إِن كَانَتۡ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ فَإِذَا هُمۡ خَٰمِدُونَ ﴿٢٩﴾
. (Wabula okuzikirira kwabwe) tekwali okugyako lwali olubwatuka lumu, okugenda okulaba nga bo bakalu.
710 Aya · Emitwe · lg
إِن كَانَتۡ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ فَإِذَا هُمۡ خَٰمِدُونَ ﴿٢٩﴾
. (Wabula okuzikirira kwabwe) tekwali okugyako lwali olubwatuka lumu, okugenda okulaba nga bo bakalu.
يَٰحَسۡرَةً عَلَى ٱلۡعِبَادِۚ مَا يَأۡتِيهِم مِّن رَّسُولٍ إِلَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿٣٠﴾
. Kya nnaku nnyo, ku baddu (abantu) tewali mubaka abajjira okugyako bamujeeja.
أَلَمۡ يَرَوۡاْ كَمۡ أَهۡلَكۡنَا قَبۡلَهُم مِّنَ ٱلۡقُرُونِ أَنَّهُمۡ إِلَيۡهِمۡ لَا يَرۡجِعُونَ ﴿٣١﴾
. Abaffe tebalaba nti emirembe emeka gyetwazikiriza oluberyeberye lwabwe, nga mazima ddala bo tebagenda kudda gye bali.
وَإِن كُلّٞ لَّمَّا جَمِيعٞ لَّدَيۡنَا مُحۡضَرُونَ ﴿٣٢﴾
. Tewali nagumu ku gyonna (emirembe) okugyako nga bonna ba kuleetebwa mu maaso gaffe.
وَيَقُولُونَ مَتَىٰ هَٰذَا ٱلۡوَعۡدُ إِن كُنتُمۡ صَٰدِقِينَ ﴿٤٨﴾
. Era bagamba nti endagaano eyo eribaawo ddi bwe muba nga mwogera mazima.
مَا يَنظُرُونَ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ تَأۡخُذُهُمۡ وَهُمۡ يَخِصِّمُونَ ﴿٤٩﴾
. Tebalinda okugyako olubwatuka lumu olulibakwata nga nabo bali mu kukaayana.
فَلَا يَسۡتَطِيعُونَ تَوۡصِيَةٗ وَلَآ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِمۡ يَرۡجِعُونَ ﴿٥٠﴾
. Olwo nno tebagenda kulaama wadde okudda eri abantu baabwe (eka).
وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَإِذَا هُم مِّنَ ٱلۡأَجۡدَاثِ إِلَىٰ رَبِّهِمۡ يَنسِلُونَ ﴿٥١﴾
. Olwo engombe erifuuyibwa (olufuuwa olw'okubiri) oligenda okubalaba nga bava mu ntaana zaabwe nga bagenda eri Mukama omulabirizi waabwe nga baanguwa byansusso.
قَالُواْ يَٰوَيۡلَنَا مَنۢ بَعَثَنَا مِن مَّرۡقَدِنَاۜۗ هَٰذَا مَا وَعَدَ ٱلرَّحۡمَٰنُ وَصَدَقَ ٱلۡمُرۡسَلُونَ ﴿٥٢﴾
. Balyoke bagambe (nga bakuba ebiwoobe) nti nga tuzikiridde ani atuzuukizza okutujja gye tubadde twebase (mu ntaana zaffe bagenda kwanukulwa nti) ekyo kyekyo Katonda Omusaasizi ennyo kye yalagaanyisa n'ababaka baayogera mazima.
إِن كَانَتۡ إِلَّا صَيۡحَةٗ وَٰحِدَةٗ فَإِذَا هُمۡ جَمِيعٞ لَّدَيۡنَا مُحۡضَرُونَ ﴿٥٣﴾
. (Okubazuukiza) tekugenda kuba okugyako olubwatuka lumu, olwo nno bonna gye tuli gye bagenda okuleetebwa.
