Al-An'am 6:123وَكَذَٰلِكَ جَعَلۡنَا فِي كُلِّ قَرۡيَةٍ أَكَٰبِرَ مُجۡرِمِيهَا لِيَمۡكُرُواْ فِيهَاۖ وَمَا يَمۡكُرُونَ إِلَّا بِأَنفُسِهِمۡ وَمَا يَشۡعُرُونَ ﴿١٢٣﴾
Na bwekityo twassa mu buli kitundu abakulira abagyemu baamu, babe nga bakolerera okusaasaanya obukyamu mu kyo, bye bakola tebituusa kabi okugyako ku bo bennyini naye tebamanyi.
Al-An'am 6:124وَإِذَا جَآءَتۡهُمۡ ءَايَةٞ قَالُواْ لَن نُّؤۡمِنَ حَتَّىٰ نُؤۡتَىٰ مِثۡلَ مَآ أُوتِيَ رُسُلُ ٱللَّهِۘ ٱللَّهُ أَعۡلَمُ حَيۡثُ يَجۡعَلُ رِسَالَتَهُۥۗ سَيُصِيبُ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْ صَغَارٌ عِندَ ٱللَّهِ وَعَذَابٞ شَدِيدُۢ بِمَا كَانُواْ يَمۡكُرُونَ ﴿١٢٤﴾
Obujulizi obwe nkukunala bwe bubaggyira bagamba nti tetujja kukkiriza okutuusa nga tuweereddwa nga e byaweebwa ababaka ba Katonda, (e kituufu kiri nti) Katonda amanyidde ddala wassa obubaka bwe, abo abayonoona bajja kutuukwako okunyomebwa mu maaso ga Katonda n’ebibonerezo e bikakali, ku lwo kusaasanya kwabwe e bikyamu.
Al-An'am 6:128وَيَوۡمَ يَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعٗا يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ قَدِ ٱسۡتَكۡثَرۡتُم مِّنَ ٱلۡإِنسِۖ وَقَالَ أَوۡلِيَآؤُهُم مِّنَ ٱلۡإِنسِ رَبَّنَا ٱسۡتَمۡتَعَ بَعۡضُنَا بِبَعۡضٖ وَبَلَغۡنَآ أَجَلَنَا ٱلَّذِيٓ أَجَّلۡتَ لَنَاۚ قَالَ ٱلنَّارُ مَثۡوَىٰكُمۡ خَٰلِدِينَ فِيهَآ إِلَّا مَا شَآءَ ٱللَّهُۚ إِنَّ رَبَّكَ حَكِيمٌ عَلِيمٞ ﴿١٢٨﴾
(Ggwe Nabbi Muhammad) lowooza olunaku Katonda lwalikungwanya (abakaafiiri) bonna, (abagambe nti) abange mmwe amajinni mwabuza abantu bangi nnyo, mikwano gya majinni mu bantu ne bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe fenna twesanyusizanga wamu netutuuka ku kiseera kyaffe kye watugerera okuba ku nsi, Katonda n'abagamba nti omuliro bwe buddo bwa mmwe, muli baakugubeeramu bugenderevu okugyako oyo Katonda gwaliba yagadde, anti mazima Mukama omulabiriziwo mugoba nsonga muyitirivu wa kumanya.
Al-An'am 6:129وَكَذَٰلِكَ نُوَلِّي بَعۡضَ ٱلظَّـٰلِمِينَ بَعۡضَۢا بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿١٢٩﴾
Bwe tutyo bulijjo abeeyisa obubi tubafuula mikwano gy’a ba nnaabwe bwe bafaanana olw'ebyo bye bakola.
Al-An'am 6:130يَٰمَعۡشَرَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ رُسُلٞ مِّنكُمۡ يَقُصُّونَ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِي وَيُنذِرُونَكُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَاۚ قَالُواْ شَهِدۡنَا عَلَىٰٓ أَنفُسِنَاۖ وَغَرَّتۡهُمُ ٱلۡحَيَوٰةُ ٱلدُّنۡيَا وَشَهِدُواْ عَلَىٰٓ أَنفُسِهِمۡ أَنَّهُمۡ كَانُواْ كَٰفِرِينَ ﴿١٣٠﴾
Abange mmwe amajinni n'abantu ababaka tebaabajjira nga bava mu mmwe nga babategeeza e bigambo byange era ne babatiisa, okutuuka ku lunaku lwa mmwe luno, baligamba nti twewaako obujulizi (nti byonna baabitugamba, naye e kyabaleetera okubula) obulamu bwe nsi bwabagayaaza, olwo nno nebaba nga beekakasizzaako ddala nti baali bakaafiiri.
