quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 5)

710 Aya · Emitwe · lg

Al-Mu'minun 23:73

وَإِنَّكَ لَتَدۡعُوهُمۡ إِلَىٰ صِرَٰطٖ مُّسۡتَقِيمٖ ﴿٧٣﴾

. Era mazima ggwe obakoowoola okujja eri e kkubo eggolokofu.

Al-Mu'minun 23:74

وَإِنَّ ٱلَّذِينَ لَا يُؤۡمِنُونَ بِٱلۡأٓخِرَةِ عَنِ ٱلصِّرَٰطِ لَنَٰكِبُونَ ﴿٧٤﴾

. Era mazima abo abatakkiriza lunaku lwa nkomerero ddala be bava ku kkubo.

Al-Mu'minun 23:75

۞وَلَوۡ رَحِمۡنَٰهُمۡ وَكَشَفۡنَا مَا بِهِم مِّن ضُرّٖ لَّلَجُّواْ فِي طُغۡيَٰنِهِمۡ يَعۡمَهُونَ ﴿٧٥﴾

. Singa twabasaasira netubaggyako obuzibu obwabatuukako bandiremedde ku bubuze bwa bwe nga babulubuuta.

Al-Mu'minun 23:76

وَلَقَدۡ أَخَذۡنَٰهُم بِٱلۡعَذَابِ فَمَا ٱسۡتَكَانُواْ لِرَبِّهِمۡ وَمَا يَتَضَرَّعُونَ ﴿٧٦﴾

. Mazima twabatuusaako e bibonerezo naye tebeemenyera Mukama omulabirizi waabwe era tebaagonda.

Al-Mu'minun 23:77

حَتَّىٰٓ إِذَا فَتَحۡنَا عَلَيۡهِم بَابٗا ذَا عَذَابٖ شَدِيدٍ إِذَا هُمۡ فِيهِ مُبۡلِسُونَ ﴿٧٧﴾

. Okutuusa bwe tulibaggulira omulyango gw'ebibonerezo e bikakali oligenda okubalaba nga basobeddwa.

Al-Mu'minun 23:101

فَإِذَا نُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَلَآ أَنسَابَ بَيۡنَهُمۡ يَوۡمَئِذٖ وَلَا يَتَسَآءَلُونَ ﴿١٠١﴾

. Olwo nno engombe bwerifuuyibwa tewagenda kuba nganda wakati wa bwe ku lunaku olwo, era tebagenda kwogeraganya.

Al-Mu'minun 23:102

فَمَن ثَقُلَتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَـٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ ﴿١٠٢﴾

. Oyo yenna ebirizitowa ebipimwabye abo nno be b'okwesiima.

Al-Mu'minun 23:103

وَمَنۡ خَفَّتۡ مَوَٰزِينُهُۥ فَأُوْلَـٰٓئِكَ ٱلَّذِينَ خَسِرُوٓاْ أَنفُسَهُمۡ فِي جَهَنَّمَ خَٰلِدُونَ ﴿١٠٣﴾

. Ate oyo ebiriwewuka ebipimwabye abo nno be bafaafaaganirwa emyoyo gya bwe nga baakutuula lubeerera mu muliro Jahannama.

Al-Mu'minun 23:104

تَلۡفَحُ وُجُوهَهُمُ ٱلنَّارُ وَهُمۡ فِيهَا كَٰلِحُونَ ﴿١٠٤﴾

. Omuliro gulisiriiza ebyenyi bya bwe, balibeera mu gwo nga banyinyibadde.

Al-Mu'minun 23:105

أَلَمۡ تَكُنۡ ءَايَٰتِي تُتۡلَىٰ عَلَيۡكُمۡ فَكُنتُم بِهَا تُكَذِّبُونَ ﴿١٠٥﴾

. Abaffe ebigambo byange byali tebibasomerwa ate mmwe ne muba nga mubilimbisa.

Al-Mu'minun 23:106

قَالُواْ رَبَّنَا غَلَبَتۡ عَلَيۡنَا شِقۡوَتُنَا وَكُنَّا قَوۡمٗا ضَآلِّينَ ﴿١٠٦﴾

. Nebagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe obwonoonefu bwaffe bwatusinza amanyi, era twali abantu abaabula.

