene okugyako nga kikikomekkereza, bagenda kusanga nga buli kye baakola weekiri. Mukama omulabiriziwo tagenda kulyazaamaanya muntu yenna.

Al-Kahf 18:99

۞وَتَرَكۡنَا بَعۡضَهُمۡ يَوۡمَئِذٖ يَمُوجُ فِي بَعۡضٖۖ وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَجَمَعۡنَٰهُمۡ جَمۡعٗا ﴿٩٩﴾

. Tulireka abamu ku bo nebaba nga beekuluumulira mu bannaabwe nga balinga amayengo. Era engombe egenda kufuuyibwa olwo nno bonna tubakunganye.

Al-Kahf 18:100

وَعَرَضۡنَا جَهَنَّمَ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡكَٰفِرِينَ عَرۡضًا ﴿١٠٠﴾

. Ku lunaku olwo tugenda kusoosootola omuliro Jahannama eri abakaafiiri olusoosootola.

Al-Kahf 18:101

ٱلَّذِينَ كَانَتۡ أَعۡيُنُهُمۡ فِي غِطَآءٍ عَن ذِكۡرِي وَكَانُواْ لَا يَسۡتَطِيعُونَ سَمۡعًا ﴿١٠١﴾

. Abo amaaso gaabwe agaali mu kubikkibwa nebatosobola kunjogerako era baali tebasobola kuwulira.

Al-Kahf 18:102

أَفَحَسِبَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَن يَتَّخِذُواْ عِبَادِي مِن دُونِيٓ أَوۡلِيَآءَۚ إِنَّآ أَعۡتَدۡنَا جَهَنَّمَ لِلۡكَٰفِرِينَ نُزُلٗا ﴿١٠٢﴾

. Abaffe abo abakaafuwala basuubira okufuula abaddu bange abakuumi baabwe nze nebandekawo, nze nebansuulirira, mazima ffe twateekateeka Jahannama nga bwe butuulo bwa bakaafiiri.

Al-Kahf 18:103

قُلۡ هَلۡ نُنَبِّئُكُم بِٱلۡأَخۡسَرِينَ أَعۡمَٰلًا ﴿١٠٣﴾

. Abaffe tubabuulire abasinga okufaafaganirwa emirimu gya bwe.

Al-Kahf 18:104

ٱلَّذِينَ ضَلَّ سَعۡيُهُمۡ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَهُمۡ يَحۡسَبُونَ أَنَّهُمۡ يُحۡسِنُونَ صُنۡعًا ﴿١٠٤﴾

. Beebo okukola kwa bwe okubeera okwonoonefu mu bulamu obw'ensi, so nga ate bo balowooza nti bakola bulungi.

Al-Kahf 18:105

أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِـَٔايَٰتِ رَبِّهِمۡ وَلِقَآئِهِۦ فَحَبِطَتۡ أَعۡمَٰلُهُمۡ فَلَا نُقِيمُ لَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وَزۡنٗا ﴿١٠٥﴾

. Abo beebo abawakanya ebigambo bya Mukama omulabirizi waabwe, era nebawakanya okumusisinkana, olwo nno emirimu gya bwe negifaafaagana, n'olwekyo ku lunaku lw'enkomerero, tetugenda kubalabamu buzito bwonna.

Maryam 19:68

فَوَرَبِّكَ لَنَحۡشُرَنَّهُمۡ وَٱلشَّيَٰطِينَ ثُمَّ لَنُحۡضِرَنَّهُمۡ حَوۡلَ جَهَنَّمَ جِثِيّٗا ﴿٦٨﴾

. N'olwekyo ndayidde Mukama omulabiriziwo, ddala tugenda kubazuukiza ne (Sitane) nazo tuzizuukize, oluvanyuma tugenda kubaleetera ddala awali omuliro Jahannama nga bakutaamiridde.

Maryam 19:69

ثُمَّ لَنَنزِعَنَّ مِن كُلِّ شِيعَةٍ أَيُّهُمۡ أَشَدُّ عَلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ عِتِيّٗا ﴿٦٩﴾

. Oluvanyuma ddala tugenda kuggya mu buli kibiina buli yenna eyali asinga okwewaggula ku Katonda ow'ekisa ekingi.

Maryam 19:70

ثُمَّ لَنَحۡنُ أَعۡلَمُ بِٱلَّذِينَ هُمۡ أَوۡلَىٰ بِهَا صِلِيّٗا ﴿٧٠﴾

. Oluvanyuma ffe tuliba tumanyi nnyo abo abasinga okusaanira okugwesogga.