Al-An'am 6:131ذَٰلِكَ أَن لَّمۡ يَكُن رَّبُّكَ مُهۡلِكَ ٱلۡقُرَىٰ بِظُلۡمٖ وَأَهۡلُهَا غَٰفِلُونَ ﴿١٣١﴾
Ekyo nno (e kyokutuma ababaka) kyaliwo lwakuba nti Mukama omulabiriziwo yali tayinza kuzirikiza bantu ba kitundu kyonna olw'okweyisa obubi nga abantu b'omukitundu e kyo tebamaze kumanyisibwa (mateekage).
Al-A'raf 7:38قَالَ ٱدۡخُلُواْ فِيٓ أُمَمٖ قَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلِكُم مِّنَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِ فِي ٱلنَّارِۖ كُلَّمَا دَخَلَتۡ أُمَّةٞ لَّعَنَتۡ أُخۡتَهَاۖ حَتَّىٰٓ إِذَا ٱدَّارَكُواْ فِيهَا جَمِيعٗا قَالَتۡ أُخۡرَىٰهُمۡ لِأُولَىٰهُمۡ رَبَّنَا هَـٰٓؤُلَآءِ أَضَلُّونَا فَـَٔاتِهِمۡ عَذَابٗا ضِعۡفٗا مِّنَ ٱلنَّارِۖ قَالَ لِكُلّٖ ضِعۡفٞ وَلَٰكِن لَّا تَعۡلَمُونَ ﴿٣٨﴾
Katonda aligamba nti muyingire omuliro nga muyingirira mu bibinja e byabo be mufaanana, abaabakulembera mu majinni ne mu bantu, buli kibinja ekiriyingira nga kikolimira kinnaakyo okutuusa nga bonna bamaze okusisinkana mu gwo, e kibinja e kyenkomerero kiryogera ku kyolubereberye nekigamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe abo baatubuza bawe e bibonerezo by'omuliro nga obikubisizzaamu, Katonda naagamba nti buli bamu bongezeddwamu naye temumanyi.
Al-A'raf 7:39وَقَالَتۡ أُولَىٰهُمۡ لِأُخۡرَىٰهُمۡ فَمَا كَانَ لَكُمۡ عَلَيۡنَا مِن فَضۡلٖ فَذُوقُواْ ٱلۡعَذَابَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡسِبُونَ ﴿٣٩﴾
Ab'olubereberye baligamba ab’enkomerero (nti ekyo kyemwogera) tekibawa nkizo yonna ku ffe, kale mukombe ku bukaawu bwe bibonerezo olw'ebyo bye mwakolanga.
Al-A'raf 7:40إِنَّ ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِـَٔايَٰتِنَا وَٱسۡتَكۡبَرُواْ عَنۡهَا لَا تُفَتَّحُ لَهُمۡ أَبۡوَٰبُ ٱلسَّمَآءِ وَلَا يَدۡخُلُونَ ٱلۡجَنَّةَ حَتَّىٰ يَلِجَ ٱلۡجَمَلُ فِي سَمِّ ٱلۡخِيَاطِۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿٤٠﴾
Mazima abo abaalimbisa e bigambo byaffe ne babyekuluntalizaako, e miryango gye ggulu tegigenda kubaggulirwa, era tebagenda kuyingira jjana be ppo nga e ngamiya eyise mu kituli ky'empiso, bwe tutyo nno bwetusasula aboonoonyi.
Al-A'raf 7:41لَهُم مِّن جَهَنَّمَ مِهَادٞ وَمِن فَوۡقِهِمۡ غَوَاشٖۚ وَكَذَٰلِكَ نَجۡزِي ٱلظَّـٰلِمِينَ ﴿٤١﴾
Balina obuliri mu muliro Jahannama nga ne byokwebikka waggulu waabwe muliro, era bwe tutyo bwe tusasula abeeyisa obubi.