Al-Mu'minun 23:107

رَبَّنَآ أَخۡرِجۡنَا مِنۡهَا فَإِنۡ عُدۡنَا فَإِنَّا ظَٰلِمُونَ ﴿١٠٧﴾

. Ayi Mukama omulabirizi waffe tuggye mu gwo (omuliro), olwo nno bwe tuddamu okwonoona mazima tujja kuba abeeyisa obubi.

Al-Mu'minun 23:108

قَالَ ٱخۡسَـُٔواْ فِيهَا وَلَا تُكَلِّمُونِ ﴿١٠٨﴾

. Naagamba nti mubeere mu gwo nga munyoomebwa era temwogera nange.

Al-Mu'minun 23:109

إِنَّهُۥ كَانَ فَرِيقٞ مِّنۡ عِبَادِي يَقُولُونَ رَبَّنَآ ءَامَنَّا فَٱغۡفِرۡ لَنَا وَٱرۡحَمۡنَا وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿١٠٩﴾

. Mazima ekitundu mu baddu bange baali bagamba nti ayi Mukama omulabirizi waffe tukkirizza kale tusonyiwe era otusaasire era ggwe osinga abasaasizi bonna.

Al-Mu'minun 23:110

فَٱتَّخَذۡتُمُوهُمۡ سِخۡرِيًّا حَتَّىٰٓ أَنسَوۡكُمۡ ذِكۡرِي وَكُنتُم مِّنۡهُمۡ تَضۡحَكُونَ ﴿١١٠﴾

. Ne mubafuula ekisekererwa okutuusa lwe baaberabiza okunjogerako era mwali mubasekerera.

Al-Mu'minun 23:111

إِنِّي جَزَيۡتُهُمُ ٱلۡيَوۡمَ بِمَا صَبَرُوٓاْ أَنَّهُمۡ هُمُ ٱلۡفَآئِزُونَ ﴿١١١﴾

. Mazima nze olwa leero mbasasudde olw'ebyo bye baagumiikiriza mazima bbo be b'okwesiima.

Al-Mu'minun 23:112

قَٰلَ كَمۡ لَبِثۡتُمۡ فِي ٱلۡأَرۡضِ عَدَدَ سِنِينَ ﴿١١٢﴾

. (Katonda) aligamba nti mu nsi mwatuulamu emyaka emeka?

Al-Mu'minun 23:113

قَالُواْ لَبِثۡنَا يَوۡمًا أَوۡ بَعۡضَ يَوۡمٖ فَسۡـَٔلِ ٱلۡعَآدِّينَ ﴿١١٣﴾

. Baligamba nti: twamalamu lunaku oba kitundu kya lunaku, wabula buuza ababazi.

Al-Mu'minun 23:114

قَٰلَ إِن لَّبِثۡتُمۡ إِلَّا قَلِيلٗاۖ لَّوۡ أَنَّكُمۡ كُنتُمۡ تَعۡلَمُونَ ﴿١١٤﴾

. Aligamba nti temwatuula okugyako ebbanga ttono singa mazima mmwe mwali mumanyi.

Al-Mu'minun 23:115

أَفَحَسِبۡتُمۡ أَنَّمَا خَلَقۡنَٰكُمۡ عَبَثٗا وَأَنَّكُمۡ إِلَيۡنَا لَا تُرۡجَعُونَ ﴿١١٥﴾

. Abaffe mwalowooza nti mazima twabatonda nga tewali kigendererwa, era nti mazima mmwe temugenda kuzzibwa gye tuli.

Al-Mu'minun 23:116

فَتَعَٰلَى ٱللَّهُ ٱلۡمَلِكُ ٱلۡحَقُّۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَ رَبُّ ٱلۡعَرۡشِ ٱلۡكَرِيمِ ﴿١١٦﴾

. Yasukkuluma Katonda Omufuzi (era yye) ye mazima tewali kisinzibwa kyonna (mu butuufu) okugyako yye, Mukama omulabirizi wa Arishi ey'ekitiibwa.

Al-Mu'minun 23:117

وَمَن يَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَ لَا بُرۡهَٰنَ لَهُۥ بِهِۦ فَإِنَّمَا حِسَابُهُۥ عِندَ رَبِّهِۦٓۚ إِنَّهُۥ لَا يُفۡلِحُ ٱلۡكَٰفِرُونَ ﴿١١٧﴾

. Oyo yenna asinza ekintu ekirala awamu ne Katonda so nga ate takirinaako bujulizi, mazima okubalibwa kwe kuli wa Mukama omulabiriziwe, mazima abakaafiiri tebayinza kwesiima.

