وَأَنَّا مِنَّا ٱلۡمُسۡلِمُونَ وَمِنَّا ٱلۡقَٰسِطُونَۖ فَمَنۡ أَسۡلَمَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ تَحَرَّوۡاْ رَشَدٗا ﴿١٤﴾
Mazima ddala muffe mulimu abasiramu nga bwemulimu abaabula. Oyo yenna asiramuka, abo nno bebaba banoonya amazima mu bwegendereza.
710 Aya · Emitwe · lg
وَأَنَّا مِنَّا ٱلۡمُسۡلِمُونَ وَمِنَّا ٱلۡقَٰسِطُونَۖ فَمَنۡ أَسۡلَمَ فَأُوْلَـٰٓئِكَ تَحَرَّوۡاْ رَشَدٗا ﴿١٤﴾
Mazima ddala muffe mulimu abasiramu nga bwemulimu abaabula. Oyo yenna asiramuka, abo nno bebaba banoonya amazima mu bwegendereza.
وَأَمَّا ٱلۡقَٰسِطُونَ فَكَانُواْ لِجَهَنَّمَ حَطَبٗا ﴿١٥﴾
Wabula bo abaabula be bagenda okubeera enku z'omuliro Jahannama.
وَأَلَّوِ ٱسۡتَقَٰمُواْ عَلَى ٱلطَّرِيقَةِ لَأَسۡقَيۡنَٰهُم مَّآءً غَدَقٗا ﴿١٦﴾
Naye singa abantu banywerera ku kkubo ettuufu twalibawadde enkuba mu bungi.
لِّنَفۡتِنَهُمۡ فِيهِۚ وَمَن يُعۡرِضۡ عَن ذِكۡرِ رَبِّهِۦ يَسۡلُكۡهُ عَذَابٗا صَعَدٗا ﴿١٧﴾
Tulyoke tubageseze ngeri ki gye be bazaamu e byengera, oyo yenna eyeesamba ebigambo bya Katondawe agenda kumubonereza n'ebibonerezo ebikambwe.
فَإِذَا نُقِرَ فِي ٱلنَّاقُورِ ﴿٨﴾
Engombe bwerifuuyibwa (kulwokuzuukira).
فَذَٰلِكَ يَوۡمَئِذٖ يَوۡمٌ عَسِيرٌ ﴿٩﴾
Olunaku olwo lugenda kuba lunaku luzito.
عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ غَيۡرُ يَسِيرٖ ﴿١٠﴾
Terugenda kuba lwangu eri abakafiiri.
ذَرۡنِي وَمَنۡ خَلَقۡتُ وَحِيدٗا ﴿١١﴾
(Owange ggwe Nabbi Muhammad) ndeka nooyo gwe nnetondera.
وَجَعَلۡتُ لَهُۥ مَالٗا مَّمۡدُودٗا ﴿١٢﴾
Nemuwa ebyobugagga ebiyitirivu.
وَبَنِينَ شُهُودٗا ﴿١٣﴾
Nemuwa nabaana abatutumufu.
وَمَهَّدتُّ لَهُۥ تَمۡهِيدٗا ﴿١٤﴾
Ne mugaziyiriza olugaziya (e byenfuna obukulembeze n'ekitiibwa).
ثُمَّ يَطۡمَعُ أَنۡ أَزِيدَ ﴿١٥﴾
Oluvanyuma alulunkanira okumwongera okusingako awo.
كَلَّآۖ إِنَّهُۥ كَانَ لِأٓيَٰتِنَا عَنِيدٗا ﴿١٦﴾
Nedda sijja kumwongera kuba yawakanya ebigambo byaffe (Kur'ani).
سَأُرۡهِقُهُۥ صَعُودًا ﴿١٧﴾
Nja kumussaako e bibonerezo e bizito.
سَأُصۡلِيهِ سَقَرَ ﴿٢٦﴾
(Katonda naagamba nti:) nja kumuyingiza omuliro Sakara.
وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا سَقَرُ ﴿٢٧﴾
Naye omanyi Sakara kyeki.