Al-A'raf 7:165فَلَمَّا نَسُواْ مَا ذُكِّرُواْ بِهِۦٓ أَنجَيۡنَا ٱلَّذِينَ يَنۡهَوۡنَ عَنِ ٱلسُّوٓءِ وَأَخَذۡنَا ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ بِعَذَابِۭ بَـِٔيسِۭ بِمَا كَانُواْ يَفۡسُقُونَ ﴿١٦٥﴾
Kebaamala nebeerabira e byababuulirwa, twawonya abo abakoma ku bannaabwe okukola e bibi, ate abo abeeyisa obubi netubassaako e bibonerezo e bikambwe olw'obwonoonyi bwe baakolanga.
Al-A'raf 7:166فَلَمَّا عَتَوۡاْ عَن مَّا نُهُواْ عَنۡهُ قُلۡنَا لَهُمۡ كُونُواْ قِرَدَةً خَٰسِـِٔينَ ﴿١٦٦﴾
Bwe baalemera kw'ebyo e byabagaanibwa twabagamba nti, mubeere enkobe kibafuule abanyoomebwa.
Al-A'raf 7:167وَإِذۡ تَأَذَّنَ رَبُّكَ لَيَبۡعَثَنَّ عَلَيۡهِمۡ إِلَىٰ يَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ مَن يَسُومُهُمۡ سُوٓءَ ٱلۡعَذَابِۗ إِنَّ رَبَّكَ لَسَرِيعُ ٱلۡعِقَابِ وَإِنَّهُۥ لَغَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿١٦٧﴾
Era jjukira Mukama omulabiriziwo bwe yalangirira nti (abayudaaya) ajja kubateerawo ddala abantu abanaabakombesanga ku bukaawu bwe bibonerezo, okutuusa ku lunaku lw’enkomerero, mazima Mukama omulabiriziwo mwangu mu kubonereza, era mazima yye. Musonyiyi nnyo wa kisa.
Al-A'raf 7:179وَلَقَدۡ ذَرَأۡنَا لِجَهَنَّمَ كَثِيرٗا مِّنَ ٱلۡجِنِّ وَٱلۡإِنسِۖ لَهُمۡ قُلُوبٞ لَّا يَفۡقَهُونَ بِهَا وَلَهُمۡ أَعۡيُنٞ لَّا يُبۡصِرُونَ بِهَا وَلَهُمۡ ءَاذَانٞ لَّا يَسۡمَعُونَ بِهَآۚ أُوْلَـٰٓئِكَ كَٱلۡأَنۡعَٰمِ بَلۡ هُمۡ أَضَلُّۚ أُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡغَٰفِلُونَ ﴿١٧٩﴾
Omuliro Jahannama twagutegekera bangi mu majinni ne mu Bantu, (kyova olaba) nti, balina e mitima naye tebagikozesa kutegeera, era balina amaaso gebatalabisa, era balina amatu gebatawuliza, abo nno balinga e bisolo, sinakindi bo b’e babuze okusinga e bisolo, abo nno be beesuulirayo ogwa nnagamba (ku bigambo bye ddiini).
Al-A'raf 7:180وَلِلَّهِ ٱلۡأَسۡمَآءُ ٱلۡحُسۡنَىٰ فَٱدۡعُوهُ بِهَاۖ وَذَرُواْ ٱلَّذِينَ يُلۡحِدُونَ فِيٓ أَسۡمَـٰٓئِهِۦۚ سَيُجۡزَوۡنَ مَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ ﴿١٨٠﴾
Era Katonda alina amannya amalungi, kale mugamusabise, era muve kw’abo abakyusakyusa amannyage, balisasulwa ebyo bye baakola.
Al-Anfal 8:12إِذۡ يُوحِي رَبُّكَ إِلَى ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةِ أَنِّي مَعَكُمۡ فَثَبِّتُواْ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْۚ سَأُلۡقِي فِي قُلُوبِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلرُّعۡبَ فَٱضۡرِبُواْ فَوۡقَ ٱلۡأَعۡنَاقِ وَٱضۡرِبُواْ مِنۡهُمۡ كُلَّ بَنَانٖ ﴿١٢﴾
Jjukira Mukama omulabiriziwo, bwe yatumira ba Malayika nti, mazima nze ndi wamu na mmwe, mugumye abo abakkiriza, njakussa okutya mu mitima gyabo abaakaafuwala, kale muteme waggulu w’ensingo, era mubatemeko n’engalo.