Al-Mu'minun 23:118

وَقُل رَّبِّ ٱغۡفِرۡ وَٱرۡحَمۡ وَأَنتَ خَيۡرُ ٱلرَّـٰحِمِينَ ﴿١١٨﴾

. Era gamba nti ayi Mukama omulabirizi wange sonyiwa osaasire. Era ggwe osinga abasaasizi bonna.

An-Nur 24:39

وَٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَعۡمَٰلُهُمۡ كَسَرَابِۭ بِقِيعَةٖ يَحۡسَبُهُ ٱلظَّمۡـَٔانُ مَآءً حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءَهُۥ لَمۡ يَجِدۡهُ شَيۡـٔٗا وَوَجَدَ ٱللَّهَ عِندَهُۥ فَوَفَّىٰهُ حِسَابَهُۥۗ وَٱللَّهُ سَرِيعُ ٱلۡحِسَابِ ﴿٣٩﴾

. Bbo abo abaakaafuwala emirimu gya bwe girirabika nga ennyanja ey'okumusenyu (so nga tebaawo) omuyonta agirabanga amazzi bwatuuka w'agirabye tasangawo kintu kyonna wabula mu kifo ekyo asangawo Katonda n'amuwa mu bujjuvu okubalibwakwe. Bulijjo Katonda mwangu mu kubala (kwe).

An-Nur 24:40

أَوۡ كَظُلُمَٰتٖ فِي بَحۡرٖ لُّجِّيّٖ يَغۡشَىٰهُ مَوۡجٞ مِّن فَوۡقِهِۦ مَوۡجٞ مِّن فَوۡقِهِۦ سَحَابٞۚ ظُلُمَٰتُۢ بَعۡضُهَا فَوۡقَ بَعۡضٍ إِذَآ أَخۡرَجَ يَدَهُۥ لَمۡ يَكَدۡ يَرَىٰهَاۗ وَمَن لَّمۡ يَجۡعَلِ ٱللَّهُ لَهُۥ نُورٗا فَمَا لَهُۥ مِن نُّورٍ ﴿٤٠﴾

. (Oba abaakaafuwala emirimu gya bwe giringa) ebizikiza ebiri mu nnyanja ey'ennyanga nga ebikkiddwa amayengo ng'ate waggulu waayo waliyo amayengo amalala ng'ate waggulu waago waliyo ebire ne biba bizikiza ebiri waggulu wa binnaabyo (omuntu singa abadde mu kifo ekyo) bw'ajjayo omukonogwe aba kumpi obutagulaba oyo yenna Katonda gwatawadde kitangaala tayinza kufuna kitangaala.

Al-Furqan 25:11

بَلۡ كَذَّبُواْ بِٱلسَّاعَةِۖ وَأَعۡتَدۡنَا لِمَن كَذَّبَ بِٱلسَّاعَةِ سَعِيرًا ﴿١١﴾

. Wabula (ekibaleetera obuzibu kwe kuba nti) balimbisa olunaku lw'enkomerero, ate nga twategekera abalimbisa olunaku lw'enkomerero omuliro Saira.

Al-Furqan 25:12

إِذَا رَأَتۡهُم مِّن مَّكَانِۭ بَعِيدٖ سَمِعُواْ لَهَا تَغَيُّظٗا وَزَفِيرٗا ﴿١٢﴾

. (Omuliro ogwo) bwe gulibalaba okusinziira ewala baliwulira mu gwo okutokota n'okududuma.

Al-Furqan 25:13

وَإِذَآ أُلۡقُواْ مِنۡهَا مَكَانٗا ضَيِّقٗا مُّقَرَّنِينَ دَعَوۡاْ هُنَالِكَ ثُبُورٗا ﴿١٣﴾

. Bwe balisuulibwa mu gwo, nga buli omu asuulibwa mu kifo ekifunda nga balijjiddwa, olwo nno balikaaba yaaye.

Al-Furqan 25:14

لَّا تَدۡعُواْ ٱلۡيَوۡمَ ثُبُورٗا وَٰحِدٗا وَٱدۡعُواْ ثُبُورٗا كَثِيرٗا ﴿١٤﴾

. Baligambibwa nti temukaaba ‘yaaye’ mulundi gumu, mukaabe ‘yaaye’ emirundi mingi.