لَا تُبۡقِي وَلَا تَذَرُ ﴿٢٨﴾
Gwo muliro ogutagenda kulekawo kintu wadde okukitaliza.
لَوَّاحَةٞ لِّلۡبَشَرِ ﴿٢٩﴾
Gwokera ddala negusiriiza eddiba lyomuntu.
عَلَيۡهَا تِسۡعَةَ عَشَرَ ﴿٣٠﴾
Gukuumibwa ba Malayika kkumi na mwenda.
وَمَا جَعَلۡنَآ أَصۡحَٰبَ ٱلنَّارِ إِلَّا مَلَـٰٓئِكَةٗۖ وَمَا جَعَلۡنَا عِدَّتَهُمۡ إِلَّا فِتۡنَةٗ لِّلَّذِينَ كَفَرُواْ لِيَسۡتَيۡقِنَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَيَزۡدَادَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُوٓاْ إِيمَٰنٗا وَلَا يَرۡتَابَ ٱلَّذِينَ أُوتُواْ ٱلۡكِتَٰبَ وَٱلۡمُؤۡمِنُونَ وَلِيَقُولَ ٱلَّذِينَ فِي قُلُوبِهِم مَّرَضٞ وَٱلۡكَٰفِرُونَ مَاذَآ أَرَادَ ٱللَّهُ بِهَٰذَا مَثَلٗاۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ ٱللَّهُ مَن يَشَآءُ وَيَهۡدِي مَن يَشَآءُۚ وَمَا يَعۡلَمُ جُنُودَ رَبِّكَ إِلَّا هُوَۚ وَمَا هِيَ إِلَّا ذِكۡرَىٰ لِلۡبَشَرِ ﴿٣١﴾
Ate omulimu gwokukuuma omuliro tetwaguwa okugyako ba Malayika, era omuwendo gwabwe tetwaguteekawo okugyako nga kikemo eri abatakkiriza Katonda, so nga abo abaweebwa ekitabo ekyo kibongera kukakasa (ebyo bye baalina), ate bo abakkiriza (abagoberezi ba Nabbi Muhammad) kyongera kunyweza bukkiriza bwabwe, era abaweebwa ekitabo n'abakkiriza babe nga tebasigalamu kakunkuna, wabula nga (abanafunsi) abalina obulwadde mu mitima gyabwe n'abatakkiriza bagamba nti Katonda kiki kyagenderera mu kifananyi kino, bwatyo nno Katonda abuza nalungamya oyo gwaba ayagadde, ate tewali amanyi ggye lya Mukama Katondawo okugyako yye, ebyo byonna ebyogeddwa tewali kibigendererwamu okugyako okubuulirira omuntu.
كَلَّا وَٱلۡقَمَرِ ﴿٣٢﴾
Nedda (tekiri ng'abantu abamu bwe balowooza), mazima ndayidde omwezi.
وَٱلَّيۡلِ إِذۡ أَدۡبَرَ ﴿٣٣﴾
Ne ndayira n'ekiro mu kiseera we kiggwerako.
وَٱلصُّبۡحِ إِذَآ أَسۡفَرَ ﴿٣٤﴾
Ne ndayira n'amakya ngabusasaana.
إِنَّهَا لَإِحۡدَى ٱلۡكُبَرِ ﴿٣٥﴾
Mazima ggwo (omuliro Sakara) kye kimu ku binene.
نَذِيرٗا لِّلۡبَشَرِ ﴿٣٦﴾
Ebyandibadde bibuulirira omuntu.
لِمَن شَآءَ مِنكُمۡ أَن يَتَقَدَّمَ أَوۡ يَتَأَخَّرَ ﴿٣٧﴾
Eri oyo aba ayagadde mu mmwe okudda eri Katondawe oba okumwesamba.
كُلُّ نَفۡسِۭ بِمَا كَسَبَتۡ رَهِينَةٌ ﴿٣٨﴾
Buli muntu agenda kubeera musingo gwa mirimugye.
إِلَّآ أَصۡحَٰبَ ٱلۡيَمِينِ ﴿٣٩﴾
Okugyako abo abalibeera ku mukono ogwaddyo.