فَٱلۡيَوۡمَ لَا تُظۡلَمُ نَفۡسٞ شَيۡـٔٗا وَلَا تُجۡزَوۡنَ إِلَّا مَا كُنتُمۡ تَعۡمَلُونَ ﴿٥٤﴾
. Olwa leero tewali muntu agenda kuyisibwa bubi mu kintu kyonna era temugenda kusasulwa okugyako ebyo bye mwali mukola.
۞أَلَمۡ أَعۡهَدۡ إِلَيۡكُمۡ يَٰبَنِيٓ ءَادَمَ أَن لَّا تَعۡبُدُواْ ٱلشَّيۡطَٰنَۖ إِنَّهُۥ لَكُمۡ عَدُوّٞ مُّبِينٞ ﴿٦٠﴾
. Abange mmwe ezadde lya Adam abaffe ssaabakozesa endagaano nti: temusinzanga Sitane olw'okuba yye mulabe wa mmwe omweyolefu!.
وَأَنِ ٱعۡبُدُونِيۚ هَٰذَا صِرَٰطٞ مُّسۡتَقِيمٞ ﴿٦١﴾
. Era (ne mbakalaatira) nti: munsinze, eryo lye kkubo ettuufu.
وَلَقَدۡ أَضَلَّ مِنكُمۡ جِبِلّٗا كَثِيرًاۖ أَفَلَمۡ تَكُونُواْ تَعۡقِلُونَ ﴿٦٢﴾
. Mazima (sitane) yabuza mu mmwe ebitonde bingi nnyo, abaffe mwali temutegeera.
هَٰذِهِۦ جَهَنَّمُ ٱلَّتِي كُنتُمۡ تُوعَدُونَ ﴿٦٣﴾
. Guno nno gwe muliro Jahannama gwe mwalagaanyisibwanga (ku nsi).
ٱصۡلَوۡهَا ٱلۡيَوۡمَ بِمَا كُنتُمۡ تَكۡفُرُونَ ﴿٦٤﴾
. Muguyingire olwa leero olw'ebyo bye mwalinga muwakanya.
ٱلۡيَوۡمَ نَخۡتِمُ عَلَىٰٓ أَفۡوَٰهِهِمۡ وَتُكَلِّمُنَآ أَيۡدِيهِمۡ وَتَشۡهَدُ أَرۡجُلُهُم بِمَا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿٦٥﴾
. Olwa leero tujja kuteeka envumbo ku mimwa gyabwe ate gyo emikono gyabwe gyogere naffe, n'amagulu gaabwe gawe obujulizi ku ebyo bye baalinga bakola.
وَلَوۡ نَشَآءُ لَطَمَسۡنَا عَلَىٰٓ أَعۡيُنِهِمۡ فَٱسۡتَبَقُواْ ٱلصِّرَٰطَ فَأَنَّىٰ يُبۡصِرُونَ ﴿٦٦﴾
. Singa twayagala twandizibye amaaso gaabwe olwo nno nebaba nga banoonya okudda eri ekkubo, naye nno bandirirabye batya!.
وَلَوۡ نَشَآءُ لَمَسَخۡنَٰهُمۡ عَلَىٰ مَكَانَتِهِمۡ فَمَا ٱسۡتَطَٰعُواْ مُضِيّٗا وَلَا يَرۡجِعُونَ ﴿٦٧﴾
. Era singa twayagala twandikyusizza obutonde bwabwe ne babeera mu kifo awo webali, kale nno tebandisobodde kweyongerayo wadde okudda gye bavudde.
وَٱلصَّـٰٓفَّـٰتِ صَفّٗا ﴿١﴾
Ndayidde ba Malayika abasimbye ennyiriri ennambulukufu.
فَٱلزَّـٰجِرَٰتِ زَجۡرٗا ﴿٢﴾
Olwo nno abo abagoba ebire olugoba (bigende bitonnyese enkuba).
فَٱلتَّـٰلِيَٰتِ ذِكۡرًا ﴿٣﴾
N'abo abasoma ebigambo ebibuulirira.