Al-Anfal 8:13ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ شَآقُّواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥۚ وَمَن يُشَاقِقِ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥ فَإِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿١٣﴾
Ekyo nno lwa kuba nti mazima bo beesimba mu Katonda n’o mubakawe, anti omuntu eyeesimba mu Katonda n’omubakawe, mazima Katonda muyitirivu wa kubonereza.
Al-Anfal 8:14ذَٰلِكُمۡ فَذُوقُوهُ وَأَنَّ لِلۡكَٰفِرِينَ عَذَابَ ٱلنَّارِ ﴿١٤﴾
Ebyo nno ebibatuuseeko (bye bibasaanira), kale mukombe ku bukaawu bwabyo (nga muttibwa mu ntalo kuno ku nsi), era nga ddala abakaafiiri bagenda kussibwako e bibonerezo by’o mu muliro.
Al-Anfal 8:15يَـٰٓأَيُّهَا ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِذَا لَقِيتُمُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ زَحۡفٗا فَلَا تُوَلُّوهُمُ ٱلۡأَدۡبَارَ ﴿١٥﴾
Abange mmwe abakkiriza, bwe mugasimbagananga n'abo abaakaafuwala, ababa bazze okubalwanyisa, temubaddukanga.
Al-Anfal 8:16وَمَن يُوَلِّهِمۡ يَوۡمَئِذٖ دُبُرَهُۥٓ إِلَّا مُتَحَرِّفٗا لِّقِتَالٍ أَوۡ مُتَحَيِّزًا إِلَىٰ فِئَةٖ فَقَدۡ بَآءَ بِغَضَبٖ مِّنَ ٱللَّهِ وَمَأۡوَىٰهُ جَهَنَّمُۖ وَبِئۡسَ ٱلۡمَصِيرُ ﴿١٦﴾
Oyo yenna abalaga e mabegawe (nadduka), ku lunaku olwo, mpozzi ng’ali ku kakodyo ka lutalo, oba nga adda eri kibinja kya balwanyi banne, mazima aba akakaseeko obusungu bw’a Katonda, nga n’obuddobwe muliro Jahannama, ate nga buddo bubi.
Al-Anfal 8:17فَلَمۡ تَقۡتُلُوهُمۡ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ قَتَلَهُمۡۚ وَمَا رَمَيۡتَ إِذۡ رَمَيۡتَ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ رَمَىٰ وَلِيُبۡلِيَ ٱلۡمُؤۡمِنِينَ مِنۡهُ بَلَآءً حَسَنًاۚ إِنَّ ٱللَّهَ سَمِيعٌ عَلِيمٞ ﴿١٧﴾
Simmwe mwabatta, naye mazima Katonda y’e yabatta, era bwe wakanyuga, si ggwe wakanyuga, naye mazima Katonda y’eyakanyuga, era abeere nga agezesa abakkiriza olugezesa olulungi n’ekikolwa ekyo, mazima Katonda awulira nnyo, mumanyi.
Al-Anfal 8:18ذَٰلِكُمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ مُوهِنُ كَيۡدِ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿١٨﴾
E byo byebyo (mubimanye), era mumanyire ddala nti, mazima Katonda anafuya enkwe z’a bakaafiiri.
Al-Anfal 8:50وَلَوۡ تَرَىٰٓ إِذۡ يَتَوَفَّى ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ يَضۡرِبُونَ وُجُوهَهُمۡ وَأَدۡبَٰرَهُمۡ وَذُوقُواْ عَذَابَ ٱلۡحَرِيقِ ﴿٥٠﴾
Singa olaba (ggwe Nabbi Muhammad) engeri malayika gye ziggyamu e myooyo gy’abakaafiiri, nga babakuba mu maaso gaabwe, ne ku migongo gyabwe, nga bwe babagamba nti, mukombe ku bukaawu bwe binorezo ebyokya.
