quranm◉

Emitwe · lg (Omuko 8)

710 Aya · Emitwe · lg

Sad 38:38

وَءَاخَرِينَ مُقَرَّنِينَ فِي ٱلۡأَصۡفَادِ ﴿٣٨﴾

Era nga ne (Sitane) endala zisibiddwa ku njegere (anti zo zaagaana okukola).

Sad 38:55

هَٰذَاۚ وَإِنَّ لِلطَّـٰغِينَ لَشَرَّ مَـَٔابٖ ﴿٥٥﴾

Ekyo kyekyo, naye mazima abeewagguzi balifuna obuddo obubi.

Sad 38:56

جَهَنَّمَ يَصۡلَوۡنَهَا فَبِئۡسَ ٱلۡمِهَادُ ﴿٥٦﴾

Nga muliro Jahannama gwe balyesonseka naye buliba buliri bubi ddala.

Sad 38:57

هَٰذَا فَلۡيَذُوقُوهُ حَمِيمٞ وَغَسَّاقٞ ﴿٥٧﴾

Kino (kye balimu bye bibonerezo ebiruma ennyo) kale balibikombako nga nabyo mazzi agookya n'amasira ag'olusaayisaayi.

Sad 38:58

وَءَاخَرُ مِن شَكۡلِهِۦٓ أَزۡوَٰجٌ ﴿٥٨﴾

Ne (bibonerezo) ebirala ebiringa ebyo ebyengeri ez'ejawulo (nabyo biribatuukako).

Sad 38:59

هَٰذَا فَوۡجٞ مُّقۡتَحِمٞ مَّعَكُمۡ لَا مَرۡحَبَۢا بِهِمۡۚ إِنَّهُمۡ صَالُواْ ٱلنَّارِ ﴿٥٩﴾

(Buli aboonoonyi abapya lwe banaaleetebwanga mu muliro, nga abasookayo bagambibwa nti:) kino kibinja kyesozze omuliro awamu nammwe (olwo abalisangwamu bagambe nti) abo tebaanirizibwa (tebalina mirembe) mazima bo beesozze muliro.

Sad 38:60

قَالُواْ بَلۡ أَنتُمۡ لَا مَرۡحَبَۢا بِكُمۡۖ أَنتُمۡ قَدَّمۡتُمُوهُ لَنَاۖ فَبِئۡسَ ٱلۡقَرَارُ ﴿٦٠﴾

(Abaagoberera) baligamba (abaasooka) nti wabula mmwe, mmwe mutaanirizibwa, mmwe mwabituleetera, bugenda kuba butuulo bubi.

Sad 38:61

قَالُواْ رَبَّنَا مَن قَدَّمَ لَنَا هَٰذَا فَزِدۡهُ عَذَابٗا ضِعۡفٗا فِي ٱلنَّارِ ﴿٦١﴾

Baligamba nti: ayi Mukama omulabirizi waffe oyo eyatuleetera bino mwongere ebibonerezo eby'okuba mu muliro nga bibazziddwamu.

Sad 38:62

وَقَالُواْ مَا لَنَا لَا نَرَىٰ رِجَالٗا كُنَّا نَعُدُّهُم مِّنَ ٱلۡأَشۡرَارِ ﴿٦٢﴾

Era (aboonoonyi) baligamba nti lwaki tetulaba bantu betwali tubalira mu babi!.

Sad 38:63

أَتَّخَذۡنَٰهُمۡ سِخۡرِيًّا أَمۡ زَاغَتۡ عَنۡهُمُ ٱلۡأَبۡصَٰرُ ﴿٦٣﴾

Abaffe twabafuula eky'okujeeja (so nga baali balungi) oba amaaso ge gatabalaba.

Sad 38:64

إِنَّ ذَٰلِكَ لَحَقّٞ تَخَاصُمُ أَهۡلِ ٱلنَّارِ ﴿٦٤﴾

Mazima ebyo (ebyogeddwa) ddala (okwo kwe kuliba) okuyombagana kw'abantu bo mu muliro.