Al-Furqan 25:21

۞وَقَالَ ٱلَّذِينَ لَا يَرۡجُونَ لِقَآءَنَا لَوۡلَآ أُنزِلَ عَلَيۡنَا ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ أَوۡ نَرَىٰ رَبَّنَاۗ لَقَدِ ٱسۡتَكۡبَرُواْ فِيٓ أَنفُسِهِمۡ وَعَتَوۡ عُتُوّٗا كَبِيرٗا ﴿٢١﴾

. Abo abatasuubira kutusisinkana ne bagamba nti singa twassibwako ba Malayika oba netulaba Mukama omulabirizi waffe, mazima beekuza nnyo mu myoyo gya bwe ne babula olubula oluyitirivu.

Al-Furqan 25:22

يَوۡمَ يَرَوۡنَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةَ لَا بُشۡرَىٰ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُجۡرِمِينَ وَيَقُولُونَ حِجۡرٗا مَّحۡجُورٗا ﴿٢٢﴾

. Olunaku lwe baliraba ba Malayika tewaliba mawulire ga ssanyu ku lunaku olwo eri aboonoonyi, era (ba Malayika) baligamba nti: kikafuuwe tekigenda kubaawo (omu ku mmwe okuyingira (e jjana).

Al-Furqan 25:23

وَقَدِمۡنَآ إِلَىٰ مَا عَمِلُواْ مِنۡ عَمَلٖ فَجَعَلۡنَٰهُ هَبَآءٗ مَّنثُورًا ﴿٢٣﴾

. Awo nno tulidda ku buli mulimu gwe baakola ne tugufuula olufufugge olufuumuddwa.

Al-Furqan 25:24

أَصۡحَٰبُ ٱلۡجَنَّةِ يَوۡمَئِذٍ خَيۡرٞ مُّسۡتَقَرّٗا وَأَحۡسَنُ مَقِيلٗا ﴿٢٤﴾

. Abantu b'o mu jjana ku lunaku olwo be baliba n'obutuulo obulungi, era be baliba n'ebifo ebirungi ebiwummulirwamu .

Al-Furqan 25:25

وَيَوۡمَ تَشَقَّقُ ٱلسَّمَآءُ بِٱلۡغَمَٰمِ وَنُزِّلَ ٱلۡمَلَـٰٓئِكَةُ تَنزِيلًا ﴿٢٥﴾

. N'olunaku eggulu lwe liriyatikamu ne riba nga lijjudde ebire, era ba Malayika ne bassibwa olussibwa.

Al-Furqan 25:26

ٱلۡمُلۡكُ يَوۡمَئِذٍ ٱلۡحَقُّ لِلرَّحۡمَٰنِۚ وَكَانَ يَوۡمًا عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ عَسِيرٗا ﴿٢٦﴾

. Obufuzi obwa nnamaddala ku lunaku olwo buliba bwa Mukama Katonda ow'ekisa ekingi, lugenda kuba lunaku luzito nnyo ku bakaafiiri.

Al-Furqan 25:27

وَيَوۡمَ يَعَضُّ ٱلظَّالِمُ عَلَىٰ يَدَيۡهِ يَقُولُ يَٰلَيۡتَنِي ٱتَّخَذۡتُ مَعَ ٱلرَّسُولِ سَبِيلٗا ﴿٢٧﴾

. Era olunaku eyeeyisa obubi lwaliruma engaloze aligamba nti zinsanze, singa nateekawo ekkubo erinnyunga ku Mubaka.

Al-Furqan 25:28

يَٰوَيۡلَتَىٰ لَيۡتَنِي لَمۡ أَتَّخِذۡ فُلَانًا خَلِيلٗا ﴿٢٨﴾

. Nga ndabye nze singa ssaafuula gundi w'amukwano.

Al-Furqan 25:29

لَّقَدۡ أَضَلَّنِي عَنِ ٱلذِّكۡرِ بَعۡدَ إِذۡ جَآءَنِيۗ وَكَانَ ٱلشَّيۡطَٰنُ لِلۡإِنسَٰنِ خَذُولٗا ﴿٢٩﴾

. Mazima yambuza nanzigya ku kubuulirira oluvanyuma lw'okuba nti kwanzijira, anti bulijjo Sitane ayabulira omuntu.