Al-Anfal 8:51ذَٰلِكَ بِمَا قَدَّمَتۡ أَيۡدِيكُمۡ وَأَنَّ ٱللَّهَ لَيۡسَ بِظَلَّـٰمٖ لِّلۡعَبِيدِ ﴿٥١﴾
Ekyo ekibatuuseeko, kiva ku ebyo bye mwakola (mu bulamu bwensi) era nti mazima Katonda tayisa bubi baddube.
Al-Anfal 8:55إِنَّ شَرَّ ٱلدَّوَآبِّ عِندَ ٱللَّهِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ ﴿٥٥﴾
Mazima ekiramu ekisinga obubi mu maaso g’a Katonda, beebo abaakaafuwala nekiba nti tebagenda kukkiriza.
Al-Anfal 8:56ٱلَّذِينَ عَٰهَدتَّ مِنۡهُمۡ ثُمَّ يَنقُضُونَ عَهۡدَهُمۡ فِي كُلِّ مَرَّةٖ وَهُمۡ لَا يَتَّقُونَ ﴿٥٦﴾
Abo bewakozesa endagaano, ate nebamenya endagaano yaabwe buli mulundi, era tebayinza kutya Katonda.
Al-Anfal 8:57فَإِمَّا تَثۡقَفَنَّهُمۡ فِي ٱلۡحَرۡبِ فَشَرِّدۡ بِهِم مَّنۡ خَلۡفَهُمۡ لَعَلَّهُمۡ يَذَّكَّرُونَ ﴿٥٧﴾
Buli lwo bagwikirizanga mu lutalo, babonereze mu bukambwe, kibe ekyokutiisa, eri abo abalibaddirira, babe nga beebuulirira.
At-Tawbah 9:5فَإِذَا ٱنسَلَخَ ٱلۡأَشۡهُرُ ٱلۡحُرُمُ فَٱقۡتُلُواْ ٱلۡمُشۡرِكِينَ حَيۡثُ وَجَدتُّمُوهُمۡ وَخُذُوهُمۡ وَٱحۡصُرُوهُمۡ وَٱقۡعُدُواْ لَهُمۡ كُلَّ مَرۡصَدٖۚ فَإِن تَابُواْ وَأَقَامُواْ ٱلصَّلَوٰةَ وَءَاتَوُاْ ٱلزَّكَوٰةَ فَخَلُّواْ سَبِيلَهُمۡۚ إِنَّ ٱللَّهَ غَفُورٞ رَّحِيمٞ ﴿٥﴾
Emyezi egy'emizizo bwegiggwako, mutte abo abagatta e birala ku Katonda, wonna wemubagwikiriza, era mubawambe, era mubataayize, era mubateege mu buli kkubo, kyokka bwe beenenya, nebayimirizaawo e sswala, nebatoola zzaka, olwo nno mubaleke, anti mazima Katonda musonyiyi, musaasizi.
At-Tawbah 9:14قَٰتِلُوهُمۡ يُعَذِّبۡهُمُ ٱللَّهُ بِأَيۡدِيكُمۡ وَيُخۡزِهِمۡ وَيَنصُرۡكُمۡ عَلَيۡهِمۡ وَيَشۡفِ صُدُورَ قَوۡمٖ مُّؤۡمِنِينَ ﴿١٤﴾
Mubalwanyise, Katonda ababonereze n’emikono gya mmwe, era abakkakkanye era mmwe abataase ku bo, aweweeze ekyo ekiri mu mitima gya bakkiriza.
At-Tawbah 9:15وَيُذۡهِبۡ غَيۡظَ قُلُوبِهِمۡۗ وَيَتُوبُ ٱللَّهُ عَلَىٰ مَن يَشَآءُۗ وَٱللَّهُ عَلِيمٌ حَكِيمٌ ﴿١٥﴾
Era amalewo obukyayi bw’emitima gya bwe, era Katonda akkirize okwenenya kw’oyo gwaba ayagadde, bulijjo Katonda muyitirivu w’a kumanya, mugoba nsonga.
Yunus 10:7إِنَّ ٱلَّذِينَ لَا يَرۡجُونَ لِقَآءَنَا وَرَضُواْ بِٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَٱطۡمَأَنُّواْ بِهَا وَٱلَّذِينَ هُمۡ عَنۡ ءَايَٰتِنَا غَٰفِلُونَ ﴿٧﴾
Mazima abo abatasuubira kutusisinkana era ne basiima okwemalira ku bulamu bw'ensi era ne batebenkera nabwo, era abo abatassa mulaka ku bubonero bwaffe.