فِي جَنَّـٰتٖ يَتَسَآءَلُونَ ﴿٤٠﴾
Bagenda kubeera mu jjana nga babuuza ebifa.
عَنِ ٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿٤١﴾
Ku bonoonyi.
مَا سَلَكَكُمۡ فِي سَقَرَ ﴿٤٢﴾
Nga babagamba nti ki ekibayingizza omuliro.
قَالُواْ لَمۡ نَكُ مِنَ ٱلۡمُصَلِّينَ ﴿٤٣﴾
Baligamba nti tetubangako mu basaaze.
وَلَمۡ نَكُ نُطۡعِمُ ٱلۡمِسۡكِينَ ﴿٤٤﴾
Era tetwaliisanga banaku.
وَكُنَّا نَخُوضُ مَعَ ٱلۡخَآئِضِينَ ﴿٤٥﴾
Twabeeranga nabakubi bambekuulo.
وَكُنَّا نُكَذِّبُ بِيَوۡمِ ٱلدِّينِ ﴿٤٦﴾
Era twali tulimbisa olunaku lw'enkomerero.
حَتَّىٰٓ أَتَىٰنَا ٱلۡيَقِينُ ﴿٤٧﴾
Okutuusa okufa lw'ekwatutuukako.
فَمَا تَنفَعُهُمۡ شَفَٰعَةُ ٱلشَّـٰفِعِينَ ﴿٤٨﴾
Kale tebagenda kuganyulwa mu kuwolereza kwa bawolereza.
فَمَا لَهُمۡ عَنِ ٱلتَّذۡكِرَةِ مُعۡرِضِينَ ﴿٤٩﴾
Kakano kiki ekibaddusa okuva ku kubuulirira kwa (Kur'ani kuno).
كَأَنَّهُمۡ حُمُرٞ مُّسۡتَنفِرَةٞ ﴿٥٠﴾
Nga balinga entulege ezigobeddwa.
فَرَّتۡ مِن قَسۡوَرَةِۭ ﴿٥١﴾
Ezidduka e mpologoma.
بَلۡ يُرِيدُ كُلُّ ٱمۡرِيٕٖ مِّنۡهُمۡ أَن يُؤۡتَىٰ صُحُفٗا مُّنَشَّرَةٗ ﴿٥٢﴾
Wabula buli omu mubo ayagala aweebwe ebiwandiiko ebibikuddwa.
كَلَّاۖ بَل لَّا يَخَافُونَ ٱلۡأٓخِرَةَ ﴿٥٣﴾
Nedda ekituufu kiri nti bbo tebakkiriza nkomerero.
كَلَّآ إِنَّهُۥ تَذۡكِرَةٞ ﴿٥٤﴾
Mazima ddala yo (Kur'ani) kyakubuulirira.
فَمَن شَآءَ ذَكَرَهُۥ ﴿٥٥﴾
Oyo aba ayagadde yeebulirira nayo.
وَمَا يَذۡكُرُونَ إِلَّآ أَن يَشَآءَ ٱللَّهُۚ هُوَ أَهۡلُ ٱلتَّقۡوَىٰ وَأَهۡلُ ٱلۡمَغۡفِرَةِ ﴿٥٦﴾
Wabula tebayinza kwebuulirira okugyako nga Katonda ayagadde, yye ye nanyini kutiibwa era ye nanyini kusonyiwa.
وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ ﴿١٥﴾
Ku lunaku olwo okubonaabona kugenda kubeera kw'abo abalulimbisa.
أَلَمۡ نُهۡلِكِ ٱلۡأَوَّلِينَ ﴿١٦﴾
Abaffe tetwazikiriza ababasokawo.
ثُمَّ نُتۡبِعُهُمُ ٱلۡأٓخِرِينَ ﴿١٧﴾
Netubagoberezaako abalala.
كَذَٰلِكَ نَفۡعَلُ بِٱلۡمُجۡرِمِينَ ﴿١٨﴾
Bwetutyo nno bwetukola mu kubonereza abonoonyi.
إِنَّ جَهَنَّمَ كَانَتۡ مِرۡصَادٗا ﴿٢١﴾
Mazima omuliro Jahannama weeguli gulinze.