Al-Furqan 25:30

وَقَالَ ٱلرَّسُولُ يَٰرَبِّ إِنَّ قَوۡمِي ٱتَّخَذُواْ هَٰذَا ٱلۡقُرۡءَانَ مَهۡجُورٗا ﴿٣٠﴾

. Omubaka aligamba nti ayi Mukama omulabirizi wange, mazima abantu bange Kur’ani eno baagifuula kifulukwa.

Al-Furqan 25:31

وَكَذَٰلِكَ جَعَلۡنَا لِكُلِّ نَبِيٍّ عَدُوّٗا مِّنَ ٱلۡمُجۡرِمِينَۗ وَكَفَىٰ بِرَبِّكَ هَادِيٗا وَنَصِيرٗا ﴿٣١﴾

. Era bwe kityo buli Nabbi twamuteerawo omulabe nga ava mu boonoonyi, era Mukama omulabiriziwo amala okuba nga ye mulungamya era omutaasa.

Al-Furqan 25:32

وَقَالَ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ لَوۡلَا نُزِّلَ عَلَيۡهِ ٱلۡقُرۡءَانُ جُمۡلَةٗ وَٰحِدَةٗۚ كَذَٰلِكَ لِنُثَبِّتَ بِهِۦ فُؤَادَكَۖ وَرَتَّلۡنَٰهُ تَرۡتِيلٗا ﴿٣٢﴾

. Abo abaakaafuwala ne bagamba nti singa Kur’ani yassibwa ku ye omulundi gumu, twagissa bwe tutyo (mu bitundu tundu) tube nga tunyweza nayo omutimagwo era ne tugikusomera olusoma (mpola mpola).

Al-Furqan 25:33

وَلَا يَأۡتُونَكَ بِمَثَلٍ إِلَّا جِئۡنَٰكَ بِٱلۡحَقِّ وَأَحۡسَنَ تَفۡسِيرًا ﴿٣٣﴾

. Tebalina lwe bakuleetera kyakulabirako wabula nga tukuleetera amazima n'ennyinyonnyola esinga obulungi.

Al-Furqan 25:34

ٱلَّذِينَ يُحۡشَرُونَ عَلَىٰ وُجُوهِهِمۡ إِلَىٰ جَهَنَّمَ أُوْلَـٰٓئِكَ شَرّٞ مَّكَانٗا وَأَضَلُّ سَبِيلٗا ﴿٣٤﴾

. Abo abaliwalulirwa ku byenyi bya bwe nga batwalibwa mu muliro Jahannama, abo be bali mu kifo ekisinga obubi era be basinga okubula okuva ku kkubo.

Ash-Shu'ara 26:94

فَكُبۡكِبُواْ فِيهَا هُمۡ وَٱلۡغَاوُۥنَ ﴿٩٤﴾

. Olwo nno ne bakasukibwa mu gwo bo n'ababuze.

Ash-Shu'ara 26:95

وَجُنُودُ إِبۡلِيسَ أَجۡمَعُونَ ﴿٩٥﴾

. Na bonna abali muggye lya Ibuliisu.

Ash-Shu'ara 26:96

قَالُواْ وَهُمۡ فِيهَا يَخۡتَصِمُونَ ﴿٩٦﴾

. Baligamba nga bali mu gwo nga bakaayagana (nti).

Ash-Shu'ara 26:97

تَٱللَّهِ إِن كُنَّا لَفِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٍ ﴿٩٧﴾

. Tulayira Katonda nti mazima ddala twali mu bubuze obw'olwatu.

Ash-Shu'ara 26:98

إِذۡ نُسَوِّيكُم بِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ ﴿٩٨﴾

. Bwe twabenkanya (mmwe) ne Mukama omulabirizi w'ebitonde byonna.

Ash-Shu'ara 26:99

وَمَآ أَضَلَّنَآ إِلَّا ٱلۡمُجۡرِمُونَ ﴿٩٩﴾

. Era tewali yatubuza okugyako aboonoonyi.

Ash-Shu'ara 26:100

فَمَا لَنَا مِن شَٰفِعِينَ ﴿١٠٠﴾

. N'olwekyo tetulina bawolereza.

Emitwe