Yunus 10:8أُوْلَـٰٓئِكَ مَأۡوَىٰهُمُ ٱلنَّارُ بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿٨﴾
Abo nno obuddo bwa bwe muliro olw'ebyo bye baakolanga.
Yunus 10:27وَٱلَّذِينَ كَسَبُواْ ٱلسَّيِّـَٔاتِ جَزَآءُ سَيِّئَةِۭ بِمِثۡلِهَا وَتَرۡهَقُهُمۡ ذِلَّةٞۖ مَّا لَهُم مِّنَ ٱللَّهِ مِنۡ عَاصِمٖۖ كَأَنَّمَآ أُغۡشِيَتۡ وُجُوهُهُمۡ قِطَعٗا مِّنَ ٱلَّيۡلِ مُظۡلِمًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿٢٧﴾
Bo abakola ebibi empeera y'ekibi yenkana ekibi ekikoleddwa era obunyoomu bugenda kubabikka tebagenda kubeera n'abawonya yenna ku Katonda, bo ebyenyi bya bwe bigenda kubeera nga ebibikkiddwa ekitundu ky'ekiro eky'enzikiza abo nno b'ebantu bo mu muliro bo baakutuula mu gwo lubeerera.
Yunus 10:28وَيَوۡمَ نَحۡشُرُهُمۡ جَمِيعٗا ثُمَّ نَقُولُ لِلَّذِينَ أَشۡرَكُواْ مَكَانَكُمۡ أَنتُمۡ وَشُرَكَآؤُكُمۡۚ فَزَيَّلۡنَا بَيۡنَهُمۡۖ وَقَالَ شُرَكَآؤُهُم مَّا كُنتُمۡ إِيَّانَا تَعۡبُدُونَ ﴿٢٨﴾
Era jjukira olunaku lwe tulibakunganya bonna olwo nno netugamba eri abo abaagatta abintu ebirala ku Katonda mubeere mu bifo bya mmwe ne bannammwe (be mwagatta ku Katonda) olwo nno netubaawulamu bebaagatta ku Katonda nebagamba nti mwali temusinza ffe.
Yunus 10:29فَكَفَىٰ بِٱللَّهِ شَهِيدَۢا بَيۡنَنَا وَبَيۡنَكُمۡ إِن كُنَّا عَنۡ عِبَادَتِكُمۡ لَغَٰفِلِينَ ﴿٢٩﴾
Katonda amala okuba nga ye mujulizi wakati waffe na mmwe okukakasa nti tetumanyangako nti mwali mutusinza.
Yunus 10:30هُنَالِكَ تَبۡلُواْ كُلُّ نَفۡسٖ مَّآ أَسۡلَفَتۡۚ وَرُدُّوٓاْ إِلَى ٱللَّهِ مَوۡلَىٰهُمُ ٱلۡحَقِّۖ وَضَلَّ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَفۡتَرُونَ ﴿٣٠﴾
Olwo nno buli muntu agenda kulagwa ebyo bye yakola era bazzibwe ewa Katonda mukama waabwe omutuufu olwo nno bye baayiiyanga biryoke bibabuleko.
Hud 11:102وَكَذَٰلِكَ أَخۡذُ رَبِّكَ إِذَآ أَخَذَ ٱلۡقُرَىٰ وَهِيَ ظَٰلِمَةٌۚ إِنَّ أَخۡذَهُۥٓ أَلِيمٞ شَدِيدٌ ﴿١٠٢﴾
Bwe kutyo bwe kuba okukwata kwa Mukama omulabiriziwo. Bwakwata e bitundu nga biri mu mbeera ey'okweyisa obubi mazima okukwata kwe kuluma nnyo era kuyitirivu.