Maryam 19:71

وَإِن مِّنكُمۡ إِلَّا وَارِدُهَاۚ كَانَ عَلَىٰ رَبِّكَ حَتۡمٗا مَّقۡضِيّٗا ﴿٧١﴾

. Tewali n'omu yenna ku mmwe okugyako w'a kuguyitako, ekyo ku Mukama omulabiriziwo kikakafu ekyaggwa edda.

Maryam 19:81

وَٱتَّخَذُواْ مِن دُونِ ٱللَّهِ ءَالِهَةٗ لِّيَكُونُواْ لَهُمۡ عِزّٗا ﴿٨١﴾

. Era beeteerawo bye basinza nebaleka Katonda omu, mbu olwo balyoke babeere eri bano abataddewo abawi b'obuwagizi.

Maryam 19:82

كَلَّاۚ سَيَكۡفُرُونَ بِعِبَادَتِهِمۡ وَيَكُونُونَ عَلَيۡهِمۡ ضِدًّا ﴿٨٢﴾

. Ssi bwe guli, bajja kuwakanya eky'okubasinza bafuuke ekyennyume kyabwe.

Maryam 19:83

أَلَمۡ تَرَ أَنَّآ أَرۡسَلۡنَا ٱلشَّيَٰطِينَ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ تَؤُزُّهُمۡ أَزّٗا ﴿٨٣﴾

. Tolaba nti mazima ffe tusindika Sitane eri abakaafiiri nga zibawagira oluwagira.

Maryam 19:84

فَلَا تَعۡجَلۡ عَلَيۡهِمۡۖ إِنَّمَا نَعُدُّ لَهُمۡ عَدّٗا ﴿٨٤﴾

. Toyanguya kubasabira kuzikirira, mazima ennaku zaabwe tuzibabalira bubalizi.

Maryam 19:85

يَوۡمَ نَحۡشُرُ ٱلۡمُتَّقِينَ إِلَى ٱلرَّحۡمَٰنِ وَفۡدٗا ﴿٨٥﴾

. (Bategeeze) olunaku lwe tulikunganya abatya Katonda, netubatwala ewa Katonda omusaasizi nga bagenyi.

Maryam 19:86

وَنَسُوقُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ إِلَىٰ جَهَنَّمَ وِرۡدٗا ﴿٨٦﴾

. Ate tusindiikirize aboonoonyi, nga tubatwala ku muliro Jahannama nga balinga ensolo ezigenda okunywa amazzi.

Maryam 19:87

لَّا يَمۡلِكُونَ ٱلشَّفَٰعَةَ إِلَّا مَنِ ٱتَّخَذَ عِندَ ٱلرَّحۡمَٰنِ عَهۡدٗا ﴿٨٧﴾

. Tebaliba na buyinza bwa kuwolereza, wabula oyo eyafuna endagaano ewa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi.

Taha 20:99

كَذَٰلِكَ نَقُصُّ عَلَيۡكَ مِنۡ أَنۢبَآءِ مَا قَدۡ سَبَقَۚ وَقَدۡ ءَاتَيۡنَٰكَ مِن لَّدُنَّا ذِكۡرٗا ﴿٩٩﴾

. Bwe kityo tukutegeeza amawulire agakwata ku bya kulembera era mazima twakuwa okuva gye tuli ekijjukizza (Kur’ani).

Taha 20:100

مَّنۡ أَعۡرَضَ عَنۡهُ فَإِنَّهُۥ يَحۡمِلُ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ وِزۡرًا ﴿١٠٠﴾

. Omuntu agyawukanako mazima agenda kwetikka ku lunaku lw'enkomerero ebibi (ayingizibwe omuliro).

Taha 20:101

خَٰلِدِينَ فِيهِۖ وَسَآءَ لَهُمۡ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِ حِمۡلٗا ﴿١٠١﴾

. Baakutuula mu gwo olubeerera, omugugu gwabwe ku lunaku lw'enkomerero gugenda kubeera mubi.

Taha 20:102

يَوۡمَ يُنفَخُ فِي ٱلصُّورِۚ وَنَحۡشُرُ ٱلۡمُجۡرِمِينَ يَوۡمَئِذٖ زُرۡقٗا ﴿١٠٢﴾

. Olunaku engombe lwe rifuuyibwa, era ku lunaku olwo tugenda kukungaanya aboonoonyi nga amaaso gabatwaakadde.

Emitwe