إِنَّ إِلَٰهَكُمۡ لَوَٰحِدٞ ﴿٤﴾
Mazima Katonda wa mmwe ddala ali omu.
رَّبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ وَمَا بَيۡنَهُمَا وَرَبُّ ٱلۡمَشَٰرِقِ ﴿٥﴾
Mukama omulabirizi we ggulu omusanvu n'ensi n'ebyo ebiri wakati wa byombi era Mukama omulabirizi w'ebuvanjuba (n'e bugwanjuba).
إِنَّا زَيَّنَّا ٱلسَّمَآءَ ٱلدُّنۡيَا بِزِينَةٍ ٱلۡكَوَاكِبِ ﴿٦﴾
Mazima ffe twawunda eggulu ly'okunsi n'okulabika obulungi kw'e mmunyeenye (ezirijjudde).
وَحِفۡظٗا مِّن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ مَّارِدٖ ﴿٧﴾
N'okulikuuma ku buli Sitane kyewaggula.
لَّا يَسَّمَّعُونَ إِلَى ٱلۡمَلَإِ ٱلۡأَعۡلَىٰ وَيُقۡذَفُونَ مِن كُلِّ جَانِبٖ ﴿٨﴾
Tezisobola kuwuliriza bitonde ebya waggulu era zikanyugirwa ebitawuliro okuva ku buli luuyi.
دُحُورٗاۖ وَلَهُمۡ عَذَابٞ وَاصِبٌ ﴿٩﴾
Nga zifuumuulwa emisinde era nga zigenda kufuna ebibonerezo ebitakoma.
إِلَّا مَنۡ خَطِفَ ٱلۡخَطۡفَةَ فَأَتۡبَعَهُۥ شِهَابٞ ثَاقِبٞ ﴿١٠﴾
Okugyako (Sitane) eyo enyakula ekigambo kyeba enyakudde olwo nno neekasukirirwa ekitawuliro ekibumbujja.
فَإِنَّمَا هِيَ زَجۡرَةٞ وَٰحِدَةٞ فَإِذَا هُمۡ يَنظُرُونَ ﴿١٩﴾
Mazima kyo (ekyo kuzuukira) luliba olufuuwa mu ngombe lumu oligenda okulaba nga bo batunula.
وَقَالُواْ يَٰوَيۡلَنَا هَٰذَا يَوۡمُ ٱلدِّينِ ﴿٢٠﴾
Era baligamba nti zitusanze luno lwe lunaku lw'okusasulwa.
هَٰذَا يَوۡمُ ٱلۡفَصۡلِ ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ ﴿٢١﴾
(Ba Malayika baligamba nti) luno lwe lunaku lw'okwawula (wakati wa balongoofu n’aboonoonyi) olwo lwe mwali mulimbisa.
۞ٱحۡشُرُواْ ٱلَّذِينَ ظَلَمُواْ وَأَزۡوَٰجَهُمۡ وَمَا كَانُواْ يَعۡبُدُونَ ﴿٢٢﴾
(Ba Malayika baliragirwa nti) mukungaanye abo abeeyisa obubi wamu n'ababafaanana n'ebyo bye baasinzanga.
مِن دُونِ ٱللَّهِ فَٱهۡدُوهُمۡ إِلَىٰ صِرَٰطِ ٱلۡجَحِيمِ ﴿٢٣﴾
Nebava ku Katonda olwo nno mubalage ekkubo eridda eri omuliro Jahiimu.
وَقِفُوهُمۡۖ إِنَّهُم مَّسۡـُٔولُونَ ﴿٢٤﴾
Era nga (temunnabatwala) mubayimirize (mu bbaliro) mazima bo balina okubuuzibwa.
مَا لَكُمۡ لَا تَنَاصَرُونَ ﴿٢٥﴾
(Olwo nno bagambibwe) nti: mubaddeki lwaki temwetaasa!.