Sad 38:65

قُلۡ إِنَّمَآ أَنَا۠ مُنذِرٞۖ وَمَا مِنۡ إِلَٰهٍ إِلَّا ٱللَّهُ ٱلۡوَٰحِدُ ٱلۡقَهَّارُ ﴿٦٥﴾

Bagambe (ggwe Nabbi Muhammad) mazima nze ndi mutiisa era tewali kisinzibwa kyonna mu butuufu okugyako Katonda ali omu nantalemwa.

Az-Zumar 39:16

لَهُم مِّن فَوۡقِهِمۡ ظُلَلٞ مِّنَ ٱلنَّارِ وَمِن تَحۡتِهِمۡ ظُلَلٞۚ ذَٰلِكَ يُخَوِّفُ ٱللَّهُ بِهِۦ عِبَادَهُۥۚ يَٰعِبَادِ فَٱتَّقُونِ ﴿١٦﴾

Balina waggulu waabwe emizingo gy’omuliro ate nga ne wansi waabwe eriyo emizingo emirala. Ekyo nno Katonda atiisa nakyo abaddube nga abagamba nti: abange baddu bange kale muntye.

Az-Zumar 39:24

أَفَمَن يَتَّقِي بِوَجۡهِهِۦ سُوٓءَ ٱلۡعَذَابِ يَوۡمَ ٱلۡقِيَٰمَةِۚ وَقِيلَ لِلظَّـٰلِمِينَ ذُوقُواْ مَا كُنتُمۡ تَكۡسِبُونَ ﴿٢٤﴾

Abaffe oyo aligezaako okuwonya ekyenyikye ku bibonerezo by'olunaku lw'enkomerero (ayinza okufaanana n'oyo aliwona yenna olw'emirimu gye emirungi), era abeeyisa obubi baligambibwa nti: mukombe (ku bukaawu) bwebyo bye mwakolanga.

Az-Zumar 39:25

كَذَّبَ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡ فَأَتَىٰهُمُ ٱلۡعَذَابُ مِنۡ حَيۡثُ لَا يَشۡعُرُونَ ﴿٢٥﴾

Abo abaabakulembera baalimbisa (nga nabo bwe balimbisa) olwo nno ebibonerezo nebibajjira okuva webaali tebasuubira.

Az-Zumar 39:26

فَأَذَاقَهُمُ ٱللَّهُ ٱلۡخِزۡيَ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَاۖ وَلَعَذَابُ ٱلۡأٓخِرَةِ أَكۡبَرُۚ لَوۡ كَانُواْ يَعۡلَمُونَ ﴿٢٦﴾

Olwo nno Katonda naabakombesa ku buswavu mu bulamu obw'ensi ate nga ebibonerezo by'enkomerero bye bisinga obukakali singa baali bamanyi.

Az-Zumar 39:68

وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَصَعِقَ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا مَن شَآءَ ٱللَّهُۖ ثُمَّ نُفِخَ فِيهِ أُخۡرَىٰ فَإِذَا هُمۡ قِيَامٞ يَنظُرُونَ ﴿٦٨﴾

Engombe erifuuyibwa, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi nebizikirira, okugyako ekyo Katonda kyaliba ayagadde, oluvanyuma erifuuyibwa omulundi omulala oligenda okulaba nga beesiimbye (bwa ntoogo) batunula.

Az-Zumar 39:69

وَأَشۡرَقَتِ ٱلۡأَرۡضُ بِنُورِ رَبِّهَا وَوُضِعَ ٱلۡكِتَٰبُ وَجِاْيٓءَ بِٱلنَّبِيِّـۧنَ وَٱلشُّهَدَآءِ وَقُضِيَ بَيۡنَهُم بِٱلۡحَقِّ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ ﴿٦٩﴾

Ensi egenda kwakaayakana olw'ekitangaala kya Mukama omulabirizi waayo, ebitabo (by’emirimu gya baddu) bissibwewo, ba Nabbi n’abajulizi (ba Malayika abawandiika emirimu gya baddu) baleetebwe era balamulwe mu mazima era bo tebagenda kulyazaamaanyizibwa.

Az-Zumar 39:70

وَوُفِّيَتۡ كُلُّ نَفۡسٖ مَّا عَمِلَتۡ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِمَا يَفۡعَلُونَ ﴿٧٠﴾

Buli mwoyo gulisasulwa mu bujjuvu ebyo bye gwakola, anti bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola.