Hud 11:103إِنَّ فِي ذَٰلِكَ لَأٓيَةٗ لِّمَنۡ خَافَ عَذَابَ ٱلۡأٓخِرَةِۚ ذَٰلِكَ يَوۡمٞ مَّجۡمُوعٞ لَّهُ ٱلنَّاسُ وَذَٰلِكَ يَوۡمٞ مَّشۡهُودٞ ﴿١٠٣﴾
Mazima ekyo mulimu ekyokulabirako eri oyo atya ebibonerezo byo lunaku lw'enkomerero, olwo lwe lunaku ku lwalwo abantu bonna bagenda kukunganyizibwa era olwo olunaku abantu bonna baakulubaako.
Hud 11:104وَمَا نُؤَخِّرُهُۥٓ إِلَّا لِأَجَلٖ مَّعۡدُودٖ ﴿١٠٤﴾
Era tetululindiriza okugyako okutuuka ku kiseera kya lwo ekigere.
Hud 11:105يَوۡمَ يَأۡتِ لَا تَكَلَّمُ نَفۡسٌ إِلَّا بِإِذۡنِهِۦۚ فَمِنۡهُمۡ شَقِيّٞ وَسَعِيدٞ ﴿١٠٥﴾
Olunaku bwe lulituuka teri muntu yenna agenda kwogera okugyako lwa kukkiriza kwa Katonda, nga mu bo mulibaamu abonoonefu n'abalongoofu.
Hud 11:106فَأَمَّا ٱلَّذِينَ شَقُواْ فَفِي ٱلنَّارِ لَهُمۡ فِيهَا زَفِيرٞ وَشَهِيقٌ ﴿١٠٦﴾
Bo abo abaajeema baakuyingira muliro baliba balina mu gwo okusinda n'okukema.
Hud 11:107خَٰلِدِينَ فِيهَا مَا دَامَتِ ٱلسَّمَٰوَٰتُ وَٱلۡأَرۡضُ إِلَّا مَا شَآءَ رَبُّكَۚ إِنَّ رَبَّكَ فَعَّالٞ لِّمَا يُرِيدُ ﴿١٠٧﴾
Baakugubeeramu ebbanga eggulu (omusanvu) ne nsi bye birimala nga weebiri okugyako ekiseera Mukama omulabiriziwo kyaliba ayagadde mazima Mukama omulabiriziwo akola ekyo kyaba ayagadde.
Ar-Ra'd 13:5۞وَإِن تَعۡجَبۡ فَعَجَبٞ قَوۡلُهُمۡ أَءِذَا كُنَّا تُرَٰبًا أَءِنَّا لَفِي خَلۡقٖ جَدِيدٍۗ أُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ بِرَبِّهِمۡۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ ٱلۡأَغۡلَٰلُ فِيٓ أَعۡنَاقِهِمۡۖ وَأُوْلَـٰٓئِكَ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِۖ هُمۡ فِيهَا خَٰلِدُونَ ﴿٥﴾
Bwoba oli wa kwewuunya, kyewuunyisa ekigambo kyabwe bwe bagamba nti: bwe tulimala okufuuka ettaka (nga tufudde) abaffe tuliddamu ne tutondebwa, abo nno beebo abaajeemera Mukama omulabirizi waabwe era abo enkoligo zigenda kubeera mu nsingo zaabwe era abo be bantu bo muliro bo baakutuula bugenderevu mu gwo.
Ar-Ra'd 13:6وَيَسۡتَعۡجِلُونَكَ بِٱلسَّيِّئَةِ قَبۡلَ ٱلۡحَسَنَةِ وَقَدۡ خَلَتۡ مِن قَبۡلِهِمُ ٱلۡمَثُلَٰتُۗ وَإِنَّ رَبَّكَ لَذُو مَغۡفِرَةٖ لِّلنَّاسِ عَلَىٰ ظُلۡمِهِمۡۖ وَإِنَّ رَبَّكَ لَشَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿٦﴾
Bakusaba batuusibweko ekibi mu bwangu mu kifo ky'okuba nga bandibadde bakusaba birungi, ate nga ebibonerezo bingi ebyaliwo oluberyeberye. era mazima Mukama Omulabiriziwo ajjudde okusonyiwa eri abantu ku kweyisa kwa bwe obubi, era ddala Mukama omulabiriziwo muyitirivu wa bibonerezo.