بَلۡ هُمُ ٱلۡيَوۡمَ مُسۡتَسۡلِمُونَ ﴿٢٦﴾
Wabula bo ku lunaku olwa leero bagenda kukkiriza (nti tebalina bya kukola kuvvuunuka buzibu bwe balibeeramu).
أَذَٰلِكَ خَيۡرٞ نُّزُلًا أَمۡ شَجَرَةُ ٱلزَّقُّومِ ﴿٦٢﴾
Abaffe obwo bwe bugugenyi obulungi oba omuti gwa Zakkuumi.
إِنَّا جَعَلۡنَٰهَا فِتۡنَةٗ لِّلظَّـٰلِمِينَ ﴿٦٣﴾
Twagussaawo nga kikemo eri abeeyisa obubi.
إِنَّهَا شَجَرَةٞ تَخۡرُجُ فِيٓ أَصۡلِ ٱلۡجَحِيمِ ﴿٦٤﴾
Mazima gwo muti guva ku ntobo ya muliro Jahiimu.
طَلۡعُهَا كَأَنَّهُۥ رُءُوسُ ٱلشَّيَٰطِينِ ﴿٦٥﴾
Ebibala byagwo (okumanya bibi) biringa emitwe gya Sitane.
فَإِنَّهُمۡ لَأٓكِلُونَ مِنۡهَا فَمَالِـُٔونَ مِنۡهَا ٱلۡبُطُونَ ﴿٦٦﴾
Mazima bo bagenda kugulyako bagenda kujjuza nagwo embuto.
ثُمَّ إِنَّ لَهُمۡ عَلَيۡهَا لَشَوۡبٗا مِّنۡ حَمِيمٖ ﴿٦٧﴾
Oluvanyuma bagenda kubongeza ku gwo eby'okunywa ebitabuddwa mu lweje.
ثُمَّ إِنَّ مَرۡجِعَهُمۡ لَإِلَى ٱلۡجَحِيمِ ﴿٦٨﴾
Oluvanyuma mazima obuddo bwabwe buli mu muliro Jahiimu.
إِنَّهُمۡ أَلۡفَوۡاْ ءَابَآءَهُمۡ ضَآلِّينَ ﴿٦٩﴾
Mazima bo baasanga bakadde baabwe nga babuze.
فَهُمۡ عَلَىٰٓ ءَاثَٰرِهِمۡ يُهۡرَعُونَ ﴿٧٠﴾
N’olwekyo bo mu buwufu bwabwe batwalibwa kantindiggwa.
وَلَقَدۡ فَتَنَّا سُلَيۡمَٰنَ وَأَلۡقَيۡنَا عَلَىٰ كُرۡسِيِّهِۦ جَسَدٗا ثُمَّ أَنَابَ ﴿٣٤﴾
Era mazima twagezesa Sulaiman netuteeka omubiri (ogutaliimu bulamu) ku nnamulondo ye, (naye) oluvanyuma yeenenya.
قَالَ رَبِّ ٱغۡفِرۡ لِي وَهَبۡ لِي مُلۡكٗا لَّا يَنۢبَغِي لِأَحَدٖ مِّنۢ بَعۡدِيٓۖ إِنَّكَ أَنتَ ٱلۡوَهَّابُ ﴿٣٥﴾
Naagamba nti ayi Mukama omulabirizi wange nsonyiwa ongabire obwakabaka obutalisaanira mulala yenna oluvanyuma lwange, (anti) mazima ggwe mugabi.
فَسَخَّرۡنَا لَهُ ٱلرِّيحَ تَجۡرِي بِأَمۡرِهِۦ رُخَآءً حَيۡثُ أَصَابَ ﴿٣٦﴾
Olwo nno netumugondeza empewo nga etambula ku lw'ekiragirokye mu ngeri ya mirembe neegenda wonna waaba asazeewo.
وَٱلشَّيَٰطِينَ كُلَّ بَنَّآءٖ وَغَوَّاصٖ ﴿٣٧﴾
Era twamugondeza Sitane (nga mu zo mwalimu) enkugu mu kuzimba n'endala nga zibbira mu nnyanja.