Az-Zumar 39:71

وَسِيقَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِلَىٰ جَهَنَّمَ زُمَرًاۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءُوهَا فُتِحَتۡ أَبۡوَٰبُهَا وَقَالَ لَهُمۡ خَزَنَتُهَآ أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ رُسُلٞ مِّنكُمۡ يَتۡلُونَ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِ رَبِّكُمۡ وَيُنذِرُونَكُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَاۚ قَالُواْ بَلَىٰ وَلَٰكِنۡ حَقَّتۡ كَلِمَةُ ٱلۡعَذَابِ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٧١﴾

Abo abaakaafuwala balikunguzzibwa okutwalibwa mu muliro Jahannama nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligutuukako emiryango gyagwo nga giggulwawo, era abakuumi baagwo babagambe nti, abaffe tebaabajjira ababaka nga bava mu mmwe!, nga babasomera ebigambo bya Mukama omulabirizi wa mmwe era nebabatiisa okusisinkana olunaku lwa mmwe luno? baligamba nti weewaawo (batujjira naye twabalimbisa) naye ekigambo ky’ebibonerezo kimaze okukakata ku bakaafiiri.

Az-Zumar 39:72

قِيلَ ٱدۡخُلُوٓاْ أَبۡوَٰبَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ فَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلۡمُتَكَبِّرِينَ ﴿٧٢﴾

Baligambibwa nti muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli bakutuula mu gwo bugenderevu, nagwo kifo kibi eri abeekuza.

Ghafir 40:2

تَنزِيلُ ٱلۡكِتَٰبِ مِنَ ٱللَّهِ ٱلۡعَزِيزِ ٱلۡعَلِيمِ ﴿٢﴾

Okussa ekitabo (kino Kur’ani) kuva wa Katonda nantakubwa ku mukono, omumanyi ennyo.

Ghafir 40:3

غَافِرِ ٱلذَّنۢبِ وَقَابِلِ ٱلتَّوۡبِ شَدِيدِ ٱلۡعِقَابِ ذِي ٱلطَّوۡلِۖ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۖ إِلَيۡهِ ٱلۡمَصِيرُ ﴿٣﴾

Omusonyiyi we byonoono, era akkiriza okwenenya, nannyini bibonerezo ebikakali, nannyini kugaba, tewali kisinzibwa okugyako yye, obuddo buli gyali.

Ghafir 40:4

مَا يُجَٰدِلُ فِيٓ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ إِلَّا ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ فَلَا يَغۡرُرۡكَ تَقَلُّبُهُمۡ فِي ٱلۡبِلَٰدِ ﴿٤﴾

Tewali awakana ku bigambo bya Katonda okugyako abo abaakafuwala, kale okwejalabattira kwabwe mu nsi tekukuyigula ttama.

Ghafir 40:5

كَذَّبَتۡ قَبۡلَهُمۡ قَوۡمُ نُوحٖ وَٱلۡأَحۡزَابُ مِنۢ بَعۡدِهِمۡۖ وَهَمَّتۡ كُلُّ أُمَّةِۭ بِرَسُولِهِمۡ لِيَأۡخُذُوهُۖ وَجَٰدَلُواْ بِٱلۡبَٰطِلِ لِيُدۡحِضُواْ بِهِ ٱلۡحَقَّ فَأَخَذۡتُهُمۡۖ فَكَيۡفَ كَانَ عِقَابِ ﴿٥﴾

Oluberyeberye lwabwe abantu ba Nuhu baalimbisa, n'ebibinja ebyajja oluvanyuma lwabwe (nabyo byalimbisa), buli bantu baayagala okutuusa ku mubaka waabwe akabi, baakozesa obukyamu mu kuwakana, bamenyewo amazima, awo nno nembakwata naye okubonereza kwange (olaba) kwali kutya?.

Ghafir 40:6

وَكَذَٰلِكَ حَقَّتۡ كَلِمَتُ رَبِّكَ عَلَى ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ أَنَّهُمۡ أَصۡحَٰبُ ٱلنَّارِ ﴿٦﴾

Nabwekityo, kyakakata ekigambo kya Mukama omulabirizi wo kwabo abaakafuwala nti mazima bo bantu ba mu muliro.