Ar-Ra'd 13:31وَلَوۡ أَنَّ قُرۡءَانٗا سُيِّرَتۡ بِهِ ٱلۡجِبَالُ أَوۡ قُطِّعَتۡ بِهِ ٱلۡأَرۡضُ أَوۡ كُلِّمَ بِهِ ٱلۡمَوۡتَىٰۗ بَل لِّلَّهِ ٱلۡأَمۡرُ جَمِيعًاۗ أَفَلَمۡ يَاْيۡـَٔسِ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ أَن لَّوۡ يَشَآءُ ٱللَّهُ لَهَدَى ٱلنَّاسَ جَمِيعٗاۗ وَلَا يَزَالُ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ تُصِيبُهُم بِمَا صَنَعُواْ قَارِعَةٌ أَوۡ تَحُلُّ قَرِيبٗا مِّن دَارِهِمۡ حَتَّىٰ يَأۡتِيَ وَعۡدُ ٱللَّهِۚ إِنَّ ٱللَّهَ لَا يُخۡلِفُ ٱلۡمِيعَادَ ﴿٣١﴾
Singa mazima waliyo ekitabo ekisomwa nga ensozi zisobola okutambuzibwa nakyo, n'ensi neyeeyasaamu emiwaatwa (ne gitambuliramu amazzi), oba abafu ne boogezebwa nakyo (ekitabo ekyo kyandibadde Kur’ani eno, eby'amagero si bye birungamya) wabula obuyinza bwonna bwa Katonda, abaffe abo abakkiriza tebakutukanga na kusuubira nti singa Katonda yayagala yandirungamizza, abantu bonna, era abo abaakaafuwala tebagenda kuvaawo nga batuukwako obuzibu olw'ebyo bye baakola oba ekizibu okugwa okumpi n'amayumba ga bwe, okutuusa endagaano ya Katonda lwe lijja. Mazima Katonda tayawukana ku ndagaano.
Ibrahim 14:1الٓرۚ كِتَٰبٌ أَنزَلۡنَٰهُ إِلَيۡكَ لِتُخۡرِجَ ٱلنَّاسَ مِنَ ٱلظُّلُمَٰتِ إِلَى ٱلنُّورِ بِإِذۡنِ رَبِّهِمۡ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡحَمِيدِ ﴿١﴾
Alif Laam Raa, kino kitabo twakissa gyoli obe nga oggya abantu mu kizikiza obazze mu kitangaala, ku lw'okukkiriza kwa Mukama omulabirizi waabwe (obalungamye) ku kkubo lya nnantakubwa ku mukono atenderezebwa.
Ibrahim 14:2ٱللَّهِ ٱلَّذِي لَهُۥ مَا فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَا فِي ٱلۡأَرۡضِۗ وَوَيۡلٞ لِّلۡكَٰفِرِينَ مِنۡ عَذَابٖ شَدِيدٍ ﴿٢﴾
Katonda oyo nannyini wa byonna ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi. Era okubonaabona kuliba ku bakaafiiri olw'ebibonerezo ebikakali ebiribatuukako.
Ibrahim 14:3ٱلَّذِينَ يَسۡتَحِبُّونَ ٱلۡحَيَوٰةَ ٱلدُّنۡيَا عَلَى ٱلۡأٓخِرَةِ وَيَصُدُّونَ عَن سَبِيلِ ٱللَّهِ وَيَبۡغُونَهَا عِوَجًاۚ أُوْلَـٰٓئِكَ فِي ضَلَٰلِۭ بَعِيدٖ ﴿٣﴾
Abo abakulembeza obulamu bw'ensi ku bw'enkomerero, nga bagoba abantu okubaggya ku kkubo lya Katonda era nga balyagaliza okuba ekkyamu. Abo bali mu bubuze obweyolefu.
Ibrahim 14:15وَٱسۡتَفۡتَحُواْ وَخَابَ كُلُّ جَبَّارٍ عَنِيدٖ ﴿١٥﴾
(Ababaka) nebasaba (Katonda) okubataasa, naawemuka buli mwekuza ow'amawaggali.
Ibrahim 14:16مِّن وَرَآئِهِۦ جَهَنَّمُ وَيُسۡقَىٰ مِن مَّآءٖ صَدِيدٖ ﴿١٦﴾
Oluvanyuma lw'ekyo (omwekuza oyo alindiriddwa) omuliro jahannama era agenda kunywesebwa amazzi ag'amasira ag'olusaayi saayi.