Ghafir 40:21

۞أَوَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ كَانُواْ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَانُواْ هُمۡ أَشَدَّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗ وَءَاثَارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُ بِذُنُوبِهِمۡ وَمَا كَانَ لَهُم مِّنَ ٱللَّهِ مِن وَاقٖ ﴿٢١﴾

Abaffe tebatambulako mu nsi ne balala enkomerero yaabo ababasooka nga bwe yali, bo be baali babasinga amaanyi n'ebintu bye baaleka mu nsi Katonda yabakwata olwebyonoono byabwe tewaaliwo abawonya ku Katonda.

Ghafir 40:22

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ كَانَت تَّأۡتِيهِمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَكَفَرُواْ فَأَخَذَهُمُ ٱللَّهُۚ إِنَّهُۥ قَوِيّٞ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ ﴿٢٢﴾

Ekyo (kyali bwekityo) lwakuba nti mazima bo ababaka baabwe babajjiranga n'obunnyonnyofu nebajeema, olwo nno Katonda nabakwata, mazima ye wamaanyi muyitirivu wa kubonereza.

Ghafir 40:32

وَيَٰقَوۡمِ إِنِّيٓ أَخَافُ عَلَيۡكُمۡ يَوۡمَ ٱلتَّنَادِ ﴿٣٢﴾

Era abange mmwe bantu bange, mazima nze mbatiisa olunaku lw’enduulu.

Ghafir 40:33

يَوۡمَ تُوَلُّونَ مُدۡبِرِينَ مَا لَكُم مِّنَ ٱللَّهِ مِنۡ عَاصِمٖۗ وَمَن يُضۡلِلِ ٱللَّهُ فَمَا لَهُۥ مِنۡ هَادٖ ﴿٣٣﴾

Olunaku lwe mulikyuka mudduke naye nga temuliba n’abawonya yenna ku Katonda, oyo yenna Katonda gwabuza tayinza kufuna mulungamya.

Ghafir 40:47

وَإِذۡ يَتَحَآجُّونَ فِي ٱلنَّارِ فَيَقُولُ ٱلضُّعَفَـٰٓؤُاْ لِلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُوٓاْ إِنَّا كُنَّا لَكُمۡ تَبَعٗا فَهَلۡ أَنتُم مُّغۡنُونَ عَنَّا نَصِيبٗا مِّنَ ٱلنَّارِ ﴿٤٧﴾

Jjukira ekiseera lwe balikayana mu muliro, abanafu (abakulemberwa) bwe baligamba abo abeekuza (abaali abakulembeze nti) mazima ffe twali bagoberezi ba mmwe abaffe mmwe musobola okutukolera ekitundu (kye kibonerezo) kyo muliro?.

Ghafir 40:48

قَالَ ٱلَّذِينَ ٱسۡتَكۡبَرُوٓاْ إِنَّا كُلّٞ فِيهَآ إِنَّ ٱللَّهَ قَدۡ حَكَمَ بَيۡنَ ٱلۡعِبَادِ ﴿٤٨﴾

Abo abeekuza baligamba nti, mazima ffe tugulimu fenna wamu, mazima Katonda yamaze okulamula wakati w'abaddu.

Ghafir 40:49

وَقَالَ ٱلَّذِينَ فِي ٱلنَّارِ لِخَزَنَةِ جَهَنَّمَ ٱدۡعُواْ رَبَّكُمۡ يُخَفِّفۡ عَنَّا يَوۡمٗا مِّنَ ٱلۡعَذَابِ ﴿٤٩﴾

Abaliba mu muliro baligamba abakuumi ba Jahannama nti musabe Mukama omulabirizi wa mmwe atukendeereze ku bibonerezo (waakiri) olunaku lumu.

Ghafir 40:50

قَالُوٓاْ أَوَلَمۡ تَكُ تَأۡتِيكُمۡ رُسُلُكُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِۖ قَالُواْ بَلَىٰۚ قَالُواْ فَٱدۡعُواْۗ وَمَا دُعَـٰٓؤُاْ ٱلۡكَٰفِرِينَ إِلَّا فِي ضَلَٰلٍ ﴿٥٠﴾

(Abakuumi bo muliro) baligamba nti abaffe ababaka ba mmwe tebabajjira n’obujulizi obwenkukunala, baligamba nti kituufu (baatujjira), bali bagambe nti kale musabe, wabula okusaba kwa bakafiiri tekuba okugyako mu bubuze.

Ghafir 40:51

إِنَّا لَنَنصُرُ رُسُلَنَا وَٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ فِي ٱلۡحَيَوٰةِ ٱلدُّنۡيَا وَيَوۡمَ يَقُومُ ٱلۡأَشۡهَٰدُ ﴿٥١﴾

Mazima ffe ddala tutaasa ababaka baffe naabo abakkiriza mu bulamu obw'ensi ne ku lunaku abajulizi lwe baliyimirira (okuwa obujulizi nti ddala obubaka bwatusibwa ku bantu).

Ghafir 40:52

يَوۡمَ لَا يَنفَعُ ٱلظَّـٰلِمِينَ مَعۡذِرَتُهُمۡۖ وَلَهُمُ ٱللَّعۡنَةُ وَلَهُمۡ سُوٓءُ ٱلدَّارِ ﴿٥٢﴾

Olunaku abeeyisa obubi okwetonda kwabwe lwe kutalibagasa, era balina ekikolimo nga bwebalina obutuulo obubi (omuliro).

Ghafir 40:69

أَلَمۡ تَرَ إِلَى ٱلَّذِينَ يُجَٰدِلُونَ فِيٓ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ أَنَّىٰ يُصۡرَفُونَ ﴿٦٩﴾

Abaffe tolaba abo abawalaaza empaka ku bigambo bya Katonda engeri gye bakyusibwamu (nebaleka amazima).

Ghafir 40:70

ٱلَّذِينَ كَذَّبُواْ بِٱلۡكِتَٰبِ وَبِمَآ أَرۡسَلۡنَا بِهِۦ رُسُلَنَاۖ فَسَوۡفَ يَعۡلَمُونَ ﴿٧٠﴾

(Abo abaalimbisa ekitabo (Kur’ani) n'ebyo byetwatuma nabyo ababaka baffe kyaddaaki balimanya.

Ghafir 40:71

إِذِ ٱلۡأَغۡلَٰلُ فِيٓ أَعۡنَٰقِهِمۡ وَٱلسَّلَٰسِلُ يُسۡحَبُونَ ﴿٧١﴾

(Balimanya) mu kiseera enkoligo bwezirissibwa mu nsingo zaabwe era nga basibiddwa ne njegere nga bawalulwa.

Ghafir 40:72

فِي ٱلۡحَمِيمِ ثُمَّ فِي ٱلنَّارِ يُسۡجَرُونَ ﴿٧٢﴾

Mu lweje oluvanyuma balisibirwa mu muliro.

Ghafir 40:73

ثُمَّ قِيلَ لَهُمۡ أَيۡنَ مَا كُنتُمۡ تُشۡرِكُونَ ﴿٧٣﴾

Oluvanyuma baligambwa nti biriwa bye mwagattanga (ku Katonda).

Ghafir 40:74

مِن دُونِ ٱللَّهِۖ قَالُواْ ضَلُّواْ عَنَّا بَل لَّمۡ نَكُن نَّدۡعُواْ مِن قَبۡلُ شَيۡـٔٗاۚ كَذَٰلِكَ يُضِلُّ ٱللَّهُ ٱلۡكَٰفِرِينَ ﴿٧٤﴾

Nemuleka Katonda, baligamba nti batubuzeeko wabula (mu butuufu) bye twasabanga oluberyeberye temwali kantu. Bwatyo Katonda bwabuza abakafiiri.

Ghafir 40:75

ذَٰلِكُم بِمَا كُنتُمۡ تَفۡرَحُونَ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَبِمَا كُنتُمۡ تَمۡرَحُونَ ﴿٧٥﴾

Ebyo nno mmwe (eby'omuliro gwe muyingidde) lwansonga lwebyo bye mwasanyuka nga mu nsi mu butali butuufu, era n'engeri y’obujeemu gye mweyisangamu.

Ghafir 40:76

ٱدۡخُلُوٓاْ أَبۡوَٰبَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ فَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلۡمُتَكَبِّرِينَ ﴿٧٦﴾

Muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli ba kutuula mu gwo bugenderevu, bubi nnyo obutuulo bwa beekuza.

Ghafir 40:82

أَفَلَمۡ يَسِيرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ فَيَنظُرُواْ كَيۡفَ كَانَ عَٰقِبَةُ ٱلَّذِينَ مِن قَبۡلِهِمۡۚ كَانُوٓاْ أَكۡثَرَ مِنۡهُمۡ وَأَشَدَّ قُوَّةٗ وَءَاثَارٗا فِي ٱلۡأَرۡضِ فَمَآ أَغۡنَىٰ عَنۡهُم مَّا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ ﴿٨٢﴾

Abaffe tebatambulako mu nsi nebalala yali etya enkomerero yaabo ababakulembera, (abo) abaali babasinga obungi, nga babasinga amaanyi era nga be babasinza ne bye baaleka mu nsi, naye wabula tebyabagasa ebyo bye baakola.

Ghafir 40:83

فَلَمَّا جَآءَتۡهُمۡ رُسُلُهُم بِٱلۡبَيِّنَٰتِ فَرِحُواْ بِمَا عِندَهُم مِّنَ ٱلۡعِلۡمِ وَحَاقَ بِهِم مَّا كَانُواْ بِهِۦ يَسۡتَهۡزِءُونَ ﴿٨٣﴾

Anti ababaka baabwe bwe baabajjira n’obunnyonnyofu, baasigala basanyuka n’okumanya kwe baali balina ne bazingwako ebyo bye baali bajeeja.

Ghafir 40:84

فَلَمَّا رَأَوۡاْ بَأۡسَنَا قَالُوٓاْ ءَامَنَّا بِٱللَّهِ وَحۡدَهُۥ وَكَفَرۡنَا بِمَا كُنَّا بِهِۦ مُشۡرِكِينَ ﴿٨٤﴾

Bwe baalaba obukambwe bwe bibonerezo byaffe nebagamba nti tukkiriza Katonda yekka era netuwakanya ebyo byonna bye twali tumugattako.

Ghafir 40:85

فَلَمۡ يَكُ يَنفَعُهُمۡ إِيمَٰنُهُمۡ لَمَّا رَأَوۡاْ بَأۡسَنَاۖ سُنَّتَ ٱللَّهِ ٱلَّتِي قَدۡ خَلَتۡ فِي عِبَادِهِۦۖ وَخَسِرَ هُنَالِكَ ٱلۡكَٰفِرُونَ ﴿٨٥﴾

Okukkiriza kwabwe tekwali kwa kubagasa (okwo kwe balangirira), bwe baamala okulaba obukambwe bwe bibonerezo byaffe (era nga eyo) yenkola ya Katonda eyo ezze ekola mu baddu be, era (ebibonerezo bya Katonda bwe bitandika okussibwa mu nkola) abakafiiri awo wennyini baba bamaze okufafaaganirwa (ne bwekuba kwenenya kuba tekukyakkirizibwa).

Fussilat 41:15

فَأَمَّا عَادٞ فَٱسۡتَكۡبَرُواْ فِي ٱلۡأَرۡضِ بِغَيۡرِ ٱلۡحَقِّ وَقَالُواْ مَنۡ أَشَدُّ مِنَّا قُوَّةًۖ أَوَلَمۡ يَرَوۡاْ أَنَّ ٱللَّهَ ٱلَّذِي خَلَقَهُمۡ هُوَ أَشَدُّ مِنۡهُمۡ قُوَّةٗۖ وَكَانُواْ بِـَٔايَٰتِنَا يَجۡحَدُونَ ﴿١٥﴾

Bo abantu ba A-adi anti beekuza mu nsi mu butali butuufu, era nebagamba nti ani atusinga amaanyi? abaffe baali tebakiraba nti mazima Katonda oyo eyabatonda, yye yaabasinga amaanyi. Okukola ekyo baali bawakanya obubonero bwaffe.

Emitwe